Jeremiah 26 (BOLCB)
1 Awo Yekoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda nga yakalya obwakabaka, ekigambo kino kyajja okuva eri MUKAMA. 2 “Bw’ati bw’ayogera MUKAMA nti, Yimirira mu luggya lw’ennyumba ya MUKAMA oyogere eri abantu bonna ab’ebibuga bya Yuda abazze okusinza mu nnyumba ya MUKAMA. Bagambe byonna bye nkulagira; tobaako na ky’olekayo. 3 Oboolyawo banaawulira, buli muntu n’akyuka okuva mu makubo ge amabi. Olwo nnejjuse nneme kubaleetako kikangabwa kyembadde ntegeka olw’okwonoona kwabwe. 4 Bagambe, bw’ati bw’ayogera MUKAMA nti, ‘Bwe mutampulirize ne mugoberera amateeka gange ge mbawadde, 5 era bwe mutaawulirize bigambo bya baddu bange bannabbi, be mbatumidde emirundi emingi wadde nga temubafuddeeko, 6 ndifuula enju eno nga Siiro era n’ekibuga kino ng’ekintu eky’okukolimirwa mu mawanga ag’ensi.’ ” 7 Bakabona ne bannabbi n’abantu bonna ne bawulira Yeremiya ng’ayogera ebigambo bino mu nnyumba ya MUKAMA. 8 Naye nga Yeremiya ya kamaliriza okubuulira abantu bonna ebintu byonna MUKAMA bye yali amulagidde okwogera, bakabona ne bannabbi, n’abantu bonna ne bamukwata ne bagamba nti, “Oteekwa okufa! 9 Lwaki oyogera ebyobunnabbi mu linnya lya MUKAMA nti, Ennyumba eno eneebeera nga Siiro, n’ekibuga kino kinaakubwa kisigale matongo?” Awo abantu bonna ne beetooloola Yeremiya mu nnyumba ya MUKAMA. 10 Awo abakungu ba Yuda bwe baawulira ebigambo bino, ne bava mu lubiri ne bambuka mu nnyumba ya MUKAMA ne batuula mu bifo byabwe awayingirirwa ku Mulyango Omuggya ogw’ennyumba ya MUKAMA. 11 Awo bakabona ne bannabbi ne bagamba abakungu n’abantu bonna nti, “Omusajja ono asaana kusalirwa musango gwa kufa kubanga ayogedde ebyobunnabbi ebibi ku kibuga kino. Mukiwulidde n’amatu gammwe gennyini.” 12 Awo Yeremiya n’agamba abakungu bonna n’abantu bonna nti, “MUKAMA yantuma njogere ebyobunnabbi bwe bityo ku nnyumba eno n’ekibuga kino ebintu byonna bye muwulidde. 13 Kaakano mukyuse amakubo gammwe n’ebikolwa byammwe mugondere MUKAMA Katonda wammwe. Olwo MUKAMA anaakyusa n’ataleeta bikangabwa by’aboogeddeko. 14 Nze, ndi mu mikono gyammwe; munkole kyonna kye mulowooza nga kye kirungi era kye kituufu. 15 Mumanyire ddala nno nti bwe munzita, mujja kwereetako omusango gw’okuyiwa omusaayi ogutalina musango, mmwe n’ekibuga kino n’abo abakibeeramu, kubanga eky’amazima MUKAMA ye yantumye okwogera gye muli ebigambo bino byonna mubiwulire.” 16 Awo abakungu n’abantu bonna ne bagamba bakabona ne bannabbi nti, “Omusajja ono tasaana kusalirwa musango gwa kufa! Ayogedde naffe mu linnya lya MUKAMA Katonda waffe.” 17 Abamu ku bakadde ne bavaayo ne bajja mu maaso ne boogera eri ekibiina kyonna eky’abantu nti, 18 “Mikka ow’e Moreseesi yawa obunnabbi mu nnaku za Keezeekiya kabaka wa Yuda. Yagamba abantu bonna aba Yuda nti, ‘Bw’ati bw’ayogera MUKAMA Katonda ow’Eggye nti,“ ‘Sayuuni ajja kulimibwa ng’ennimiro,Yerusaalemi ajja kufuuka ntuumu ya mafunfugu,olusozi lwa yeekaalu, lufuuke akasozi akamezeeko ebisaka.’ 19 Keezeekiya oba omuntu omulala yenna mu Yuda, yamutta? Keezeekiya teyatya MUKAMA n’anoonya ekisa kye? Era MUKAMA teyakyusa n’ataleeta kuzikirira kwe yali agambye okubaleetako? Naye tunaatera okwereetera obulabe obw’amaanyi!” 20 Waaliwo omusajja omulala Uliya omwana wa Semaaya ow’e Kiriyasuyalimu, eyawa obunnabbi mu linnya lya MUKAMA. Yawa obunnabbi bwe bumu ng’obwa Yeremiya obugugumbula ekibuga kino era n’ensi eno. 21 Wabula kabaka Yekoyakimu n’abakungu be bonna n’abasajja be n’ab’obuyinza, bwe baawulira ebigambo bye, kabaka n’amunoonya okumutta, naye Uliya bwe yakiwulira n’atya n’addukira e Misiri. 22 Awo kabaka Yekoyakimu n’atuma Erunasani mutabani wa Akubooli n’abasajja abawerako, 23 ne baggya Uliya e Misiri ne bamutwala eri kabaka Yekoyakimu, eyalagira attibwe n’ekitala omulambo gwe ne gusuulibwa mu kifo ekiziikibwamu ekya lukale. 24 Akikamu mutabani wa Safani n’awolereza Yeremiya n’amuwagira n’ataweebwayo eri bantu kuttibwa.
In Other Versions
Jeremiah 26 in the ANGEFD
Jeremiah 26 in the ANTPNG2D
Jeremiah 26 in the AS21
Jeremiah 26 in the BAGH
Jeremiah 26 in the BBPNG
Jeremiah 26 in the BBT1E
Jeremiah 26 in the BDS
Jeremiah 26 in the BEV
Jeremiah 26 in the BHAD
Jeremiah 26 in the BIB
Jeremiah 26 in the BLPT
Jeremiah 26 in the BNT
Jeremiah 26 in the BNTABOOT
Jeremiah 26 in the BNTLV
Jeremiah 26 in the BOATCB
Jeremiah 26 in the BOATCB2
Jeremiah 26 in the BOBCV
Jeremiah 26 in the BOCNT
Jeremiah 26 in the BOECS
Jeremiah 26 in the BOGWICC
Jeremiah 26 in the BOHCB
Jeremiah 26 in the BOHCV
Jeremiah 26 in the BOHLNT
Jeremiah 26 in the BOHNTLTAL
Jeremiah 26 in the BOICB
Jeremiah 26 in the BOILNTAP
Jeremiah 26 in the BOITCV
Jeremiah 26 in the BOKCV
Jeremiah 26 in the BOKCV2
Jeremiah 26 in the BOKHWOG
Jeremiah 26 in the BOKSSV
Jeremiah 26 in the BOLCB2
Jeremiah 26 in the BOMCV
Jeremiah 26 in the BONAV
Jeremiah 26 in the BONCB
Jeremiah 26 in the BONLT
Jeremiah 26 in the BONUT2
Jeremiah 26 in the BOPLNT
Jeremiah 26 in the BOSCB
Jeremiah 26 in the BOSNC
Jeremiah 26 in the BOTLNT
Jeremiah 26 in the BOVCB
Jeremiah 26 in the BOYCB
Jeremiah 26 in the BPBB
Jeremiah 26 in the BPH
Jeremiah 26 in the BSB
Jeremiah 26 in the CCB
Jeremiah 26 in the CUV
Jeremiah 26 in the CUVS
Jeremiah 26 in the DBT
Jeremiah 26 in the DGDNT
Jeremiah 26 in the DHNT
Jeremiah 26 in the DNT
Jeremiah 26 in the ELBE
Jeremiah 26 in the EMTV
Jeremiah 26 in the ESV
Jeremiah 26 in the FBV
Jeremiah 26 in the FEB
Jeremiah 26 in the GGMNT
Jeremiah 26 in the GNT
Jeremiah 26 in the HARY
Jeremiah 26 in the HNT
Jeremiah 26 in the IRVA
Jeremiah 26 in the IRVB
Jeremiah 26 in the IRVG
Jeremiah 26 in the IRVH
Jeremiah 26 in the IRVK
Jeremiah 26 in the IRVM
Jeremiah 26 in the IRVM2
Jeremiah 26 in the IRVO
Jeremiah 26 in the IRVP
Jeremiah 26 in the IRVT
Jeremiah 26 in the IRVT2
Jeremiah 26 in the IRVU
Jeremiah 26 in the ISVN
Jeremiah 26 in the JSNT
Jeremiah 26 in the KAPI
Jeremiah 26 in the KBT1ETNIK
Jeremiah 26 in the KBV
Jeremiah 26 in the KJV
Jeremiah 26 in the KNFD
Jeremiah 26 in the LBA
Jeremiah 26 in the LBLA
Jeremiah 26 in the LNT
Jeremiah 26 in the LSV
Jeremiah 26 in the MAAL
Jeremiah 26 in the MBV
Jeremiah 26 in the MBV2
Jeremiah 26 in the MHNT
Jeremiah 26 in the MKNFD
Jeremiah 26 in the MNG
Jeremiah 26 in the MNT
Jeremiah 26 in the MNT2
Jeremiah 26 in the MRS1T
Jeremiah 26 in the NAA
Jeremiah 26 in the NASB
Jeremiah 26 in the NBLA
Jeremiah 26 in the NBS
Jeremiah 26 in the NBVTP
Jeremiah 26 in the NET2
Jeremiah 26 in the NIV11
Jeremiah 26 in the NNT
Jeremiah 26 in the NNT2
Jeremiah 26 in the NNT3
Jeremiah 26 in the PDDPT
Jeremiah 26 in the PFNT
Jeremiah 26 in the RMNT
Jeremiah 26 in the SBIAS
Jeremiah 26 in the SBIBS
Jeremiah 26 in the SBIBS2
Jeremiah 26 in the SBICS
Jeremiah 26 in the SBIDS
Jeremiah 26 in the SBIGS
Jeremiah 26 in the SBIHS
Jeremiah 26 in the SBIIS
Jeremiah 26 in the SBIIS2
Jeremiah 26 in the SBIIS3
Jeremiah 26 in the SBIKS
Jeremiah 26 in the SBIKS2
Jeremiah 26 in the SBIMS
Jeremiah 26 in the SBIOS
Jeremiah 26 in the SBIPS
Jeremiah 26 in the SBISS
Jeremiah 26 in the SBITS
Jeremiah 26 in the SBITS2
Jeremiah 26 in the SBITS3
Jeremiah 26 in the SBITS4
Jeremiah 26 in the SBIUS
Jeremiah 26 in the SBIVS
Jeremiah 26 in the SBT
Jeremiah 26 in the SBT1E
Jeremiah 26 in the SCHL
Jeremiah 26 in the SNT
Jeremiah 26 in the SUSU
Jeremiah 26 in the SUSU2
Jeremiah 26 in the SYNO
Jeremiah 26 in the TBIAOTANT
Jeremiah 26 in the TBT1E
Jeremiah 26 in the TBT1E2
Jeremiah 26 in the TFTIP
Jeremiah 26 in the TFTU
Jeremiah 26 in the TGNTATF3T
Jeremiah 26 in the THAI
Jeremiah 26 in the TNFD
Jeremiah 26 in the TNT
Jeremiah 26 in the TNTIK
Jeremiah 26 in the TNTIL
Jeremiah 26 in the TNTIN
Jeremiah 26 in the TNTIP
Jeremiah 26 in the TNTIZ
Jeremiah 26 in the TOMA
Jeremiah 26 in the TTENT
Jeremiah 26 in the UBG
Jeremiah 26 in the UGV
Jeremiah 26 in the UGV2
Jeremiah 26 in the UGV3
Jeremiah 26 in the VBL
Jeremiah 26 in the VDCC
Jeremiah 26 in the YALU
Jeremiah 26 in the YAPE
Jeremiah 26 in the YBVTP
Jeremiah 26 in the ZBP