Habakkuk 3 (BOLCB)

1 Okusaba kwa nnabbi Kaabakuuku, okw’Ekisigiyonosi. 2 Ayi MUKAMA, mpulidde ebigambo byo;mpulidde ettutumu lyo Ayi MUKAMA, ne ntya.Bizze buggya mu nnaku zaffe,bimanyise mu biro bino,era mu busungu jjukira okusaasira. 3 Katonda yajja ng’ava e Temani,Omutukuvu oyo ng’ava ku lusozi Palani.Ekitiibwa kye kyatimbibwa ku ggulu,ensi n’eryoka ejjula ettendo lye. 4 Okumasamasa kwe ne kulyoka kubeera ng’enjuba evaayo.Ebimyanso byayakanga okuva mu mukono gwe,era omwo mwe mwasinziiranga amaanyi ge ag’ekitalo. 5 Kawumpuli ye yakulembera,Endwadde endala zinaamutta ne zigoberera. 6 Yayimirira n’anyeenyanyeenya ensi;Yatunula n’akankanya amawanga.Ensozi ez’edda za merenguka,obusozi obw’edda ne buggwaawo. Engeri ze, za mirembe na mirembe. 7 Nalaba eweema z’e Kusani nga ziri mu nnaku:n’entimbe ez’ensi ya Midiyaani nga zijugumira. 8 Ayi MUKAMA, wanyiigira emigga?Obusungu bwo bwali ku bugga obutono?Wanyiigira ennyanjabwe weebagala embalaasi zo,n’olinnya ku magaali go ag’obuwanguzi? 9 Wasowolayo akasaale ko,wategeka okulasa obusaale;ensi n’ogyawulayawulamu n’emigga. 10 Ensozi zaakulaba, ne zeenyogootola;Amataba ne gayitawo mbiro,obuziba bw’ennyanja ne buwuluguma,ne busitula amayengo gaayo waggulu. 11 Enjuba n’omwezi ne biyimirira butengerera mu bifo byabyo,olw’okumyansa kw’obusaale bwo nga buwenyuka,n’olw’okumyansa kw’effumu lyo eritemagana. 12 Watambula okuyita mu nsi ng’ojjudde ekiruyi,wasambirirasambirira amawanga mu busungu bwo. 13 Wavaayo oleetere abantu bo obulokozi,olokole gwe wafukako amafuta;Wabetenta omukulembeze w’ensi ekola ebibi,ng’omwerulira ddala okuva ku mutwe okutuuka ku bigere. 14 Wafumita omutwe gwe n’effumu lye ye,abalwanyi be bwe baavaayo okutugoba,nga bali ng’abanaatumalawo,ffe abaali baweddemu essuubi nga twekwese. 15 Walinnyirira ennyanja n’embalaasi zo,n’otabangula amazzi amangi. 16 Nawulira, n’omutima gwange ne gukankanan’emimwa gyange gijugumira olw’eddoboozi eryo;Obuvundu ne buyingira mu magumba gange,amagulu gange ne gakankana.Naye nnaalindirira n’obugumiikiriza olunaku olw’okulabiramu ennakubwe lulijjira eggwanga eritulumba. 17 Wadde omutiini tegutojjera,so n’emizabbibu nga tegiriiko bibala,amakungula g’emizeeyituuni ne gabula,ennimiro ne zitabala mmere n’akamu,endiga nga ziweddemu mu kisibo,nga n’ente tezikyalimu mu biraalo, 18 kyokka ndijaguliza MUKAMA,ne nsanyukira mu Katonda Omulokozi wange. 19 MUKAMA Katonda, ge maanyi gange;afuula ebigere byange okuba ng’eby’empeewo,era ansobozesa okutambulira mu bifo ebigulumivu.Ya Mukulu wa Bayimbi, ku bivuga byange ebirina enkoba.

In Other Versions

Habakkuk 3 in the ANGEFD

Habakkuk 3 in the ANTPNG2D

Habakkuk 3 in the AS21

Habakkuk 3 in the BAGH

Habakkuk 3 in the BBPNG

Habakkuk 3 in the BBT1E

Habakkuk 3 in the BDS

Habakkuk 3 in the BEV

Habakkuk 3 in the BHAD

Habakkuk 3 in the BIB

Habakkuk 3 in the BLPT

Habakkuk 3 in the BNT

Habakkuk 3 in the BNTABOOT

Habakkuk 3 in the BNTLV

Habakkuk 3 in the BOATCB

Habakkuk 3 in the BOATCB2

Habakkuk 3 in the BOBCV

Habakkuk 3 in the BOCNT

Habakkuk 3 in the BOECS

Habakkuk 3 in the BOGWICC

Habakkuk 3 in the BOHCB

Habakkuk 3 in the BOHCV

Habakkuk 3 in the BOHLNT

Habakkuk 3 in the BOHNTLTAL

Habakkuk 3 in the BOICB

Habakkuk 3 in the BOILNTAP

Habakkuk 3 in the BOITCV

Habakkuk 3 in the BOKCV

Habakkuk 3 in the BOKCV2

Habakkuk 3 in the BOKHWOG

Habakkuk 3 in the BOKSSV

Habakkuk 3 in the BOLCB2

Habakkuk 3 in the BOMCV

Habakkuk 3 in the BONAV

Habakkuk 3 in the BONCB

Habakkuk 3 in the BONLT

Habakkuk 3 in the BONUT2

Habakkuk 3 in the BOPLNT

Habakkuk 3 in the BOSCB

Habakkuk 3 in the BOSNC

Habakkuk 3 in the BOTLNT

Habakkuk 3 in the BOVCB

Habakkuk 3 in the BOYCB

Habakkuk 3 in the BPBB

Habakkuk 3 in the BPH

Habakkuk 3 in the BSB

Habakkuk 3 in the CCB

Habakkuk 3 in the CUV

Habakkuk 3 in the CUVS

Habakkuk 3 in the DBT

Habakkuk 3 in the DGDNT

Habakkuk 3 in the DHNT

Habakkuk 3 in the DNT

Habakkuk 3 in the ELBE

Habakkuk 3 in the EMTV

Habakkuk 3 in the ESV

Habakkuk 3 in the FBV

Habakkuk 3 in the FEB

Habakkuk 3 in the GGMNT

Habakkuk 3 in the GNT

Habakkuk 3 in the HARY

Habakkuk 3 in the HNT

Habakkuk 3 in the IRVA

Habakkuk 3 in the IRVB

Habakkuk 3 in the IRVG

Habakkuk 3 in the IRVH

Habakkuk 3 in the IRVK

Habakkuk 3 in the IRVM

Habakkuk 3 in the IRVM2

Habakkuk 3 in the IRVO

Habakkuk 3 in the IRVP

Habakkuk 3 in the IRVT

Habakkuk 3 in the IRVT2

Habakkuk 3 in the IRVU

Habakkuk 3 in the ISVN

Habakkuk 3 in the JSNT

Habakkuk 3 in the KAPI

Habakkuk 3 in the KBT1ETNIK

Habakkuk 3 in the KBV

Habakkuk 3 in the KJV

Habakkuk 3 in the KNFD

Habakkuk 3 in the LBA

Habakkuk 3 in the LBLA

Habakkuk 3 in the LNT

Habakkuk 3 in the LSV

Habakkuk 3 in the MAAL

Habakkuk 3 in the MBV

Habakkuk 3 in the MBV2

Habakkuk 3 in the MHNT

Habakkuk 3 in the MKNFD

Habakkuk 3 in the MNG

Habakkuk 3 in the MNT

Habakkuk 3 in the MNT2

Habakkuk 3 in the MRS1T

Habakkuk 3 in the NAA

Habakkuk 3 in the NASB

Habakkuk 3 in the NBLA

Habakkuk 3 in the NBS

Habakkuk 3 in the NBVTP

Habakkuk 3 in the NET2

Habakkuk 3 in the NIV11

Habakkuk 3 in the NNT

Habakkuk 3 in the NNT2

Habakkuk 3 in the NNT3

Habakkuk 3 in the PDDPT

Habakkuk 3 in the PFNT

Habakkuk 3 in the RMNT

Habakkuk 3 in the SBIAS

Habakkuk 3 in the SBIBS

Habakkuk 3 in the SBIBS2

Habakkuk 3 in the SBICS

Habakkuk 3 in the SBIDS

Habakkuk 3 in the SBIGS

Habakkuk 3 in the SBIHS

Habakkuk 3 in the SBIIS

Habakkuk 3 in the SBIIS2

Habakkuk 3 in the SBIIS3

Habakkuk 3 in the SBIKS

Habakkuk 3 in the SBIKS2

Habakkuk 3 in the SBIMS

Habakkuk 3 in the SBIOS

Habakkuk 3 in the SBIPS

Habakkuk 3 in the SBISS

Habakkuk 3 in the SBITS

Habakkuk 3 in the SBITS2

Habakkuk 3 in the SBITS3

Habakkuk 3 in the SBITS4

Habakkuk 3 in the SBIUS

Habakkuk 3 in the SBIVS

Habakkuk 3 in the SBT

Habakkuk 3 in the SBT1E

Habakkuk 3 in the SCHL

Habakkuk 3 in the SNT

Habakkuk 3 in the SUSU

Habakkuk 3 in the SUSU2

Habakkuk 3 in the SYNO

Habakkuk 3 in the TBIAOTANT

Habakkuk 3 in the TBT1E

Habakkuk 3 in the TBT1E2

Habakkuk 3 in the TFTIP

Habakkuk 3 in the TFTU

Habakkuk 3 in the TGNTATF3T

Habakkuk 3 in the THAI

Habakkuk 3 in the TNFD

Habakkuk 3 in the TNT

Habakkuk 3 in the TNTIK

Habakkuk 3 in the TNTIL

Habakkuk 3 in the TNTIN

Habakkuk 3 in the TNTIP

Habakkuk 3 in the TNTIZ

Habakkuk 3 in the TOMA

Habakkuk 3 in the TTENT

Habakkuk 3 in the UBG

Habakkuk 3 in the UGV

Habakkuk 3 in the UGV2

Habakkuk 3 in the UGV3

Habakkuk 3 in the VBL

Habakkuk 3 in the VDCC

Habakkuk 3 in the YALU

Habakkuk 3 in the YAPE

Habakkuk 3 in the YBVTP

Habakkuk 3 in the ZBP