Exodus 38 (BOLCB)
1 Yazimba ekyoto eky’ekiweebwayo ekyokebwa mu miti gy’akasiya, mita emu ne desimoolo ssatu obugulumivu, ne mita bbiri ne desimoolo ssatu obuwanvu, ate obugazi mita bbiri ne desimoolo ssatu. 2 Ku nsonda zaakyo ennya yakolerako amayembe; ng’ekyoto n’amayembe yabibajja bumu mu nduli y’omuti emu. Ekyoto kyonna n’alyoka akibikkako ekikomo. 3 Ate n’akola eby’okukozesa ku kyoto: ensaka, n’ebisena evvu, n’ebbensani, n’ewuuma z’ennyama, ne fulampeni. Ebyo byonna yabikola mu kikomo. 4 Ekyoto yakikolera ekitindiro eky’obutimba obw’ekikomo, n’akireebeeseza ku mukiikiro gw’ekyoto, n’akissa mu kyoto okutuuka mu makkati gaakyo. 5 N’akola empeta nnya ku nsonda ennya ez’ekitindiro ky’ekikomo nga ze z’okuwanirira emisituliro. 6 Emisituliro gino yagibajja mu muti gwa akasiya, n’agibikkako ekikomo. 7 N’asonseka emisituliro egyo ng’agiyisa mu mpeta mu mbiriizi z’ekyoto, gikozesebwenga ng’ekyoto kisitulwa. Yakikola n’embaawo nga wakati kya muwulukwa. 8 N’akola ebbensani ey’ekikomo n’akameeza kaayo, bye yaweesa okuva mu ndabirwamu ez’ekikomo ezaagabwa abakazi abaaweerezanga ku mulyango gw’Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu. 9 Ekyaddirira, yakola oluggya. Ku luuyi olw’obukiikaddyo, oluggya lwali obuwanvu mita amakumi ana mu mukaaga, nga lulina amagigi aga linena omulungi omulebevu alangiddwa, 10 n’ebikondo amakumi abiri, n’entobo mwe bituula ez’ekikomo amakumi abiri, nga kuliko amalobo aga ffeeza n’emikiikiro egya ffeeza. 11 Ne ku luuyi olw’obukiikakkono oluggya lwali obuwanvu mita ana mu mukaaga, n’ebikondo amakumi abiri, n’ebikolo byabyo mwe bituula eby’ekikomo amakumi abiri, nga ku bikondo kuliko amalobo aga ffeeza n’emikiikiro gyako gyali gya ffeeza. 12 Ku luuyi olw’ebugwanjuba oluggya lwali lwa mita amakumi abiri mu bbiri, ne desimoolo ttaano nga luliko entimbe, n’ebikondo kkumi, n’entobo kkumi; n’amalobo n’emikiikiro nga bya ffeeza. 13 Ne ku luuyi olw’ebuvanjuba oluggya lwali obugazi mita amakumi abiri mu bbiri n’obutundu butaano. 14 Ku ludda olumu olw’omulyango kwaliko amagigi obuwanvu mita mukaaga n’obutundu munaana, n’ebikondo bisatu n’entobo zaabyo ssatu. 15 Ne ku ludda olulala olw’omulyango nakwo kwaliko entimbe obuwanvu mita mukaaga n’obutundu munaana, era n’ebikondo bisatu n’entobo zaabyo ssatu. 16 Entimbe zonna okwebungulula oluggya zaali za linena omulungi omulebevu alangiddwa. 17 Entobo z’ebikondo zaali za kikomo, naye amalobo n’emikiikiro gyako nga bya ffeeza, ne ku mitwe gyabyo nga kubikkiddwako ffeeza; bwe bityo ebikondo byonna eby’omu luggya byaliko emikiikiro gya ffeeza. 18 Olutimbe olw’omu mulyango gw’oluggya lwakolebwa mu linena omulungi omulebevu alangiddwa obulungi, nga lutungiddwamu amajjolobera mu wuzi eza bbululu, ne kakobe ne myufu. Lwali luweza obuwanvu mita mwenda n’obugulumivu mita bbiri n’obutundu busatu, ng’entimbe ez’oluggya bwe zaali. 19 Lwalina empagi nnya, n’entobo zaazo nnya nga za kikomo, n’amalobo gaazo n’emikiikiro nga bya ffeeza, ne kungulu kwonna ne kubikkibwako ffeeza. 20 Enkondo zonna ez’Eweema n’okwebungulula oluggya zaali za kikomo. 21 Bino bye bintu byonna ebyakozesebwa ku Weema, Eweema ya MUKAMA ey’Obujulizi, nga Musa bwe yalagira okubibala bikozesebwe Abaleevi nga balabirirwa Isamaali mutabani wa Alooni kabona. 22 Bezaaleeri, mutabani wa Uli muzzukulu wa Kuuli, ow’omu kika kya Yuda, n’akola ebyo byonna MUKAMA bye yalagira Musa; 23 baakolera wamu ne Okoliyaabu, mutabani wa Akisamaki ow’omu kika kya Ddaani, eyali omukugu ennyo mu kwola ne mu kutetenkanya, n’okutunga amajjolobera mu linena ennungi endebevu ennange n’ewuzi eza bbululu ne kakobe ne myufu. 24 Zaabu yenna eyali aweereddwayo eri MUKAMA, eyakozesebwa mu kuzimba ekifo ekitukuvu, yali nga ttani emu, ng’okupima kw’Awatukuvu okutongole bwe kuli. 25 Ne ffeeza eyaweebwayo abaabalibwa nga bava mu kibiina mu kubala abantu, yali wa kilo enkumi ssatu mu ebikumi bina, ng’okupima kw’Awatukuvu okutongole bwe kuli. 26 Noolwekyo, buli muntu yawangayo gulaamu ttaano ne desimoolo ttaano ng’okupima kw’Awatukuvu okutongole bwe kuli ng’aweebwayo abo abaabalibwa nga bava ku myaka egy’obukulu amakumi abiri n’okweyongerayo, bonna baawera abasajja obusiriivu mukaaga mu enkumi ssatu mu bitaano mu ataano. 27 Ffeeza ow’obuzito bwa kilo enkumi ssatu mu ebikumi bina ye yasaanuusibwa okukolamu entobo ekikumi ez’Awatukuvu n’eggigi: noolwekyo, nga buli kilo amakumi asatu mu nnya zikola entobo emu. 28 Kilo amakumi asatu ezaasigalawo zaakolwamu amalobo ag’oku bikondo n’emikiikiro gyabyo, n’okubikka ku mitwe gy’ebikondo. 29 Ekikomo ekyaweebwayo eri MUKAMA olw’ekiweebwayo ekiwuubibwa kyali kilo enkumi bbiri mu ebikumi bina. 30 Omwo Bezaaleeri mwe yakola ekituurwamu eky’omulyango gw’Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu, n’ekyoto eky’ekikomo, n’ekitindiro eky’obutimba eky’ekikomo, n’ebikozesebwa ebirala byonna eby’ekyoto, 31 n’ekituurwamu okwebungulula oluggya, n’ekituurwamu eky’omulyango omunene ogw’oluggya, n’enkondo zonna ez’Eweema, n’enkondo zonna okwebungulula oluggya.