Isaiah 44 (BOLCB)

1 “Naye kaakano ggwe Yakobo omuweereza wange, wuliriza,ggwe Isirayiri gwe nalonda. 2 Bw’ati bw’ayogera MUKAMA oyo,eyakutonda era eyakubumba mu lubuto,ajja kukuyamba.Totya ggwe Yakobo, omuweereza wange,ggwe Yesuruni gwe nalonda. 3 Kubanga ndifuka amazzi ku ttakaeririna ennyonta n’enzizi ku ttaka ekkalu.Ndifuka Omwoyo wange ku zadde lyo,era n’omukisa gwange ku bazzukulu bo. 4 Era balimera ng’omuddo ku mabbali g’enzizi,babe ng’emiti egiri ku mabbali g’emigga. 5 Omu aligamba nti, ‘Nze ndi wa MUKAMA,’n’omulala ne yeeyita erinnya lya Yakobo,n’omulala ne yeewandiikako nti, ‘Wa MUKAMA,’ne yeetuuma Isirayiri. 6 “Bw’ati bw’ayogera MUKAMA kabaka wa Isirayiri era Omununuzi we, MUKAMA Katonda ow’Eggye:Nze w’olubereberye era nze nkomererayoera tewali Katonda mulala we ndi. 7 Ani afaanana nga nze,akirangirire,eyali asobola okumanya n’alangirira ebigenda okubaawookuviira ddala ku ntandikwa?Leka batubuulire ebigenda okubaawo. 8 Temutya wadde okuggwaamu amaanyi.Saakirangirira ne ntegeeza ebigenda okujja?Mmwe bajulirwa bange.Eriyo Katonda omulala okuggyako nze? Nedda.Tewali Lwazi lulala,sirina lwe mmanyi.” 9 Abo abakola bakatonda abakole n’emikono tebaliimu nsa,era ebyo bye basanyukira okukola tebirina kye bigasa.Abajulirwa baabwe tebalaba so tebalina kye bamanyi,balyoke bakwatibwe ensonyi. 10 Ani akola Katonda omubajje oba asaanuusa ekifaananyi ekyole ekitaliiko kye kiyamba? 11 Laba ye ne banne balikwatibwa ensonyi.N’ababazzi nabo bantu buntu.Leka bonna bakuŋŋaane, banjolekere; balikwatibwa ensonyi n’entiisa.Ensonyi ziribatta bonna era bagwemu entiisa. 12 Omuweesi akwata ekitundu ky’ekyuman’akiyisa mu manda, agaliko omuliro.Akikolako n’akitereeza n’ennyondo mu maanyi ge.Enjala emuluma,n’aggwaamu amaanyi,tanywa mazzi era akoowa. 13 Omubazzi akozesa olukoba okupima olubaawoera n’alamba n’ekkalaamu.Akinyiriza ne landa,n’akiramba kyonna n’ekyuma ekigera,n’akikolamu ekifaananyi ky’omuntu ng’omuntu bw’afaanana,kiryoke kiteekebwe mu nnyumba. 14 Atema emivule oba n’addira enzo oba omuyovu n’agusimbaoba n’aguleka gukule n’emiti mu kibira,oba n’asimba enkanaga,enkuba n’egikuza. 15 Abantu bagukozesa ng’enku,ezimu n’azitwala n’azikozesa okukuma omuliro ne yeebugumya.Akuma omuliro n’afumba emigaati.Naye ekitundu ekirala akikolamu katonda n’amusinza,akola ekifaananyi ekikole n’emikono n’akivuunamira. 16 Ekitundu ky’olubaawo akyokya mu muliro,ekitundu ekirala akyokesa ennyaman’agirya n’akutta.Ayotako n’abuguma nga bw’agamba nti,“Mbugumye, omuliro ngutegedde!” 17 Ekitundu ekisigaddewo akikolamu katonda,ekifaananyi ekikole n’emikono,era n’akivuunamira n’akisinza n’akyegayirira n’agamba nti,“Mponya, kubanga ggwe katonda wange.” 18 Tebaliiko kye bamanyi so tebaliiko kye bategeera,amaaso gaabwe gazibye n’okuyinza ne batayinza kulaba,n’okutegeera ne batayinza kutegeera. 19 Tewali n’omu ayimirira n’alowooza,tewali n’omu amanyi wadde ategeera okugamba nti,“Ekimu ekyokubiri ekyakwo nkyokezza mu muliro,era ne nfumba n’obugaati ku manda gaakyo,njokezzaako n’ennyama n’engirya.Ekitundu kyakyo kifuuse eky’omuzizo?Nvuunamire ekisiki ky’omuti?” 20 Alya vvu. Omutima gwe gumulimbalimba,tasobola kwerokola wadde okwebuuza nti,“Kino ekiri mu mukono gwange ogwa ddyo si bulimba?” 21 “Jjukira ebintu bino, ggwe Yakobo;oli muweereza wange ggwe Isirayiri.Nze nakubumba, oli muweereza wange,ggwe Isirayiri sirikwerabira. 22 Ebyonoono byo mbyezeewo n’embisenda ng’ekire, n’ebibi byo ne mbyerawo ng’olufu olw’omu makya. Komawo gye ndi kubanga nakununula.” 23 Yimba n’essanyu ggwe eggulukubanga ekyo MUKAMA yakikoze.Muleekaane n’essanyu mmwe abali wansi ku nsi.Muyimbe mmwe ensozi, mmwe ebibira na buli muti ogulimu. MUKAMA anunudde Yakoboera yeegulumiriza mu Isirayiri. 24 “Bw’ati bw’ayogera MUKAMA Omulokozi wo,eyakutondera mu lubuto. “Nze MUKAMA,eyatonda ebintu byonna,eyabamba eggulu nzekka,eyayanjuluza ensi obwomu, 25 asazaamu abalaguzi bye balaguddeera abalogo abafuula abasirusiru.Asaabulula eby’abagezin’afuula bye balowoozezza okuba eby’obusirusiru. 26 Anyweza ekigambo ky’omuweereza wen’atuukiriza obubaka bwa babaka bange. “Ayogera ku Yerusaalemi nti, ‘Kirituulibwamu,’ne ku bibuga bya Yuda nti, ‘Birizimbibwa,’ne ku bifo ebyazika nti, ‘Ndibizzaawo.’ 27 Agamba amazzi g’obuziba bwe nnyanja nti, ‘Kalira,era ndikaliza emigga gyo.’ 28 Ayogera ku Kuulo nti, ‘Musumba wangeera alituukiriza bye njagala byonna.’Alyogera ku Yerusaalemi nti, ‘Kizimbibwe,’ne ku yeekaalu nti, ‘Emisingi gyayo gizimbibwe.’ ”

In Other Versions

Isaiah 44 in the ANGEFD

Isaiah 44 in the ANTPNG2D

Isaiah 44 in the AS21

Isaiah 44 in the BAGH

Isaiah 44 in the BBPNG

Isaiah 44 in the BBT1E

Isaiah 44 in the BDS

Isaiah 44 in the BEV

Isaiah 44 in the BHAD

Isaiah 44 in the BIB

Isaiah 44 in the BLPT

Isaiah 44 in the BNT

Isaiah 44 in the BNTABOOT

Isaiah 44 in the BNTLV

Isaiah 44 in the BOATCB

Isaiah 44 in the BOATCB2

Isaiah 44 in the BOBCV

Isaiah 44 in the BOCNT

Isaiah 44 in the BOECS

Isaiah 44 in the BOGWICC

Isaiah 44 in the BOHCB

Isaiah 44 in the BOHCV

Isaiah 44 in the BOHLNT

Isaiah 44 in the BOHNTLTAL

Isaiah 44 in the BOICB

Isaiah 44 in the BOILNTAP

Isaiah 44 in the BOITCV

Isaiah 44 in the BOKCV

Isaiah 44 in the BOKCV2

Isaiah 44 in the BOKHWOG

Isaiah 44 in the BOKSSV

Isaiah 44 in the BOLCB2

Isaiah 44 in the BOMCV

Isaiah 44 in the BONAV

Isaiah 44 in the BONCB

Isaiah 44 in the BONLT

Isaiah 44 in the BONUT2

Isaiah 44 in the BOPLNT

Isaiah 44 in the BOSCB

Isaiah 44 in the BOSNC

Isaiah 44 in the BOTLNT

Isaiah 44 in the BOVCB

Isaiah 44 in the BOYCB

Isaiah 44 in the BPBB

Isaiah 44 in the BPH

Isaiah 44 in the BSB

Isaiah 44 in the CCB

Isaiah 44 in the CUV

Isaiah 44 in the CUVS

Isaiah 44 in the DBT

Isaiah 44 in the DGDNT

Isaiah 44 in the DHNT

Isaiah 44 in the DNT

Isaiah 44 in the ELBE

Isaiah 44 in the EMTV

Isaiah 44 in the ESV

Isaiah 44 in the FBV

Isaiah 44 in the FEB

Isaiah 44 in the GGMNT

Isaiah 44 in the GNT

Isaiah 44 in the HARY

Isaiah 44 in the HNT

Isaiah 44 in the IRVA

Isaiah 44 in the IRVB

Isaiah 44 in the IRVG

Isaiah 44 in the IRVH

Isaiah 44 in the IRVK

Isaiah 44 in the IRVM

Isaiah 44 in the IRVM2

Isaiah 44 in the IRVO

Isaiah 44 in the IRVP

Isaiah 44 in the IRVT

Isaiah 44 in the IRVT2

Isaiah 44 in the IRVU

Isaiah 44 in the ISVN

Isaiah 44 in the JSNT

Isaiah 44 in the KAPI

Isaiah 44 in the KBT1ETNIK

Isaiah 44 in the KBV

Isaiah 44 in the KJV

Isaiah 44 in the KNFD

Isaiah 44 in the LBA

Isaiah 44 in the LBLA

Isaiah 44 in the LNT

Isaiah 44 in the LSV

Isaiah 44 in the MAAL

Isaiah 44 in the MBV

Isaiah 44 in the MBV2

Isaiah 44 in the MHNT

Isaiah 44 in the MKNFD

Isaiah 44 in the MNG

Isaiah 44 in the MNT

Isaiah 44 in the MNT2

Isaiah 44 in the MRS1T

Isaiah 44 in the NAA

Isaiah 44 in the NASB

Isaiah 44 in the NBLA

Isaiah 44 in the NBS

Isaiah 44 in the NBVTP

Isaiah 44 in the NET2

Isaiah 44 in the NIV11

Isaiah 44 in the NNT

Isaiah 44 in the NNT2

Isaiah 44 in the NNT3

Isaiah 44 in the PDDPT

Isaiah 44 in the PFNT

Isaiah 44 in the RMNT

Isaiah 44 in the SBIAS

Isaiah 44 in the SBIBS

Isaiah 44 in the SBIBS2

Isaiah 44 in the SBICS

Isaiah 44 in the SBIDS

Isaiah 44 in the SBIGS

Isaiah 44 in the SBIHS

Isaiah 44 in the SBIIS

Isaiah 44 in the SBIIS2

Isaiah 44 in the SBIIS3

Isaiah 44 in the SBIKS

Isaiah 44 in the SBIKS2

Isaiah 44 in the SBIMS

Isaiah 44 in the SBIOS

Isaiah 44 in the SBIPS

Isaiah 44 in the SBISS

Isaiah 44 in the SBITS

Isaiah 44 in the SBITS2

Isaiah 44 in the SBITS3

Isaiah 44 in the SBITS4

Isaiah 44 in the SBIUS

Isaiah 44 in the SBIVS

Isaiah 44 in the SBT

Isaiah 44 in the SBT1E

Isaiah 44 in the SCHL

Isaiah 44 in the SNT

Isaiah 44 in the SUSU

Isaiah 44 in the SUSU2

Isaiah 44 in the SYNO

Isaiah 44 in the TBIAOTANT

Isaiah 44 in the TBT1E

Isaiah 44 in the TBT1E2

Isaiah 44 in the TFTIP

Isaiah 44 in the TFTU

Isaiah 44 in the TGNTATF3T

Isaiah 44 in the THAI

Isaiah 44 in the TNFD

Isaiah 44 in the TNT

Isaiah 44 in the TNTIK

Isaiah 44 in the TNTIL

Isaiah 44 in the TNTIN

Isaiah 44 in the TNTIP

Isaiah 44 in the TNTIZ

Isaiah 44 in the TOMA

Isaiah 44 in the TTENT

Isaiah 44 in the UBG

Isaiah 44 in the UGV

Isaiah 44 in the UGV2

Isaiah 44 in the UGV3

Isaiah 44 in the VBL

Isaiah 44 in the VDCC

Isaiah 44 in the YALU

Isaiah 44 in the YAPE

Isaiah 44 in the YBVTP

Isaiah 44 in the ZBP