Deuteronomy 16 (BOLCB)

1 Ojjukiranga omwezi ogwa Abibu ng’ogukwatiramu Okuyitako kwa MUKAMA Katonda wo, kubanga ekiro mu mwezi gwa Abibu, MUKAMA Katonda wo mwe yakuggyira mu nsi y’e Misiri. 2 Onooleetanga ekiweebwayo eri MUKAMA eky’Okuyitako, ng’okiggya mu ggana lyo, ne mu kisibo kyo mu kifo MUKAMA ky’anaabanga yerondedde nga kye ky’okubeerangamu Erinnya lye. 3 Tokiryanga na mugaati omuzimbulukuse. Onoomalanga ennaku musanvu ng’emigaati gy’olya si mizimbulukuse, gye migaati egy’okulaba ennaku, kubanga mu Misiri wavaayo mu bwangu, bw’otyo olyokenga ojjukirenga, mu nnaku zonna ez’obulamu bwo, olunaku lwe wasitulirako ng’ova mu nsi y’e Misiri. 4 Tewaabeerengawo asangibwa na kizimbulukusa mu nsi yo yonna okumalanga ennaku musanvu. Ennyama gy’onooteekateekanga, ey’ekiweebwayo, akawungeezi ku lunaku olw’olubereberye teesigalengawo kutuusa nkeera. 5 Tokkirizibwenga kuweerangayo mu bibuga byo MUKAMA Katonda wo by’akuwa, ekiweebwayo eky’Okuyitako, 6 wabula onookiweerangayo mu kifo MUKAMA ky’anaabanga yeerondedde eky’okubeerangamu Erinnya lye. Eyo gy’onooweerangayo Okuyitako akawungeezi ng’enjuba egwa, ng’ojjukiranga olunaku lwe wasitulirako ng’ova mu nsi y’e Misiri. 7 Onoofumbanga okuyitako okwo n’okuliira mu kifo MUKAMA Katonda wo kye yeerondera. Enkeera onoddangayo mu weema yo. 8 Onoolyanga emigaati egitali mizimbulukuse okumala ennaku mukaaga, kyokka ku lunaku olw’omusanvu kunaabanga kukuŋŋaana mu maaso ga MUKAMA Katonda wo okumusinza; tolukolerangako mulimu gwonna. 9 Onoobalanga wiiki musanvu okuva ku kiseera lw’onookungulanga emmere ey’empeke okuva mu nnimiro yo omulundi ogusooka. 10 Kale nno onookwatanga Embaga ya Wiiki ezo ng’oleetera MUKAMA Katonda wo ekiweebwayo ekya kyeyagalire ekinaavanga mu ngalo zo, ng’emikisa bwe ginaabeeranga MUKAMA Katonda wo gy’anaabanga akuwadde. 11 Onoosanyukiranga mu maaso ga MUKAMA Katonda wo mu kifo ky’anaabanga yeerondedde okubeerangamu Erinnya lye. Onoosanyukanga ne batabani bo, ne bawala bo, n’abaweereza bo abasajja, n’abaweereza bo abakazi, n’Omuleevi anaabeeranga mu bibuga byo, ne munnaggwanga ne mulekwa, ne nnamwandu abanaabeeranga mu mmwe. 12 Ojjukiranga nga bwe wali omuddu mu nsi ey’e Misiri, osaana ogonderenga ebiragiro ebyo n’obwegendereza. 13 Onookwatanga Embaga ey’Ensiisira okumala ennaku musanvu ng’omaze okuyingiza ebyamakungula byo okubiggya mu gguuliro, ne wayini ng’omuggye mu ssogolero lyo. 14 Onoojaguzanga ng’oli ku Mbaga eyo, ggwe, ne mutabani wo, ne muwala wo, n’omuweereza wo omusajja, n’omuweereza wo omukazi, n’Omuleevi, n’omunnaggwanga, ne mulekwa, ne nnamwandu, abanaabeeranga mu bibuga byo. 15 Onoomalanga ennaku musanvu ng’ojaguza ku Mbaga eyo mu maaso ga MUKAMA Katonda wo mu kifo MUKAMA ky’aneeronderanga. Kubanga MUKAMA Katonda wo anaakuwanga omukisa mu bibala byonna eby’amakungula go, ne mu mirimu gyo gyonna gy’onootuusangako engalo zo, essanyu lyo bwe lityo linaabanga lijjuvu. 16 Abasajja bonna mu mmwe banaakuŋŋaananga emirundi esatu buli mwaka, mu maaso ga MUKAMA Katonda wo, mu kifo ky’aneeronderanga, ku Mbaga y’Emigaati Egitali Mizimbulukuse, ne ku Mbaga eya Wiiki Omusanvu, ne ku Mbaga ey’Ensiisira. Tewaabengawo n’omu anajjanga engalo enjereere awali MUKAMA. 17 Buli omu anaaleetanga ekirabo kye ng’obusobozi bwe bwe bunaabanga, nga bwesigamizibwa ku mikisa MUKAMA Katonda wo gy’anaabanga akuwadde. 18 Onoolondanga abalamuzi n’abakulembeze mu bantu, mu bika byo byonna, mu bibuga byo byonna, MUKAMA Katonda wo by’akuwa, baweerezenga abantu nga babasalirawo ensonga zaabwe nga tebasaliriza. 19 Obeeranga n’obwenkanya, era tobanga na kyekubiira ng’osala emisango. Tolyanga nguzi, kubanga enguzi eziba amaaso g’omugezi era ebuzaabuza ebigambo by’abatuukirivu. 20 Ogobereranga bwenkanya bwokka olyoke olye ensi MUKAMA Katonda wo gy’akuwa. 21 Tosimbanga miti gya kusinza okumpi n’ekyoto ky’onoozimbiranga MUKAMA Katonda wo; 22 wadde okuyimirizangawo empagi ey’amayinja ey’okusinzanga; kubanga ebyo byonna MUKAMA Katonda wo tabyagala abikyayira ddala.

In Other Versions

Deuteronomy 16 in the ANGEFD

Deuteronomy 16 in the ANTPNG2D

Deuteronomy 16 in the AS21

Deuteronomy 16 in the BAGH

Deuteronomy 16 in the BBPNG

Deuteronomy 16 in the BBT1E

Deuteronomy 16 in the BDS

Deuteronomy 16 in the BEV

Deuteronomy 16 in the BHAD

Deuteronomy 16 in the BIB

Deuteronomy 16 in the BLPT

Deuteronomy 16 in the BNT

Deuteronomy 16 in the BNTABOOT

Deuteronomy 16 in the BNTLV

Deuteronomy 16 in the BOATCB

Deuteronomy 16 in the BOATCB2

Deuteronomy 16 in the BOBCV

Deuteronomy 16 in the BOCNT

Deuteronomy 16 in the BOECS

Deuteronomy 16 in the BOGWICC

Deuteronomy 16 in the BOHCB

Deuteronomy 16 in the BOHCV

Deuteronomy 16 in the BOHLNT

Deuteronomy 16 in the BOHNTLTAL

Deuteronomy 16 in the BOICB

Deuteronomy 16 in the BOILNTAP

Deuteronomy 16 in the BOITCV

Deuteronomy 16 in the BOKCV

Deuteronomy 16 in the BOKCV2

Deuteronomy 16 in the BOKHWOG

Deuteronomy 16 in the BOKSSV

Deuteronomy 16 in the BOLCB2

Deuteronomy 16 in the BOMCV

Deuteronomy 16 in the BONAV

Deuteronomy 16 in the BONCB

Deuteronomy 16 in the BONLT

Deuteronomy 16 in the BONUT2

Deuteronomy 16 in the BOPLNT

Deuteronomy 16 in the BOSCB

Deuteronomy 16 in the BOSNC

Deuteronomy 16 in the BOTLNT

Deuteronomy 16 in the BOVCB

Deuteronomy 16 in the BOYCB

Deuteronomy 16 in the BPBB

Deuteronomy 16 in the BPH

Deuteronomy 16 in the BSB

Deuteronomy 16 in the CCB

Deuteronomy 16 in the CUV

Deuteronomy 16 in the CUVS

Deuteronomy 16 in the DBT

Deuteronomy 16 in the DGDNT

Deuteronomy 16 in the DHNT

Deuteronomy 16 in the DNT

Deuteronomy 16 in the ELBE

Deuteronomy 16 in the EMTV

Deuteronomy 16 in the ESV

Deuteronomy 16 in the FBV

Deuteronomy 16 in the FEB

Deuteronomy 16 in the GGMNT

Deuteronomy 16 in the GNT

Deuteronomy 16 in the HARY

Deuteronomy 16 in the HNT

Deuteronomy 16 in the IRVA

Deuteronomy 16 in the IRVB

Deuteronomy 16 in the IRVG

Deuteronomy 16 in the IRVH

Deuteronomy 16 in the IRVK

Deuteronomy 16 in the IRVM

Deuteronomy 16 in the IRVM2

Deuteronomy 16 in the IRVO

Deuteronomy 16 in the IRVP

Deuteronomy 16 in the IRVT

Deuteronomy 16 in the IRVT2

Deuteronomy 16 in the IRVU

Deuteronomy 16 in the ISVN

Deuteronomy 16 in the JSNT

Deuteronomy 16 in the KAPI

Deuteronomy 16 in the KBT1ETNIK

Deuteronomy 16 in the KBV

Deuteronomy 16 in the KJV

Deuteronomy 16 in the KNFD

Deuteronomy 16 in the LBA

Deuteronomy 16 in the LBLA

Deuteronomy 16 in the LNT

Deuteronomy 16 in the LSV

Deuteronomy 16 in the MAAL

Deuteronomy 16 in the MBV

Deuteronomy 16 in the MBV2

Deuteronomy 16 in the MHNT

Deuteronomy 16 in the MKNFD

Deuteronomy 16 in the MNG

Deuteronomy 16 in the MNT

Deuteronomy 16 in the MNT2

Deuteronomy 16 in the MRS1T

Deuteronomy 16 in the NAA

Deuteronomy 16 in the NASB

Deuteronomy 16 in the NBLA

Deuteronomy 16 in the NBS

Deuteronomy 16 in the NBVTP

Deuteronomy 16 in the NET2

Deuteronomy 16 in the NIV11

Deuteronomy 16 in the NNT

Deuteronomy 16 in the NNT2

Deuteronomy 16 in the NNT3

Deuteronomy 16 in the PDDPT

Deuteronomy 16 in the PFNT

Deuteronomy 16 in the RMNT

Deuteronomy 16 in the SBIAS

Deuteronomy 16 in the SBIBS

Deuteronomy 16 in the SBIBS2

Deuteronomy 16 in the SBICS

Deuteronomy 16 in the SBIDS

Deuteronomy 16 in the SBIGS

Deuteronomy 16 in the SBIHS

Deuteronomy 16 in the SBIIS

Deuteronomy 16 in the SBIIS2

Deuteronomy 16 in the SBIIS3

Deuteronomy 16 in the SBIKS

Deuteronomy 16 in the SBIKS2

Deuteronomy 16 in the SBIMS

Deuteronomy 16 in the SBIOS

Deuteronomy 16 in the SBIPS

Deuteronomy 16 in the SBISS

Deuteronomy 16 in the SBITS

Deuteronomy 16 in the SBITS2

Deuteronomy 16 in the SBITS3

Deuteronomy 16 in the SBITS4

Deuteronomy 16 in the SBIUS

Deuteronomy 16 in the SBIVS

Deuteronomy 16 in the SBT

Deuteronomy 16 in the SBT1E

Deuteronomy 16 in the SCHL

Deuteronomy 16 in the SNT

Deuteronomy 16 in the SUSU

Deuteronomy 16 in the SUSU2

Deuteronomy 16 in the SYNO

Deuteronomy 16 in the TBIAOTANT

Deuteronomy 16 in the TBT1E

Deuteronomy 16 in the TBT1E2

Deuteronomy 16 in the TFTIP

Deuteronomy 16 in the TFTU

Deuteronomy 16 in the TGNTATF3T

Deuteronomy 16 in the THAI

Deuteronomy 16 in the TNFD

Deuteronomy 16 in the TNT

Deuteronomy 16 in the TNTIK

Deuteronomy 16 in the TNTIL

Deuteronomy 16 in the TNTIN

Deuteronomy 16 in the TNTIP

Deuteronomy 16 in the TNTIZ

Deuteronomy 16 in the TOMA

Deuteronomy 16 in the TTENT

Deuteronomy 16 in the UBG

Deuteronomy 16 in the UGV

Deuteronomy 16 in the UGV2

Deuteronomy 16 in the UGV3

Deuteronomy 16 in the VBL

Deuteronomy 16 in the VDCC

Deuteronomy 16 in the YALU

Deuteronomy 16 in the YAPE

Deuteronomy 16 in the YBVTP

Deuteronomy 16 in the ZBP