Deuteronomy 30 (BOLCB)
1 Emikisa n’ebikolimo ebyo byonna bye nkutegeezezza, bwe binaakutuukangako n’ojjukiranga ng’oli eyo mu nsi ezo zonna MUKAMA Katonda wo gy’anaabanga akusaasaanyizza, 2 n’okyuka n’odda eri MUKAMA Katonda wo, n’omugonderanga, n’abaana bo bonna, n’omutima gwo gwonna, n’emmeeme yo yonna, nga bwe nkulagira leero, 3 kale MUKAMA Katonda wo anaakusaasiranga n’akuzza mu mbeera yo ennungi eneekweyagazanga, ng’akuwumbyewumbye okukuggya eyo gy’anaabanga akusaasaanyirizza. 4 Newaakubadde onoobanga owaŋŋangusiriddwa mu nsi esinga okubeera ey’ewala ennyo wansi w’eggulu, MUKAMA Katonda wo anaakukuŋŋaanyangayo, n’akuggyayo n’akukomyawo. 5 MUKAMA Katonda wo anaakukomyangawo mu nsi bajjajjaabo gye baafuna, naawe onoogifunanga. Alikugaggawaza era n’akwaza nnyo okukira bajjajjaabo. 6 MUKAMA Katonda wo alikomola omutima gwo, n’omutima gwa bazzukulu bo, bw’otyo oyagalanga MUKAMA Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’emmeeme yo yonna, olyoke obeerenga omulamu. 7 MUKAMA Katonda wo aliteeka ebikolimo ebyo byonna ku balabe bo ne ku abo abanaakuyigganyanga. 8 Bw’otyo n’oddamu okugonderanga MUKAMA Katonda ng’okwata amateeka ge, ge nkulagira leero. 9 Bw’atyo MUKAMA Katonda wo alikugaggawaza mu buli kintu kyonna ky’onookolanga, mu bibala eby’omubiri gwo, ne mu bibala eby’ebisolo byo, ne mu bibala eby’ettaka lyo. MUKAMA alisanyuka nnyo okukugaggawazanga n’obeeranga bulungi, nga bwe kyamusanyusanga okugaggawazanga bajjajjaabo, 10 ng’ogondeddenga MUKAMA Katonda wo, n’okwatanga amateeka ge n’ebiragiro bye ebiwandiikiddwa mu Kitabo eky’Amateeka kino, n’odda eri MUKAMA Katonda wo n’omukyukiranga n’omutima gwo gwonna, n’emmeeme yo yonna. 11 Etteeka lye nkulagira leero terisaana kukukaluubirira, kubanga terikuli wala nnyo. 12 Teriri mu ggulu, n’okugamba ne kikugambisa nti, “Ani anaatulinnyirayo mu ggulu n’atulireeterayo tulyoke tuliwulire tuligonderenga?” 13 So teriri mitala wa nnyanja, olyoke ogambe nti, “Ani anaatusomokera ennyanja, alituleetere tuwulire bye ligamba, tuligondere?” 14 Nedda, ekigambo kiri kumpi ddala ne w’oli, kiri mu kamwa ko ne mu mutima gwo, olyoke okigondere. 15 Kale laba, olwa leero ntadde mu maaso go obulamu n’okufa. 16 Kubanga nkulagira leero okwagalanga MUKAMA Katonda wo, okutambuliranga mu makubo ge, awamu n’okukwatanga amateeka ge n’okugobereranga ebiragiro bye byonna. Bw’onookolanga bw’otyo ojjanga kuba mulamu era oyale, ne MUKAMA Katonda wo anaakuwanga omukisa ng’oli mu nsi gy’oyingira okugifuna. 17 Naye omutima gwo bwe gunaakyamanga n’otowulira, era bw’onoosendebwasendebwanga okusinzanga bakatonda abalala n’okubaweerezanga, 18 mbalangirira leero nti, Mugenda kuzikirizibwa; era temuliwangaala mu nsi gy’ogenda okusomokera omugga Yoludaani okugiyingira okugifuna. 19 Ku lunaku lwa leero nkoowoola eggulu n’ensi nga be bajulirwa bange, ku mmwe, abategedde nga ntadde mu maaso gammwe, obulamu n’okufa; n’emikisa n’ebikolimo. Kale nno londawo obulamu, olyoke obeerenga mulamu, ggwe n’ezzadde lyo: 20 ng’oyagalanga MUKAMA Katonda wo, ng’owuliranga eddoboozi lye, era nga weekwatira ddala ku ye. Kubanga MUKAMA bwe bulamu bwo n’okuwangaala; alyoke akuwenga emyaka mingi mu nsi MUKAMA gye yalayirira okugiwa bajjajjaabo: Ibulayimu, ne Isaaka, ne Yakobo.
In Other Versions
Deuteronomy 30 in the ANGEFD
Deuteronomy 30 in the ANTPNG2D
Deuteronomy 30 in the AS21
Deuteronomy 30 in the BAGH
Deuteronomy 30 in the BBPNG
Deuteronomy 30 in the BBT1E
Deuteronomy 30 in the BDS
Deuteronomy 30 in the BEV
Deuteronomy 30 in the BHAD
Deuteronomy 30 in the BIB
Deuteronomy 30 in the BLPT
Deuteronomy 30 in the BNT
Deuteronomy 30 in the BNTABOOT
Deuteronomy 30 in the BNTLV
Deuteronomy 30 in the BOATCB
Deuteronomy 30 in the BOATCB2
Deuteronomy 30 in the BOBCV
Deuteronomy 30 in the BOCNT
Deuteronomy 30 in the BOECS
Deuteronomy 30 in the BOGWICC
Deuteronomy 30 in the BOHCB
Deuteronomy 30 in the BOHCV
Deuteronomy 30 in the BOHLNT
Deuteronomy 30 in the BOHNTLTAL
Deuteronomy 30 in the BOICB
Deuteronomy 30 in the BOILNTAP
Deuteronomy 30 in the BOITCV
Deuteronomy 30 in the BOKCV
Deuteronomy 30 in the BOKCV2
Deuteronomy 30 in the BOKHWOG
Deuteronomy 30 in the BOKSSV
Deuteronomy 30 in the BOLCB2
Deuteronomy 30 in the BOMCV
Deuteronomy 30 in the BONAV
Deuteronomy 30 in the BONCB
Deuteronomy 30 in the BONLT
Deuteronomy 30 in the BONUT2
Deuteronomy 30 in the BOPLNT
Deuteronomy 30 in the BOSCB
Deuteronomy 30 in the BOSNC
Deuteronomy 30 in the BOTLNT
Deuteronomy 30 in the BOVCB
Deuteronomy 30 in the BOYCB
Deuteronomy 30 in the BPBB
Deuteronomy 30 in the BPH
Deuteronomy 30 in the BSB
Deuteronomy 30 in the CCB
Deuteronomy 30 in the CUV
Deuteronomy 30 in the CUVS
Deuteronomy 30 in the DBT
Deuteronomy 30 in the DGDNT
Deuteronomy 30 in the DHNT
Deuteronomy 30 in the DNT
Deuteronomy 30 in the ELBE
Deuteronomy 30 in the EMTV
Deuteronomy 30 in the ESV
Deuteronomy 30 in the FBV
Deuteronomy 30 in the FEB
Deuteronomy 30 in the GGMNT
Deuteronomy 30 in the GNT
Deuteronomy 30 in the HARY
Deuteronomy 30 in the HNT
Deuteronomy 30 in the IRVA
Deuteronomy 30 in the IRVB
Deuteronomy 30 in the IRVG
Deuteronomy 30 in the IRVH
Deuteronomy 30 in the IRVK
Deuteronomy 30 in the IRVM
Deuteronomy 30 in the IRVM2
Deuteronomy 30 in the IRVO
Deuteronomy 30 in the IRVP
Deuteronomy 30 in the IRVT
Deuteronomy 30 in the IRVT2
Deuteronomy 30 in the IRVU
Deuteronomy 30 in the ISVN
Deuteronomy 30 in the JSNT
Deuteronomy 30 in the KAPI
Deuteronomy 30 in the KBT1ETNIK
Deuteronomy 30 in the KBV
Deuteronomy 30 in the KJV
Deuteronomy 30 in the KNFD
Deuteronomy 30 in the LBA
Deuteronomy 30 in the LBLA
Deuteronomy 30 in the LNT
Deuteronomy 30 in the LSV
Deuteronomy 30 in the MAAL
Deuteronomy 30 in the MBV
Deuteronomy 30 in the MBV2
Deuteronomy 30 in the MHNT
Deuteronomy 30 in the MKNFD
Deuteronomy 30 in the MNG
Deuteronomy 30 in the MNT
Deuteronomy 30 in the MNT2
Deuteronomy 30 in the MRS1T
Deuteronomy 30 in the NAA
Deuteronomy 30 in the NASB
Deuteronomy 30 in the NBLA
Deuteronomy 30 in the NBS
Deuteronomy 30 in the NBVTP
Deuteronomy 30 in the NET2
Deuteronomy 30 in the NIV11
Deuteronomy 30 in the NNT
Deuteronomy 30 in the NNT2
Deuteronomy 30 in the NNT3
Deuteronomy 30 in the PDDPT
Deuteronomy 30 in the PFNT
Deuteronomy 30 in the RMNT
Deuteronomy 30 in the SBIAS
Deuteronomy 30 in the SBIBS
Deuteronomy 30 in the SBIBS2
Deuteronomy 30 in the SBICS
Deuteronomy 30 in the SBIDS
Deuteronomy 30 in the SBIGS
Deuteronomy 30 in the SBIHS
Deuteronomy 30 in the SBIIS
Deuteronomy 30 in the SBIIS2
Deuteronomy 30 in the SBIIS3
Deuteronomy 30 in the SBIKS
Deuteronomy 30 in the SBIKS2
Deuteronomy 30 in the SBIMS
Deuteronomy 30 in the SBIOS
Deuteronomy 30 in the SBIPS
Deuteronomy 30 in the SBISS
Deuteronomy 30 in the SBITS
Deuteronomy 30 in the SBITS2
Deuteronomy 30 in the SBITS3
Deuteronomy 30 in the SBITS4
Deuteronomy 30 in the SBIUS
Deuteronomy 30 in the SBIVS
Deuteronomy 30 in the SBT
Deuteronomy 30 in the SBT1E
Deuteronomy 30 in the SCHL
Deuteronomy 30 in the SNT
Deuteronomy 30 in the SUSU
Deuteronomy 30 in the SUSU2
Deuteronomy 30 in the SYNO
Deuteronomy 30 in the TBIAOTANT
Deuteronomy 30 in the TBT1E
Deuteronomy 30 in the TBT1E2
Deuteronomy 30 in the TFTIP
Deuteronomy 30 in the TFTU
Deuteronomy 30 in the TGNTATF3T
Deuteronomy 30 in the THAI
Deuteronomy 30 in the TNFD
Deuteronomy 30 in the TNT
Deuteronomy 30 in the TNTIK
Deuteronomy 30 in the TNTIL
Deuteronomy 30 in the TNTIN
Deuteronomy 30 in the TNTIP
Deuteronomy 30 in the TNTIZ
Deuteronomy 30 in the TOMA
Deuteronomy 30 in the TTENT
Deuteronomy 30 in the UBG
Deuteronomy 30 in the UGV
Deuteronomy 30 in the UGV2
Deuteronomy 30 in the UGV3
Deuteronomy 30 in the VBL
Deuteronomy 30 in the VDCC
Deuteronomy 30 in the YALU
Deuteronomy 30 in the YAPE
Deuteronomy 30 in the YBVTP
Deuteronomy 30 in the ZBP