Jeremiah 19 (BOLCB)

1 Bw’ati bw’ayogera MUKAMA nti, “Genda ogule ensumbi ey’ebbumba okuva ku mubumbi. Twala abamu ku bakadde ne ku bakabona, 2 ofulume ogende mu kiwonvu kya mutabani wa Kinomu ekiri awayingirirwa mu mulyango Kalusiisi, olangiririre eyo ebigambo bye nnaakutegeeza. 3 Ogambe nti, ‘Muwulire ekigambo kya MUKAMA mmwe bakabaka ba Yuda nammwe abali mu Yerusaalemi, bw’atyo bw’ayogera MUKAMA ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, Muwulirize! Ndireeta ekikangabwa mu kifo kino ekiriwaawaaza buli kutu. 4 Kubanga banvuddeko ekifo kino ne bakifuula ekya bakatonda abalala. Bookerezaamu ebiweebwayo eri bakatonda, bakitaabwe wadde bakabaka ba Yuda be batamanyangako, nga bajjuzza ekifo kino omusaayi gw’abataliiko musango. 5 Bazimbye ebifo ebigulumivu ebya Baali, bookereyo batabani baabwe mu muliro ng’ekiweebwayo eri Baali, ekintu kye siragiranga, era kye soogerangako, wadde okukirowoozaako. 6 Noolwekyo bw’ati bw’ayogera MUKAMA nti, Mwegendereze, ennaku zijja, ng’ekifo kino abantu tebakyakiyita Tofesi newaakubadde Kiwonvu kya mutabani wa Kinomu, wabula nga bakiyita ekiwonvu eky’ettambiro. 7 “ ‘Mu kifo kino ndizikiriza entegeka za Yuda ne Yerusaalemi. Ne mbawaayo mu mikono gy’abalabe baabwe battibwe n’ekitala, era ndiwaayo emirambo gyabwe okuba emmere y’ebinyonyi eby’omu bbanga n’ebisolo eby’omu nsiko. 8 Ndidibaga ekibuga kino ne nkifuula eky’okusekererwa, n’abo bonna abayitawo bennyamire era baseke olw’ebiwundu byakyo byonna. 9 Olw’okuzingizibwa n’okunyigirizibwa abalabe baabwe abanoonya okubatta, ndibaliisa emirambo gya batabani baabwe n’egy’abawala baabwe era buli omu alirya munne.’ 10 “Awo n’olyoka omenya ensumbi abo b’ogenze n’abo nga balaba, 11 obagambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera MUKAMA Katonda ow’Eggye nti, Ndiyasaayasa eggwanga lino n’ekibuga kino ng’ensumbi y’omubumbi eno bw’engiyasaayasa nga tekikyayinzika kugiddaabiriza. Baliziika abafu mu Tofesi okutuusa ekifo awaziikibwa lwe kirijjula. 12 Kino kye ndikola ekifo kino n’abo abakibeeramu, bw’ayogera MUKAMA. Ekibuga kino ndikifuula nga Tofesi. 13 Amayumba g’omu Yerusaalemi n’aga bakabaka ba Yuda galiyonoonebwa ng’ago mu Tofesi, ennyumba zonna mwe booterezza obubaane eri eggye lyonna erya bakatonda ab’omu bbanga, ne baweerayo ekiweebwayo ekyokunywa.’ ” 14 Awo Yeremiya n’akomawo okuva e Tofesi MUKAMA gye yali amutumye okuwa obunnabbi, n’ayimirira mu mbuga ya yeekaalu ya MUKAMA n’agamba abantu bonna nti, 15 “Bw’ati bw’ayogera MUKAMA ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Muwulirize, ndireeta ku kibuga kino ne ku bubuga obukyetoolodde buli kikangabwa kyonna kye nakirangirirako, kubanga baakakanyaza ensingo zaabwe ne batagondera bigambo byange.’ ”

In Other Versions

Jeremiah 19 in the ANGEFD

Jeremiah 19 in the ANTPNG2D

Jeremiah 19 in the AS21

Jeremiah 19 in the BAGH

Jeremiah 19 in the BBPNG

Jeremiah 19 in the BBT1E

Jeremiah 19 in the BDS

Jeremiah 19 in the BEV

Jeremiah 19 in the BHAD

Jeremiah 19 in the BIB

Jeremiah 19 in the BLPT

Jeremiah 19 in the BNT

Jeremiah 19 in the BNTABOOT

Jeremiah 19 in the BNTLV

Jeremiah 19 in the BOATCB

Jeremiah 19 in the BOATCB2

Jeremiah 19 in the BOBCV

Jeremiah 19 in the BOCNT

Jeremiah 19 in the BOECS

Jeremiah 19 in the BOGWICC

Jeremiah 19 in the BOHCB

Jeremiah 19 in the BOHCV

Jeremiah 19 in the BOHLNT

Jeremiah 19 in the BOHNTLTAL

Jeremiah 19 in the BOICB

Jeremiah 19 in the BOILNTAP

Jeremiah 19 in the BOITCV

Jeremiah 19 in the BOKCV

Jeremiah 19 in the BOKCV2

Jeremiah 19 in the BOKHWOG

Jeremiah 19 in the BOKSSV

Jeremiah 19 in the BOLCB2

Jeremiah 19 in the BOMCV

Jeremiah 19 in the BONAV

Jeremiah 19 in the BONCB

Jeremiah 19 in the BONLT

Jeremiah 19 in the BONUT2

Jeremiah 19 in the BOPLNT

Jeremiah 19 in the BOSCB

Jeremiah 19 in the BOSNC

Jeremiah 19 in the BOTLNT

Jeremiah 19 in the BOVCB

Jeremiah 19 in the BOYCB

Jeremiah 19 in the BPBB

Jeremiah 19 in the BPH

Jeremiah 19 in the BSB

Jeremiah 19 in the CCB

Jeremiah 19 in the CUV

Jeremiah 19 in the CUVS

Jeremiah 19 in the DBT

Jeremiah 19 in the DGDNT

Jeremiah 19 in the DHNT

Jeremiah 19 in the DNT

Jeremiah 19 in the ELBE

Jeremiah 19 in the EMTV

Jeremiah 19 in the ESV

Jeremiah 19 in the FBV

Jeremiah 19 in the FEB

Jeremiah 19 in the GGMNT

Jeremiah 19 in the GNT

Jeremiah 19 in the HARY

Jeremiah 19 in the HNT

Jeremiah 19 in the IRVA

Jeremiah 19 in the IRVB

Jeremiah 19 in the IRVG

Jeremiah 19 in the IRVH

Jeremiah 19 in the IRVK

Jeremiah 19 in the IRVM

Jeremiah 19 in the IRVM2

Jeremiah 19 in the IRVO

Jeremiah 19 in the IRVP

Jeremiah 19 in the IRVT

Jeremiah 19 in the IRVT2

Jeremiah 19 in the IRVU

Jeremiah 19 in the ISVN

Jeremiah 19 in the JSNT

Jeremiah 19 in the KAPI

Jeremiah 19 in the KBT1ETNIK

Jeremiah 19 in the KBV

Jeremiah 19 in the KJV

Jeremiah 19 in the KNFD

Jeremiah 19 in the LBA

Jeremiah 19 in the LBLA

Jeremiah 19 in the LNT

Jeremiah 19 in the LSV

Jeremiah 19 in the MAAL

Jeremiah 19 in the MBV

Jeremiah 19 in the MBV2

Jeremiah 19 in the MHNT

Jeremiah 19 in the MKNFD

Jeremiah 19 in the MNG

Jeremiah 19 in the MNT

Jeremiah 19 in the MNT2

Jeremiah 19 in the MRS1T

Jeremiah 19 in the NAA

Jeremiah 19 in the NASB

Jeremiah 19 in the NBLA

Jeremiah 19 in the NBS

Jeremiah 19 in the NBVTP

Jeremiah 19 in the NET2

Jeremiah 19 in the NIV11

Jeremiah 19 in the NNT

Jeremiah 19 in the NNT2

Jeremiah 19 in the NNT3

Jeremiah 19 in the PDDPT

Jeremiah 19 in the PFNT

Jeremiah 19 in the RMNT

Jeremiah 19 in the SBIAS

Jeremiah 19 in the SBIBS

Jeremiah 19 in the SBIBS2

Jeremiah 19 in the SBICS

Jeremiah 19 in the SBIDS

Jeremiah 19 in the SBIGS

Jeremiah 19 in the SBIHS

Jeremiah 19 in the SBIIS

Jeremiah 19 in the SBIIS2

Jeremiah 19 in the SBIIS3

Jeremiah 19 in the SBIKS

Jeremiah 19 in the SBIKS2

Jeremiah 19 in the SBIMS

Jeremiah 19 in the SBIOS

Jeremiah 19 in the SBIPS

Jeremiah 19 in the SBISS

Jeremiah 19 in the SBITS

Jeremiah 19 in the SBITS2

Jeremiah 19 in the SBITS3

Jeremiah 19 in the SBITS4

Jeremiah 19 in the SBIUS

Jeremiah 19 in the SBIVS

Jeremiah 19 in the SBT

Jeremiah 19 in the SBT1E

Jeremiah 19 in the SCHL

Jeremiah 19 in the SNT

Jeremiah 19 in the SUSU

Jeremiah 19 in the SUSU2

Jeremiah 19 in the SYNO

Jeremiah 19 in the TBIAOTANT

Jeremiah 19 in the TBT1E

Jeremiah 19 in the TBT1E2

Jeremiah 19 in the TFTIP

Jeremiah 19 in the TFTU

Jeremiah 19 in the TGNTATF3T

Jeremiah 19 in the THAI

Jeremiah 19 in the TNFD

Jeremiah 19 in the TNT

Jeremiah 19 in the TNTIK

Jeremiah 19 in the TNTIL

Jeremiah 19 in the TNTIN

Jeremiah 19 in the TNTIP

Jeremiah 19 in the TNTIZ

Jeremiah 19 in the TOMA

Jeremiah 19 in the TTENT

Jeremiah 19 in the UBG

Jeremiah 19 in the UGV

Jeremiah 19 in the UGV2

Jeremiah 19 in the UGV3

Jeremiah 19 in the VBL

Jeremiah 19 in the VDCC

Jeremiah 19 in the YALU

Jeremiah 19 in the YAPE

Jeremiah 19 in the YBVTP

Jeremiah 19 in the ZBP