James 1 (BOLCB)
1 Nze Yakobo, omuddu wa Katonda ne Mukama waffe Yesu Kristo, mpandiikira ebika ekkumi n’ebibiri ebyasaasaana, nga mbalamusa. 2 Baganda bange, mulowoozenga byonna okuba essanyu, bwe mukemebwanga mu ngeri ezitali zimu 3 nga mumanyi ng’okugezesebwa kw’okukkiriza kwammwe kuleeta okugumiikiriza. 4 Omulimu gw’okugumiikiriza bwe gutuukirira, ne mulyoka mufuuka abatuukiridde era abakulidde ddala mu mwoyo, nga temulina kibabulako. 5 Naye obanga omuntu yenna ku mmwe aweebuka mu magezi, asabenga Katonda agabira bonna atakayuka, galimuweebwa. 6 Kyokka amusabenga mu kukkiriza, nga tabuusabuusa, kubanga oyo abuusabuusa ali ng’ejjengo ery’oku nnyanja erisundibwa empewo. 7 Omuntu ng’oyo bw’atasaba na kukkiriza tasuubira Mukama kumuwaayo kintu kyonna. 8 Kubanga omuntu ow’emyoyo ebiri, buli gy’adda tanywererayo. 9 Owooluganda atalina bintu bingi mu nsi muno asaana yeenyumirize, kubanga agulumizibbwa. 10 N’omugagga tasaana anyiige ng’ebintu bye bimukendezebbwaako, kubanga naye aliggwaawo ng’ekimuli eky’omuddo bwe kiggweerera. 11 Kubanga enjuba bw’evaayo n’eyaka n’ebbugumu lyayo eringi, omuddo gukala n’ekimuli kyagwo ne kiwotoka ne kigwa, n’obulungi bw’endabika yaakyo ne buggwaawo; n’omugagga bw’atyo bw’aliggwaawo, ng’ali mu mirimu gye. 12 Alina omukisa omuntu agumira okukemebwa, kubanga bw’alimala okusiimibwa aliweebwa engule ey’obulamu Katonda gye yasuubiza abo abamwagala. 13 Omuntu yenna bw’akemebwanga, tagambanga nti, “Katonda ye yankemye,” kubanga Katonda takemebwa, era naye yennyini takema muntu n’omu. 14 Naye buli muntu akemebwa ng’okwegomba kwe okubi, bwe kuli, n’asendebwasendebwa. 15 Okwegomba okwo bwe kumala okuba olubuto, ne kuzaala ekibi, n’ekibi bwe kikula ne kizaala okufa. 16 Noolwekyo, abooluganda abaagalwa, temulimbibwalimbibwanga. 17 Buli kirabo ekirungi ekituukiridde, kiva mu ggulu eri Kitaffe, eyatonda eby’omu bbanga ebyaka, atakyukakyuka newaakubadde okwefuula ekirala. 18 Yalondawo ku bubwe yekka okutuzaala, ng’ayita mu kigambo eky’amazima, tulyoke tubeere ng’abaana be ababereberye mu lulyo lwe oluggya. 19 Ekyo mukimanye abooluganda abaagalwa! Buli muntu abeerenga mwangu wa kuwulira, kyokka alemenga kubuguutana kwogera, era alemenga kwanguwa kunyiiga. 20 Kubanga obusungu bw’omuntu tebumuweesa butuukirivu bwa Katonda. 21 Kale mulekenga emize gyonna, n’ekibi ekyasigala mu mmwe, mwanirize n’obuwombeefu ekigambo ekyasigibwa ekiyinza okulokola emyoyo gyammwe. 22 Mubeerenga bakozi ba kigambo, so si abakiwulira ne batakikola, nga mwerimbarimba. 23 Kubanga omuntu awuliriza ekigambo naye n’atakigondera, afaanana ng’omuntu eyeeraba mu ndabirwamu; 24 bw’ava mu ndabirwamu, amangwago ne yeerabira nga bw’afaananye. 25 Naye oyo atunula enkaliriza mu tteeka ettuufu erituukiridde erireetera abantu eddembe, n’alinyikiririramu tajja kukoma ku kulijjukiranga kyokka, naye ajjanga kukola bye ligamba, era anaaweebwanga omukisa mu buli ky’akola. 26 Omuntu yenna bwe yeerowooza nga wa ddiini, naye n’atafuga lulimi lwe, aba yeerimba, n’eddiini ye teriiko ky’egasa. 27 Eddiini entuufu etaliiko bbala mu maaso ga Katonda Kitaffe, y’eyo ey’omuntu alabirira bamulekwa ne bannamwandu era nga yeekuuma ensi gy’alimu ereme kumuletako bbala.
In Other Versions
James 1 in the ANGEFD
James 1 in the ANTPNG2D
James 1 in the AS21
James 1 in the BAGH
James 1 in the BBPNG
James 1 in the BBT1E
James 1 in the BDS
James 1 in the BEV
James 1 in the BHAD
James 1 in the BIB
James 1 in the BLPT
James 1 in the BNT
James 1 in the BNTABOOT
James 1 in the BNTLV
James 1 in the BOATCB
James 1 in the BOATCB2
James 1 in the BOBCV
James 1 in the BOCNT
James 1 in the BOECS
James 1 in the BOGWICC
James 1 in the BOHCB
James 1 in the BOHCV
James 1 in the BOHLNT
James 1 in the BOHNTLTAL
James 1 in the BOICB
James 1 in the BOILNTAP
James 1 in the BOITCV
James 1 in the BOKCV
James 1 in the BOKCV2
James 1 in the BOKHWOG
James 1 in the BOKSSV
James 1 in the BOLCB2
James 1 in the BOMCV
James 1 in the BONAV
James 1 in the BONCB
James 1 in the BONLT
James 1 in the BONUT2
James 1 in the BOPLNT
James 1 in the BOSCB
James 1 in the BOSNC
James 1 in the BOTLNT
James 1 in the BOVCB
James 1 in the BOYCB
James 1 in the BPBB
James 1 in the BPH
James 1 in the BSB
James 1 in the CCB
James 1 in the CUV
James 1 in the CUVS
James 1 in the DBT
James 1 in the DGDNT
James 1 in the DHNT
James 1 in the DNT
James 1 in the ELBE
James 1 in the EMTV
James 1 in the ESV
James 1 in the FBV
James 1 in the FEB
James 1 in the GGMNT
James 1 in the GNT
James 1 in the HARY
James 1 in the HNT
James 1 in the IRVA
James 1 in the IRVB
James 1 in the IRVG
James 1 in the IRVH
James 1 in the IRVK
James 1 in the IRVM
James 1 in the IRVM2
James 1 in the IRVO
James 1 in the IRVP
James 1 in the IRVT
James 1 in the IRVT2
James 1 in the IRVU
James 1 in the ISVN
James 1 in the JSNT
James 1 in the KAPI
James 1 in the KBT1ETNIK
James 1 in the KBV
James 1 in the KJV
James 1 in the KNFD
James 1 in the LBA
James 1 in the LBLA
James 1 in the LNT
James 1 in the LSV
James 1 in the MAAL
James 1 in the MBV
James 1 in the MBV2
James 1 in the MHNT
James 1 in the MKNFD
James 1 in the MNG
James 1 in the MNT
James 1 in the MNT2
James 1 in the MRS1T
James 1 in the NAA
James 1 in the NASB
James 1 in the NBLA
James 1 in the NBS
James 1 in the NBVTP
James 1 in the NET2
James 1 in the NIV11
James 1 in the NNT
James 1 in the NNT2
James 1 in the NNT3
James 1 in the PDDPT
James 1 in the PFNT
James 1 in the RMNT
James 1 in the SBIAS
James 1 in the SBIBS
James 1 in the SBIBS2
James 1 in the SBICS
James 1 in the SBIDS
James 1 in the SBIGS
James 1 in the SBIHS
James 1 in the SBIIS
James 1 in the SBIIS2
James 1 in the SBIIS3
James 1 in the SBIKS
James 1 in the SBIKS2
James 1 in the SBIMS
James 1 in the SBIOS
James 1 in the SBIPS
James 1 in the SBISS
James 1 in the SBITS
James 1 in the SBITS2
James 1 in the SBITS3
James 1 in the SBITS4
James 1 in the SBIUS
James 1 in the SBIVS
James 1 in the SBT
James 1 in the SBT1E
James 1 in the SCHL
James 1 in the SNT
James 1 in the SUSU
James 1 in the SUSU2
James 1 in the SYNO
James 1 in the TBIAOTANT
James 1 in the TBT1E
James 1 in the TBT1E2
James 1 in the TFTIP
James 1 in the TFTU
James 1 in the TGNTATF3T
James 1 in the THAI
James 1 in the TNFD
James 1 in the TNT
James 1 in the TNTIK
James 1 in the TNTIL
James 1 in the TNTIN
James 1 in the TNTIP
James 1 in the TNTIZ
James 1 in the TOMA
James 1 in the TTENT
James 1 in the UBG
James 1 in the UGV
James 1 in the UGV2
James 1 in the UGV3
James 1 in the VBL
James 1 in the VDCC
James 1 in the YALU
James 1 in the YAPE
James 1 in the YBVTP
James 1 in the ZBP