Jeremiah 6 (BOLCB)
1 Mwekuŋŋaanye mudduke mmwe abantu ba Benyamini!Mmudduke muve mu Yerusaalemi.Fuuwa ekkondeere mu Tekowa,era yimusa ebbendera mu Besukakkeremu:kubanga akacwano kasinzidde mu bukiikakkono,okuzikirira okw’entiisa. 2 Ndizikiriza omuwala wa Sayuuni,omulungi oyo omubalagavu. 3 Abasumba balimulumba n’ebisibo byabwe.Balimwetoolooza weema zaabwe zimwolekere enjuuyi zonna,buli omu yeezimbire w’ayagala. 4 “Mwetegeke mumulwanyise!Muyimuke, tumulumbe mu ttuntu!Naye, nedda, omusana gugenda guggwaayo,n’ebisiikirize by’akawungeezi biwanvuye! 5 Tugende, tulumbe kirotuzikirize amayumba ge.” 6 Bw’ati MUKAMA Katonda ow’Eggye bw’agamba nti,“Muteme emiti mukole entuumomuzingize Yerusaalemi.Ekibuga kino kiteekwa okubonerezebwa kyonna,kubanga kijjudde bujoozi bwerere. 7 Ng’oluzzi bwe lukulukusa amazzi, bwe kityo bwe kikulukusa ebibi byakyo,entalo era n’okuzikirira biwulirwa munda waakyo.Obulwadde n’ebiwundubye ndaba buli bbanga. 8 Nkulabula,ggwe Yerusaalemi,emmeeme yange ereme okwawukana naawe,si kulwa ng’ofuuka amatongo.” 9 Bw’ati bw’ayogera MUKAMA Katonda ow’Eggye nti,“Balisusumbulira ddala n’abo abatonoabaliba basigaddewo mu Isirayiri.Ddamu oyise omukono mu matabing’omunozi we zabbibu bw’akola.” 10 Ndyogera eri ani gwe ndirabula?Ani alimpuliriza?Amatu gaabwe gagaddwane batasobola kuwulira.Ekigambo kya MUKAMA kiri nga kyakusesa gye bali,tebakisanyukira n’akamu. 11 Kyenva nzijula ekiruyisikyasobola kukizibiikiriza. “Kiyiwe ku baana abali mu luguudo,ne ku bavubuka abakuŋŋaanye;abaami awamu n’abakazi n’abakaddeabo abawezezza emyaka emingi baliwambibwa. 12 Enju zaabweziritwalibwa abalala,n’ennimiro zaabwe awamu ne bakazi baabwe;kubanga ndigolola omukono gwange ku abo abali mu nsi,”bw’ayogera MUKAMA. 13 “Kubanga okuva ku asembayo wansi okutuusa ku asingayo waggulu,buli omu alulunkanira kufuna.Nnabbi ne kabona bonnaboogera eby’obulimba. 14 Ekiwundu ky’abantu bangebakijjanjaba ng’ekitali ky’amaanyi.Boogera nti, ‘Mirembe, mirembe.’So nga tewali mirembe. 15 Bakwatibwa ensonyi olw’ebikolwa byabwe eby’emizizo?Nedda.Tebakwatibwa nsonyi n’akatono.Noolwekyo baligwira wamu n’abo abaligwa;balisuulibwa wansi bwe ndibabonereza,”bw’ayogera MUKAMA. 16 Kino MUKAMA ky’agamba nti,“Yimirira mu masaŋŋanzira otunule.Buuza amakubo ag’edda, buuza ekkubo eddungi gye liri,era otambulire omwo,emmeeme yammwe erifuna ekiwummulo.Naye ne mugamba nti, ‘Tetujja kulitambuliramu.’ 17 Nabateerawo abakuumi babategeeze nti,Muwulirize eddoboozi ly’ekkondeere,naye ne mugamba nti, ‘Tetujja kuwuliriza.’ 18 Kale muwulire,mmwe amawangaera mulabe mmwe ab’ekkuŋŋaaniro ekyo ekiribatuukako. 19 Wuliriza, ggwe ensi:laba, ndeeta akabi ku bantu bano,by’ebibala by’enkwe zaabwe,kubanga tebafuddeeyo ku bigambo byangen’etteeka lyange baligaanye. 20 Omugavu oguva e Seeba bampa gwa ki?Oba zino emmuli ezakaloosa eziva mu nsi ey’ewala?Ebiweebwayo byammwe ebyokebwa sijja kubikkiriza,n’essaddaaka zammwe tezinsanyusa.” 21 Noolwekyo bw’ati bw’ayogera MUKAMA nti,“Laba nditeeka enkonge mu maaso g’abantu bano;bakitaabwe ne batabani baabwe bonna bazesittaleko.Muliraanwa we ne mukwano gwe balizikirira.” 22 Bw’ati bw’ayogera MUKAMA, nti,“Laba, eggye lijjaeriva mu nsi ey’omu bukiikakkono,eggwanga ery’amaanyiliyimusibwa okuva ku nkomerero z’ensi. 23 Bakutte omutego n’effumu,abakambwe abatalina kusaasira.Bawulikika ng’ennyanja ewuuma,nga beebagadde embalaasi zaabwe:bajja ng’abalwanyi mu byambalo by’olutalookulumba ggwe Muwala wa Sayuuni!” 24 Tuwulidde ettutumu lyabwe;era emikono gyaffe giweddemu amaanyiokulumwa okunene kutukutten’okulumwa ng’okw’omukazi alumwa okuzaala. 25 Togeza kugenda mu nnimironewaakubadde okutambulira mu kkubo;kubanga omulabe abunye wonna wonnan’entiisa ejjudde mu bantu. 26 Kale nno mmwe abantu,mwambale ebibukutu era mwevulunge mu vvu;mukungubage ng’abakaabiraomwana owoobulenzi omu yekka.Kubanga oyo agenda okuzikirizaajja kutugwako mavumbavumba. 27 “Nkufudde ekigezesaabantu bange n’ekyuma,osobole okulaba n’okugezesaamakubo gaabwe. 28 Bonna bakyewaggulaabakakanyavu abagenda bawaayiriza,bikomo era kyuma,bonna boonoonefu. 29 Emivubo bagifukuta n’amaanyi,omuliro gumalawo essasi,naye balongoosereza bwereerekubanga ababi tebaggyibwamu. 30 Baliyitibwa masengere ga ffeeza,kubanga MUKAMA abalese.”