Genesis 11 (BOLCB)

1 Ensi yonna yalina olulimi lumu, nga bakozesa ebigambo bye bimu. 2 Abantu bwe baava oluuyi olw’ebuvanjuba ne batuuka mu lusenyi nsi ya Sinaali ne babeera omwo. 3 Ne bateesa nti, “Mujje tukole amatoffaali, tugookye bulungi.” Ne baba n’amatoffaali mu kifo ky’amayinja, ne kolaasi mu kifo ky’ettosi. 4 Awo ne bagamba nti, “Mujje twezimbire ekibuga, tutuuse omunaala gwakyo ku ggulu; twekolere erinnya, tuleme okusaasaanyizibwa okubuna ensi yonna.” 5 Naye MUKAMA nakka okulaba ekibuga n’omunaala, abaana b’abantu kye baali bazimba. 6 MUKAMA n’ayogera nti, “Laba, bali omuntu omu, era boogera olulimi lumu! Era eno ntandikwa butandikwa ey’ebyo bye banaakola; era tewali kye banaateesa kukola ekinaabalemerera. 7 Mujje, tukke wansi tutabuletabule olulimi lwabwe, baleme kutegeeragana.” 8 Bw’atyo MUKAMA n’abasaasaanya ne babuna ensi yonna, n’ekibuga kyabwe ne batakimaliriza. 9 Ekibuga ekyo erinnya lyakyo kye lyava liyitibwa Babiri, kubanga eyo MUKAMA gye yatabuliratabulira olulimi lw’ensi yonna. Eyo MUKAMA gye yabasaasaanyiza okubuna ensi yonna. 10 Bino bye bifa ku b’olulyo lwa Seemu: Seemu bwe yali ng’aweza emyaka kikumi, n’azaala Alupakusaadi nga wakayita emyaka ebiri okuva ku mataba. 11 Seemu n’amala emyaka ebikumi bitaano nga Alupakusaadi amaze okusaalibwa. N’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala. 12 Alupakusaadi bwe yaweza emyaka asatu mu etaano n’azaala Seera, 13 Alupakusaadi bwe yamala okuzaala Seera n’awangaala emyaka emirala ebikumi bina mu esatu, omwo n’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala. 14 Seera bwe yaweza emyaka amakumi asatu n’azaala Eberi, 15 ate Seera n’aweza emyaka emirala ebikumi bina mu asatu ng’amaze okuzaala Eberi, era omwo n’azaaliramu abaana abalala aboobulenzi n’aboobuwala. 16 Eberi bwe yaweza emyaka amakumi asatu mu ena n’azaala Peregi. 17 Eberi bwe yamala okuzaala Peregi n’awangaala emyaka ebikumi bina mu amakumi asatu, omwo n’azaaliramu abaana abalala aboobulenzi n’aboobuwala. 18 Peregi bwe yaweza emyaka amakumi asatu n’azaala Leewo, 19 bwe yamala okuzaala Leewo n’awangaala emyaka emirala ebikumi bibiri mu mwenda, n’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala. 20 Leewo bwe yaweza emyaka amakumi asatu mu ebiri n’azaala Serugi. 21 N’awangaala emyaka emirala ebikumi bibiri mu musanvu. Omwo n’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala. 22 Serugi bwe yaweza emyaka amakumi asatu n’azaala Nakoli, 23 bwe yamala okuzaala Nakoli n’awangaala emyaka emirala ebikumi bibiri. Omwo n’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala. 24 Nakoli bwe yaweza emyaka amakumi abiri mu mwenda n’azaala Teera. 25 Bwe yamala okuzaala Teera n’awangaala emyaka emirala kikumi mu kkumi na mwenda, era omwo n’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala. 26 Teera bwe yaweza emyaka nsanvu, n’azaala Ibulaamu, ne Nakoli ne Kalani. 27 Bino bye bifa ku b’olulyo lwa Teera: Teera ye kitaawe wa Ibulaamu, ne Nakoli ne Kalani; Kalani ye yali kitaawe wa Lutti. 28 Kalani yafa nga kitaawe Teera tannafa. Yafiira mu Uli ey’Abakaludaaya mwe yazaalirwa. 29 Ibulaamu ne Nakoli ne bawasa; erinnya lya mukazi wa Ibulaamu lyali Salaayi, ate mukazi wa Nakoli nga ye Mirika, muwala wa Kalani, kitaawe wa Mirika ne Isika. 30 Salaayi yali mugumba, teyalina mwana. 31 Teera n’atwala Ibulaamu mutabani we Lutti muzzukulu we mutabani wa Kalani, ne Salaayi muka mutabani we Ibulaamu, ne bagenda bonna okuva mu Uli eky’Abakaludaaya okugenda mu nsi ya Kalani; bwe baatuuka mu Kalani, ne babeera omwo. 32 Emyaka gya Teera gyali ebikumi bibiri mu etaano; Teera n’afiira mu Kalani.

In Other Versions

Genesis 11 in the ANGEFD

Genesis 11 in the ANTPNG2D

Genesis 11 in the AS21

Genesis 11 in the BAGH

Genesis 11 in the BBPNG

Genesis 11 in the BBT1E

Genesis 11 in the BDS

Genesis 11 in the BEV

Genesis 11 in the BHAD

Genesis 11 in the BIB

Genesis 11 in the BLPT

Genesis 11 in the BNT

Genesis 11 in the BNTABOOT

Genesis 11 in the BNTLV

Genesis 11 in the BOATCB

Genesis 11 in the BOATCB2

Genesis 11 in the BOBCV

Genesis 11 in the BOCNT

Genesis 11 in the BOECS

Genesis 11 in the BOGWICC

Genesis 11 in the BOHCB

Genesis 11 in the BOHCV

Genesis 11 in the BOHLNT

Genesis 11 in the BOHNTLTAL

Genesis 11 in the BOICB

Genesis 11 in the BOILNTAP

Genesis 11 in the BOITCV

Genesis 11 in the BOKCV

Genesis 11 in the BOKCV2

Genesis 11 in the BOKHWOG

Genesis 11 in the BOKSSV

Genesis 11 in the BOLCB2

Genesis 11 in the BOMCV

Genesis 11 in the BONAV

Genesis 11 in the BONCB

Genesis 11 in the BONLT

Genesis 11 in the BONUT2

Genesis 11 in the BOPLNT

Genesis 11 in the BOSCB

Genesis 11 in the BOSNC

Genesis 11 in the BOTLNT

Genesis 11 in the BOVCB

Genesis 11 in the BOYCB

Genesis 11 in the BPBB

Genesis 11 in the BPH

Genesis 11 in the BSB

Genesis 11 in the CCB

Genesis 11 in the CUV

Genesis 11 in the CUVS

Genesis 11 in the DBT

Genesis 11 in the DGDNT

Genesis 11 in the DHNT

Genesis 11 in the DNT

Genesis 11 in the ELBE

Genesis 11 in the EMTV

Genesis 11 in the ESV

Genesis 11 in the FBV

Genesis 11 in the FEB

Genesis 11 in the GGMNT

Genesis 11 in the GNT

Genesis 11 in the HARY

Genesis 11 in the HNT

Genesis 11 in the IRVA

Genesis 11 in the IRVB

Genesis 11 in the IRVG

Genesis 11 in the IRVH

Genesis 11 in the IRVK

Genesis 11 in the IRVM

Genesis 11 in the IRVM2

Genesis 11 in the IRVO

Genesis 11 in the IRVP

Genesis 11 in the IRVT

Genesis 11 in the IRVT2

Genesis 11 in the IRVU

Genesis 11 in the ISVN

Genesis 11 in the JSNT

Genesis 11 in the KAPI

Genesis 11 in the KBT1ETNIK

Genesis 11 in the KBV

Genesis 11 in the KJV

Genesis 11 in the KNFD

Genesis 11 in the LBA

Genesis 11 in the LBLA

Genesis 11 in the LNT

Genesis 11 in the LSV

Genesis 11 in the MAAL

Genesis 11 in the MBV

Genesis 11 in the MBV2

Genesis 11 in the MHNT

Genesis 11 in the MKNFD

Genesis 11 in the MNG

Genesis 11 in the MNT

Genesis 11 in the MNT2

Genesis 11 in the MRS1T

Genesis 11 in the NAA

Genesis 11 in the NASB

Genesis 11 in the NBLA

Genesis 11 in the NBS

Genesis 11 in the NBVTP

Genesis 11 in the NET2

Genesis 11 in the NIV11

Genesis 11 in the NNT

Genesis 11 in the NNT2

Genesis 11 in the NNT3

Genesis 11 in the PDDPT

Genesis 11 in the PFNT

Genesis 11 in the RMNT

Genesis 11 in the SBIAS

Genesis 11 in the SBIBS

Genesis 11 in the SBIBS2

Genesis 11 in the SBICS

Genesis 11 in the SBIDS

Genesis 11 in the SBIGS

Genesis 11 in the SBIHS

Genesis 11 in the SBIIS

Genesis 11 in the SBIIS2

Genesis 11 in the SBIIS3

Genesis 11 in the SBIKS

Genesis 11 in the SBIKS2

Genesis 11 in the SBIMS

Genesis 11 in the SBIOS

Genesis 11 in the SBIPS

Genesis 11 in the SBISS

Genesis 11 in the SBITS

Genesis 11 in the SBITS2

Genesis 11 in the SBITS3

Genesis 11 in the SBITS4

Genesis 11 in the SBIUS

Genesis 11 in the SBIVS

Genesis 11 in the SBT

Genesis 11 in the SBT1E

Genesis 11 in the SCHL

Genesis 11 in the SNT

Genesis 11 in the SUSU

Genesis 11 in the SUSU2

Genesis 11 in the SYNO

Genesis 11 in the TBIAOTANT

Genesis 11 in the TBT1E

Genesis 11 in the TBT1E2

Genesis 11 in the TFTIP

Genesis 11 in the TFTU

Genesis 11 in the TGNTATF3T

Genesis 11 in the THAI

Genesis 11 in the TNFD

Genesis 11 in the TNT

Genesis 11 in the TNTIK

Genesis 11 in the TNTIL

Genesis 11 in the TNTIN

Genesis 11 in the TNTIP

Genesis 11 in the TNTIZ

Genesis 11 in the TOMA

Genesis 11 in the TTENT

Genesis 11 in the UBG

Genesis 11 in the UGV

Genesis 11 in the UGV2

Genesis 11 in the UGV3

Genesis 11 in the VBL

Genesis 11 in the VDCC

Genesis 11 in the YALU

Genesis 11 in the YAPE

Genesis 11 in the YBVTP

Genesis 11 in the ZBP