Numbers 20 (BOLCB)

1 Mu mwezi ogw’olubereberye, ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri, ne batuuka mu ddungu lya Zini, ne batuula mu Kadesi. Miryamu n’afiira eyo, era gye yaziikibwa. 2 Awo ekibiina kyonna ne kitaba na mazzi. Abantu bonna ne beekuŋŋanyiza ku Musa ne Alooni. 3 Ne bayombesa Musa nga bagamba nti, “Singa nno naffe twafa, baganda baffe bwe baafiira mu maaso ga MUKAMA Katonda! 4 Lwaki waleeta ekibiina kya MUKAMA Katonda kino mu ddungu tulyoke tufiire wano n’ebisibo byaffe? 5 Lwaki watuggya mu nsi y’e Misiri okutuleeta mu kifo kino ekibi bwe kiti? Tekiriimu mmere ya mpeke wadde ttiini, so si kifo kya mizabbibu, so si kya mikomamawanga. Tewali na mazzi ge tuyinza kunywako!” 6 Awo Musa ne Alooni ne bava mu maaso g’ekibiina ky’abantu ne balaga ku mulyango gwa Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, ne bavuunama wansi. Ekitiibwa kya MUKAMA Katonda ne kibalabikira. 7 MUKAMA Katonda n’agamba Musa nti, 8 “Twala omuggo, ggwe ne muganda wo Alooni mukuŋŋaanye ekibiina kyonna. Lagira olwazi nga n’ekibiina kyonna kiraba, lujja kufukumula amazzi. Bw’otyo obaggire amazzi mu lwazi, basobole okunywako, era banywese n’ebisibo byabwe.” 9 Musa n’aggya omuggo awali MUKAMA n’agutwala nga MUKAMA Katonda bwe yamulagira. 10 Musa ne Alooni ne bakuŋŋanyiza ekibiina ky’abantu bonna awali olwazi, Musa n’agamba abantu nti, “Mumpulirize, mmwe abajeemu; kitugwanidde ffe okubaggyira amazzi mu lwazi luno?” 11 Awo Musa n’ayimusa omukono gwe n’akuba olwazi n’omuggo gwe emirundi ebiri. Amazzi mangi ne gafukumuka okuva mu lwazi, abantu bonna mu kibiina ne banywa, n’ebisibo byabwe nabyo ne binywa. 12 Naye MUKAMA Katonda n’agamba Musa ne Alooni nti, “Olwokubanga temunneesize, ne mutampa kitiibwa, ne mutalaga kibiina kino eky’abaana ba Isirayiri nga bwe ndi omutukuvu, noolwekyo temugenda kutuusa kibiina ky’abantu bano mu nsi gye mbasuubizza okubawa.” 13 Ago ge mazzi ag’e Meriba, abaana ba Isirayiri gye baayombera ne MUKAMA, era ne MUKAMA Katonda gye yeeragira mu bo nga mutukuvu. 14 Musa yatumira Kabaka wa Edomu ababaka ng’asinziira e Kadesi ng’amugamba nti,“Muganda wo Isirayiri agamba bw’ati nti: Ebizibu byonna ebyatutuukako obimanyi. 15 Omanyi nga bajjajjaffe bwe baaserengeta mu Misiri, ne tumalayo emyaka mingi. Abamisiri ne bayisa bubi bakadde baffe, era naffe; 16 naye bwe twakaabirira MUKAMA Katonda, yawulira okukaaba kwaffe, n’atutumira malayika n’atuggya mu nsi y’e Misiri. Kaakano tuli wano mu Kadesi, ekibuga ekiri ku nsalo n’ensi yo. 17 “Nkwegayirira otukkirize tuyite mu nsi yo. Tetuliyita mu birime wadde mu nnimiro z’emizabbibu, era tetugenda kunywa na ku mazzi agali mu nzizi. Tugenda kutambulira mu Luguudo lwa Kabaka Olunene, era tetugenda kuluvaamu kukyamako ku ludda olwa kkono oba olwa ddyo okutuusa nga tumaze okuva mu nsi yo.” 18 Naye Edomu n’addamu nti,“Tojja kuyita wano, bw’onookikola tujja kwesowolayo tukulumbe n’ekitala.” 19 Abaana ba Isirayiri ne baddamu nti,“Tujja kwambukira mu luguudo olunene mwokka, era ebisibo byaffe naffe bwe tunaanywa ku mazzi gammwe tujja kugasasulira. Twagala kuyitawo buyisi nga tutambuza bigere, tetwetaagayo kirala.” 20 Naye Edomu n’addamu nti,“Temuyitawo.”Edomu ne yeesowolayo n’eggye ddene nnyo era nga lya maanyi. 21 Bw’atyo Edomu n’agaana Isirayiri okuyitira mu matwale ge, Isirayiri n’amuviira. 22 Awo ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri ne basitula okuva e Kadesi, ne batuuka ku lusozi Koola. 23 MUKAMA Katonda n’agamba Musa ne Alooni, nga bali ku lusozi Koola okuliraana n’ensalo y’ensi ya Edomu, nti, 24 “Alooni ajja kugenda abantu be bonna gye baalaga, kubanga tagenda kuyingira mu nsi gye nzija okuwa abaana ba Isirayiri. Kubanga mwembi mwajeemera ekiragiro kyange ku mazzi ag’e Meriba. 25 Leeta Alooni ne mutabani we Eriyazaali, obaleete ku lusozi Koola; 26 Alooni omwambulemu ebyambalo bye, obyambaze Eriyazaali mutabani we, kubanga Alooni ajja kufa agende abantu be bonna gye baalaga.” 27 Musa n’akola nga MUKAMA bwe yamulagira; ne balinnya olusozi Koola ng’abantu bonna mu kibiina balaba. 28 Musa n’ayambulamu Alooni ebyambalo, n’abyambaza Eriyazaali mutabani wa Alooni. Alooni n’afiira awo ku ntikko y’olusozi. Musa ne Eriyazaali ne baserengeta ne bakka wansi w’olusozi. 29 Abantu bonna mu kibiina bwe bategeera nga Alooni afudde, ab’omu nnyumba ya Isirayiri bonna ne bakungubagira Alooni okumala ennaku amakumi asatu.

In Other Versions

Numbers 20 in the ANGEFD

Numbers 20 in the ANTPNG2D

Numbers 20 in the AS21

Numbers 20 in the BAGH

Numbers 20 in the BBPNG

Numbers 20 in the BBT1E

Numbers 20 in the BDS

Numbers 20 in the BEV

Numbers 20 in the BHAD

Numbers 20 in the BIB

Numbers 20 in the BLPT

Numbers 20 in the BNT

Numbers 20 in the BNTABOOT

Numbers 20 in the BNTLV

Numbers 20 in the BOATCB

Numbers 20 in the BOATCB2

Numbers 20 in the BOBCV

Numbers 20 in the BOCNT

Numbers 20 in the BOECS

Numbers 20 in the BOGWICC

Numbers 20 in the BOHCB

Numbers 20 in the BOHCV

Numbers 20 in the BOHLNT

Numbers 20 in the BOHNTLTAL

Numbers 20 in the BOICB

Numbers 20 in the BOILNTAP

Numbers 20 in the BOITCV

Numbers 20 in the BOKCV

Numbers 20 in the BOKCV2

Numbers 20 in the BOKHWOG

Numbers 20 in the BOKSSV

Numbers 20 in the BOLCB2

Numbers 20 in the BOMCV

Numbers 20 in the BONAV

Numbers 20 in the BONCB

Numbers 20 in the BONLT

Numbers 20 in the BONUT2

Numbers 20 in the BOPLNT

Numbers 20 in the BOSCB

Numbers 20 in the BOSNC

Numbers 20 in the BOTLNT

Numbers 20 in the BOVCB

Numbers 20 in the BOYCB

Numbers 20 in the BPBB

Numbers 20 in the BPH

Numbers 20 in the BSB

Numbers 20 in the CCB

Numbers 20 in the CUV

Numbers 20 in the CUVS

Numbers 20 in the DBT

Numbers 20 in the DGDNT

Numbers 20 in the DHNT

Numbers 20 in the DNT

Numbers 20 in the ELBE

Numbers 20 in the EMTV

Numbers 20 in the ESV

Numbers 20 in the FBV

Numbers 20 in the FEB

Numbers 20 in the GGMNT

Numbers 20 in the GNT

Numbers 20 in the HARY

Numbers 20 in the HNT

Numbers 20 in the IRVA

Numbers 20 in the IRVB

Numbers 20 in the IRVG

Numbers 20 in the IRVH

Numbers 20 in the IRVK

Numbers 20 in the IRVM

Numbers 20 in the IRVM2

Numbers 20 in the IRVO

Numbers 20 in the IRVP

Numbers 20 in the IRVT

Numbers 20 in the IRVT2

Numbers 20 in the IRVU

Numbers 20 in the ISVN

Numbers 20 in the JSNT

Numbers 20 in the KAPI

Numbers 20 in the KBT1ETNIK

Numbers 20 in the KBV

Numbers 20 in the KJV

Numbers 20 in the KNFD

Numbers 20 in the LBA

Numbers 20 in the LBLA

Numbers 20 in the LNT

Numbers 20 in the LSV

Numbers 20 in the MAAL

Numbers 20 in the MBV

Numbers 20 in the MBV2

Numbers 20 in the MHNT

Numbers 20 in the MKNFD

Numbers 20 in the MNG

Numbers 20 in the MNT

Numbers 20 in the MNT2

Numbers 20 in the MRS1T

Numbers 20 in the NAA

Numbers 20 in the NASB

Numbers 20 in the NBLA

Numbers 20 in the NBS

Numbers 20 in the NBVTP

Numbers 20 in the NET2

Numbers 20 in the NIV11

Numbers 20 in the NNT

Numbers 20 in the NNT2

Numbers 20 in the NNT3

Numbers 20 in the PDDPT

Numbers 20 in the PFNT

Numbers 20 in the RMNT

Numbers 20 in the SBIAS

Numbers 20 in the SBIBS

Numbers 20 in the SBIBS2

Numbers 20 in the SBICS

Numbers 20 in the SBIDS

Numbers 20 in the SBIGS

Numbers 20 in the SBIHS

Numbers 20 in the SBIIS

Numbers 20 in the SBIIS2

Numbers 20 in the SBIIS3

Numbers 20 in the SBIKS

Numbers 20 in the SBIKS2

Numbers 20 in the SBIMS

Numbers 20 in the SBIOS

Numbers 20 in the SBIPS

Numbers 20 in the SBISS

Numbers 20 in the SBITS

Numbers 20 in the SBITS2

Numbers 20 in the SBITS3

Numbers 20 in the SBITS4

Numbers 20 in the SBIUS

Numbers 20 in the SBIVS

Numbers 20 in the SBT

Numbers 20 in the SBT1E

Numbers 20 in the SCHL

Numbers 20 in the SNT

Numbers 20 in the SUSU

Numbers 20 in the SUSU2

Numbers 20 in the SYNO

Numbers 20 in the TBIAOTANT

Numbers 20 in the TBT1E

Numbers 20 in the TBT1E2

Numbers 20 in the TFTIP

Numbers 20 in the TFTU

Numbers 20 in the TGNTATF3T

Numbers 20 in the THAI

Numbers 20 in the TNFD

Numbers 20 in the TNT

Numbers 20 in the TNTIK

Numbers 20 in the TNTIL

Numbers 20 in the TNTIN

Numbers 20 in the TNTIP

Numbers 20 in the TNTIZ

Numbers 20 in the TOMA

Numbers 20 in the TTENT

Numbers 20 in the UBG

Numbers 20 in the UGV

Numbers 20 in the UGV2

Numbers 20 in the UGV3

Numbers 20 in the VBL

Numbers 20 in the VDCC

Numbers 20 in the YALU

Numbers 20 in the YAPE

Numbers 20 in the YBVTP

Numbers 20 in the ZBP