Luke 17 (BOLCB)

1 Awo Yesu n’agamba abayigirizwa be nti, “Ebikemo ebireetera abantu okwonoona tebiyinza butajja, naye zimusanze omuntu oyo abireeta. 2 Ekyandisinze kwe kusiba olubengo mu bulago bwe n’asuulibwa mu nnyanja okusinga okwesittaza omu ku baana bano abato. 3 Mwekuume. “Muganda wo bw’ayonoonanga, omunenyanga; era singa yeenenya omusonyiwanga. 4 Ne bw’akusobyanga emirundi omusanvu mu lunaku olumu, naye buli mulundi n’ajja gy’oli n’akwenenyeza, musonyiwenga.” 5 Awo abatume ne bagamba Mukama waffe nti, “Twongereko okukkiriza.” 6 Mukama waffe n’abagamba nti, “Singa okukkiriza kwammwe kuba ng’akaweke ka kaladaali, mwandigambye omukenene guno nti, ‘Siguka ogwe mu nnyanja,’ era ne gubagondera. 7 “Naye ani ku mmwe, ng’omuddu we yaakakomawo okuva okulima oba okulunda endiga, amugamba nti, ‘Jjangu mangu otuule ku mmere?’ 8 Tamugamba nti, ‘Teekateeka emmere yange, weerongoose olabike bulungi, olyoke ompeereze nga ndya era nga nnywa, bwe nnaamala naawe n’onywa era n’olya emmere yo?’ 9 Mulowooza nti Mukama w’omuweereza oyo amwebaza olw’okugondera bye yalagirwa okukola? 10 Nammwe bwe mutyo bwe mumalanga okutuukiriza ebyo ebyabagambibwa okukola, mugambenga nti, ‘Ffe abaddu bo abatasaanira tukoze omulimu gwaffe ogutugwanidde.’ ” 11 Awo Yesu bwe yali yeeyongerayo mu lugendo lwe ng’agenda e Yerusaalemi, n’akwata ekkubo eriyita wakati wa Ggaliraaya ne Samaliya. 12 Awo bwe yayingira mu kabuga akamu, abasajja kkumi nga bonna bagenge ne bajja okumusisinkana. Ne bayimirira walako 13 ne bakoowoola mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Yesu, Mukama waffe, tukwatirwe ekisa!” 14 Yesu bwe yabalaba n’abagamba nti, “Mugende mweyanjule eri bakabona.” Bwe baali nga bagenda ne bawona ne baba balongoofu. 15 Omu ku bo bwe yalaba ng’awonye n’akomawo eri Yesu nga bw’aleekaanira waggulu ng’atendereza Katonda. 16 N’agwa wansi ku bigere bya Yesu ng’amwebaza. Omusajja oyo yali Musamaliya. 17 Yesu n’agamba nti, “Ekkumi bonna tebaawonyezebbwa? Omwenda bo baluwa? 18 Tebayinzizza kudda kutendereza Katonda wabula munnaggwanga ono yekka y’akomyewo?” 19 Awo Yesu n’amugamba nti, “Situka weetambulire, okukkiriza kwo kukuwonyezza.” 20 Awo Abafalisaayo ne babuuza Yesu nti, “Obwakabaka bwa Katonda bulijja ddi?” Yesu n’abaddamu nti, “Obwakabaka bwa Katonda tebulabika nga bujja, 21 era abantu tebagenda kugamba nti, ‘Laba buubuno wano,’ oba nti, ‘Buubuli wali,’ kubanga obwakabaka bwa Katonda buli mu mmwe.” 22 Oluvannyuma n’agamba abayigirizwa be nti, “Ekiseera kijja lwe mulyegomba okulaba olumu, ku nnaku z’Omwana w’Omuntu, naye temulirulaba. 23 Balibagamba nti lwe luno era nti lwe luli temugendanga era temubagobereranga. 24 Kubanga ng’eggulu bwe limyansiza ku ludda olumu olw’eggulu ate ne limyansiza ku ludda olulala olw’eggulu, bw’atyo bw’aliba Omwana w’Omuntu ku lunaku lwe, 25 Naye okusooka kimugwanira okubonaabona mu bintu bingi, n’okugaanibwa, abantu ab’omulembe guno. 26 “Nga bwe kyali mu biseera bya Nuuwa, era bwe kityo bwe kiriba ne mu biseera by’Omwana w’Omuntu. 27 Abantu baali balya nga banywa nga bawasa era nga bafumbirwa okutuusa ku lunaku Nuuwa lwe yayingira mu lyato. Olwo amataba ne gajja ne gasaanyaawo buli kintu. 28 “Era kiriba nga bwe kyali mu nnaku za Lutti. Abantu baali balya nga banywa, nga bagula era nga batunda, nga balima era nga bazimba amayumba, 29 okutuusa ku lunaku Lutti lwe yava mu Sodomu. Olwo omuliro n’olunyata ne biyiika okuva mu ggulu ne bizikiriza buli kimu. 30 “Bwe bityo bwe biriba ku lunaku, Omwana w’Omuntu lw’alirabikirako. 31 Ku lunaku olwo omuntu yenna aliba waggulu ku nju, takkanga mu nju munda kuggyamu bintu bye. N’abo abaliba mu nnimiro tebaddangayo eka okubaako ne bye banonayo. 32 Mujjukire mukazi wa Lutti! 33 Buli anoonya okuwonya obulamu bwe alibufiirwa, naye buli eyeefiiriza obulamu bwe alibuwonya. 34 Mbagamba nti ku lunaku olwo abantu babiri baliba ku kitanda kimu, Omu alitwalibwa naye munne n’alekebwa. 35 Abantu babiri baliba basa ku lubengo, omu alitwalibwa naye munne alirekebwa. 36 Abasajja babiri baliba mu nnimiro, omu alitwalibwa naye munne alirekebwa.” 37 Awo abayigirizwa be ne bamubuuza nti, “Mukama waffe, nga batwalibwa wa?”Yesu n’abaddamu nti, “Awaba ekifudde awo ensega we zirikuŋŋaanira!”

In Other Versions

Luke 17 in the ANGEFD

Luke 17 in the ANTPNG2D

Luke 17 in the AS21

Luke 17 in the BAGH

Luke 17 in the BBPNG

Luke 17 in the BBT1E

Luke 17 in the BDS

Luke 17 in the BEV

Luke 17 in the BHAD

Luke 17 in the BIB

Luke 17 in the BLPT

Luke 17 in the BNT

Luke 17 in the BNTABOOT

Luke 17 in the BNTLV

Luke 17 in the BOATCB

Luke 17 in the BOATCB2

Luke 17 in the BOBCV

Luke 17 in the BOCNT

Luke 17 in the BOECS

Luke 17 in the BOGWICC

Luke 17 in the BOHCB

Luke 17 in the BOHCV

Luke 17 in the BOHLNT

Luke 17 in the BOHNTLTAL

Luke 17 in the BOICB

Luke 17 in the BOILNTAP

Luke 17 in the BOITCV

Luke 17 in the BOKCV

Luke 17 in the BOKCV2

Luke 17 in the BOKHWOG

Luke 17 in the BOKSSV

Luke 17 in the BOLCB2

Luke 17 in the BOMCV

Luke 17 in the BONAV

Luke 17 in the BONCB

Luke 17 in the BONLT

Luke 17 in the BONUT2

Luke 17 in the BOPLNT

Luke 17 in the BOSCB

Luke 17 in the BOSNC

Luke 17 in the BOTLNT

Luke 17 in the BOVCB

Luke 17 in the BOYCB

Luke 17 in the BPBB

Luke 17 in the BPH

Luke 17 in the BSB

Luke 17 in the CCB

Luke 17 in the CUV

Luke 17 in the CUVS

Luke 17 in the DBT

Luke 17 in the DGDNT

Luke 17 in the DHNT

Luke 17 in the DNT

Luke 17 in the ELBE

Luke 17 in the EMTV

Luke 17 in the ESV

Luke 17 in the FBV

Luke 17 in the FEB

Luke 17 in the GGMNT

Luke 17 in the GNT

Luke 17 in the HARY

Luke 17 in the HNT

Luke 17 in the IRVA

Luke 17 in the IRVB

Luke 17 in the IRVG

Luke 17 in the IRVH

Luke 17 in the IRVK

Luke 17 in the IRVM

Luke 17 in the IRVM2

Luke 17 in the IRVO

Luke 17 in the IRVP

Luke 17 in the IRVT

Luke 17 in the IRVT2

Luke 17 in the IRVU

Luke 17 in the ISVN

Luke 17 in the JSNT

Luke 17 in the KAPI

Luke 17 in the KBT1ETNIK

Luke 17 in the KBV

Luke 17 in the KJV

Luke 17 in the KNFD

Luke 17 in the LBA

Luke 17 in the LBLA

Luke 17 in the LNT

Luke 17 in the LSV

Luke 17 in the MAAL

Luke 17 in the MBV

Luke 17 in the MBV2

Luke 17 in the MHNT

Luke 17 in the MKNFD

Luke 17 in the MNG

Luke 17 in the MNT

Luke 17 in the MNT2

Luke 17 in the MRS1T

Luke 17 in the NAA

Luke 17 in the NASB

Luke 17 in the NBLA

Luke 17 in the NBS

Luke 17 in the NBVTP

Luke 17 in the NET2

Luke 17 in the NIV11

Luke 17 in the NNT

Luke 17 in the NNT2

Luke 17 in the NNT3

Luke 17 in the PDDPT

Luke 17 in the PFNT

Luke 17 in the RMNT

Luke 17 in the SBIAS

Luke 17 in the SBIBS

Luke 17 in the SBIBS2

Luke 17 in the SBICS

Luke 17 in the SBIDS

Luke 17 in the SBIGS

Luke 17 in the SBIHS

Luke 17 in the SBIIS

Luke 17 in the SBIIS2

Luke 17 in the SBIIS3

Luke 17 in the SBIKS

Luke 17 in the SBIKS2

Luke 17 in the SBIMS

Luke 17 in the SBIOS

Luke 17 in the SBIPS

Luke 17 in the SBISS

Luke 17 in the SBITS

Luke 17 in the SBITS2

Luke 17 in the SBITS3

Luke 17 in the SBITS4

Luke 17 in the SBIUS

Luke 17 in the SBIVS

Luke 17 in the SBT

Luke 17 in the SBT1E

Luke 17 in the SCHL

Luke 17 in the SNT

Luke 17 in the SUSU

Luke 17 in the SUSU2

Luke 17 in the SYNO

Luke 17 in the TBIAOTANT

Luke 17 in the TBT1E

Luke 17 in the TBT1E2

Luke 17 in the TFTIP

Luke 17 in the TFTU

Luke 17 in the TGNTATF3T

Luke 17 in the THAI

Luke 17 in the TNFD

Luke 17 in the TNT

Luke 17 in the TNTIK

Luke 17 in the TNTIL

Luke 17 in the TNTIN

Luke 17 in the TNTIP

Luke 17 in the TNTIZ

Luke 17 in the TOMA

Luke 17 in the TTENT

Luke 17 in the UBG

Luke 17 in the UGV

Luke 17 in the UGV2

Luke 17 in the UGV3

Luke 17 in the VBL

Luke 17 in the VDCC

Luke 17 in the YALU

Luke 17 in the YAPE

Luke 17 in the YBVTP

Luke 17 in the ZBP