Matthew 11 (BOLCB)
1 Awo Yesu bwe yamala okulagira abayigirizwa be ekkumi n’ababiri n’avaayo n’agenda okubuulira n’okuyigiriza mu bibuga byabwe. 2 Yokaana Omubatiza, eyali omusibe mu kkomera mu kiseera ekyo, bwe yawulira emirimu Kristo gye yali akola, n’amutumira abayigirizwa be. 3 Ne babuuza Yesu nti, “Ggwe wuuyo gwe tubadde tulindirira, nantiki tulindirireyo omulala?” 4 Yesu n’abaddamu nti, “Muddeeyo eri Yokaana mumugambe bye mulaba ne bye muwulira. 5 Abazibe b’amaaso balaba, n’abalema batambula. Abagenge balongoosebwa ne bakiggala bawulira, n’abafu bazuukizibwa n’abaavu babuulirwa Enjiri. 6 Era mumumpeere obubaka buno nti, ‘Alina omukisa oyo atanneesittalako.’ ” 7 Awo abayigirizwa ba Yokaana Omubatiza bwe baamala okugenda, Yesu n’ategeeza abantu ebya Yokaana nti, “Bwe mwagenda mu ddungu mwagenderera kulaba ki? Olumuli olunyeenyezebwa n’empewo? 8 Naye kiki kye mwagenda okulaba? Omuntu ayambadde engoye ezinekaaneka? Laba abambala engoye ennungi babeera mu mbiri za bakabaka. 9 Naye mwagenda kulaba ki? Nnabbi. Weewaawo ka mbabuulire, oyo asinga ne nnabbi. 10 Kubanga ye oyo ayogerwako mu Byawandiikibwa nti, “ ‘Ndiweereza omubaka wange akukulembere, alikuteekerateekera ekkubo nga tonnajja.’ 11 Ddala ddala mbagamba nti tewabangawo muntu eyazaalibwa omukazi asinga Yokaana Omubatiza. Naye asembayo okuba omukulu mu bwakabaka obw’omu ggulu asinga Yokaana. 12 Era okuva mu biro bya Yokaana Omubatiza n’okutuusa kaakano, obwakabaka obw’omu ggulu buyingirwa n’amaanyi, era abantu ab’amaanyi ennyo be babutwala. 13 Kubanga amateeka gonna era n’obunnabbi byonna byayogera okutuukira ddala ku Yokaana. 14 Era obanga mwagala okukkiriza, ye Eriya anaatera okujja. 15 Alina amatu agawulira, awulire.” 16 “Eggwanga lino nnaaligeraageranya ku ki? Bafaanana ng’abaana abato abazannya emizannyo gyabwe mu katale, nga bagamba bato bannaabwe nti, 17 “ ‘Twabafuuyira omulere, ne mutazina; ne tuyimba oluyimba olw’okukungubaga, ne mutakungubaga.’ 18 Kubanga Yokaana eyali talya wadde okunywa yajja ne mugamba nti, ‘Aliko dayimooni.’ 19 Omwana w’Omuntu, bwe yajja ng’alya era ng’anywa, ne boogera nti, ‘Wa mululu, muntu munywi, era mukwano gw’abasolooza b’omusolo n’aboonoonyi. B’abeeramu!’ So nga amagezi geeragira mu bikolwa.” 20 Yesu n’anenya nnyo ebibuga mwe yakolera ebyamagero ebisinga obungi, kubanga tebeenenya. 21 “Zikusanze, ggwe Kolaziini! Zikusanze ggwe Besusayida! Kubanga ebyamagero bye nakolera mu mmwe, singa nabikolera mu Ttuulo ne mu Sidoni, bandibadde beenenya dda nga bali mu bibukutu n’evvu ku mitwe gyabwe. 22 Ddala ddala Ttuulo ne Sidoni biriyisibwa bulungiko okusinga mmwe ku lunaku olw’okusalirako omusango! 23 Naawe Kaperunawumu, newaakubadde nga wagulumizibwa okutuuka eggulu gye likoma, naye oliserengesebwa wansi emagombe. Kubanga ebyamagero eby’ekitalo ebyakolebwa ewuwo, singa byakolerwa mu Sodomu, kyandibadde kikyaliwo ne leero. 24 Ddala ddala Sodomu kigenda kuyisibwa bulungiko, okusinga ggwe, ku lunaku olw’okusalirako omusango!” 25 Yesu n’asaba bw’ati nti, “Ayi Kitange, Mukama w’eggulu n’ensi, nkwebaza kubanga ebigambo byo bino eby’amazima wabikisa abo abeeyita ab’amagezi ennyo, naye n’obibikkulira abaana abato. 26 Weewaawo Kitange, bw’otyo bwe wasiima.” 27 “Kitange yankwasa ebintu byonna era Kitange yekka y’amanyi Omwana, nange Omwana Nze nzekka Nze mmanyi Kitange, n’abo Omwana b’aba ayagadde okulaga Kitaawe nabo bamumanyi.” 28 “Mujje gye ndi mmwe mwenna abakooye era abazitoowereddwa, nange nnaabawummuza. 29 Musitule ekikoligo kyange, muyigire ku nze, kubanga ndi muwombeefu era omuteefu mu mutima, n’emyoyo gyammwe girifuna ekiwummulo. 30 Kubanga ekikoligo kyange kyangu, n’omugugu gwange teguzitowa.”
In Other Versions
Matthew 11 in the ANGEFD
Matthew 11 in the ANTPNG2D
Matthew 11 in the AS21
Matthew 11 in the BAGH
Matthew 11 in the BBPNG
Matthew 11 in the BBT1E
Matthew 11 in the BDS
Matthew 11 in the BEV
Matthew 11 in the BHAD
Matthew 11 in the BIB
Matthew 11 in the BLPT
Matthew 11 in the BNT
Matthew 11 in the BNTABOOT
Matthew 11 in the BNTLV
Matthew 11 in the BOATCB
Matthew 11 in the BOATCB2
Matthew 11 in the BOBCV
Matthew 11 in the BOCNT
Matthew 11 in the BOECS
Matthew 11 in the BOGWICC
Matthew 11 in the BOHCB
Matthew 11 in the BOHCV
Matthew 11 in the BOHLNT
Matthew 11 in the BOHNTLTAL
Matthew 11 in the BOICB
Matthew 11 in the BOILNTAP
Matthew 11 in the BOITCV
Matthew 11 in the BOKCV
Matthew 11 in the BOKCV2
Matthew 11 in the BOKHWOG
Matthew 11 in the BOKSSV
Matthew 11 in the BOLCB2
Matthew 11 in the BOMCV
Matthew 11 in the BONAV
Matthew 11 in the BONCB
Matthew 11 in the BONLT
Matthew 11 in the BONUT2
Matthew 11 in the BOPLNT
Matthew 11 in the BOSCB
Matthew 11 in the BOSNC
Matthew 11 in the BOTLNT
Matthew 11 in the BOVCB
Matthew 11 in the BOYCB
Matthew 11 in the BPBB
Matthew 11 in the BPH
Matthew 11 in the BSB
Matthew 11 in the CCB
Matthew 11 in the CUV
Matthew 11 in the CUVS
Matthew 11 in the DBT
Matthew 11 in the DGDNT
Matthew 11 in the DHNT
Matthew 11 in the DNT
Matthew 11 in the ELBE
Matthew 11 in the EMTV
Matthew 11 in the ESV
Matthew 11 in the FBV
Matthew 11 in the FEB
Matthew 11 in the GGMNT
Matthew 11 in the GNT
Matthew 11 in the HARY
Matthew 11 in the HNT
Matthew 11 in the IRVA
Matthew 11 in the IRVB
Matthew 11 in the IRVG
Matthew 11 in the IRVH
Matthew 11 in the IRVK
Matthew 11 in the IRVM
Matthew 11 in the IRVM2
Matthew 11 in the IRVO
Matthew 11 in the IRVP
Matthew 11 in the IRVT
Matthew 11 in the IRVT2
Matthew 11 in the IRVU
Matthew 11 in the ISVN
Matthew 11 in the JSNT
Matthew 11 in the KAPI
Matthew 11 in the KBT1ETNIK
Matthew 11 in the KBV
Matthew 11 in the KJV
Matthew 11 in the KNFD
Matthew 11 in the LBA
Matthew 11 in the LBLA
Matthew 11 in the LNT
Matthew 11 in the LSV
Matthew 11 in the MAAL
Matthew 11 in the MBV
Matthew 11 in the MBV2
Matthew 11 in the MHNT
Matthew 11 in the MKNFD
Matthew 11 in the MNG
Matthew 11 in the MNT
Matthew 11 in the MNT2
Matthew 11 in the MRS1T
Matthew 11 in the NAA
Matthew 11 in the NASB
Matthew 11 in the NBLA
Matthew 11 in the NBS
Matthew 11 in the NBVTP
Matthew 11 in the NET2
Matthew 11 in the NIV11
Matthew 11 in the NNT
Matthew 11 in the NNT2
Matthew 11 in the NNT3
Matthew 11 in the PDDPT
Matthew 11 in the PFNT
Matthew 11 in the RMNT
Matthew 11 in the SBIAS
Matthew 11 in the SBIBS
Matthew 11 in the SBIBS2
Matthew 11 in the SBICS
Matthew 11 in the SBIDS
Matthew 11 in the SBIGS
Matthew 11 in the SBIHS
Matthew 11 in the SBIIS
Matthew 11 in the SBIIS2
Matthew 11 in the SBIIS3
Matthew 11 in the SBIKS
Matthew 11 in the SBIKS2
Matthew 11 in the SBIMS
Matthew 11 in the SBIOS
Matthew 11 in the SBIPS
Matthew 11 in the SBISS
Matthew 11 in the SBITS
Matthew 11 in the SBITS2
Matthew 11 in the SBITS3
Matthew 11 in the SBITS4
Matthew 11 in the SBIUS
Matthew 11 in the SBIVS
Matthew 11 in the SBT
Matthew 11 in the SBT1E
Matthew 11 in the SCHL
Matthew 11 in the SNT
Matthew 11 in the SUSU
Matthew 11 in the SUSU2
Matthew 11 in the SYNO
Matthew 11 in the TBIAOTANT
Matthew 11 in the TBT1E
Matthew 11 in the TBT1E2
Matthew 11 in the TFTIP
Matthew 11 in the TFTU
Matthew 11 in the TGNTATF3T
Matthew 11 in the THAI
Matthew 11 in the TNFD
Matthew 11 in the TNT
Matthew 11 in the TNTIK
Matthew 11 in the TNTIL
Matthew 11 in the TNTIN
Matthew 11 in the TNTIP
Matthew 11 in the TNTIZ
Matthew 11 in the TOMA
Matthew 11 in the TTENT
Matthew 11 in the UBG
Matthew 11 in the UGV
Matthew 11 in the UGV2
Matthew 11 in the UGV3
Matthew 11 in the VBL
Matthew 11 in the VDCC
Matthew 11 in the YALU
Matthew 11 in the YAPE
Matthew 11 in the YBVTP
Matthew 11 in the ZBP