Deuteronomy 17 (BOLCB)
1 Toleetanga kiweebwayo eri MUKAMA Katonda wo eky’ente oba eky’endiga ng’eriko akamogo oba ekikyamu kyonna, kubanga ebiri ng’ebyo Katonda wo abikyayira ddala. 2 Omuntu yenna omusajja oba omukazi abeera mu mmwe, mu kimu ku bibuga MUKAMA Katonda wo by’akuwa, bw’anaakwatibwanga ng’akoze ebibi mu maaso ga MUKAMA Katonda wo, ng’amenye endagaano ya MUKAMA, 3 era ng’ajeemedde ekiragiro kyange n’asinza bakatonda abalala, ng’enjuba, oba omwezi, oba emmunyeenye ez’oku ggulu, bye siragiranga okubisinzanga, 4 ekikolwa ekyo ne kikutegeezebwangako; kale onookinoonyerezangako n’obwegendereza. Bwe kinaakakasibwanga nga kya mazima, ng’ekibi ekyo kikoleddwa mu Isirayiri, 5 onoofulumyanga omusajja oyo, oba omukazi oyo, akoze ekibi ekyo, wabweru wa wankaaki w’ekibuga n’omukuba amayinja, n’afa. 6 Omuntu anattibwanga nga wamaze kulabikawo obujulizi bw’abantu babiri oba basatu, naye omuntu tattibwenga ku bujulizi bw’omuntu omu yekka. 7 Abajulizi be banaasookanga okukasuukirira omuntu oyo amayinja, n’abalala ne bagoberera. Kinaakusaaniranga okwemalangako ebibi ebinaabeeranga wakati mu mmwe. 8 Bwe wanaabangawo emisango egireeteddwa mu mbuga yo nga mizibu gikukaluubiridde okusala, oba nga gya kuyiwa musaayi, oba gya kuwozaŋŋanya, oba kukubagana, oba ensonga endala zonna ezinaabangamu enkaayana mu bibuga byo, ensonga ezo zonna onoozitwalanga mu kifo MUKAMA Katonda wo ky’anaabanga yeerondedde. 9 Bw’onootuukanga eyo oneebuuzanga ku bakabona, be Baleevi, ne ku mulamuzi anaabanga akola omulimu ogwo mu kiseera ekyo. Banaakutegeezanga ensala yaabwe. 10 Onookoleranga ku nsala yaabwe eyo gye banaakuwanga mu kifo ekyo MUKAMA ky’anaabanga yeerondedde. Weegenderezanga nnyo n’okola ebyo bye banaabanga bakulagidde. 11 Kinaakugwaniranga okukola ng’amateeka ge banaabanga bakunnyonnyodde bwe gagamba, n’ensala yaabwe nga bw’eneebanga gye banaakutegeezanga. Bye banaakutegeezanga tobivangako kulaga ku mukono ogwa ddyo oba ku gwa kkono. 12 Omuntu yenna anaanyoomanga omulamuzi oba kabona eyateekebwawo okuweereza MUKAMA Katonda wo, omuntu oyo wa kufa. Bw’otyo bw’onoomalangamu ekibi mu Isirayiri. 13 Abantu bonna banaabiwuliranga ne batya, ne bataddayo nate kukola bya kyejo. 14 Bw’olimala okuyingira mu nsi MUKAMA Katonda wo gy’akuwa, n’ogirya, n’obeera omwo, oliyinza okugamba nti, “Leka neeteekerewo kabaka ananfuganga okufaanana ng’amawanga amalala gonna aganneebunguludde;” 15 Weegenderezanga n’ossaawo kabaka oyo MUKAMA Katonda wo gw’anaakulonderanga. Kikugwanira okumuggyanga mu bantu bo bennyini. Tokkirizibwenga kwessizangawo kabaka omunnaggwanga anaabanga tavudde mu baganda bo bennyini, okukufuganga. 16 Kabaka oyo tateekwa kwefuniranga mbalaasi nnyingi, wadde okutumanga abantu mu Misiri bamufunirengayo embalaasi endala okwongeranga ku z’alina obungi; kubanga MUKAMA yagamba nti, “Temuddangayo kukwata kkubo eryo,” 17 Tawasanga bakazi bangi kubanga bagenda kumukyamyanga. So tekimugwanira kwetuumangako zaabu n’effeeza ennyingi ennyo. 18 Bw’anaamalanga okutebenkera ku ntebe ey’obwakabaka bwe, anaakoppololeranga amateeka gano mu kitabo ng’agaggyanga ku ga bakabona, Abaleevi. 19 Ekitabo ekyo anaabeeranga nakyo bulijjo, era anaakisomanga ennaku zonna ez’obulamu bwe, alyokenga ayige okutyanga MUKAMA Katonda we, ng’agobereranga n’obwegendereza ebigambo byonna ebiri mu mateeka gano, ne mu biragiro, 20 nga teyeekulumbaza kusukkirira ku bannansi banne, era nga takyama kuva ku mateeka gano okulaga ku mukono ogwa ddyo oba ku gwa kkono. Bw’anaakolanga bw’atyo, ye, n’ezzadde lye banaafuganga mu bwakabaka bwe, mu Isirayiri, okumala ennaku nnyingi.
In Other Versions
Deuteronomy 17 in the ANGEFD
Deuteronomy 17 in the ANTPNG2D
Deuteronomy 17 in the AS21
Deuteronomy 17 in the BAGH
Deuteronomy 17 in the BBPNG
Deuteronomy 17 in the BBT1E
Deuteronomy 17 in the BDS
Deuteronomy 17 in the BEV
Deuteronomy 17 in the BHAD
Deuteronomy 17 in the BIB
Deuteronomy 17 in the BLPT
Deuteronomy 17 in the BNT
Deuteronomy 17 in the BNTABOOT
Deuteronomy 17 in the BNTLV
Deuteronomy 17 in the BOATCB
Deuteronomy 17 in the BOATCB2
Deuteronomy 17 in the BOBCV
Deuteronomy 17 in the BOCNT
Deuteronomy 17 in the BOECS
Deuteronomy 17 in the BOGWICC
Deuteronomy 17 in the BOHCB
Deuteronomy 17 in the BOHCV
Deuteronomy 17 in the BOHLNT
Deuteronomy 17 in the BOHNTLTAL
Deuteronomy 17 in the BOICB
Deuteronomy 17 in the BOILNTAP
Deuteronomy 17 in the BOITCV
Deuteronomy 17 in the BOKCV
Deuteronomy 17 in the BOKCV2
Deuteronomy 17 in the BOKHWOG
Deuteronomy 17 in the BOKSSV
Deuteronomy 17 in the BOLCB2
Deuteronomy 17 in the BOMCV
Deuteronomy 17 in the BONAV
Deuteronomy 17 in the BONCB
Deuteronomy 17 in the BONLT
Deuteronomy 17 in the BONUT2
Deuteronomy 17 in the BOPLNT
Deuteronomy 17 in the BOSCB
Deuteronomy 17 in the BOSNC
Deuteronomy 17 in the BOTLNT
Deuteronomy 17 in the BOVCB
Deuteronomy 17 in the BOYCB
Deuteronomy 17 in the BPBB
Deuteronomy 17 in the BPH
Deuteronomy 17 in the BSB
Deuteronomy 17 in the CCB
Deuteronomy 17 in the CUV
Deuteronomy 17 in the CUVS
Deuteronomy 17 in the DBT
Deuteronomy 17 in the DGDNT
Deuteronomy 17 in the DHNT
Deuteronomy 17 in the DNT
Deuteronomy 17 in the ELBE
Deuteronomy 17 in the EMTV
Deuteronomy 17 in the ESV
Deuteronomy 17 in the FBV
Deuteronomy 17 in the FEB
Deuteronomy 17 in the GGMNT
Deuteronomy 17 in the GNT
Deuteronomy 17 in the HARY
Deuteronomy 17 in the HNT
Deuteronomy 17 in the IRVA
Deuteronomy 17 in the IRVB
Deuteronomy 17 in the IRVG
Deuteronomy 17 in the IRVH
Deuteronomy 17 in the IRVK
Deuteronomy 17 in the IRVM
Deuteronomy 17 in the IRVM2
Deuteronomy 17 in the IRVO
Deuteronomy 17 in the IRVP
Deuteronomy 17 in the IRVT
Deuteronomy 17 in the IRVT2
Deuteronomy 17 in the IRVU
Deuteronomy 17 in the ISVN
Deuteronomy 17 in the JSNT
Deuteronomy 17 in the KAPI
Deuteronomy 17 in the KBT1ETNIK
Deuteronomy 17 in the KBV
Deuteronomy 17 in the KJV
Deuteronomy 17 in the KNFD
Deuteronomy 17 in the LBA
Deuteronomy 17 in the LBLA
Deuteronomy 17 in the LNT
Deuteronomy 17 in the LSV
Deuteronomy 17 in the MAAL
Deuteronomy 17 in the MBV
Deuteronomy 17 in the MBV2
Deuteronomy 17 in the MHNT
Deuteronomy 17 in the MKNFD
Deuteronomy 17 in the MNG
Deuteronomy 17 in the MNT
Deuteronomy 17 in the MNT2
Deuteronomy 17 in the MRS1T
Deuteronomy 17 in the NAA
Deuteronomy 17 in the NASB
Deuteronomy 17 in the NBLA
Deuteronomy 17 in the NBS
Deuteronomy 17 in the NBVTP
Deuteronomy 17 in the NET2
Deuteronomy 17 in the NIV11
Deuteronomy 17 in the NNT
Deuteronomy 17 in the NNT2
Deuteronomy 17 in the NNT3
Deuteronomy 17 in the PDDPT
Deuteronomy 17 in the PFNT
Deuteronomy 17 in the RMNT
Deuteronomy 17 in the SBIAS
Deuteronomy 17 in the SBIBS
Deuteronomy 17 in the SBIBS2
Deuteronomy 17 in the SBICS
Deuteronomy 17 in the SBIDS
Deuteronomy 17 in the SBIGS
Deuteronomy 17 in the SBIHS
Deuteronomy 17 in the SBIIS
Deuteronomy 17 in the SBIIS2
Deuteronomy 17 in the SBIIS3
Deuteronomy 17 in the SBIKS
Deuteronomy 17 in the SBIKS2
Deuteronomy 17 in the SBIMS
Deuteronomy 17 in the SBIOS
Deuteronomy 17 in the SBIPS
Deuteronomy 17 in the SBISS
Deuteronomy 17 in the SBITS
Deuteronomy 17 in the SBITS2
Deuteronomy 17 in the SBITS3
Deuteronomy 17 in the SBITS4
Deuteronomy 17 in the SBIUS
Deuteronomy 17 in the SBIVS
Deuteronomy 17 in the SBT
Deuteronomy 17 in the SBT1E
Deuteronomy 17 in the SCHL
Deuteronomy 17 in the SNT
Deuteronomy 17 in the SUSU
Deuteronomy 17 in the SUSU2
Deuteronomy 17 in the SYNO
Deuteronomy 17 in the TBIAOTANT
Deuteronomy 17 in the TBT1E
Deuteronomy 17 in the TBT1E2
Deuteronomy 17 in the TFTIP
Deuteronomy 17 in the TFTU
Deuteronomy 17 in the TGNTATF3T
Deuteronomy 17 in the THAI
Deuteronomy 17 in the TNFD
Deuteronomy 17 in the TNT
Deuteronomy 17 in the TNTIK
Deuteronomy 17 in the TNTIL
Deuteronomy 17 in the TNTIN
Deuteronomy 17 in the TNTIP
Deuteronomy 17 in the TNTIZ
Deuteronomy 17 in the TOMA
Deuteronomy 17 in the TTENT
Deuteronomy 17 in the UBG
Deuteronomy 17 in the UGV
Deuteronomy 17 in the UGV2
Deuteronomy 17 in the UGV3
Deuteronomy 17 in the VBL
Deuteronomy 17 in the VDCC
Deuteronomy 17 in the YALU
Deuteronomy 17 in the YAPE
Deuteronomy 17 in the YBVTP
Deuteronomy 17 in the ZBP