Jeremiah 2 (BOLCB)

1 Ekigambo kya MUKAMA Katonda ne kinzijira nga kigamba nti, 2 “Genda olangirire nga Yerusaalemi ewulira nti: “Bw’ati bw’ayogera MUKAMA Katonda nti,“ ‘Nzijukira okwewaayo kwe weewaayo ng’okyali muto,engeri gye wanjagalamu nga twakafumbiriganwa,wangoberera mu ddungumu nsi etali nnime. 3 Isirayiri wali mutukuvu wa MUKAMA,ebibala ebibereberye ebyamakungula ge;bonna abaakulyangako nga bazzizza omusango,akabi nga kabatuukako,’ ”bw’ayogera MUKAMA Katonda. 4 Muwulirize ekigambo kya MUKAMA mwe ezzadde lya Yakobo,era n’ab’enju zonna ez’ebika eby’omu Isirayiri. 5 Bw’ati bw’ayogera MUKAMA nti,Kibi ki bakitammwe kye bansangamu ne banvaakone bagenda ewala ennyo bwe batyo?Baagoberera ebifaananyi bya bakatonda abakole n’emikono ebitaliimunabo bennyini ne bafuuka ebitaliimu. 6 Ne batagamba nako nti; “Ali ludda wa MUKAMA eyatuggya mu nsi y’e Misiri;eyatuyisa mu lukoola,mu nsi ey’amalungu n’obunnya, mu nsi enkalu n’ekisiikirize eky’okufa,mu nsi omutali muntu n’omu, so n’omuntu yenna mw’atayinza kuyita?” 7 Ne mbaleeta mu nsi engimu,mulye ebibala byamu n’ebintu ebirungi.Naye bwe mwajja ne mwonoona ensi yange,ne mufuula omugabo gwange ekivume. 8 Bakabona ne batabuuzaako nti, “MUKAMA ali ludda wa?”Abo abakola ku mateeka tebammanya.Abakulembeze ne banjeemera.Bannabbi nga baweereza ku lwa Baali, ne bagoberera ebitagasa. 9 “Kyenva nnyongera okubalumiriza,”bw’ayogera MUKAMA,“Era ndirumiriza n’abaana b’abaana bammwe. 10 Muwunguke ennyanja mugende ku bizinga bya Kittimu mulabe;era mutume e Kedali, mwetegereze.Mujja kulaba nga tekibangawo. 11 Waali wabaddewo eggwanga erikyusa bakatonda baalyo,wadde nga si bakatonda, naye nga bitaliimu?Naye abantu bange baawaanyisa ekitiibwa kyabwen’ebitagasa. 12 Wewuunye ggwe eggulu,era okankane n’entiisa ey’amaanyi,”bw’ayogera MUKAMA. 13 “Kubanga abantu bange bakoze ebibi bibiri,banvuddekonze ensulo ey’amazzi amalamune beesimira ettanka ez’omu ttaka,ettanka ez’omu ttaka ezirimu enjatika ezitanyweeramu mazzi.” 14 “Isirayiri muddu, omuddu omuzaale?Kale lwaki afuuse omuyiggo? 15 Bamuwulugumirako ng’empologoma bw’ewuluguma,abalabe bawulugumye nnyo.Ensi ye efuuse matongo,ebibuga bye bigyiridde ddala omuliro birekeddwa ttayo, nga temukyali muntu n’omu. 16 Ate era abasajja b’e Noofu n’e Tapeneesibamaliddewo ddala ekitiibwa kyo. 17 Si ggwe weeretedde bino ng’ova ku MUKAMA Katonda wo,eyakukulemberangaakulage ekkubo? 18 Kaakano olowooza onooganyulwamu kiokugenda okukolagana ne Misiri?Olowooza kiki ky’onoganyulwabw’onogenda okukolagana ne Bwasuli? 19 Ebibi byo byennyini bye biri kubonereza,n’okudda kwo emabega kwe kulikusalira omusango.Kale lowooza era otegeere nga bwe kiri ekibi era eky’omutawaana gy’oli bw’ova ku MUKAMA Katonda wo,n’oba nga tokyantya,”bw’ayogera MUKAMA, Katonda ow’eggye. 20 MUKAMA ow’eggye agamba nti,“Isirayiri, ebbanga ddene eriyiseewo bukya weggya mu buyinza bwange,n’ogamba nti, ‘Sijja kukugondera.’Era ddala, ku buli kasozi era na buli wansi w’omuti oguyimiriddewakuba obwamalaayang’ovuunamira bakatonda abalala. 21 Songa nnali nkusimbye ng’oli muzabbibu omulungi,ensigo eteriimu kikyamu n’akatono,naye ate lwaki oyonoonesen’ofuuka ng’omuzabbibu ogw’omu nsiko? 22 Kubanga ne bw’onaaba n’oluvu n’okozesa ne sabbuuni omungi,naye era ebbala lyo n’obutali butuukirivu bwobisigala bikyalabika,”bw’ayogera MUKAMA Katonda. 23 Oyinza otya okugamba nti, “Sseeyonoonanga,sigobereranga ba Baali?”Jjukira bwe weeyisa ng’oli mu kiwonvu;tegeera kye wakola.Oli ng’eŋŋamira enkazi efuumuuka embirongeraga eno n’eri, 24 ng’endogoyi ey’omu nsikoeddukira mu ddungu mw’emanyidde,ng’ewunyiriza mu bbanga eno n’eri mu kwaka kwayo,mu kiseera ekyo ani ayinza okugiziyiza?Ensajja zonna ezigyetaaga tezeetaaga kwekooya;mu biseera by’okulabaganiramu za kugifuna. 25 Tokooya bigere byo,era tokaza mimiro gyo.Naye n’oddamu nti, “Ebyo bya bwereere,sisobola kukyuka, nayagala bakatonda abalala,nteekwa okubanoonya.” 26 Ng’omubbi bw’aswala ng’akwatiddwa,n’ennyumba ya Isirayiri bw’eswala bw’etyo,bakabaka baayo, n’abalangira baayo, ne bakabona baayo,era ne bannabbi baayo, 27 nga bagamba emiti nti, “Ggwe kitange,”era n’ejjinja nti, “Ggwe wanzaala.”Bankubye amabega,naye bwe balaba ennaku bankaabirira nti, “Yimuka ojje otulokole.” 28 Kale bakatonda be weekolera baluwa?Leka bajje, bwe baba basobola okukulokola mu biseera eby’emitawaana.Kubanga obungi bwa bakatonda bammwebwenkanankana n’ebibuga byo ggwe Yuda. 29 “Lwaki munneemulugunyiza?Mwenna mwanneeddiimira,”bw’ayogera MUKAMA. 30 Abaana bammwe nababonereza naye nga bwerere,tebakkiriza kugololwa.Mmwe bennyini ne mwettira bannabbi bammweng’empologoma bw’etta. 31 Mmwe ab’omulembe guno muwulirize ekigambo kya Katonda.Mbadde nga ddungu gye muling’ensi ejjudde ekizikiza eky’amaanyi?Kale lwaki abantu bange bagamba nti,“Tulina eddembe, tetukyadda gy’oli?” 32 Omuwala omuto ayinza okwerabira ebikomo,oba omugole okwerabira ekyambalo kye?Naye ng’ate abantu bangeBannerabidde! 33 Ng’omanyi nnyo okukuba amakubo ag’okunoonya abanaakwagala!N’asembayo okuba omukugu mu bamalaaya aba alina kuyigira ku ggwe. 34 Engoye zo zijjudde omusaayi gw’abaavun’abatalina musango,awatali kugamba ntibakwatibwa nga babba.Ate nga wadde byonna biri bwe bityo 35 ogamba nti, “Sirina musango,ddala takyanninako busungu!”Laba, ŋŋenda kukusalira omusangoolw’okugamba nti, “Sirina kibi kye nkoze.” 36 Lwaki ogenda ng’okyusakyusaamakubo go!Misiri ejja kukuswazanga Bwasuli bwe yakuswaza. 37 Era n’eyo olivaayong’emikono ogyetisse ku mutwe,kubanga MUKAMA agaanye abo be weesiga;tagenda kukuyamba.

In Other Versions

Jeremiah 2 in the ANGEFD

Jeremiah 2 in the ANTPNG2D

Jeremiah 2 in the AS21

Jeremiah 2 in the BAGH

Jeremiah 2 in the BBPNG

Jeremiah 2 in the BBT1E

Jeremiah 2 in the BDS

Jeremiah 2 in the BEV

Jeremiah 2 in the BHAD

Jeremiah 2 in the BIB

Jeremiah 2 in the BLPT

Jeremiah 2 in the BNT

Jeremiah 2 in the BNTABOOT

Jeremiah 2 in the BNTLV

Jeremiah 2 in the BOATCB

Jeremiah 2 in the BOATCB2

Jeremiah 2 in the BOBCV

Jeremiah 2 in the BOCNT

Jeremiah 2 in the BOECS

Jeremiah 2 in the BOGWICC

Jeremiah 2 in the BOHCB

Jeremiah 2 in the BOHCV

Jeremiah 2 in the BOHLNT

Jeremiah 2 in the BOHNTLTAL

Jeremiah 2 in the BOICB

Jeremiah 2 in the BOILNTAP

Jeremiah 2 in the BOITCV

Jeremiah 2 in the BOKCV

Jeremiah 2 in the BOKCV2

Jeremiah 2 in the BOKHWOG

Jeremiah 2 in the BOKSSV

Jeremiah 2 in the BOLCB2

Jeremiah 2 in the BOMCV

Jeremiah 2 in the BONAV

Jeremiah 2 in the BONCB

Jeremiah 2 in the BONLT

Jeremiah 2 in the BONUT2

Jeremiah 2 in the BOPLNT

Jeremiah 2 in the BOSCB

Jeremiah 2 in the BOSNC

Jeremiah 2 in the BOTLNT

Jeremiah 2 in the BOVCB

Jeremiah 2 in the BOYCB

Jeremiah 2 in the BPBB

Jeremiah 2 in the BPH

Jeremiah 2 in the BSB

Jeremiah 2 in the CCB

Jeremiah 2 in the CUV

Jeremiah 2 in the CUVS

Jeremiah 2 in the DBT

Jeremiah 2 in the DGDNT

Jeremiah 2 in the DHNT

Jeremiah 2 in the DNT

Jeremiah 2 in the ELBE

Jeremiah 2 in the EMTV

Jeremiah 2 in the ESV

Jeremiah 2 in the FBV

Jeremiah 2 in the FEB

Jeremiah 2 in the GGMNT

Jeremiah 2 in the GNT

Jeremiah 2 in the HARY

Jeremiah 2 in the HNT

Jeremiah 2 in the IRVA

Jeremiah 2 in the IRVB

Jeremiah 2 in the IRVG

Jeremiah 2 in the IRVH

Jeremiah 2 in the IRVK

Jeremiah 2 in the IRVM

Jeremiah 2 in the IRVM2

Jeremiah 2 in the IRVO

Jeremiah 2 in the IRVP

Jeremiah 2 in the IRVT

Jeremiah 2 in the IRVT2

Jeremiah 2 in the IRVU

Jeremiah 2 in the ISVN

Jeremiah 2 in the JSNT

Jeremiah 2 in the KAPI

Jeremiah 2 in the KBT1ETNIK

Jeremiah 2 in the KBV

Jeremiah 2 in the KJV

Jeremiah 2 in the KNFD

Jeremiah 2 in the LBA

Jeremiah 2 in the LBLA

Jeremiah 2 in the LNT

Jeremiah 2 in the LSV

Jeremiah 2 in the MAAL

Jeremiah 2 in the MBV

Jeremiah 2 in the MBV2

Jeremiah 2 in the MHNT

Jeremiah 2 in the MKNFD

Jeremiah 2 in the MNG

Jeremiah 2 in the MNT

Jeremiah 2 in the MNT2

Jeremiah 2 in the MRS1T

Jeremiah 2 in the NAA

Jeremiah 2 in the NASB

Jeremiah 2 in the NBLA

Jeremiah 2 in the NBS

Jeremiah 2 in the NBVTP

Jeremiah 2 in the NET2

Jeremiah 2 in the NIV11

Jeremiah 2 in the NNT

Jeremiah 2 in the NNT2

Jeremiah 2 in the NNT3

Jeremiah 2 in the PDDPT

Jeremiah 2 in the PFNT

Jeremiah 2 in the RMNT

Jeremiah 2 in the SBIAS

Jeremiah 2 in the SBIBS

Jeremiah 2 in the SBIBS2

Jeremiah 2 in the SBICS

Jeremiah 2 in the SBIDS

Jeremiah 2 in the SBIGS

Jeremiah 2 in the SBIHS

Jeremiah 2 in the SBIIS

Jeremiah 2 in the SBIIS2

Jeremiah 2 in the SBIIS3

Jeremiah 2 in the SBIKS

Jeremiah 2 in the SBIKS2

Jeremiah 2 in the SBIMS

Jeremiah 2 in the SBIOS

Jeremiah 2 in the SBIPS

Jeremiah 2 in the SBISS

Jeremiah 2 in the SBITS

Jeremiah 2 in the SBITS2

Jeremiah 2 in the SBITS3

Jeremiah 2 in the SBITS4

Jeremiah 2 in the SBIUS

Jeremiah 2 in the SBIVS

Jeremiah 2 in the SBT

Jeremiah 2 in the SBT1E

Jeremiah 2 in the SCHL

Jeremiah 2 in the SNT

Jeremiah 2 in the SUSU

Jeremiah 2 in the SUSU2

Jeremiah 2 in the SYNO

Jeremiah 2 in the TBIAOTANT

Jeremiah 2 in the TBT1E

Jeremiah 2 in the TBT1E2

Jeremiah 2 in the TFTIP

Jeremiah 2 in the TFTU

Jeremiah 2 in the TGNTATF3T

Jeremiah 2 in the THAI

Jeremiah 2 in the TNFD

Jeremiah 2 in the TNT

Jeremiah 2 in the TNTIK

Jeremiah 2 in the TNTIL

Jeremiah 2 in the TNTIN

Jeremiah 2 in the TNTIP

Jeremiah 2 in the TNTIZ

Jeremiah 2 in the TOMA

Jeremiah 2 in the TTENT

Jeremiah 2 in the UBG

Jeremiah 2 in the UGV

Jeremiah 2 in the UGV2

Jeremiah 2 in the UGV3

Jeremiah 2 in the VBL

Jeremiah 2 in the VDCC

Jeremiah 2 in the YALU

Jeremiah 2 in the YAPE

Jeremiah 2 in the YBVTP

Jeremiah 2 in the ZBP