Isaiah 9 (BOLCB)
1 Naye tewaliba kizikiza eri oyo eyali mu kubonaabona. Edda yatoowaza ensi ya Zebbulooni n’ensi ya Nafutaali, naye mu kiseera ekijja aliwa Ggaliraaya ekitiibwa, ensi ey’abamawanga emitala wa Yoludaani, awali ekkubo erigenda ku nnyanja. 2 Abantu abaatambuliranga mu kizikizabalabye ekitangaala eky’amaanyi,abo abaatuulanga mu nsi ey’ekizikiza ekingi,omusana gubaakidde. 3 Oyazizza eggwanga,obongedde essanyu,basanyukira mu maaso go ng’abantu bwe basanyuka mu biseera eby’amakungula,ng’abasajja bwe basanyuka nga bagabana omunyago. 4 Nga ku lunaku Abamidiyaani lwe baawangulwa,omenye ekikoligo ekyamuzitoowereranga,n’ekiti eky’oku kibegabega kye,n’oluga lw’oyo amunyigiriza. 5 Kubanga buli ngatto ya mulwanyi ekozesebwa mu lutalona buli kyambalo ekibunye omusaayi,biriba bya kwokebwa,bye birikozesebwa okukoleeza omuliro. 6 Kubanga omwana atuzaaliddwa ffe,omwana owoobulenzi atuweereddwa ffe,n’okufuga kunaabanga ku bibegabega bye.N’erinnya lye aliyitibwa nti,Wa kitalo, Omuwi w’amagezi, Katonda Ayinzabyonna,Kitaffe ow’Emirembe Gyonna, Omulangira w’Emirembe. 7 Okufuga kwe n’emirembebiryeyongeranga obutakoma.Alifugira ku ntebe ya Dawudi ne ku bwakabaka bwe,n’okubuwanirira n’obwenkanya n’obutuukirivuokuva leero okutuusa emirembe gyonna.Obumalirivu bwa MUKAMA Katonda ow’Eggyebulikituukiriza ekyo. 8 Mukama yaweereza obubaka obukwata ku Yakobo,ku birituuka ku Isirayiri. 9 Era abantu bonna balibumanya,Efulayimu n’abantu b’omu Samaliyaaboogera n’amalalan’omutima omukakanyavu, 10 nti, “Amatoffaali gagudde wansinaye tulizimbya amayinja amateme,emisukamooli gitemeddwawonaye tulizzaawo emivule.” 11 MUKAMA Katonda kyaliva awa abalabe ba Lezini amaanyi bamulumbe;alibakumaakuma bamulumbe. 12 Abasuuli balisinziira mu buvanjuba, n’Abafirisuuti bave ebugwanjuba,balyoke basaanyeewo Isirayiri n’akamwa akaasamye. Newaakubadde nga biri bityo, obusungu bwa MUKAMA buliba tebunnavaawoera omukono gwe guliba gukyagoloddwa. 13 Kubanga abantu tebakyuse kuddawadde okunoonya MUKAMA Katonda ow’Eggye eyabakuba. 14 Bw’atyo MUKAMA Katonda kyaliva asala ku Isirayiri, omutwe n’omukira,ettabi n’olukindu mu lunaku lumu. 15 Omutwe be bakadde n’abantu ab’ekitiibwa,n’omukira be bannabbi abayigiriza eby’obulimba. 16 Kubanga abakulembera abantu bano bababuzaabuuza,n’abo abakulemberwa babuzibwabuzibwa. 17 Noolwekyo, Mukama tajja kusanyukira bavubuka,wadde okukwatirwa ekisa abo abataliiko ba kitaabwe wadde bannamwandu;kubanga buli omu mukozi wa bibi,era buli kamwa konna kogera eby’obuwemu. Olwa bino byonna, obusungu bwa MUKAMA tebunakyusibwa kubavaako,era omukono gwe gukyagoloddwa. 18 Ddala ekibi kyokya ng’omuliro;gumalawo emyeramannyo n’obusaana.Era gukoleeza eby’omu kibira,omukka ne gunyooka ne gutumbiira waggulu. 19 Olw’obusungu bwa MUKAMA Katonda ow’Eggyeensi eggiiridde ddala,era n’abantu bali ng’enku ez’okukuma omuliro,tewali muntu alekawo muganda we. 20 Balimalawo eby’oku mukono ogwa ddyo,naye balisigala bayala;balirya n’eby’oku kkono,naye tebalikkuta.Buli omu alirya ku mubiri gw’ezzadde lye. 21 Manase alirya Efulayimu ne Efulayimu n’alya Manaseate bombi ne balya Yuda. Naye wadde nga biri bityo, obusungu bwa MUKAMA buliba tebunnavaawo,era n’omukono gwe guliba gukyagoloddwa.
In Other Versions
Isaiah 9 in the ANGEFD
Isaiah 9 in the ANTPNG2D
Isaiah 9 in the AS21
Isaiah 9 in the BAGH
Isaiah 9 in the BBPNG
Isaiah 9 in the BBT1E
Isaiah 9 in the BDS
Isaiah 9 in the BEV
Isaiah 9 in the BHAD
Isaiah 9 in the BIB
Isaiah 9 in the BLPT
Isaiah 9 in the BNT
Isaiah 9 in the BNTABOOT
Isaiah 9 in the BNTLV
Isaiah 9 in the BOATCB
Isaiah 9 in the BOATCB2
Isaiah 9 in the BOBCV
Isaiah 9 in the BOCNT
Isaiah 9 in the BOECS
Isaiah 9 in the BOGWICC
Isaiah 9 in the BOHCB
Isaiah 9 in the BOHCV
Isaiah 9 in the BOHLNT
Isaiah 9 in the BOHNTLTAL
Isaiah 9 in the BOICB
Isaiah 9 in the BOILNTAP
Isaiah 9 in the BOITCV
Isaiah 9 in the BOKCV
Isaiah 9 in the BOKCV2
Isaiah 9 in the BOKHWOG
Isaiah 9 in the BOKSSV
Isaiah 9 in the BOLCB2
Isaiah 9 in the BOMCV
Isaiah 9 in the BONAV
Isaiah 9 in the BONCB
Isaiah 9 in the BONLT
Isaiah 9 in the BONUT2
Isaiah 9 in the BOPLNT
Isaiah 9 in the BOSCB
Isaiah 9 in the BOSNC
Isaiah 9 in the BOTLNT
Isaiah 9 in the BOVCB
Isaiah 9 in the BOYCB
Isaiah 9 in the BPBB
Isaiah 9 in the BPH
Isaiah 9 in the BSB
Isaiah 9 in the CCB
Isaiah 9 in the CUV
Isaiah 9 in the CUVS
Isaiah 9 in the DBT
Isaiah 9 in the DGDNT
Isaiah 9 in the DHNT
Isaiah 9 in the DNT
Isaiah 9 in the ELBE
Isaiah 9 in the EMTV
Isaiah 9 in the ESV
Isaiah 9 in the FBV
Isaiah 9 in the FEB
Isaiah 9 in the GGMNT
Isaiah 9 in the GNT
Isaiah 9 in the HARY
Isaiah 9 in the HNT
Isaiah 9 in the IRVA
Isaiah 9 in the IRVB
Isaiah 9 in the IRVG
Isaiah 9 in the IRVH
Isaiah 9 in the IRVK
Isaiah 9 in the IRVM
Isaiah 9 in the IRVM2
Isaiah 9 in the IRVO
Isaiah 9 in the IRVP
Isaiah 9 in the IRVT
Isaiah 9 in the IRVT2
Isaiah 9 in the IRVU
Isaiah 9 in the ISVN
Isaiah 9 in the JSNT
Isaiah 9 in the KAPI
Isaiah 9 in the KBT1ETNIK
Isaiah 9 in the KBV
Isaiah 9 in the KJV
Isaiah 9 in the KNFD
Isaiah 9 in the LBA
Isaiah 9 in the LBLA
Isaiah 9 in the LNT
Isaiah 9 in the LSV
Isaiah 9 in the MAAL
Isaiah 9 in the MBV
Isaiah 9 in the MBV2
Isaiah 9 in the MHNT
Isaiah 9 in the MKNFD
Isaiah 9 in the MNG
Isaiah 9 in the MNT
Isaiah 9 in the MNT2
Isaiah 9 in the MRS1T
Isaiah 9 in the NAA
Isaiah 9 in the NASB
Isaiah 9 in the NBLA
Isaiah 9 in the NBS
Isaiah 9 in the NBVTP
Isaiah 9 in the NET2
Isaiah 9 in the NIV11
Isaiah 9 in the NNT
Isaiah 9 in the NNT2
Isaiah 9 in the NNT3
Isaiah 9 in the PDDPT
Isaiah 9 in the PFNT
Isaiah 9 in the RMNT
Isaiah 9 in the SBIAS
Isaiah 9 in the SBIBS
Isaiah 9 in the SBIBS2
Isaiah 9 in the SBICS
Isaiah 9 in the SBIDS
Isaiah 9 in the SBIGS
Isaiah 9 in the SBIHS
Isaiah 9 in the SBIIS
Isaiah 9 in the SBIIS2
Isaiah 9 in the SBIIS3
Isaiah 9 in the SBIKS
Isaiah 9 in the SBIKS2
Isaiah 9 in the SBIMS
Isaiah 9 in the SBIOS
Isaiah 9 in the SBIPS
Isaiah 9 in the SBISS
Isaiah 9 in the SBITS
Isaiah 9 in the SBITS2
Isaiah 9 in the SBITS3
Isaiah 9 in the SBITS4
Isaiah 9 in the SBIUS
Isaiah 9 in the SBIVS
Isaiah 9 in the SBT
Isaiah 9 in the SBT1E
Isaiah 9 in the SCHL
Isaiah 9 in the SNT
Isaiah 9 in the SUSU
Isaiah 9 in the SUSU2
Isaiah 9 in the SYNO
Isaiah 9 in the TBIAOTANT
Isaiah 9 in the TBT1E
Isaiah 9 in the TBT1E2
Isaiah 9 in the TFTIP
Isaiah 9 in the TFTU
Isaiah 9 in the TGNTATF3T
Isaiah 9 in the THAI
Isaiah 9 in the TNFD
Isaiah 9 in the TNT
Isaiah 9 in the TNTIK
Isaiah 9 in the TNTIL
Isaiah 9 in the TNTIN
Isaiah 9 in the TNTIP
Isaiah 9 in the TNTIZ
Isaiah 9 in the TOMA
Isaiah 9 in the TTENT
Isaiah 9 in the UBG
Isaiah 9 in the UGV
Isaiah 9 in the UGV2
Isaiah 9 in the UGV3
Isaiah 9 in the VBL
Isaiah 9 in the VDCC
Isaiah 9 in the YALU
Isaiah 9 in the YAPE
Isaiah 9 in the YBVTP
Isaiah 9 in the ZBP