Deuteronomy 27 (BOLCB)
        
        
          1 Awo Musa ng’ali n’abakulu abakulembeze ba Isirayiri n’alagira abantu nti, “Ebiragiro byonna bye mbategeeza leero mubikuumenga. 2 Bwe mumalanga okusomoka omugga Yoludaani n’oyingira mu nsi MUKAMA Katonda wo gy’akuwa, oddiranga amayinja amanene n’ogategeka n’ogakubako omuyiko ogw’ennoni ng’etabuddwamu omusenyu. 3 Ogawandiikangako ebigambo bino byonna eby’amateeka, ng’omaze okusomoka, ng’oyingidde mu nsi MUKAMA Katonda wo gy’akuwa, y’ensi omukulukutira amata n’omubisi gw’enjuki, nga MUKAMA Katonda wa bajjajjaabo bwe yakusuubiza. 4 Bw’otyo, bw’olimala okusomoka omugga Yoludaani, otegekanga amayinja ago ku Lusozi Ebali nga bwe mbalagira kaakano, era ogakubangako omuyiko ogw’ennoni ng’etabuddwamu omusenyu. 5 Era MUKAMA Katonda wo olimuzimbira eyo ekyoto n’amayinja amalamba agatali matemeko na kyuma. 6 Olizimbira eyo MUKAMA Katonda wo ekyoto n’amayinja amalamba n’oweerako ebiweebwayo ebyokebwa eri MUKAMA Katonda wo. 7 Oliwaayo ebiweebwayo olw’emirembe, n’obiriira eyo ng’osanyukira mu maaso ga MUKAMA Katonda wo. 8 Era ku mayinja ago g’oliba otegese oliwandiikako n’obwegendereza ebigambo byonna eby’amateeka gano.”  9 Awo Musa ng’ali n’Abaleevi, bakabona, n’agamba Abayisirayiri bonna nti, “Sirika owulire ggwe Isirayiri! Ku lunaku lwa leero lwennyini ofuuse eggwanga lya MUKAMA Katonda wo. 10 Noolwekyo ogonderanga MUKAMA Katonda wo n’okwatanga amateeka ge n’ebiragiro bye, bye nkulagira leero.”  11 Ku lunaku lwe lumu Musa yakuutira abantu bw’ati nti, 12 Bwe mulimala okusomoka omugga Yoludaani, ab’omu bika bino baliyimirira ku Lusozi Gerizimu ne basabira abantu omukisa: Simyoni, ne Leevi, ne Yuda, ne Isakaali, ne Yusufu, ne Benyamini. 13 Ate ab’omu bika bino baliyimirira ku Lusozi Ebali ne balangirira ebikolimo: Lewubeeni, ne Gaadi, ne Aseri, ne Zebbulooni, ne Ddaani, ne Nafutaali. 14 Awo Abaleevi balirangirira n’eddoboozi ddene eri abantu bonna Abayisirayiri nti:  15 “Akolimirwe omuntu yenna akola ekifaananyi ekitali Katonda oba abumba ekintu ng’ekyo kyonna MUKAMA ky’akyayira ddala nga kikolebwa omukozi nnakinku, omuntu oyo n’abaako ne wakiyimiriza mu kyama.”Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”  16 “Akolimirwe omuntu yenna atassaamu kitiibwa kitaawe oba nnyina.”Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”  17 “Akolimirwe omuntu yenna akyusa ekituuti ekiraga ensalo ya muliraanwa we.”Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”  18 “Akolimirwe omuntu yenna aggya omuzibe w’amaaso mu kkubo ettuufu n’amubuza.”Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”  19 “Akolimirwe omuntu yenna atalaga bwenkanya eri bannamawanga, oba bamulekwa oba bannamwandu.”Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”  20 “Akolimirwe omuntu yenna eyeebaka ne muka kitaawe, kubanga ekitanda kya kitaawe akimalamu ekitiibwa.”Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”  21 “Akolimirwe omuntu yenna akola ebyobukaba n’ensolo.”Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”  22 “Akolimirwe omuntu yenna eyeebaka ne mwannyina omuwala wa kitaawe, oba muwala wa nnyina.”Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”  23 “Akolimirwe omuntu yenna eyeebaka ne nnyina wa mukazi we.”Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”  24 “Akolimirwe omuntu yenna atemula munne.”Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”  25 “Akolimirwe omuntu yenna akkiriza okugulirirwa atte munne ataliiko musango.”Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”  26 “Akolimirwe omuntu yenna atagondera bigambo ebiri mu mateeka gano.”Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”
        
        
          In Other Versions
        
        
  
    Deuteronomy 27 in the ANGEFD
  
  
    Deuteronomy 27 in the ANTPNG2D
  
  
    Deuteronomy 27 in the AS21
  
  
    Deuteronomy 27 in the BAGH
  
  
    Deuteronomy 27 in the BBPNG
  
  
    Deuteronomy 27 in the BBT1E
  
  
    Deuteronomy 27 in the BDS
  
  
    Deuteronomy 27 in the BEV
  
  
    Deuteronomy 27 in the BHAD
  
  
    Deuteronomy 27 in the BIB
  
  
    Deuteronomy 27 in the BLPT
  
  
    Deuteronomy 27 in the BNT
  
  
    Deuteronomy 27 in the BNTABOOT
  
  
    Deuteronomy 27 in the BNTLV
  
  
    Deuteronomy 27 in the BOATCB
  
  
    Deuteronomy 27 in the BOATCB2
  
  
    Deuteronomy 27 in the BOBCV
  
  
    Deuteronomy 27 in the BOCNT
  
  
    Deuteronomy 27 in the BOECS
  
  
    Deuteronomy 27 in the BOGWICC
  
  
    Deuteronomy 27 in the BOHCB
  
  
    Deuteronomy 27 in the BOHCV
  
  
    Deuteronomy 27 in the BOHLNT
  
  
    Deuteronomy 27 in the BOHNTLTAL
  
  
    Deuteronomy 27 in the BOICB
  
  
    Deuteronomy 27 in the BOILNTAP
  
  
    Deuteronomy 27 in the BOITCV
  
  
    Deuteronomy 27 in the BOKCV
  
  
    Deuteronomy 27 in the BOKCV2
  
  
    Deuteronomy 27 in the BOKHWOG
  
  
    Deuteronomy 27 in the BOKSSV
  
  
    Deuteronomy 27 in the BOLCB2
  
  
    Deuteronomy 27 in the BOMCV
  
  
    Deuteronomy 27 in the BONAV
  
  
    Deuteronomy 27 in the BONCB
  
  
    Deuteronomy 27 in the BONLT
  
  
    Deuteronomy 27 in the BONUT2
  
  
    Deuteronomy 27 in the BOPLNT
  
  
    Deuteronomy 27 in the BOSCB
  
  
    Deuteronomy 27 in the BOSNC
  
  
    Deuteronomy 27 in the BOTLNT
  
  
    Deuteronomy 27 in the BOVCB
  
  
    Deuteronomy 27 in the BOYCB
  
  
    Deuteronomy 27 in the BPBB
  
  
    Deuteronomy 27 in the BPH
  
  
    Deuteronomy 27 in the BSB
  
  
    Deuteronomy 27 in the CCB
  
  
    Deuteronomy 27 in the CUV
  
  
    Deuteronomy 27 in the CUVS
  
  
    Deuteronomy 27 in the DBT
  
  
    Deuteronomy 27 in the DGDNT
  
  
    Deuteronomy 27 in the DHNT
  
  
    Deuteronomy 27 in the DNT
  
  
    Deuteronomy 27 in the ELBE
  
  
    Deuteronomy 27 in the EMTV
  
  
    Deuteronomy 27 in the ESV
  
  
    Deuteronomy 27 in the FBV
  
  
    Deuteronomy 27 in the FEB
  
  
    Deuteronomy 27 in the GGMNT
  
  
    Deuteronomy 27 in the GNT
  
  
    Deuteronomy 27 in the HARY
  
  
    Deuteronomy 27 in the HNT
  
  
    Deuteronomy 27 in the IRVA
  
  
    Deuteronomy 27 in the IRVB
  
  
    Deuteronomy 27 in the IRVG
  
  
    Deuteronomy 27 in the IRVH
  
  
    Deuteronomy 27 in the IRVK
  
  
    Deuteronomy 27 in the IRVM
  
  
    Deuteronomy 27 in the IRVM2
  
  
    Deuteronomy 27 in the IRVO
  
  
    Deuteronomy 27 in the IRVP
  
  
    Deuteronomy 27 in the IRVT
  
  
    Deuteronomy 27 in the IRVT2
  
  
    Deuteronomy 27 in the IRVU
  
  
    Deuteronomy 27 in the ISVN
  
  
    Deuteronomy 27 in the JSNT
  
  
    Deuteronomy 27 in the KAPI
  
  
    Deuteronomy 27 in the KBT1ETNIK
  
  
    Deuteronomy 27 in the KBV
  
  
    Deuteronomy 27 in the KJV
  
  
    Deuteronomy 27 in the KNFD
  
  
    Deuteronomy 27 in the LBA
  
  
    Deuteronomy 27 in the LBLA
  
  
    Deuteronomy 27 in the LNT
  
  
    Deuteronomy 27 in the LSV
  
  
    Deuteronomy 27 in the MAAL
  
  
    Deuteronomy 27 in the MBV
  
  
    Deuteronomy 27 in the MBV2
  
  
    Deuteronomy 27 in the MHNT
  
  
    Deuteronomy 27 in the MKNFD
  
  
    Deuteronomy 27 in the MNG
  
  
    Deuteronomy 27 in the MNT
  
  
    Deuteronomy 27 in the MNT2
  
  
    Deuteronomy 27 in the MRS1T
  
  
    Deuteronomy 27 in the NAA
  
  
    Deuteronomy 27 in the NASB
  
  
    Deuteronomy 27 in the NBLA
  
  
    Deuteronomy 27 in the NBS
  
  
    Deuteronomy 27 in the NBVTP
  
  
    Deuteronomy 27 in the NET2
  
  
    Deuteronomy 27 in the NIV11
  
  
    Deuteronomy 27 in the NNT
  
  
    Deuteronomy 27 in the NNT2
  
  
    Deuteronomy 27 in the NNT3
  
  
    Deuteronomy 27 in the PDDPT
  
  
    Deuteronomy 27 in the PFNT
  
  
    Deuteronomy 27 in the RMNT
  
  
    Deuteronomy 27 in the SBIAS
  
  
    Deuteronomy 27 in the SBIBS
  
  
    Deuteronomy 27 in the SBIBS2
  
  
    Deuteronomy 27 in the SBICS
  
  
    Deuteronomy 27 in the SBIDS
  
  
    Deuteronomy 27 in the SBIGS
  
  
    Deuteronomy 27 in the SBIHS
  
  
    Deuteronomy 27 in the SBIIS
  
  
    Deuteronomy 27 in the SBIIS2
  
  
    Deuteronomy 27 in the SBIIS3
  
  
    Deuteronomy 27 in the SBIKS
  
  
    Deuteronomy 27 in the SBIKS2
  
  
    Deuteronomy 27 in the SBIMS
  
  
    Deuteronomy 27 in the SBIOS
  
  
    Deuteronomy 27 in the SBIPS
  
  
    Deuteronomy 27 in the SBISS
  
  
    Deuteronomy 27 in the SBITS
  
  
    Deuteronomy 27 in the SBITS2
  
  
    Deuteronomy 27 in the SBITS3
  
  
    Deuteronomy 27 in the SBITS4
  
  
    Deuteronomy 27 in the SBIUS
  
  
    Deuteronomy 27 in the SBIVS
  
  
    Deuteronomy 27 in the SBT
  
  
    Deuteronomy 27 in the SBT1E
  
  
    Deuteronomy 27 in the SCHL
  
  
    Deuteronomy 27 in the SNT
  
  
    Deuteronomy 27 in the SUSU
  
  
    Deuteronomy 27 in the SUSU2
  
  
    Deuteronomy 27 in the SYNO
  
  
    Deuteronomy 27 in the TBIAOTANT
  
  
    Deuteronomy 27 in the TBT1E
  
  
    Deuteronomy 27 in the TBT1E2
  
  
    Deuteronomy 27 in the TFTIP
  
  
    Deuteronomy 27 in the TFTU
  
  
    Deuteronomy 27 in the TGNTATF3T
  
  
    Deuteronomy 27 in the THAI
  
  
    Deuteronomy 27 in the TNFD
  
  
    Deuteronomy 27 in the TNT
  
  
    Deuteronomy 27 in the TNTIK
  
  
    Deuteronomy 27 in the TNTIL
  
  
    Deuteronomy 27 in the TNTIN
  
  
    Deuteronomy 27 in the TNTIP
  
  
    Deuteronomy 27 in the TNTIZ
  
  
    Deuteronomy 27 in the TOMA
  
  
    Deuteronomy 27 in the TTENT
  
  
    Deuteronomy 27 in the UBG
  
  
    Deuteronomy 27 in the UGV
  
  
    Deuteronomy 27 in the UGV2
  
  
    Deuteronomy 27 in the UGV3
  
  
    Deuteronomy 27 in the VBL
  
  
    Deuteronomy 27 in the VDCC
  
  
    Deuteronomy 27 in the YALU
  
  
    Deuteronomy 27 in the YAPE
  
  
    Deuteronomy 27 in the YBVTP
  
  
    Deuteronomy 27 in the ZBP