Ecclesiastes 9 (BOLCB)

1 Awo ne ndowooza ku ebyo, ne nzuula ng’omutuukirivu n’omugezi bye bakola biri mu mukono gwa Katonda; naye tewali muntu n’omu amanyi obanga kwagalibwa oba kukyayibwa bye bimulindiridde. 2 Omutuukirivu n’omwonoonyi, omulungi n’omubi, omuyonjo n’omujama, abo abawaayo ssaddaaka n’abo abatagiwaayo bonna gye bagenda y’emu.Nga bwe kiri eri omuntu omulungi,era bwe kiri n’eri omwonoonyi;Nga bwe kiri eri abo abalayira,era bwe kiri n’eri abo abatya okulayira. 3 Bonna ekibalindiridde kimu; kano ke kabi akabeera wansi w’enjuba. Ate emitima gy’abantu mu bulamu buno giraluse gijjudde ebibi, bayaayaanira buli kimu; n’oluvannyuma ne bakka emagombe eri bannaabwe. 4 Naye omuntu omulamu aba n’essuubi, wadde embwa ennamu esinga empologoma enfu! 5 Kubanga buli kiramu kimanya nga kya kufa,naye abafu tebaliiko kye bamanyi:tebakyagasawadde okujjukirwa. 6 Okwagala kwabwe, n’obukyayi bwabwe,n’obuggya bwabwe nga bizikiridde;nga tebakyetaba mu ebyo byonnaebikolebwa wansi w’enjuba. 7 Genda olye emmere yo ng’osanyuka, onywe ne wayini wo nga weeyagala; kubanga Katonda asiimye ky’okola. 8 Yambalanga engoye ennyonjo, era weesiigenga n’ebyakaloosa. 9 Ssanyukanga ne mukyala wo gw’oyagala ennaku zo zonna, mu bulamu buno obutaliimu, Katonda bw’akuwadde wansi w’enjuba, kubanga ekyo gwe mugabo gwo mu kutegana kwo kw’oteganamu wansi w’enjuba. 10 Buli omukono gwo kye gugenda okukola, kikole n’amaanyi go gonna; kubanga teri mulimu wadde okulowooza, oba okutegeera wadde amagezi emagombe gy’olaga. 11 Ate nalaba nga wansi w’enjuba,ng’ow’embiro ennyingi si y’awangula mu mpaka,era ne kirimaanyi si y’awangula olutalo,ng’ate bakalimagezi bonna si be baatiikirira;wabula ng’omukisa gukwata bukwasi oyoaba aliwo mu kifo ekituufu ne mu kiseera ekituufu. 12 Kubanga omuntu tamanya kinaamubaako.Ng’ekyenyanja bwe kikwatibwa mu muyonjo,oba ennyonyi nga bw’egwa ku mutego,n’abaana b’omuntu bwe batyo bwe beesanga mu biseera eby’akabi,ebibatuukako nga tebabyetegekedde. 13 Era ekirala kye nalaba ekyampuniikiriza ennyo kye kino: 14 waaliwo akabuga nga kalimu abantu batono ddala, kabaka ow’amaanyi n’ajja n’akazingiza n’akazimbako ekigo ekinene. 15 Mu kabuga ako mwalimu omusajja omugezi, omwavu, ng’amanyi eky’okukola okuwonya akabuga ako, bw’atyo mu magezi ge ne kanunulwa. Naye nno ne wabulawo amujjukira. 16 Awo ne ndaba nti newaakubadde ng’amagezi gasinga amaanyi, naye ow’amagezi bw’aba omwavu, anyoomebwa, ne ky’ayogera tekissibwako mwoyo. 17 Naye ne bwe kiba kityo, ebigambo eby’ekimpowooze ebiva mu kamwa k’omugezi bissibwako omwoyo,okusinga okuleekaana kw’omufuzi w’abasirusiru. 18 Amagezi gasinga ebyokulwanyisa mu lutalo,naye omwonoonyi omu azikiriza ebirungi bingi.

In Other Versions

Ecclesiastes 9 in the ANGEFD

Ecclesiastes 9 in the ANTPNG2D

Ecclesiastes 9 in the AS21

Ecclesiastes 9 in the BAGH

Ecclesiastes 9 in the BBPNG

Ecclesiastes 9 in the BBT1E

Ecclesiastes 9 in the BDS

Ecclesiastes 9 in the BEV

Ecclesiastes 9 in the BHAD

Ecclesiastes 9 in the BIB

Ecclesiastes 9 in the BLPT

Ecclesiastes 9 in the BNT

Ecclesiastes 9 in the BNTABOOT

Ecclesiastes 9 in the BNTLV

Ecclesiastes 9 in the BOATCB

Ecclesiastes 9 in the BOATCB2

Ecclesiastes 9 in the BOBCV

Ecclesiastes 9 in the BOCNT

Ecclesiastes 9 in the BOECS

Ecclesiastes 9 in the BOGWICC

Ecclesiastes 9 in the BOHCB

Ecclesiastes 9 in the BOHCV

Ecclesiastes 9 in the BOHLNT

Ecclesiastes 9 in the BOHNTLTAL

Ecclesiastes 9 in the BOICB

Ecclesiastes 9 in the BOILNTAP

Ecclesiastes 9 in the BOITCV

Ecclesiastes 9 in the BOKCV

Ecclesiastes 9 in the BOKCV2

Ecclesiastes 9 in the BOKHWOG

Ecclesiastes 9 in the BOKSSV

Ecclesiastes 9 in the BOLCB2

Ecclesiastes 9 in the BOMCV

Ecclesiastes 9 in the BONAV

Ecclesiastes 9 in the BONCB

Ecclesiastes 9 in the BONLT

Ecclesiastes 9 in the BONUT2

Ecclesiastes 9 in the BOPLNT

Ecclesiastes 9 in the BOSCB

Ecclesiastes 9 in the BOSNC

Ecclesiastes 9 in the BOTLNT

Ecclesiastes 9 in the BOVCB

Ecclesiastes 9 in the BOYCB

Ecclesiastes 9 in the BPBB

Ecclesiastes 9 in the BPH

Ecclesiastes 9 in the BSB

Ecclesiastes 9 in the CCB

Ecclesiastes 9 in the CUV

Ecclesiastes 9 in the CUVS

Ecclesiastes 9 in the DBT

Ecclesiastes 9 in the DGDNT

Ecclesiastes 9 in the DHNT

Ecclesiastes 9 in the DNT

Ecclesiastes 9 in the ELBE

Ecclesiastes 9 in the EMTV

Ecclesiastes 9 in the ESV

Ecclesiastes 9 in the FBV

Ecclesiastes 9 in the FEB

Ecclesiastes 9 in the GGMNT

Ecclesiastes 9 in the GNT

Ecclesiastes 9 in the HARY

Ecclesiastes 9 in the HNT

Ecclesiastes 9 in the IRVA

Ecclesiastes 9 in the IRVB

Ecclesiastes 9 in the IRVG

Ecclesiastes 9 in the IRVH

Ecclesiastes 9 in the IRVK

Ecclesiastes 9 in the IRVM

Ecclesiastes 9 in the IRVM2

Ecclesiastes 9 in the IRVO

Ecclesiastes 9 in the IRVP

Ecclesiastes 9 in the IRVT

Ecclesiastes 9 in the IRVT2

Ecclesiastes 9 in the IRVU

Ecclesiastes 9 in the ISVN

Ecclesiastes 9 in the JSNT

Ecclesiastes 9 in the KAPI

Ecclesiastes 9 in the KBT1ETNIK

Ecclesiastes 9 in the KBV

Ecclesiastes 9 in the KJV

Ecclesiastes 9 in the KNFD

Ecclesiastes 9 in the LBA

Ecclesiastes 9 in the LBLA

Ecclesiastes 9 in the LNT

Ecclesiastes 9 in the LSV

Ecclesiastes 9 in the MAAL

Ecclesiastes 9 in the MBV

Ecclesiastes 9 in the MBV2

Ecclesiastes 9 in the MHNT

Ecclesiastes 9 in the MKNFD

Ecclesiastes 9 in the MNG

Ecclesiastes 9 in the MNT

Ecclesiastes 9 in the MNT2

Ecclesiastes 9 in the MRS1T

Ecclesiastes 9 in the NAA

Ecclesiastes 9 in the NASB

Ecclesiastes 9 in the NBLA

Ecclesiastes 9 in the NBS

Ecclesiastes 9 in the NBVTP

Ecclesiastes 9 in the NET2

Ecclesiastes 9 in the NIV11

Ecclesiastes 9 in the NNT

Ecclesiastes 9 in the NNT2

Ecclesiastes 9 in the NNT3

Ecclesiastes 9 in the PDDPT

Ecclesiastes 9 in the PFNT

Ecclesiastes 9 in the RMNT

Ecclesiastes 9 in the SBIAS

Ecclesiastes 9 in the SBIBS

Ecclesiastes 9 in the SBIBS2

Ecclesiastes 9 in the SBICS

Ecclesiastes 9 in the SBIDS

Ecclesiastes 9 in the SBIGS

Ecclesiastes 9 in the SBIHS

Ecclesiastes 9 in the SBIIS

Ecclesiastes 9 in the SBIIS2

Ecclesiastes 9 in the SBIIS3

Ecclesiastes 9 in the SBIKS

Ecclesiastes 9 in the SBIKS2

Ecclesiastes 9 in the SBIMS

Ecclesiastes 9 in the SBIOS

Ecclesiastes 9 in the SBIPS

Ecclesiastes 9 in the SBISS

Ecclesiastes 9 in the SBITS

Ecclesiastes 9 in the SBITS2

Ecclesiastes 9 in the SBITS3

Ecclesiastes 9 in the SBITS4

Ecclesiastes 9 in the SBIUS

Ecclesiastes 9 in the SBIVS

Ecclesiastes 9 in the SBT

Ecclesiastes 9 in the SBT1E

Ecclesiastes 9 in the SCHL

Ecclesiastes 9 in the SNT

Ecclesiastes 9 in the SUSU

Ecclesiastes 9 in the SUSU2

Ecclesiastes 9 in the SYNO

Ecclesiastes 9 in the TBIAOTANT

Ecclesiastes 9 in the TBT1E

Ecclesiastes 9 in the TBT1E2

Ecclesiastes 9 in the TFTIP

Ecclesiastes 9 in the TFTU

Ecclesiastes 9 in the TGNTATF3T

Ecclesiastes 9 in the THAI

Ecclesiastes 9 in the TNFD

Ecclesiastes 9 in the TNT

Ecclesiastes 9 in the TNTIK

Ecclesiastes 9 in the TNTIL

Ecclesiastes 9 in the TNTIN

Ecclesiastes 9 in the TNTIP

Ecclesiastes 9 in the TNTIZ

Ecclesiastes 9 in the TOMA

Ecclesiastes 9 in the TTENT

Ecclesiastes 9 in the UBG

Ecclesiastes 9 in the UGV

Ecclesiastes 9 in the UGV2

Ecclesiastes 9 in the UGV3

Ecclesiastes 9 in the VBL

Ecclesiastes 9 in the VDCC

Ecclesiastes 9 in the YALU

Ecclesiastes 9 in the YAPE

Ecclesiastes 9 in the YBVTP

Ecclesiastes 9 in the ZBP