Leviticus 10 (BOLCB)

1 Awo olwatuuka, batabani ba Alooni, Nadabu ne Abiku ne beetwalira buli omu ekyoterezo kye, ne bateekamu omuliro, ne bassaako obubaane, ne bawaayo eri MUKAMA Katonda omuliro ogutali mutukuvu, ne basobya ekiragiro kye. 2 Omuliro ne guva eri MUKAMA ne gubookya, ne bafiira awo mu maaso ga MUKAMA Katonda. 3 Awo Musa n’agamba Alooni nti, Kino MUKAMA Katonda kye yayogerako bwe yagamba nti,“ ‘Nzija kweyolekanga nga bwe ndi omutukuvueri abo abansemberera,era nassibwangamu ekitiibwaabantu bonna.’ ”Alooni n’asirika busirisi. 4 Awo Musa n’ayita Misayeri ne Erizafani, abaana ba Wuziyeeri kitaawe omuto owa Alooni, n’abagamba nti, “Mujje wano musitule emirambo gya baganda bammwe mugiggye wano awatukuvu mugitwale ebweru w’olusiisira.” 5 Bwe batyo ne bajja ne basitula baganda baabwe abo nga bwe baali bayambadde ne babatwala ebweru w’olusiisira nga Musa bwe yabagamba. 6 Awo Musa n’agamba Alooni, ne Eriyazaali ne Isamaali, batabani ba Alooni, nti, “Mmwe temusumulula nviiri zammwe okuzita ne zireebeeta era temuyuza byambalo byammwe nga mukungubaga, kubanga muyinza okufa, n’obusungu bwa MUKAMA Katonda buyinza okubuubuukira abantu bonna. Naye baganda bammwe, ye nnyumba yonna eya Isirayiri, babakaabire abo MUKAMA Katonda b’azikirizza n’omuliro. 7 Era temuva ku mulyango gwa Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, temulwa kufa; kubanga muliko amafuta ag’omuzeeyituuni ga MUKAMA Katonda ag’okwawula.” Ne bakola nga Musa bwe yabalagira. 8 Awo MUKAMA Katonda n’agamba Alooni nti, 9 “Ggwe ne batabani bo bwe muyingiranga mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu temunywanga envinnyo oba ekyokunywa ekirala kyonna ekitamiiza; bwe mulikikola temulirema kufa. Eryo linaabanga tteeka ery’enkalakkalira ne mu mirembe gyonna egigenda okujja. 10 Mwawulengamu ebitukuvu n’ebyabulijjo, ebirongoofu n’ebitali birongoofu; 11 era kibasaanidde okuyigirizanga abaana ba Isirayiri amateeka gonna MUKAMA Katonda g’abawadde ng’agayisa mu Musa.” 12 Awo Musa n’agamba Alooni ne Eriyazaali ne Isamaali, batabani ba Alooni abaali basigaddewo, nti, “Mutwale ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke ekyasigaddewo ku biweebwayo ebyokebwa eri MUKAMA Katonda nga si kizimbulukuse, mukiriire okumpi n’ekyoto kubanga kitukuvu nnyo. 13 Mukiriire mu kifo ekitukuvu, kubanga gwe mugabo gwo, era gwe mugabo gw’abatabani bo, nga guva ku kiweebwayo eri MUKAMA Katonda ekyokebwa; bwe ntyo bwe ndagiddwa. 14 Naye ekifuba ekiwuubibwa n’ekisambi ekiweebwayo munaabiriira mu kifo kyonna kye munaalaba ekirongoofu; mubirye, ggwe ne batabani bo ne bawala bo b’oli nabo; kubanga bibaweereddwa ng’omugabo gwammwe, ggwe n’abaana bo, nga biva ku biweebwayo olw’emirembe ebiweereddwayo abaana ba Isirayiri. 15 Ekisambi ekiweereddwayo n’ekifuba ekiwuubibwa, binaaleetebwa awamu n’amasavu ag’oku biweebwayo ebyokebwa, ne biwuubibwawuubibwa nga kye kiweebwayo ekiwuubibwa awali MUKAMA, era kinaabeeranga mugabo gwo awamu ne batabani bo emirembe gyonna; nga MUKAMA Katonda bw’alagidde.” 16 Awo Musa n’abuuliriza ebyali bifudde ku mbuzi ey’ekiweebwayo olw’ekibi, n’avumbula nga baagyokezza dda, n’anyiigira batabani ba Alooni abaali basigaddewo, Eriyazaali ne Isamaali, n’ababuuza nti, 17 “Lwaki ekiweebwayo ekyo olw’ekibi temwakiriiridde, wali awatukuvu? Kitukuvu nnyo. Kyabaweereddwa kiryoke kiggyiseeko abantu bonna ebibi byabwe, nga mmwe mubatangiririra awali MUKAMA Katonda. 18 Ng’omusaayi gwayo bwe gutaatwaliddwa munda mu Kifo Ekitukuvu, embuzi eyo ddala mwandigiriiridde awo awatukuvu nga bwe nabalagira.” 19 Awo Alooni n’addamu Musa nti, “Laba, olwa leero bawaddeyo eri MUKAMA Katonda ekiweebwayo olw’ebibi byabwe n’ekiweebwayo kyabwe ekyokebwa; naye era ebintu nga bino ne bingwako. MUKAMA Katonda yandisanyuse singa leero ndidde ekiweebwayo olw’ekibi?” 20 Awo Musa bwe yawulira ebigambo ebyo n’amatira.

In Other Versions

Leviticus 10 in the ANGEFD

Leviticus 10 in the ANTPNG2D

Leviticus 10 in the AS21

Leviticus 10 in the BAGH

Leviticus 10 in the BBPNG

Leviticus 10 in the BBT1E

Leviticus 10 in the BDS

Leviticus 10 in the BEV

Leviticus 10 in the BHAD

Leviticus 10 in the BIB

Leviticus 10 in the BLPT

Leviticus 10 in the BNT

Leviticus 10 in the BNTABOOT

Leviticus 10 in the BNTLV

Leviticus 10 in the BOATCB

Leviticus 10 in the BOATCB2

Leviticus 10 in the BOBCV

Leviticus 10 in the BOCNT

Leviticus 10 in the BOECS

Leviticus 10 in the BOGWICC

Leviticus 10 in the BOHCB

Leviticus 10 in the BOHCV

Leviticus 10 in the BOHLNT

Leviticus 10 in the BOHNTLTAL

Leviticus 10 in the BOICB

Leviticus 10 in the BOILNTAP

Leviticus 10 in the BOITCV

Leviticus 10 in the BOKCV

Leviticus 10 in the BOKCV2

Leviticus 10 in the BOKHWOG

Leviticus 10 in the BOKSSV

Leviticus 10 in the BOLCB2

Leviticus 10 in the BOMCV

Leviticus 10 in the BONAV

Leviticus 10 in the BONCB

Leviticus 10 in the BONLT

Leviticus 10 in the BONUT2

Leviticus 10 in the BOPLNT

Leviticus 10 in the BOSCB

Leviticus 10 in the BOSNC

Leviticus 10 in the BOTLNT

Leviticus 10 in the BOVCB

Leviticus 10 in the BOYCB

Leviticus 10 in the BPBB

Leviticus 10 in the BPH

Leviticus 10 in the BSB

Leviticus 10 in the CCB

Leviticus 10 in the CUV

Leviticus 10 in the CUVS

Leviticus 10 in the DBT

Leviticus 10 in the DGDNT

Leviticus 10 in the DHNT

Leviticus 10 in the DNT

Leviticus 10 in the ELBE

Leviticus 10 in the EMTV

Leviticus 10 in the ESV

Leviticus 10 in the FBV

Leviticus 10 in the FEB

Leviticus 10 in the GGMNT

Leviticus 10 in the GNT

Leviticus 10 in the HARY

Leviticus 10 in the HNT

Leviticus 10 in the IRVA

Leviticus 10 in the IRVB

Leviticus 10 in the IRVG

Leviticus 10 in the IRVH

Leviticus 10 in the IRVK

Leviticus 10 in the IRVM

Leviticus 10 in the IRVM2

Leviticus 10 in the IRVO

Leviticus 10 in the IRVP

Leviticus 10 in the IRVT

Leviticus 10 in the IRVT2

Leviticus 10 in the IRVU

Leviticus 10 in the ISVN

Leviticus 10 in the JSNT

Leviticus 10 in the KAPI

Leviticus 10 in the KBT1ETNIK

Leviticus 10 in the KBV

Leviticus 10 in the KJV

Leviticus 10 in the KNFD

Leviticus 10 in the LBA

Leviticus 10 in the LBLA

Leviticus 10 in the LNT

Leviticus 10 in the LSV

Leviticus 10 in the MAAL

Leviticus 10 in the MBV

Leviticus 10 in the MBV2

Leviticus 10 in the MHNT

Leviticus 10 in the MKNFD

Leviticus 10 in the MNG

Leviticus 10 in the MNT

Leviticus 10 in the MNT2

Leviticus 10 in the MRS1T

Leviticus 10 in the NAA

Leviticus 10 in the NASB

Leviticus 10 in the NBLA

Leviticus 10 in the NBS

Leviticus 10 in the NBVTP

Leviticus 10 in the NET2

Leviticus 10 in the NIV11

Leviticus 10 in the NNT

Leviticus 10 in the NNT2

Leviticus 10 in the NNT3

Leviticus 10 in the PDDPT

Leviticus 10 in the PFNT

Leviticus 10 in the RMNT

Leviticus 10 in the SBIAS

Leviticus 10 in the SBIBS

Leviticus 10 in the SBIBS2

Leviticus 10 in the SBICS

Leviticus 10 in the SBIDS

Leviticus 10 in the SBIGS

Leviticus 10 in the SBIHS

Leviticus 10 in the SBIIS

Leviticus 10 in the SBIIS2

Leviticus 10 in the SBIIS3

Leviticus 10 in the SBIKS

Leviticus 10 in the SBIKS2

Leviticus 10 in the SBIMS

Leviticus 10 in the SBIOS

Leviticus 10 in the SBIPS

Leviticus 10 in the SBISS

Leviticus 10 in the SBITS

Leviticus 10 in the SBITS2

Leviticus 10 in the SBITS3

Leviticus 10 in the SBITS4

Leviticus 10 in the SBIUS

Leviticus 10 in the SBIVS

Leviticus 10 in the SBT

Leviticus 10 in the SBT1E

Leviticus 10 in the SCHL

Leviticus 10 in the SNT

Leviticus 10 in the SUSU

Leviticus 10 in the SUSU2

Leviticus 10 in the SYNO

Leviticus 10 in the TBIAOTANT

Leviticus 10 in the TBT1E

Leviticus 10 in the TBT1E2

Leviticus 10 in the TFTIP

Leviticus 10 in the TFTU

Leviticus 10 in the TGNTATF3T

Leviticus 10 in the THAI

Leviticus 10 in the TNFD

Leviticus 10 in the TNT

Leviticus 10 in the TNTIK

Leviticus 10 in the TNTIL

Leviticus 10 in the TNTIN

Leviticus 10 in the TNTIP

Leviticus 10 in the TNTIZ

Leviticus 10 in the TOMA

Leviticus 10 in the TTENT

Leviticus 10 in the UBG

Leviticus 10 in the UGV

Leviticus 10 in the UGV2

Leviticus 10 in the UGV3

Leviticus 10 in the VBL

Leviticus 10 in the VDCC

Leviticus 10 in the YALU

Leviticus 10 in the YAPE

Leviticus 10 in the YBVTP

Leviticus 10 in the ZBP