Jeremiah 48 (BOLCB)

1 Ebikwata ku Mowaabu: Bw’ati bw’ayogera MUKAMA ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti,“Zikisanze Nebo, kubanga kijja kuzikirizibwa,Kiriyasayimu kiswale kiwambibwe,ekigo eky’amaanyi kijja kuswala kimenyebwe. 2 Mowaabu taddeyo kutenderezebwa;mu Kesuboni abantu balitegeka okugwa kwe, nga boogera nti,‘Mujje, tumalewo ensi eyo.’Nammwe, mmwe Madumeni mulisirisibwa,n’ekitala kirikugoberera. 3 Muwulirize emiranga egiva e Kolonayimu,okwonoonekerwa n’okuzikirizibwa okunene. 4 Mowaabu alimenyebwa;abawere ne bakaaba. 5 Bakwata ekkubo erigenda e Lukisi,nga bwe bakungubagaku luguudo olugenda e Kolonayimu,emiranga egy’okuzikirizibwa giwulirwa. 6 Mudduke! Muwonye obulamu bwammwe;mubeere ng’ebisaka mu ddungu. 7 Kubanga mwesiga ebikolwa byammwe n’obugagga bwammwe,nammwe mulitwalibwa ng’abaddu,ne Kemosi alitwalibwa mu buwaŋŋanguseawamu ne bakabona be n’abakungu be. 8 Omuzikiriza alirumba buli kibuga,era tewali kibuga kiriwona.Ekiwonvu kiryonoonebwan’olusenyu luzikirizibwekubanga MUKAMA ayogedde. 9 Muwe Mowaabu ebiwaawaatiro abuuke agendekubanga alifuuka matongo,ebibuga bye birizikirizibwa,nga tewali abibeeramu. 10 “Akolimirwe oyo agayaalira omulimu gwa MUKAMA Katonda.Akolimirwe oyo aziyiza ekitala kye okuyiwa omusaayi. 11 “Mowaabu abadde mirembe okuva mu buvubuka bwe,nga wayini gwe batasengezze,gwe bataggye mu kibya ekimu okumuyiwa mu kirala,tagenzeko mu buwaŋŋanguse.Kale awooma ng’edda,n’akawoowo ke tekakyukanga. 12 Naye ennaku zijja,”bw’ayogera MUKAMA Katonda,“lwe ndituma basajja bange abaggya wayini mu bibya,era balimuyiwa ebweru;balittulula ensuwa zebaase n’ebibya bye. 13 Awo Mowaabu alikwatibwa ensonyi olwa Kemosi,ng’ennyumba ya Isirayiri bwe yaswalabwe yeesiga Beseri. 14 “Oyinza otya okugamba nti, ‘Tuli balwanyi,abasajja abazira mu ntalo?’ 15 Mowaabu alizindibwa n’ebibuga bye ne bizikirizibwa;abavubuka be abato bagende battibwe,”bw’ayogera Kabaka, erinnya lye ye MUKAMA Katonda ow’Eggye. 16 “Okugwa kwa Mowaabu kusembedde;akabi katuuse. 17 Mumubeesebeese mwenna abamwetoolodde,mwenna abamanyi ettutumu lye;mugambe nti, ‘Ng’Omuggo ogw’amaanyi ogw’obwakabaka gumenyese,ng’oluga olw’ekitiibwa lumenyese!’  18 “Mukke muve mu kitiibwa kyammwemutuule ku ttaka,mmwe abatuuze b’Omuwala w’e Diboni,kubanga oyo azikiriza Mowaabualibajjira azikirize ebibuga byammwe ebya bbugwe. 19 Muyimirire ku luguudo mulabe,mmwe ababeera mu Aloweri.Mubuuze omusajja adduka, n’omukazi atoloka,mubabuuze nti, ‘Kiki ekiguddewo?’ 20 Mowaabu aswadde kubanga amenyesemenyese.Mukaabe muleekaane!Mulangiririre mu Alunoninti Mowaabu kizikiridde. 21 Okusala omusango kutuuse mu nsi ey’ensenyiku Koloni ne ku Yaza ne ku Mefaasi, 22 ne ku Diboni, ne ku Nebo ne ku Besudibulasayimu, 23 ne ku Kiriyasayimu ne ku Besugamuli ne ku Besumyoni; 24 ne ku Keriyoosi ne ku Bozulane ku bibuga byonna eby’omu nsi ya Mowaabu ebiri ewala n’ebiri okumpi. 25 Ejjembe lya Mowaabu lisaliddwako,n’omukono gwe gumenyese,”bw’ayogera MUKAMA Katonda. 26 “Mumutamiize;kubanga ajeemedde MUKAMA.Ka Mowaabu yekulukuunyize mu bisesemye bye,era asekererwe. 27 Isirayiri tewagisekereranga?Baali bamukutte mu bubbi,olyoke onyeenye omutwe gwo ng’omusekererabuli lw’omwogerako? 28 Muve mu bibuga byammwe mubeere mu njazi,mmwe ababeera mu Mowaabu.Mubeere ng’ejjiba erikola ekisu kyalyoku mumwa gw’empuku. 29 “Tuwulidde amalala ga Mowaabuamalala ge agayitiridde n’okwemanya,okwewulira kwe era n’okweyisa kweera n’okwegulumiza kwe okw’omutima. 30 Mmanyi obusungu bwe obutaliimu,” bw’ayogera MUKAMA Katonda,“okwenyumiriza kwe okutaliiko kye kugasa. 31 Noolwekyo nkaabirira Mowaabu,olwa Mowaabu yenna nkaaba,nkungubagira abasajja ab’e Kirukeresi. 32 Nkukaabira ggwe amaziga, nga Yazeri bw’akaaba,ggwe omuzabbibu gw’e Sibuna.Amatabi gammwe geegolola okutuuka ku nnyanja;gatuuka ku nnyanja y’e Yazeri.Omuzikiriza agudde ku bibala byoebyengedde era n’emizabbibu. 33 Essanyu n’okujaguza biggiddwa ku nnimirone ku bibanja bya Mowaabu.Nziyizza okukulukuta kwa wayini mu masogolero;tewali asogola ng’aleekaana olw’essanyu.Newaakubadde nga waliyo okuleekaana,okuleekaana okwo si kwa ssanyu. 34 “Amaloboozi g’okukaaba kwabwe galinnyeokuva e Kesuboni okutuuka ku Ereyale, n’okutuuka ku Yakazi.Okuva e Zowaali okutuuka e Kolanayimu n’e Egulasuserisiya,kubanga n’amazzi g’e Nimulimu gakalidde. 35 Ndiggyawoabo abawaayo ebiweebwayo mu bifo ebigulumivu e Mowaabu,ne bootereza n’obubaane eri bakatonda baabwe,” bw’ayogera MUKAMA Katonda. 36 “Noolwekyo omutima gwange gukaabira Mowaabu ng’endere;gukaaba ng’endere olw’abasajja b’e Kirukesi.Obugagga bwe baafuna buweddewo. 37 Buli mutwe mumwena buli kirevu kisaliddwako;buli mukono gutemeddwakona buli kiwato kisibiddwamu ebibukutu. 38 Ku buli kasolya ka nnyumba e Mowaabune mu bifo awakuŋŋaanirwa,tewaliwo kintu kirala wabula okukungubaga,kubanga njasizzayasizza Mowaabung’ekibya ekitaliiko akyagala,” bw’ayogera MUKAMA Katonda. 39 “Ng’amenyeddwamenyeddwa! Nga bakaaba!Mowaabu ng’akyusa omugongo gwe olw’obuswavu!Mowaabu afuuse kyakusekererwa,ekyekango eri bonna abamwetoolodde.” 40 Bw’ati bw’ayogera MUKAMA Katonda nti:“Laba! Empungu ekka,ng’eyanjuluza ebiwaawaatiro byayo ku Mowaabu. 41 Ebibuga birikwatibwan’ebigo biwambibwe.Ku lunaku olwo emitima gy’abalwanyi ba Mowaabugiribeera ng’omutima gw’omukazi alumwa okuzaala. 42 Mowaabu alizikirizibwa,kubanga yajeemera MUKAMA. 43 Entiisa n’obunnya n’omutego bibalindiridde,mmwe abantu ba Mowaabu,”bw’ayogera MUKAMA Katonda. 44 “Buli alidduka entiisaaligwa mu bunnya,n’oyo aliba avudde mu bunnyaalikwatibwa omutego;kubanga ndireeta ku Mowaabuomwaka gw’okubonaabona kwe,”bw’ayogera MUKAMA Katonda. 45 “Mu kisiikirize kya Kesuboni,abadduka mwe bayimirira nga tebalina maanyi,kubanga omuliro guvudde mu Kesuboni,ennimi z’omuliro wakati mu Sikoni,era gw’okezza ebyenyi bya Mowaabu,n’obuwanga bw’abo abaleekaana nga beewaanawaana. 46 Zikusanze ggwe, Mowaabu.Abantu b’e Kemosi bazikiridde,batabani bo batwaliddwa mu buwaŋŋangusene bawala bammwe mu busibe. 47 “Ndikomyawo nate obugagga bwa Mowaabumu nnaku ezijja,”bw’ayogera MUKAMA Katonda.Omusango Mowaabu gw’asaliddwa gukoma wano.

In Other Versions

Jeremiah 48 in the ANGEFD

Jeremiah 48 in the ANTPNG2D

Jeremiah 48 in the AS21

Jeremiah 48 in the BAGH

Jeremiah 48 in the BBPNG

Jeremiah 48 in the BBT1E

Jeremiah 48 in the BDS

Jeremiah 48 in the BEV

Jeremiah 48 in the BHAD

Jeremiah 48 in the BIB

Jeremiah 48 in the BLPT

Jeremiah 48 in the BNT

Jeremiah 48 in the BNTABOOT

Jeremiah 48 in the BNTLV

Jeremiah 48 in the BOATCB

Jeremiah 48 in the BOATCB2

Jeremiah 48 in the BOBCV

Jeremiah 48 in the BOCNT

Jeremiah 48 in the BOECS

Jeremiah 48 in the BOGWICC

Jeremiah 48 in the BOHCB

Jeremiah 48 in the BOHCV

Jeremiah 48 in the BOHLNT

Jeremiah 48 in the BOHNTLTAL

Jeremiah 48 in the BOICB

Jeremiah 48 in the BOILNTAP

Jeremiah 48 in the BOITCV

Jeremiah 48 in the BOKCV

Jeremiah 48 in the BOKCV2

Jeremiah 48 in the BOKHWOG

Jeremiah 48 in the BOKSSV

Jeremiah 48 in the BOLCB2

Jeremiah 48 in the BOMCV

Jeremiah 48 in the BONAV

Jeremiah 48 in the BONCB

Jeremiah 48 in the BONLT

Jeremiah 48 in the BONUT2

Jeremiah 48 in the BOPLNT

Jeremiah 48 in the BOSCB

Jeremiah 48 in the BOSNC

Jeremiah 48 in the BOTLNT

Jeremiah 48 in the BOVCB

Jeremiah 48 in the BOYCB

Jeremiah 48 in the BPBB

Jeremiah 48 in the BPH

Jeremiah 48 in the BSB

Jeremiah 48 in the CCB

Jeremiah 48 in the CUV

Jeremiah 48 in the CUVS

Jeremiah 48 in the DBT

Jeremiah 48 in the DGDNT

Jeremiah 48 in the DHNT

Jeremiah 48 in the DNT

Jeremiah 48 in the ELBE

Jeremiah 48 in the EMTV

Jeremiah 48 in the ESV

Jeremiah 48 in the FBV

Jeremiah 48 in the FEB

Jeremiah 48 in the GGMNT

Jeremiah 48 in the GNT

Jeremiah 48 in the HARY

Jeremiah 48 in the HNT

Jeremiah 48 in the IRVA

Jeremiah 48 in the IRVB

Jeremiah 48 in the IRVG

Jeremiah 48 in the IRVH

Jeremiah 48 in the IRVK

Jeremiah 48 in the IRVM

Jeremiah 48 in the IRVM2

Jeremiah 48 in the IRVO

Jeremiah 48 in the IRVP

Jeremiah 48 in the IRVT

Jeremiah 48 in the IRVT2

Jeremiah 48 in the IRVU

Jeremiah 48 in the ISVN

Jeremiah 48 in the JSNT

Jeremiah 48 in the KAPI

Jeremiah 48 in the KBT1ETNIK

Jeremiah 48 in the KBV

Jeremiah 48 in the KJV

Jeremiah 48 in the KNFD

Jeremiah 48 in the LBA

Jeremiah 48 in the LBLA

Jeremiah 48 in the LNT

Jeremiah 48 in the LSV

Jeremiah 48 in the MAAL

Jeremiah 48 in the MBV

Jeremiah 48 in the MBV2

Jeremiah 48 in the MHNT

Jeremiah 48 in the MKNFD

Jeremiah 48 in the MNG

Jeremiah 48 in the MNT

Jeremiah 48 in the MNT2

Jeremiah 48 in the MRS1T

Jeremiah 48 in the NAA

Jeremiah 48 in the NASB

Jeremiah 48 in the NBLA

Jeremiah 48 in the NBS

Jeremiah 48 in the NBVTP

Jeremiah 48 in the NET2

Jeremiah 48 in the NIV11

Jeremiah 48 in the NNT

Jeremiah 48 in the NNT2

Jeremiah 48 in the NNT3

Jeremiah 48 in the PDDPT

Jeremiah 48 in the PFNT

Jeremiah 48 in the RMNT

Jeremiah 48 in the SBIAS

Jeremiah 48 in the SBIBS

Jeremiah 48 in the SBIBS2

Jeremiah 48 in the SBICS

Jeremiah 48 in the SBIDS

Jeremiah 48 in the SBIGS

Jeremiah 48 in the SBIHS

Jeremiah 48 in the SBIIS

Jeremiah 48 in the SBIIS2

Jeremiah 48 in the SBIIS3

Jeremiah 48 in the SBIKS

Jeremiah 48 in the SBIKS2

Jeremiah 48 in the SBIMS

Jeremiah 48 in the SBIOS

Jeremiah 48 in the SBIPS

Jeremiah 48 in the SBISS

Jeremiah 48 in the SBITS

Jeremiah 48 in the SBITS2

Jeremiah 48 in the SBITS3

Jeremiah 48 in the SBITS4

Jeremiah 48 in the SBIUS

Jeremiah 48 in the SBIVS

Jeremiah 48 in the SBT

Jeremiah 48 in the SBT1E

Jeremiah 48 in the SCHL

Jeremiah 48 in the SNT

Jeremiah 48 in the SUSU

Jeremiah 48 in the SUSU2

Jeremiah 48 in the SYNO

Jeremiah 48 in the TBIAOTANT

Jeremiah 48 in the TBT1E

Jeremiah 48 in the TBT1E2

Jeremiah 48 in the TFTIP

Jeremiah 48 in the TFTU

Jeremiah 48 in the TGNTATF3T

Jeremiah 48 in the THAI

Jeremiah 48 in the TNFD

Jeremiah 48 in the TNT

Jeremiah 48 in the TNTIK

Jeremiah 48 in the TNTIL

Jeremiah 48 in the TNTIN

Jeremiah 48 in the TNTIP

Jeremiah 48 in the TNTIZ

Jeremiah 48 in the TOMA

Jeremiah 48 in the TTENT

Jeremiah 48 in the UBG

Jeremiah 48 in the UGV

Jeremiah 48 in the UGV2

Jeremiah 48 in the UGV3

Jeremiah 48 in the VBL

Jeremiah 48 in the VDCC

Jeremiah 48 in the YALU

Jeremiah 48 in the YAPE

Jeremiah 48 in the YBVTP

Jeremiah 48 in the ZBP