Deuteronomy 23 (BOLCB)
1 “Omuntu yenna ng’ebitundu by’omubiri gwe eby’ekyama byabetentebwa oba nga byasalibwako, taayingirenga mu kuŋŋaaniro lya MUKAMA Katonda. 2 “Abantu bonna abanaazaalibwanga mu bufumbo obutaabenga butukuvu tebaayingirenga mu kuŋŋaaniro lya MUKAMA Katonda. Bazzukulu baabwe okutuusa ku mulembe ogw’ekkumi, nabo tebayingiranga mu kuŋŋaaniro lya MUKAMA Katonda. 3 “Abamoni n’Abamowaabu ne bazzukulu baabwe okutuusa ku mulembe ogw’ekkumi tebayingiranga mu kuŋŋaaniro lya MUKAMA Katonda. 4 Kubanga bwe mwali muva mu nsi y’e Misiri, tebajja kubaaniriza n’okubaleetera ku mmere ne ku mazzi; ate ne bapangisa Balamu mutabani wa Byoli nga bamuggya e Pesoli eky’omu Mesopotamiya, okubakolimira. 5 Kyokka MUKAMA Katonda wo n’alemesa Balamu; ekikolimo n’akikufuuliramu omukisa, kubanga MUKAMA Katonda wo akwagala nnyo. 6 Tokolanga nabo endagaano ey’omukwano n’okubayamba mu mbeera yaabwe ebbanga lyonna ly’olimala ng’oli mulamu. 7 “Omwedomu tomukyawanga kubanga omulinako oluganda. Tokyawanga Mumisiri n’omu kubanga wali mugenyi mu nsi yaabwe. 8 Abaana baabwe ab’omulembe ogwokusatu banaakkirizibwanga okuyingira mu kuŋŋaaniro lya MUKAMA Katonda. 9 “Bw’onoogendanga okutabaala abalabe bo weewalenga obutali bulongoofu mu lusiisira lwammwe. 10 Bwe wanaabangawo omusajja mu mmwe eyeeroteredde ekiro, bw’atyo n’aba atali mulongoofu, anaafulumanga mu lusiisira n’abeera ebweru. 11 Naye obudde bwe bunaawungeeranga anaanaabanga n’amazzi; enjuba bw’eneemalanga okugwa anaayinzanga okukomawo mu lusiisira. 12 “Onootegekanga ekifo ebweru w’olusiisira ky’onoolagangamu okweteewuluza. 13 Onoogendangayo n’eby’okukozesa. Onootwalanga ekifumu, bw’onoomalanga okweteewuluza onoosimanga ekinnya n’oziikamu ebyo ebivudde mu nda yo. 14 Kubanga MUKAMA Katonda wo anaatambulanga naawe, mu lusiisira lwo ng’akulabirira n’okukuyamba okuwangula abalabe bammwe. Noolwekyo olusiisira lwo kirusaanira lubeerenga lutukuvu, MUKAMA alemenga kusangamu kintu kyonna ekitali kirongoofu mu ggwe ne kimuleeteranga okukuvaako. 15 “Omuddu omugule bw’anaabombanga n’ava ku mukama we mu nsi endala, n’ajja ne yeekweka gy’oli, tomuzzangayo wa mukama we. 16 Omulekanga n’abeera naawe wakati mu mmwe, mu kimu ku bibuga byo ky’aneerobozanga. Tomujooganga. 17 “Mu bawala ba Isirayiri temukkirizibwenga kubeerangamu bamalaaya ab’omu masabo, n’abasajja abalya ebisiyaga nabo tebakkirizibwenga mu Isirayiri. 18 Toleetanga nsimbi, bamalaaya ze banaabanga bafunye mu bwamalaaya, mu nnyumba ya MUKAMA Katonda wo okusasulira obweyamo, wadde ensimbi z’abasajja abalya ebisiyaga; kubanga MUKAMA Katonda wo akyayira ddala ebikolwa ebyo byombi. 19 “Omuyisirayiri bw’anaawolanga Muyisirayiri munne ensimbi, oba emmere, oba ebintu ebirala byonna, bw’anaabanga asasulwa tasabirangako magoba gaabyo. 20 Bw’onoowolanga bannaggwanga onoobasabirangako amagoba gaako; MUKAMA Katonda wo alyoke akuwenga omukisa ku buli ky’onookwatangako engalo ng’otuuse mu nsi gy’oli okumpi okuyingira n’okugyefunira. 21 “Bw’oneeyamanga obweyamo eri MUKAMA tolwangawo kubutuukiriza, kubanga ddala ddala MUKAMA Katonda wo agenda kukikulagira olyoke weewonye omusango olw’ekibi ekyo. 22 Naye bw’oteeyamanga bweyamo toobeerengako musango. 23 Ebyo byonna akamwa ko bye kanaayogeranga kikugwanira okubikolanga, mu ngeri y’emu nga bw’onoobanga weeyamye obweyamo eri MUKAMA Katonda wo n’akamwa ko. 24 “Bw’onooyingiranga mu nnimiro ya munno ey’emizabbibu, onooyinzanga okwenogeranga ku birimba by’emizabbibu n’olya nga bw’oneetaaganga n’okkuta, naye tossangako mu kibbo okwetwalirako eka. 25 Bw’onooyingiranga mu nnimiro ya munno ey’emmere ey’empeke, onooyinzanga okwekungulirangako n’engalo zo, naye toddiranga kambe n’osala emmere y’empeke eyo eneebanga tennaba kusalibwa.”
In Other Versions
Deuteronomy 23 in the ANGEFD
Deuteronomy 23 in the ANTPNG2D
Deuteronomy 23 in the AS21
Deuteronomy 23 in the BAGH
Deuteronomy 23 in the BBPNG
Deuteronomy 23 in the BBT1E
Deuteronomy 23 in the BDS
Deuteronomy 23 in the BEV
Deuteronomy 23 in the BHAD
Deuteronomy 23 in the BIB
Deuteronomy 23 in the BLPT
Deuteronomy 23 in the BNT
Deuteronomy 23 in the BNTABOOT
Deuteronomy 23 in the BNTLV
Deuteronomy 23 in the BOATCB
Deuteronomy 23 in the BOATCB2
Deuteronomy 23 in the BOBCV
Deuteronomy 23 in the BOCNT
Deuteronomy 23 in the BOECS
Deuteronomy 23 in the BOGWICC
Deuteronomy 23 in the BOHCB
Deuteronomy 23 in the BOHCV
Deuteronomy 23 in the BOHLNT
Deuteronomy 23 in the BOHNTLTAL
Deuteronomy 23 in the BOICB
Deuteronomy 23 in the BOILNTAP
Deuteronomy 23 in the BOITCV
Deuteronomy 23 in the BOKCV
Deuteronomy 23 in the BOKCV2
Deuteronomy 23 in the BOKHWOG
Deuteronomy 23 in the BOKSSV
Deuteronomy 23 in the BOLCB2
Deuteronomy 23 in the BOMCV
Deuteronomy 23 in the BONAV
Deuteronomy 23 in the BONCB
Deuteronomy 23 in the BONLT
Deuteronomy 23 in the BONUT2
Deuteronomy 23 in the BOPLNT
Deuteronomy 23 in the BOSCB
Deuteronomy 23 in the BOSNC
Deuteronomy 23 in the BOTLNT
Deuteronomy 23 in the BOVCB
Deuteronomy 23 in the BOYCB
Deuteronomy 23 in the BPBB
Deuteronomy 23 in the BPH
Deuteronomy 23 in the BSB
Deuteronomy 23 in the CCB
Deuteronomy 23 in the CUV
Deuteronomy 23 in the CUVS
Deuteronomy 23 in the DBT
Deuteronomy 23 in the DGDNT
Deuteronomy 23 in the DHNT
Deuteronomy 23 in the DNT
Deuteronomy 23 in the ELBE
Deuteronomy 23 in the EMTV
Deuteronomy 23 in the ESV
Deuteronomy 23 in the FBV
Deuteronomy 23 in the FEB
Deuteronomy 23 in the GGMNT
Deuteronomy 23 in the GNT
Deuteronomy 23 in the HARY
Deuteronomy 23 in the HNT
Deuteronomy 23 in the IRVA
Deuteronomy 23 in the IRVB
Deuteronomy 23 in the IRVG
Deuteronomy 23 in the IRVH
Deuteronomy 23 in the IRVK
Deuteronomy 23 in the IRVM
Deuteronomy 23 in the IRVM2
Deuteronomy 23 in the IRVO
Deuteronomy 23 in the IRVP
Deuteronomy 23 in the IRVT
Deuteronomy 23 in the IRVT2
Deuteronomy 23 in the IRVU
Deuteronomy 23 in the ISVN
Deuteronomy 23 in the JSNT
Deuteronomy 23 in the KAPI
Deuteronomy 23 in the KBT1ETNIK
Deuteronomy 23 in the KBV
Deuteronomy 23 in the KJV
Deuteronomy 23 in the KNFD
Deuteronomy 23 in the LBA
Deuteronomy 23 in the LBLA
Deuteronomy 23 in the LNT
Deuteronomy 23 in the LSV
Deuteronomy 23 in the MAAL
Deuteronomy 23 in the MBV
Deuteronomy 23 in the MBV2
Deuteronomy 23 in the MHNT
Deuteronomy 23 in the MKNFD
Deuteronomy 23 in the MNG
Deuteronomy 23 in the MNT
Deuteronomy 23 in the MNT2
Deuteronomy 23 in the MRS1T
Deuteronomy 23 in the NAA
Deuteronomy 23 in the NASB
Deuteronomy 23 in the NBLA
Deuteronomy 23 in the NBS
Deuteronomy 23 in the NBVTP
Deuteronomy 23 in the NET2
Deuteronomy 23 in the NIV11
Deuteronomy 23 in the NNT
Deuteronomy 23 in the NNT2
Deuteronomy 23 in the NNT3
Deuteronomy 23 in the PDDPT
Deuteronomy 23 in the PFNT
Deuteronomy 23 in the RMNT
Deuteronomy 23 in the SBIAS
Deuteronomy 23 in the SBIBS
Deuteronomy 23 in the SBIBS2
Deuteronomy 23 in the SBICS
Deuteronomy 23 in the SBIDS
Deuteronomy 23 in the SBIGS
Deuteronomy 23 in the SBIHS
Deuteronomy 23 in the SBIIS
Deuteronomy 23 in the SBIIS2
Deuteronomy 23 in the SBIIS3
Deuteronomy 23 in the SBIKS
Deuteronomy 23 in the SBIKS2
Deuteronomy 23 in the SBIMS
Deuteronomy 23 in the SBIOS
Deuteronomy 23 in the SBIPS
Deuteronomy 23 in the SBISS
Deuteronomy 23 in the SBITS
Deuteronomy 23 in the SBITS2
Deuteronomy 23 in the SBITS3
Deuteronomy 23 in the SBITS4
Deuteronomy 23 in the SBIUS
Deuteronomy 23 in the SBIVS
Deuteronomy 23 in the SBT
Deuteronomy 23 in the SBT1E
Deuteronomy 23 in the SCHL
Deuteronomy 23 in the SNT
Deuteronomy 23 in the SUSU
Deuteronomy 23 in the SUSU2
Deuteronomy 23 in the SYNO
Deuteronomy 23 in the TBIAOTANT
Deuteronomy 23 in the TBT1E
Deuteronomy 23 in the TBT1E2
Deuteronomy 23 in the TFTIP
Deuteronomy 23 in the TFTU
Deuteronomy 23 in the TGNTATF3T
Deuteronomy 23 in the THAI
Deuteronomy 23 in the TNFD
Deuteronomy 23 in the TNT
Deuteronomy 23 in the TNTIK
Deuteronomy 23 in the TNTIL
Deuteronomy 23 in the TNTIN
Deuteronomy 23 in the TNTIP
Deuteronomy 23 in the TNTIZ
Deuteronomy 23 in the TOMA
Deuteronomy 23 in the TTENT
Deuteronomy 23 in the UBG
Deuteronomy 23 in the UGV
Deuteronomy 23 in the UGV2
Deuteronomy 23 in the UGV3
Deuteronomy 23 in the VBL
Deuteronomy 23 in the VDCC
Deuteronomy 23 in the YALU
Deuteronomy 23 in the YAPE
Deuteronomy 23 in the YBVTP
Deuteronomy 23 in the ZBP