Leviticus 15 (BOLCB)
1 Awo MUKAMA n’agamba Musa ne Alooni nti, 2 “Mugambe abaana ba Isirayiri nti omusajja yenna bw’anaavangamu ebitonnya mu bitundu bye ebyekyama, ebimuvaamu ebyo binaabanga ebitali birongoofu. 3 Era lino ly’etteeka ery’obutali bulongoofu bwe obuleeteddwa ebyo ebimuvaamu: obanga bitonnya obutasalako, obanga birekeddaawo, bunaabanga obutali bulongoofu mu musajja oyo. 4 “Buli kitanda omusajja oyo alina ebimuvaamu ky’anaasulangako kinaabanga si kirongoofu, ne buli kintu ky’anaatuulangako kyonna kinaabanga si kirongoofu. 5 Omuntu yenna anaakwatanga ku kitanda ky’omusajja oyo naye anaafuukanga atali mulongoofu okutuusiza ddala akawungeezi, era anaateekwanga okwoza engoye ze n’okunaaba mu mazzi. 6 Omuntu yenna anaatuulanga ku kintu kyonna omusajja oyo alina ebimuvaamu kw’anaabanga amaze okutuula, anaafuukanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi, era anaateekwanga okwoza engoye ze n’okunaaba mu mazzi. 7 Era omuntu yenna anaakwatanga ku musajja oyo alina ebimuvaamu, anaafuukanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi, era anaateekwanga okwoza engoye ze n’okunaaba mu mazzi. 8 Omusajja oyo alina ebimuvaamu bw’anaawandanga amalusu ku muntu omulongoofu, omuntu oyo anaafuukanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi, era anaateekwanga okwoza engoye ze n’okunaaba mu mazzi. 9 Era n’amatandiiko gonna omusajja oyo alina ebimuvaamu kw’aneebagaliranga ganaabanga agatali malongoofu, 10 era n’omuntu anaakwatanga ku kintu ekirala kyonna ekinaabanga wansi w’omusajja oyo anaafuukanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi, era anaateekwanga okwoza engoye ze n’okunaaba mu mazzi. 11 Omuntu yenna, omusajja oyo alina ebimuvaamu gw’anaakwatangako nga tasoose kunaaba mu ngalo mu mazzi anaafuukanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi, era anaateekwanga okwoza engoye ze n’okunaaba mu mazzi. 12 Ekibumbe kyonna ekikozesebwa mu maka bwe kinaakwatibwangako omusajja oyo alina ebimuvaamu kinaayasibwanga, na buli ekikozesebwa mu maka eky’omuti kinaanaazibwanga mu mazzi. 13 “Omusajja anaabanga alina ebimuvaamu bw’anaafuulibwanga omulongoofu, aneebaliranga ennaku musanvu ez’okufuulibwa omulongoofu; anaateekwanga okwoza engoye ze n’okunaaba omubiri gwe mu mazzi amayonjo agakulukuta, bw’atyo anaafuukanga mulongoofu. 14 Ku lunaku olw’omunaana kinaamusaaniranga okuddira amayiba abiri oba enjiibwa ento bbiri n’ajja awali MUKAMA mu mulyango gw’Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu n’abikwasa kabona. 15 Kabona anaabiwangayo, ekimu nga kye kiweebwayo olw’ekibi n’ekirala nga kye kiweebwayo ekyokebwa. Mu ngeri eyo kabona anaatangiririranga omusajja oyo olw’ebimuvaamu eri MUKAMA. 16 “Omusajja bw’anaavangamu amazzi g’obusajja anaateekwanga okunaaba omubiri gwe n’amazzi, era anaasigalanga nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi. 17 Buli lugoye olwambalwa oba eddiba nga kuliko amazzi g’obusajja, binaateekwanga okwozebwa mu mazzi, era binaabanga ebitali birongoofu okutuusa akawungeezi. 18 Omusajja bw’aneebakanga n’omukazi, ne wabaawo amazzi g’obusajja agafulumizibbwa, bombi banaanaabanga mu mazzi agatukula, era banaabeeranga abatali balongoofu okutuusa akawungeezi. 19 “Omukazi bw’anaavangamu omusaayi ng’empisa ye eya bulijjo eya buli mwezi bw’eba, anaabeeranga atali mulongoofu okumala ennaku musanvu, ne buli anaamukwatangako anaabeeranga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. 20 Mu bbanga eryo ng’omukazi oyo si mulongoofu buli kintu kyonna ky’anaagalamirangako kinaabanga ekitali kirongoofu, ne buli kintu kyonna ky’anaatuulangako kinaabanga ekitali kirongoofu. 21 Era buli anaakwatanga ku kitanda kye kinaamusaaniranga okwoza engoye ze, n’okunaaba mu mazzi, era anaabeeranga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. 22 Buli anaakwatanga ku kintu kyonna omukazi oyo ky’atuulako, anaateekwanga okwoza engoye ze n’okunaaba omubiri gwe mu mazzi, era anaabeeranga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. 23 Bwe kinaabanga ekitanda oba ekintu ekirala kyonna omukazi oyo ky’anaabanga atuddeko, omuntu bw’anaakikwatangako anaabeeranga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. 24 Omusajja bw’aneebakanga n’omukazi oyo, omusaayi gw’omukazi ogumuvaamu ogwa buli mwezi ne gumutonnyako, anaabeeranga atali mulongoofu okumala ennaku musanvu; n’ekitanda kw’anaagalamiranga nakyo kinaabanga ekitali kirongoofu. 25 “Omukazi bw’anaavangamu omusaayi okumala ennaku nnyingi mu biseera ebitali ebyo ebya buli mwezi nga bwe kiba bulijjo, oba bw’anaavangamu omusaayi okumala ennaku ezisukka ku za bulijjo eza buli mwezi, anaabeeranga atali mulongoofu mu bbanga ly’anaamalanga ng’avaamu omusaayi, nga mu biseera bye ebya buli mwezi. 26 Buli kitanda ky’anaagalamirangako ng’omusaayi gukyamuvaamu kinaabeeranga ekitali kirongoofu, ng’ekitanda kye bwe kiba mu biseera bye ebya buli mwezi eby’okuvaamu omusaayi, era ne buli kintu ky’anaatuulangako kinaabanga ekitali kirongoofu nga bwe kiba mu biseera bye ebya buli mwezi. 27 Buli muntu anaakwatanga ku bintu ebyo anaabeeranga atali mulongoofu; kinaamusaaniranga okwoza engoye ze, n’okunaaba omubiri gwe mu mazzi, era anaabeeranga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. 28 Naye omukazi oyo avaamu omusaayi bw’anaafuulibwanga omulongoofu, aneebaliranga ennaku musanvu, N’oluvannyuma lwazo anaabeeranga mulongoofu. 29 Ku lunaku olw’omunaana kinaamusaaniranga okuddira amayiba abiri, oba enjiibwa ento bbiri n’ajja awali MUKAMA ku mulyango gw’Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu n’abikwasa kabona. 30 Kabona anaawangayo ekimu nga kye kiweebwayo olw’ekibi, n’ekirala nga kye kiweebwayo ekyokebwa. Mu ngeri eyo kabona anaatangiriranga omukazi oyo eri MUKAMA olw’ekitali kirongoofu ekimuvaamu. 31 “Bwe mutyo bwe munaakugiranga abaana ba Isirayiri balemenga okusemberera ebintu ebibafuula abatali balongoofu, balemenga okufa olw’obutali bulongoofu bwabwe okuboonoonyesa Eweema ya MUKAMA eri wakati mu bo. 32 “Ago ge mateeka ku musajja alina ebimuvaamu mu bitundu bye eby’ekyama, n’oyo avaamu amazzi g’obusajja; 33 ne ku mukazi anaavangamu omusaayi ng’empisa y’abakazi eya bulijjo eya buli mwezi bw’eba. Amateeka ago ganaakwatanga ku musajja oba ku mukazi alina ebimuvaamu, ne ku musajja aneebakanga n’omukazi atali mulongoofu.”