Matthew 1 (BOLCB)

1 Luno lwe lulyo lwa Yesu Kristo, omwana wa Dawudi omwana wa Ibulayimu: 2 Ibulayimu yazaala Isaaka,Isaaka n’azaala Yakobo,Yakobo n’azaala Yuda ne baganda be. 3 Yuda n’azaala Pereezi ne Zeera mu Tamali,Pereezi n’azaala Kezirooni,Kezirooni n’azaala Laamu. 4 Laamu yazaala Aminadaabu,Aminadaabu n’azaala Nasoni,Nasoni n’azaala Salumooni. 5 Salumooni yazaala Bowaazi mu Lakabu,Bowaazi n’azaala Obedi mu Luusi.Obedi n’azaala Yese. 6 Yese yazaala Kabaka Dawudi. Dawudi n’azaala Sulemaani mu eyali muka Uliya. 7 Sulemaani yazaala Lekobowaamu,Lekobowaamu n’azaala Abiya,Abiya n’azaala Asa. 8 Asa n’azaala Yekosafaati,Yekosafaati n’azaala Yolaamu,Yolaamu n’azaala Uzziya. 9 Uzziya n’azaala Yosamu,Yosamu n’azaala Akazi,Akazi n’azaala Keezeekiya. 10 Keezeekiya n’azaala Manaase,Manaase n’azaala Amosi,Amosi n’azaala Yosiya. 11 Yosiya n’azaala Yekoniya ne baganda be mu kiseera eky’okutwalibwa e Babulooni. 12 Nga bamaze okutwalibwa e Babulooni:Yekoniya n’azaala Seyalutyeri,Seyalutyeri n’azaala Zerubbaberi. 13 Zerubbaberi n’azaala Abiwuudi,Abiwuudi n’azaala Eriyakimu,Eriyakimu n’azaala Azoli. 14 Azoli n’azaala Zadooki,Zadooki n’azaala Akimu,Akimu n’azaala Eriwuudi. 15 Eriwuudi n’azaala Eriyazaali,Eriyazaali n’azaala Mataani,Mataani n’azaala Yakobo. 16 Yakobo n’azaala Yusufu, oyo ye bba wa Maliyamu eyazaala Yesu ayitibwa Kristo. 17 Noolwekyo emirembe gyonna okuva ku Ibulayimu okutuuka ku Dawudi gyali kkumi n’ena, era okuva ku Dawudi okutuuka ku kuwaŋŋaangusibwa e Babulooni, emirembe kkumi n’ena, era okuva ku kuwaŋŋaangusibwa e Babulooni okutuuka ku Kristo, nagyo emirembe kkumi n’ena. 18 Okuzaalibwa kwa Yesu Kristo kwali bwe kuti: Maliyamu nnyina bwe yali ng’akyayogerezebwa Yusufu, era nga tebanaba kufumbiriganwa n’alabika ng’ali lubuto ku bwa Mwoyo Omutukuvu. 19 Awo Yusufu eyali amwogereza, olwokubanga yali muntu mulungi n’asalawo mu mutima gwe okumuleka, naye ng’ayagala akikole mu kyama aleme kukwasa Maliyamu nsonyi. 20 Naye bwe yali ng’agalamidde ku kitanda kye ng’akyabirowoozaako, n’afuna ekirooto; n’alaba malayika wa Mukama ng’ayimiridde w’ali, n’amugamba nti, “Yusufu, omwana wa Dawudi, totya kutwala Maliyamu okuba mukazi wo! Kubanga olubuto lw’alina yalufuna ku bwa Mwoyo Mutukuvu. 21 Era alizaala Omwana wabulenzi, olimutuuma erinnya Yesu, (amakulu nti, ‘Omulokozi’) kubanga y’alirokola abantu bonna mu bibi byabwe.” 22 Bino byonna byabaawo kisobole okutuukirira ekyayogerwa Mukama ng’ayita mu nnabbi we ng’agamba nti, 23 “Laba omuwala atamanyi musajja aliba olubuto, alizaala omwana wabulenzi, era aliyitibwa Emmanweri.” Amakulu gaalyo nti, “Katonda ali naffe.” 24 Yusufu bwe yazuukuka, n’akola nga Malayika bwe yamulagira, n’atwala Maliyamu okuba mukazi we. 25 Naye Yusufu n’atamumanya okutuusa lwe yamala okuzaala Omwana. Yusufu n’amutuuma erinnya Yesu.

In Other Versions

Matthew 1 in the ANGEFD

Matthew 1 in the ANTPNG2D

Matthew 1 in the AS21

Matthew 1 in the BAGH

Matthew 1 in the BBPNG

Matthew 1 in the BBT1E

Matthew 1 in the BDS

Matthew 1 in the BEV

Matthew 1 in the BHAD

Matthew 1 in the BIB

Matthew 1 in the BLPT

Matthew 1 in the BNT

Matthew 1 in the BNTABOOT

Matthew 1 in the BNTLV

Matthew 1 in the BOATCB

Matthew 1 in the BOATCB2

Matthew 1 in the BOBCV

Matthew 1 in the BOCNT

Matthew 1 in the BOECS

Matthew 1 in the BOGWICC

Matthew 1 in the BOHCB

Matthew 1 in the BOHCV

Matthew 1 in the BOHLNT

Matthew 1 in the BOHNTLTAL

Matthew 1 in the BOICB

Matthew 1 in the BOILNTAP

Matthew 1 in the BOITCV

Matthew 1 in the BOKCV

Matthew 1 in the BOKCV2

Matthew 1 in the BOKHWOG

Matthew 1 in the BOKSSV

Matthew 1 in the BOLCB2

Matthew 1 in the BOMCV

Matthew 1 in the BONAV

Matthew 1 in the BONCB

Matthew 1 in the BONLT

Matthew 1 in the BONUT2

Matthew 1 in the BOPLNT

Matthew 1 in the BOSCB

Matthew 1 in the BOSNC

Matthew 1 in the BOTLNT

Matthew 1 in the BOVCB

Matthew 1 in the BOYCB

Matthew 1 in the BPBB

Matthew 1 in the BPH

Matthew 1 in the BSB

Matthew 1 in the CCB

Matthew 1 in the CUV

Matthew 1 in the CUVS

Matthew 1 in the DBT

Matthew 1 in the DGDNT

Matthew 1 in the DHNT

Matthew 1 in the DNT

Matthew 1 in the ELBE

Matthew 1 in the EMTV

Matthew 1 in the ESV

Matthew 1 in the FBV

Matthew 1 in the FEB

Matthew 1 in the GGMNT

Matthew 1 in the GNT

Matthew 1 in the HARY

Matthew 1 in the HNT

Matthew 1 in the IRVA

Matthew 1 in the IRVB

Matthew 1 in the IRVG

Matthew 1 in the IRVH

Matthew 1 in the IRVK

Matthew 1 in the IRVM

Matthew 1 in the IRVM2

Matthew 1 in the IRVO

Matthew 1 in the IRVP

Matthew 1 in the IRVT

Matthew 1 in the IRVT2

Matthew 1 in the IRVU

Matthew 1 in the ISVN

Matthew 1 in the JSNT

Matthew 1 in the KAPI

Matthew 1 in the KBT1ETNIK

Matthew 1 in the KBV

Matthew 1 in the KJV

Matthew 1 in the KNFD

Matthew 1 in the LBA

Matthew 1 in the LBLA

Matthew 1 in the LNT

Matthew 1 in the LSV

Matthew 1 in the MAAL

Matthew 1 in the MBV

Matthew 1 in the MBV2

Matthew 1 in the MHNT

Matthew 1 in the MKNFD

Matthew 1 in the MNG

Matthew 1 in the MNT

Matthew 1 in the MNT2

Matthew 1 in the MRS1T

Matthew 1 in the NAA

Matthew 1 in the NASB

Matthew 1 in the NBLA

Matthew 1 in the NBS

Matthew 1 in the NBVTP

Matthew 1 in the NET2

Matthew 1 in the NIV11

Matthew 1 in the NNT

Matthew 1 in the NNT2

Matthew 1 in the NNT3

Matthew 1 in the PDDPT

Matthew 1 in the PFNT

Matthew 1 in the RMNT

Matthew 1 in the SBIAS

Matthew 1 in the SBIBS

Matthew 1 in the SBIBS2

Matthew 1 in the SBICS

Matthew 1 in the SBIDS

Matthew 1 in the SBIGS

Matthew 1 in the SBIHS

Matthew 1 in the SBIIS

Matthew 1 in the SBIIS2

Matthew 1 in the SBIIS3

Matthew 1 in the SBIKS

Matthew 1 in the SBIKS2

Matthew 1 in the SBIMS

Matthew 1 in the SBIOS

Matthew 1 in the SBIPS

Matthew 1 in the SBISS

Matthew 1 in the SBITS

Matthew 1 in the SBITS2

Matthew 1 in the SBITS3

Matthew 1 in the SBITS4

Matthew 1 in the SBIUS

Matthew 1 in the SBIVS

Matthew 1 in the SBT

Matthew 1 in the SBT1E

Matthew 1 in the SCHL

Matthew 1 in the SNT

Matthew 1 in the SUSU

Matthew 1 in the SUSU2

Matthew 1 in the SYNO

Matthew 1 in the TBIAOTANT

Matthew 1 in the TBT1E

Matthew 1 in the TBT1E2

Matthew 1 in the TFTIP

Matthew 1 in the TFTU

Matthew 1 in the TGNTATF3T

Matthew 1 in the THAI

Matthew 1 in the TNFD

Matthew 1 in the TNT

Matthew 1 in the TNTIK

Matthew 1 in the TNTIL

Matthew 1 in the TNTIN

Matthew 1 in the TNTIP

Matthew 1 in the TNTIZ

Matthew 1 in the TOMA

Matthew 1 in the TTENT

Matthew 1 in the UBG

Matthew 1 in the UGV

Matthew 1 in the UGV2

Matthew 1 in the UGV3

Matthew 1 in the VBL

Matthew 1 in the VDCC

Matthew 1 in the YALU

Matthew 1 in the YAPE

Matthew 1 in the YBVTP

Matthew 1 in the ZBP