Isaiah 19 (BOLCB)
1 Obunnabbi obukwata ku Misiri:Laba, MUKAMA yeebagadde ku kire ekidduka ennyoajja mu Misiri.Ne bakatonda b’e Misiri balijugumira mu maaso ge,n’emitima gy’Abamisiri girisaanuukira munda mu bo. 2 Era ndiyimusa Abamisiri okulwana n’Abamisiri,balwane buli muntu ne muganda we,na buli muntu ne muliraanwa we;ekibuga n’ekibuga,obwakabaka n’obwakabaka. 3 Abamisiri baliggwaamu omwoyoera entegeka zaabwe zonna ndizitta;era baliragulwa ebifaananyi ebibajje, n’abasamize,n’abaliko emizimu n’abalogo. 4 Era ndigabula Abamisirimu mukono gw’omufuzi omukambwe,era kabaka ow’entiisa alibafuga,bw’ayogera Mukama, MUKAMA Katonda ow’Eggye. 5 Omugga gulikaliran’entobo y’omugga ekale ejjemu enjatika. 6 N’emikutu giriwunya ekivundu,n’emyala egiyiwa mu mugga omunene nagyo gikale;ebitoogo n’essaalu nabyo biwotoke. 7 Ebimera ebiri ku Kiyira,ku lubalama lwa Kiyira kwennyini,ne byonna ebyasimbibwa ku Kiyira,birikala, birifuumuulibwa ne biggweerawo ddala. 8 Era n’abavubi balisinda ne bakungubaga,n’abo bonna abasuula amalobo mu Kiyirabalijjula ennaku, abatega obutimba baliggweeramu ddala amaanyi. 9 Era nate n’abo abakozesa obugoogwa obusunsule balinafuwa,n’abo abaluka engoye enjeru mu linena nabo bakeŋŋentererwe. 10 Abakozi balikwatibwa ennaku,bonna abakolera empeera ne baggwaamu omwoyo. 11 Abakulu ab’e Zowani basiruwalidde ddala,n’abagezigezi ba Falaawo bye boogera tebiriimu nsa.Mugamba mutya Falaawo nti,“Ndi mwana w’abagezi, omwana wa bassekabaka ab’edda”? 12 Kale nno abasajja bo ab’amagezi bali ludda wa?Leka bakubuulire bakutegeeze MUKAMA Katonda ow’Eggyeky’ategese okutuusa ku Misiri. 13 Abakungu ab’e Zowani basiriwadde,abakungu ab’e Noofu balimbiddwa,abo ababadde ejjinja ery’oku nsonda ery’ebika by’eggwangabakyamizza Misiri. 14 MUKAMA abataddemuomwoyo omubambaavuera baleetedde Misiri okutabukatabuka mu byonna by’ekola,ng’omutamiivu atagalira mu bisesemye bye. 15 Tewali mukulembeze newaakubadde afugibwa,agasa ennyo oba agasa ekitono mu Misiri alibaako ky’akola. 16 Ku lunaku luli Abamisiri balibeera ng’abakazi. Balikankana n’entiisa olw’omukono gwa MUKAMA Katonda ow’Eggye ogugoloddwa gye bali. 17 N’ensi ya Yuda erifuuka ntiisa eri Misiri, buli muntu anagibuulirwangako anatyanga, olw’okuteesa kwa MUKAMA Katonda ow’Eggye kw’ateesa ku yo. 18 Ku lunaku olwo walibaawo ebibuga bitaano mu nsi y’e Misiri ebyogera olulimi lwa Kanani, era birirayira okwekwata ku MUKAMA Katonda ow’Eggye. Ekimu kiriyitibwa Ekibuga Ekyokuzikirira. 19 Ku olwo waliteekebwawo ekyoto kya MUKAMA wakati mu nsi y’e Misiri, era n’ekijjukizo kya MUKAMA Katonda kiteekebwe ku nsalo. 20 Kaliba kabonero era bujulizi eri MUKAMA Katonda ow’Eggye mu nsi y’e Misiri. Kubanga balikoowoola MUKAMA nga balumbiddwa, naye alibaweereza omulokozi, era abalwanirira, era alibalokola. 21 Noolwekyo MUKAMA alimanyibwa mu Misiri, n’Abamisiri balimanya MUKAMA era bamusinze ne ssaddaaka, n’ebirabo era balyeyama obweyamo eri MUKAMA ne babutuukiriza. 22 Era MUKAMA alibonereza Misiri, ng’akuba, ate ng’awonya. Nabo balidda gy’ali, balimwegayirira era alibawonya. 23 Ku olwo walibaawo oluguudo olugazi oluva mu Misiri olugenda mu Bwasuli, n’Omwasuli alijja mu Misiri, n’Omumisiri n’agenda mu Bwasuli; n’Abamisiri balisinziza wamu n’Abaasuli. 24 Ku olwo Isirayiri eriba yakusatu wamu ne Misiri n’Obwasuli, baliweesa ensi omukisa. 25 Kubanga MUKAMA Katonda ow’Eggye abawadde omukisa, ng’ayogera nti, “Baweebwe omukisa Misiri abantu bange, n’Obwasuli omulimu gw’emikono gyange, ne Isirayiri obusika bwange.”
In Other Versions
Isaiah 19 in the ANGEFD
Isaiah 19 in the ANTPNG2D
Isaiah 19 in the AS21
Isaiah 19 in the BAGH
Isaiah 19 in the BBPNG
Isaiah 19 in the BBT1E
Isaiah 19 in the BDS
Isaiah 19 in the BEV
Isaiah 19 in the BHAD
Isaiah 19 in the BIB
Isaiah 19 in the BLPT
Isaiah 19 in the BNT
Isaiah 19 in the BNTABOOT
Isaiah 19 in the BNTLV
Isaiah 19 in the BOATCB
Isaiah 19 in the BOATCB2
Isaiah 19 in the BOBCV
Isaiah 19 in the BOCNT
Isaiah 19 in the BOECS
Isaiah 19 in the BOGWICC
Isaiah 19 in the BOHCB
Isaiah 19 in the BOHCV
Isaiah 19 in the BOHLNT
Isaiah 19 in the BOHNTLTAL
Isaiah 19 in the BOICB
Isaiah 19 in the BOILNTAP
Isaiah 19 in the BOITCV
Isaiah 19 in the BOKCV
Isaiah 19 in the BOKCV2
Isaiah 19 in the BOKHWOG
Isaiah 19 in the BOKSSV
Isaiah 19 in the BOLCB2
Isaiah 19 in the BOMCV
Isaiah 19 in the BONAV
Isaiah 19 in the BONCB
Isaiah 19 in the BONLT
Isaiah 19 in the BONUT2
Isaiah 19 in the BOPLNT
Isaiah 19 in the BOSCB
Isaiah 19 in the BOSNC
Isaiah 19 in the BOTLNT
Isaiah 19 in the BOVCB
Isaiah 19 in the BOYCB
Isaiah 19 in the BPBB
Isaiah 19 in the BPH
Isaiah 19 in the BSB
Isaiah 19 in the CCB
Isaiah 19 in the CUV
Isaiah 19 in the CUVS
Isaiah 19 in the DBT
Isaiah 19 in the DGDNT
Isaiah 19 in the DHNT
Isaiah 19 in the DNT
Isaiah 19 in the ELBE
Isaiah 19 in the EMTV
Isaiah 19 in the ESV
Isaiah 19 in the FBV
Isaiah 19 in the FEB
Isaiah 19 in the GGMNT
Isaiah 19 in the GNT
Isaiah 19 in the HARY
Isaiah 19 in the HNT
Isaiah 19 in the IRVA
Isaiah 19 in the IRVB
Isaiah 19 in the IRVG
Isaiah 19 in the IRVH
Isaiah 19 in the IRVK
Isaiah 19 in the IRVM
Isaiah 19 in the IRVM2
Isaiah 19 in the IRVO
Isaiah 19 in the IRVP
Isaiah 19 in the IRVT
Isaiah 19 in the IRVT2
Isaiah 19 in the IRVU
Isaiah 19 in the ISVN
Isaiah 19 in the JSNT
Isaiah 19 in the KAPI
Isaiah 19 in the KBT1ETNIK
Isaiah 19 in the KBV
Isaiah 19 in the KJV
Isaiah 19 in the KNFD
Isaiah 19 in the LBA
Isaiah 19 in the LBLA
Isaiah 19 in the LNT
Isaiah 19 in the LSV
Isaiah 19 in the MAAL
Isaiah 19 in the MBV
Isaiah 19 in the MBV2
Isaiah 19 in the MHNT
Isaiah 19 in the MKNFD
Isaiah 19 in the MNG
Isaiah 19 in the MNT
Isaiah 19 in the MNT2
Isaiah 19 in the MRS1T
Isaiah 19 in the NAA
Isaiah 19 in the NASB
Isaiah 19 in the NBLA
Isaiah 19 in the NBS
Isaiah 19 in the NBVTP
Isaiah 19 in the NET2
Isaiah 19 in the NIV11
Isaiah 19 in the NNT
Isaiah 19 in the NNT2
Isaiah 19 in the NNT3
Isaiah 19 in the PDDPT
Isaiah 19 in the PFNT
Isaiah 19 in the RMNT
Isaiah 19 in the SBIAS
Isaiah 19 in the SBIBS
Isaiah 19 in the SBIBS2
Isaiah 19 in the SBICS
Isaiah 19 in the SBIDS
Isaiah 19 in the SBIGS
Isaiah 19 in the SBIHS
Isaiah 19 in the SBIIS
Isaiah 19 in the SBIIS2
Isaiah 19 in the SBIIS3
Isaiah 19 in the SBIKS
Isaiah 19 in the SBIKS2
Isaiah 19 in the SBIMS
Isaiah 19 in the SBIOS
Isaiah 19 in the SBIPS
Isaiah 19 in the SBISS
Isaiah 19 in the SBITS
Isaiah 19 in the SBITS2
Isaiah 19 in the SBITS3
Isaiah 19 in the SBITS4
Isaiah 19 in the SBIUS
Isaiah 19 in the SBIVS
Isaiah 19 in the SBT
Isaiah 19 in the SBT1E
Isaiah 19 in the SCHL
Isaiah 19 in the SNT
Isaiah 19 in the SUSU
Isaiah 19 in the SUSU2
Isaiah 19 in the SYNO
Isaiah 19 in the TBIAOTANT
Isaiah 19 in the TBT1E
Isaiah 19 in the TBT1E2
Isaiah 19 in the TFTIP
Isaiah 19 in the TFTU
Isaiah 19 in the TGNTATF3T
Isaiah 19 in the THAI
Isaiah 19 in the TNFD
Isaiah 19 in the TNT
Isaiah 19 in the TNTIK
Isaiah 19 in the TNTIL
Isaiah 19 in the TNTIN
Isaiah 19 in the TNTIP
Isaiah 19 in the TNTIZ
Isaiah 19 in the TOMA
Isaiah 19 in the TTENT
Isaiah 19 in the UBG
Isaiah 19 in the UGV
Isaiah 19 in the UGV2
Isaiah 19 in the UGV3
Isaiah 19 in the VBL
Isaiah 19 in the VDCC
Isaiah 19 in the YALU
Isaiah 19 in the YAPE
Isaiah 19 in the YBVTP
Isaiah 19 in the ZBP