Joshua 18 (BOLCB)

1 Ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri ne bakuŋŋaanira mu Siiro ne basimba eyo Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu. Ensi yali mu mikono gyabwe, 2 wabula waali wakyaliwo ebika musanvu ebya Isirayiri ebyali tebinnafuna mugabo gwabyo. 3 Yoswa n’agamba abaana ba Isirayiri nti, “Mulituusa ddi okulinda nga temunnafuna mugabo MUKAMA Katonda wa bajjajjammwe gwe yabawa? 4 Mulonde abantu basatu mu buli kika mbatume bayite mu nsi bagyetegereze, ng’emigabo gyabwe bwe giri era bawandiike ng’emigabo gyabwe bwe giri bakomewo bantegeeze. 5 Baligigabanyaamu ebitundu musanvu Yuda esigale mu bitundu byayo mu bukiikaddyo n’ennyumba ya Yusufu mu bitundu byayo mu bukiikakkono. 6 Nga mumaze okugabanya ensi mu bitundu musanvu mundeetere bye muwandiise mbakubire obululu mu maaso ga MUKAMA Katonda waffe. 7 Abaleevi tebalina mugabo mu mmwe kubanga obwakabona bwa MUKAMA gwe mugabo gwabwe, ne Gaadi, ne Lewubeeni n’ekitundu eky’ekika kya Manase bo baamala okuweebwa omugabo gwabwe emitala wa Yoludaani ku luuyi olw’ebuvanjuba, Musa omuweereza wa MUKAMA gwe yabawa.” 8 Abantu ne bagenda okulaba ensi bw’efaanana, Yoswa n’alagira be baali batumye nti, “Mugende mutambuletambule mu nsi mugyetegereze bw’efaanana, mukomewo mbakubire obululu wano mu maaso ga MUKAMA e Siiro.” 9 Awo ne bagenda ne bayita mu nsi, ne bawandiika ebitundu musanvu ebifa ku bibuga mu kitabo, ne bakomawo ewa Yoswa mu lusiisira e Siiro. 10 Awo Yoswa n’abakubira obululu mu Siiro mu maaso ga MUKAMA n’agabanyiza abaana ba Isirayiri ensi ng’ebitundu byabwe bwe byali. 11 Awo akalulu k’ekika kya Benyamini, okusinziira ku nnyumba mwe bazaalibwa, ne katuuka era omugabo gwe baafuna ne guba mu makkati g’abaana ba Yuda n’abaana ba Yusufu. 12 Ku luuyi olw’obukiikakkono ensalo yaabwe ne tandikira ku Yoludaani ne yeeyongera ku njegoyego z’obukiikakkono bwa Yeriko n’eyambuka mu nsi ey’ensozi ebugwanjuba n’ekomekkereza mu ddungu ly’e Besaveni. 13 Ensalo n’esala okuva mu bukiikaddyo n’etuuka e Luzi ye Beseri ne yeeyongera mu bukiikaddyo e Atalosuaddali kumpi n’olusozi oluli wammanga mu bukiikaddyo obwa Besukolooni. 14 Ensalo ne yeeyongerayo okuva ku lusozi olutunuulidde Besukolooni n’eraga ku bukiikaddyo n’edda ebuvanjuba n’etuuka e Kiriasubaali, ye Kiriyasuyalimu, kye kibuga ky’abaana ba Yuda. Olwo lwe luuyi olw’ebugwanjuba. 15 Oluuyi olw’obukiikaddyo lwatandikira ku njegoyego za Kiriyasuyalimu gye kikoma n’edda ebuvanjuba, ensalo ne yeeyongerayo ku nsulo ez’amazzi aga Nefutoa. 16 Ate era ensalo n’ekkirira olusozi we lukoma, olutunudde mu kiwonvu kya mutabani wa Kinomu ekiri mu bukiikakkono lw’ekiwonvu kya Lefa, n’ekkirira mu kiwonvu kya Kinomu ekiri mu bukiikaddyo bw’ekibuga Yebusi, n’ekka ku Enerogeri. 17 N’eryoka yeebungulula ng’eva mu bukiikakkono n’etuuka ku Ensomesi ne yeeyongerayo e Gerirosi ekitunuulidde ekkubo eryambuka okugenda Adummiru n’eyita n’etuuka ku jjinja lya Bokani mutabani wa Lewubeeni, 18 ne yeeyongerayo mu bukiikakkono ku luuyi lwa Besi Alaba okutuuka ku Alaba, 19 ne yeeyongerayo mu bukiikakkono obwa Besukogula bw’etyo ensalo n’ekoma ku bukiikakkono bw’Ennyanja ey’Omunnyo mu bukiikaddyo bw’omugga Yoludaani. Eyo y’ensalo ey’oku bukiikaddyo. 20 Yoludaani ye yali ensalo ku luuyi olw’ebuvanjuba. Guno gwe gwali omugabo gw’ekika kya Benyamini ng’enju bwe zaali, ng’ensalo bwe zaali era ng’enju zaabwe bwe zaali. 21 Kale nno ebibuga by’ekika ky’abaana ba Benyamini ng’enju zaabwe bwe zaali byali:Yeriko ne Besukogula ne Emekkezizi, 22 ne Besualaba ne Zemalayimu ne Beseri, 23 ne Avvimu ne Pala ne Ofula, 24 ne Kefalamoni ne Ofuni ne Geba ebibuga kkumi na bibiri n’ebyalo byabyo. 25 Gibyoni ne Laama ne Beerosi, 26 ne Mizupe ne Kefira ne Moza, 27 ne Lekemu ne Irupeeri ne Talala, 28 ne Zeera, Erefu n’Omuyebusi, ye Yerusaalemi, ne Gibeasi ne Kiriasi ebibuga kkumi na bina n’ebyalo byabyo.Ogwo gwe gwali omugabo ogw’abaana ba Benyamini ng’enju zaabwe bwe zaali.

In Other Versions

Joshua 18 in the ANGEFD

Joshua 18 in the ANTPNG2D

Joshua 18 in the AS21

Joshua 18 in the BAGH

Joshua 18 in the BBPNG

Joshua 18 in the BBT1E

Joshua 18 in the BDS

Joshua 18 in the BEV

Joshua 18 in the BHAD

Joshua 18 in the BIB

Joshua 18 in the BLPT

Joshua 18 in the BNT

Joshua 18 in the BNTABOOT

Joshua 18 in the BNTLV

Joshua 18 in the BOATCB

Joshua 18 in the BOATCB2

Joshua 18 in the BOBCV

Joshua 18 in the BOCNT

Joshua 18 in the BOECS

Joshua 18 in the BOGWICC

Joshua 18 in the BOHCB

Joshua 18 in the BOHCV

Joshua 18 in the BOHLNT

Joshua 18 in the BOHNTLTAL

Joshua 18 in the BOICB

Joshua 18 in the BOILNTAP

Joshua 18 in the BOITCV

Joshua 18 in the BOKCV

Joshua 18 in the BOKCV2

Joshua 18 in the BOKHWOG

Joshua 18 in the BOKSSV

Joshua 18 in the BOLCB2

Joshua 18 in the BOMCV

Joshua 18 in the BONAV

Joshua 18 in the BONCB

Joshua 18 in the BONLT

Joshua 18 in the BONUT2

Joshua 18 in the BOPLNT

Joshua 18 in the BOSCB

Joshua 18 in the BOSNC

Joshua 18 in the BOTLNT

Joshua 18 in the BOVCB

Joshua 18 in the BOYCB

Joshua 18 in the BPBB

Joshua 18 in the BPH

Joshua 18 in the BSB

Joshua 18 in the CCB

Joshua 18 in the CUV

Joshua 18 in the CUVS

Joshua 18 in the DBT

Joshua 18 in the DGDNT

Joshua 18 in the DHNT

Joshua 18 in the DNT

Joshua 18 in the ELBE

Joshua 18 in the EMTV

Joshua 18 in the ESV

Joshua 18 in the FBV

Joshua 18 in the FEB

Joshua 18 in the GGMNT

Joshua 18 in the GNT

Joshua 18 in the HARY

Joshua 18 in the HNT

Joshua 18 in the IRVA

Joshua 18 in the IRVB

Joshua 18 in the IRVG

Joshua 18 in the IRVH

Joshua 18 in the IRVK

Joshua 18 in the IRVM

Joshua 18 in the IRVM2

Joshua 18 in the IRVO

Joshua 18 in the IRVP

Joshua 18 in the IRVT

Joshua 18 in the IRVT2

Joshua 18 in the IRVU

Joshua 18 in the ISVN

Joshua 18 in the JSNT

Joshua 18 in the KAPI

Joshua 18 in the KBT1ETNIK

Joshua 18 in the KBV

Joshua 18 in the KJV

Joshua 18 in the KNFD

Joshua 18 in the LBA

Joshua 18 in the LBLA

Joshua 18 in the LNT

Joshua 18 in the LSV

Joshua 18 in the MAAL

Joshua 18 in the MBV

Joshua 18 in the MBV2

Joshua 18 in the MHNT

Joshua 18 in the MKNFD

Joshua 18 in the MNG

Joshua 18 in the MNT

Joshua 18 in the MNT2

Joshua 18 in the MRS1T

Joshua 18 in the NAA

Joshua 18 in the NASB

Joshua 18 in the NBLA

Joshua 18 in the NBS

Joshua 18 in the NBVTP

Joshua 18 in the NET2

Joshua 18 in the NIV11

Joshua 18 in the NNT

Joshua 18 in the NNT2

Joshua 18 in the NNT3

Joshua 18 in the PDDPT

Joshua 18 in the PFNT

Joshua 18 in the RMNT

Joshua 18 in the SBIAS

Joshua 18 in the SBIBS

Joshua 18 in the SBIBS2

Joshua 18 in the SBICS

Joshua 18 in the SBIDS

Joshua 18 in the SBIGS

Joshua 18 in the SBIHS

Joshua 18 in the SBIIS

Joshua 18 in the SBIIS2

Joshua 18 in the SBIIS3

Joshua 18 in the SBIKS

Joshua 18 in the SBIKS2

Joshua 18 in the SBIMS

Joshua 18 in the SBIOS

Joshua 18 in the SBIPS

Joshua 18 in the SBISS

Joshua 18 in the SBITS

Joshua 18 in the SBITS2

Joshua 18 in the SBITS3

Joshua 18 in the SBITS4

Joshua 18 in the SBIUS

Joshua 18 in the SBIVS

Joshua 18 in the SBT

Joshua 18 in the SBT1E

Joshua 18 in the SCHL

Joshua 18 in the SNT

Joshua 18 in the SUSU

Joshua 18 in the SUSU2

Joshua 18 in the SYNO

Joshua 18 in the TBIAOTANT

Joshua 18 in the TBT1E

Joshua 18 in the TBT1E2

Joshua 18 in the TFTIP

Joshua 18 in the TFTU

Joshua 18 in the TGNTATF3T

Joshua 18 in the THAI

Joshua 18 in the TNFD

Joshua 18 in the TNT

Joshua 18 in the TNTIK

Joshua 18 in the TNTIL

Joshua 18 in the TNTIN

Joshua 18 in the TNTIP

Joshua 18 in the TNTIZ

Joshua 18 in the TOMA

Joshua 18 in the TTENT

Joshua 18 in the UBG

Joshua 18 in the UGV

Joshua 18 in the UGV2

Joshua 18 in the UGV3

Joshua 18 in the VBL

Joshua 18 in the VDCC

Joshua 18 in the YALU

Joshua 18 in the YAPE

Joshua 18 in the YBVTP

Joshua 18 in the ZBP