Exodus 7 (BOLCB)
1 Awo MUKAMA n’agamba Musa nti, “Laba, nkufudde nga Katonda awali Falaawo, ne muganda wo Alooni y’ajja okubeera nnabbi wo. 2 Ojjanga kwogera bye nkulagira, ne muganda wo Alooni ayogere ne Falaawo asobole okuleka abaana ba Isirayiri bave mu nsi ye. 3 Naye ndikakanyaza omutima gwa Falaawo; ne bwe ndikolera ebyamagero ebingi ennyo mu nsi y’e Misiri, 4 tagenda kubawuliriza. Ndirumba Misiri n’amaanyi, ne ngisalira omusango, ne ndyoka nzigyayo abantu bange Abayisirayiri bonna. 5 Era Abamisiri balitegeera nti Nze MUKAMA, bwe ndirumba Misiri n’amaanyi ne nzigyayo Abayisirayiri.” 6 Awo Musa ne Alooni ne bakola nga MUKAMA bwe yabalagira. 7 We baayogerera ne Falaawo, Musa yali aweza emyaka kinaana egy’obukulu, ne Alooni ng’aweza emyaka kinaana mu esatu. 8 MUKAMA n’agamba Musa ne Alooni nti, 9 “Falaawo bw’anaabagamba nti, ‘Mukoleeyo ekyamagero,’ nga ggwe ogamba Alooni nti, ‘Ddira omuggo gwo ogusuule wansi awali Falaawo,’ era gunaafuuka omusota.” 10 Awo Musa ne Alooni ne bagenda ewa Falaawo, ne bakola nga MUKAMA bwe yabalagira. Alooni n’asuula omuggo gwe wansi awali Falaawo n’abaweereza be, ne gufuuka omusota. 11 Falaawo naye n’atumya basajja be abagezigezi, n’abalogo; abakujjukujju abo Abamisiri ne bakola ekintu kye kimu mu magezi gaabwe ag’ekyama. 12 Kubanga nabo baasuula wansi emiggo gyabwe, ne gifuuka emisota; naye omuggo gwa Alooni ne gumira emiggo gyabwe. 13 Naye era omutima gwa Falaawo ne gukakanyala, nga MUKAMA bwe yali agambye. 14 Awo MUKAMA n’agamba Musa nti, “Omutima gwa Falaawo gukakanyadde, era agaanye okuleka abantu okugenda. 15 Mu makya genda eri Falaawo ng’afuluma okulaga ku mazzi, omulindirire ku lubalama lw’omugga Kiyira. Era twala n’omuggo ogwafuuka omusota. 16 Olyoke omugambe nti, ‘MUKAMA Katonda wa Abaebbulaniya yantuma gy’oli ng’agamba nti, Leka abantu bange bajje mu ddungu bansinze; naye, laba, n’okutuusa leero okyagaanyi okuŋŋondera.’ 17 Bw’ati bw’ayogera MUKAMA nti, ‘Ku kino kw’olitegeerera nga nze MUKAMA: laba ndikuba ku mazzi agali mu mugga, n’omuggo oguli mu mukono gwange, era galifuuka musaayi, 18 n’ebyennyanja ebiri mu mugga birifa, n’omugga guliwunya; era n’Abamisiri nga tebakyayagala kunywa ku mazzi gaagwo.’ ” 19 MUKAMA n’agamba Musa nti, “Tegeeza Alooni nti, ‘Twala omuggo gwo ogwolekeze amazzi gonna mu Misiri: ku migga gyabwe, n’emikutu gyabwe, n’obuyanja bwabwe, n’ebidiba byabwe, byonna bifuuke musaayi. Era wagenda kubeerawo omusaayi mu nsi yonna ey’e Misiri: mu ntiba ez’emiti ne mu matogero ag’amayinja.’ ” 20 Awo Musa ne Alooni ne bakola nga MUKAMA bwe yabalagira. Alooni n’addira omuggo gwe n’akuba ku mazzi ag’omu mugga, nga Falaawo n’abaweereza be balaba; amazzi gonna ag’omu mugga ne gafuuka omusaayi. 21 Era n’ebyennyanja byonna mu mugga Kiyira ne bifa. Omugga ne guwunya, Abamisiri nga tebakyasobola kunywa mazzi ga mu mugga Kiyira; omusaayi ne gubuna wonna mu nsi y’e Misiri. 22 Abalogo ab’omu Misiri nabo ne bakola bwe batyo mu magezi gaabwe ag’ekyama. Omutima gwa Falaawo ne gweyongera okukakanyala, ebya Musa ne Alooni n’atabiwuliriza era nga MUKAMA bwe yali agambye; 23 n’akyuka ne yeddirayo mu lubiri lwe, nga byonna ebibaddewo tabissizzaako mwoyo. 24 Abamisiri bonna ne basimaasima okumpi n’omugga nga banoonya amazzi ag’okunywa, kubanga amazzi g’omu mugga nga tegakyanyweka. 25 Awo ne wayitawo ennaku musanvu okuva ku lunaku MUKAMA lwe yakubirako omugga.
In Other Versions
Exodus 7 in the ANGEFD
Exodus 7 in the ANTPNG2D
Exodus 7 in the AS21
Exodus 7 in the BAGH
Exodus 7 in the BBPNG
Exodus 7 in the BBT1E
Exodus 7 in the BDS
Exodus 7 in the BEV
Exodus 7 in the BHAD
Exodus 7 in the BIB
Exodus 7 in the BLPT
Exodus 7 in the BNT
Exodus 7 in the BNTABOOT
Exodus 7 in the BNTLV
Exodus 7 in the BOATCB
Exodus 7 in the BOATCB2
Exodus 7 in the BOBCV
Exodus 7 in the BOCNT
Exodus 7 in the BOECS
Exodus 7 in the BOGWICC
Exodus 7 in the BOHCB
Exodus 7 in the BOHCV
Exodus 7 in the BOHLNT
Exodus 7 in the BOHNTLTAL
Exodus 7 in the BOICB
Exodus 7 in the BOILNTAP
Exodus 7 in the BOITCV
Exodus 7 in the BOKCV
Exodus 7 in the BOKCV2
Exodus 7 in the BOKHWOG
Exodus 7 in the BOKSSV
Exodus 7 in the BOLCB2
Exodus 7 in the BOMCV
Exodus 7 in the BONAV
Exodus 7 in the BONCB
Exodus 7 in the BONLT
Exodus 7 in the BONUT2
Exodus 7 in the BOPLNT
Exodus 7 in the BOSCB
Exodus 7 in the BOSNC
Exodus 7 in the BOTLNT
Exodus 7 in the BOVCB
Exodus 7 in the BOYCB
Exodus 7 in the BPBB
Exodus 7 in the BPH
Exodus 7 in the BSB
Exodus 7 in the CCB
Exodus 7 in the CUV
Exodus 7 in the CUVS
Exodus 7 in the DBT
Exodus 7 in the DGDNT
Exodus 7 in the DHNT
Exodus 7 in the DNT
Exodus 7 in the ELBE
Exodus 7 in the EMTV
Exodus 7 in the ESV
Exodus 7 in the FBV
Exodus 7 in the FEB
Exodus 7 in the GGMNT
Exodus 7 in the GNT
Exodus 7 in the HARY
Exodus 7 in the HNT
Exodus 7 in the IRVA
Exodus 7 in the IRVB
Exodus 7 in the IRVG
Exodus 7 in the IRVH
Exodus 7 in the IRVK
Exodus 7 in the IRVM
Exodus 7 in the IRVM2
Exodus 7 in the IRVO
Exodus 7 in the IRVP
Exodus 7 in the IRVT
Exodus 7 in the IRVT2
Exodus 7 in the IRVU
Exodus 7 in the ISVN
Exodus 7 in the JSNT
Exodus 7 in the KAPI
Exodus 7 in the KBT1ETNIK
Exodus 7 in the KBV
Exodus 7 in the KJV
Exodus 7 in the KNFD
Exodus 7 in the LBA
Exodus 7 in the LBLA
Exodus 7 in the LNT
Exodus 7 in the LSV
Exodus 7 in the MAAL
Exodus 7 in the MBV
Exodus 7 in the MBV2
Exodus 7 in the MHNT
Exodus 7 in the MKNFD
Exodus 7 in the MNG
Exodus 7 in the MNT
Exodus 7 in the MNT2
Exodus 7 in the MRS1T
Exodus 7 in the NAA
Exodus 7 in the NASB
Exodus 7 in the NBLA
Exodus 7 in the NBS
Exodus 7 in the NBVTP
Exodus 7 in the NET2
Exodus 7 in the NIV11
Exodus 7 in the NNT
Exodus 7 in the NNT2
Exodus 7 in the NNT3
Exodus 7 in the PDDPT
Exodus 7 in the PFNT
Exodus 7 in the RMNT
Exodus 7 in the SBIAS
Exodus 7 in the SBIBS
Exodus 7 in the SBIBS2
Exodus 7 in the SBICS
Exodus 7 in the SBIDS
Exodus 7 in the SBIGS
Exodus 7 in the SBIHS
Exodus 7 in the SBIIS
Exodus 7 in the SBIIS2
Exodus 7 in the SBIIS3
Exodus 7 in the SBIKS
Exodus 7 in the SBIKS2
Exodus 7 in the SBIMS
Exodus 7 in the SBIOS
Exodus 7 in the SBIPS
Exodus 7 in the SBISS
Exodus 7 in the SBITS
Exodus 7 in the SBITS2
Exodus 7 in the SBITS3
Exodus 7 in the SBITS4
Exodus 7 in the SBIUS
Exodus 7 in the SBIVS
Exodus 7 in the SBT
Exodus 7 in the SBT1E
Exodus 7 in the SCHL
Exodus 7 in the SNT
Exodus 7 in the SUSU
Exodus 7 in the SUSU2
Exodus 7 in the SYNO
Exodus 7 in the TBIAOTANT
Exodus 7 in the TBT1E
Exodus 7 in the TBT1E2
Exodus 7 in the TFTIP
Exodus 7 in the TFTU
Exodus 7 in the TGNTATF3T
Exodus 7 in the THAI
Exodus 7 in the TNFD
Exodus 7 in the TNT
Exodus 7 in the TNTIK
Exodus 7 in the TNTIL
Exodus 7 in the TNTIN
Exodus 7 in the TNTIP
Exodus 7 in the TNTIZ
Exodus 7 in the TOMA
Exodus 7 in the TTENT
Exodus 7 in the UBG
Exodus 7 in the UGV
Exodus 7 in the UGV2
Exodus 7 in the UGV3
Exodus 7 in the VBL
Exodus 7 in the VDCC
Exodus 7 in the YALU
Exodus 7 in the YAPE
Exodus 7 in the YBVTP
Exodus 7 in the ZBP