Numbers 6 (BOLCB)

1 Awo MUKAMA Katonda n’agamba Musa nti, 2 “Tegeeza abaana ba Isirayiri nti, Omusajja oba omukazi bw’anaabanga ayagala okukola obweyamo obw’enjawulo obutali bwa bulijjo ne yeetukuza ne yeeyawula eri MUKAMA ng’Omunazaalayiti, 3 anaateekwanga obutanywa nvinnyo n’ekyokunywa ekirala kyonna ekitamiiza, era taanywenga nvinnyo wadde ekitamiiza ekirala kyonna ekikaatuuse. Era taalyenga ku bibala bya mizabbibu wadde ensigo zaabyo. 4 Ebbanga lyonna ly’anaamalanga nga Munnazaalayiti taalyenga ku kintu kyonna ekiva mu mizabbibu newaakubadde ensigo wadde ebikuta. 5 “Ebbanga lyonna ly’anaamalanga ng’ali mu bweyamo bwe obwo, kkirita teyitenga ku mutwe gwe. Anaabanga mutukuvu eri MUKAMA Katonda okutuusa ekiseera kye eky’okweyawula nga kiweddeko; era enviiri ez’oku mutwe gwe anaazirekanga ne zikula ne ziwanvuwa. 6 Ebbanga lyonna ly’anaamalanga mu bweyamo bwe obwo eri MUKAMA Katonda, taasembererenga muntu afudde. 7 Newaakubadde kitaawe, oba nnyina, oba muganda we oba mwannyina nga kwe kuli afudde, taabasembererenga alemenga okufuuka atali mulongoofu, kubanga akabonero ak’obweyamo obw’okweyawula eri Katonda kanaabanga kali ku mutwe gwe. 8 Okumala ebbanga lyonna ery’obweyamo bwe obw’okweyawula, anaabanga mutukuvu eri MUKAMA Katonda. 9 “Omuntu bw’anaafanga ekikutuko ng’aliraanye omuwonge oyo, bw’atyo n’afuula enviiri ze okuba ezitali nnongoofu, kale, anaamwanga omutwe gwe ku lunaku olw’okwerongoosa, lwe lunaku olw’omusanvu. 10 Ku lunaku olw’omunaana anaaleetanga amayiba abiri oba enjiibwa ento bbiri eri kabona ku mulyango gwa Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu. 11 Kabona anaawangayo ekimu ku ebyo ng’ekiweebwayo olw’ekibi, n’ekyokubiri ng’ekiweebwayo ekyokebwa olw’okumutangiririra kubanga yali ayonoonye bwe yaliraana omuntu afudde. Ku lunaku olwo lwe lumu, kw’anaatukulizangako omutwe gwe. 12 Aneewangayo eri MUKAMA Katonda okumala ebbanga lyonna ery’obweyamo bwe obw’okweyawula, era anaaleetanga omwana gw’endiga omulume n’aguwaayo ng’ekiweebwayo olw’okusingibwa omusango. Ennaku ezaasooka teziibalibwenga kubanga yafuuka atali mulongoofu mu bbanga ery’obweyamo bwe obw’okweyawula. 13 “Lino ly’etteeka erinaakwatanga ku Munnazaalayiti ebbanga lye ery’obweyamo obw’okweyawula bwe linaggwangako. Anaaleetebwanga ku mulyango gwa Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu. 14 Anaawangayo ebirabo bye eby’ebiweebwayo eri MUKAMA Katonda, bye bino: omwana gw’endiga omulume ogw’omwaka ogumu ogw’obukulu ogutaliiko kamogo nga gwe gw’ekiweebwayo ekyokebwa; n’omwana gw’endiga omuluusi ogutaliiko kamogo nga gwe gw’ekiweebwayo olw’ekibi; n’endiga ennume etaliiko kamogo nga ye y’ekiweebwayo olw’emirembe; 15 n’ekibbo ky’emigaati egitali mizimbulukuse; ne kkeeke ezikoleddwa mu buwunga obulungi obutabuddwamu n’amafuta ag’omuzeeyituuni agafumba; n’obusukuuti obw’oluwewere obutali buzimbulukuse obusiigiddwako amafuta ag’omuzeeyituuni, n’ebiweebwayo eby’emmere y’empeke n’ebiweebwayo eby’ebyokunywa. 16 “Kabona anaabireetanga awali MUKAMA Katonda, n’awaayo ekiweebwayo kye olw’ekibi n’ekiweebwayo kye ekyokebwa. 17 Anaawangayo endiga ennume nga ssaddaaka ey’ekiweebwayo olw’emirembe eri MUKAMA Katonda awamu n’ekibbo ky’emigaati egitali mizimbulukuse; era kabona anaawangayo ekiweebwayo eky’emmere y’empeke n’ekiweebwayo eky’ebyokunywa. 18 “Omunnazaalayiti anaamweranga omutwe gwe ogw’obuwonge bwe ku mulyango gwa Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu; anaddiranga enviiri ezivudde ku mutwe ogw’obuwonge bwe n’azissa ku muliro oguli wansi wa ssaddaaka ey’ekiweebwayo olw’emirembe. 19 “Omunnazaalayiti bw’anaamalanga okumwa omutwe gwe ogw’obuwonge bwe, kabona anaddiranga omukono gw’endiga omufumbe, n’aggya ne kkeeke etali nzimbulukuse emu mu kibbo, n’akasukuuti ak’oluwewere akatali kazimbulukuse kamu, n’abimukwasa mu ngalo ze. 20 Kabona anaabiwuubanga nga kye kiweebwayo ekiwuubibwa mu maaso ga MUKAMA Katonda. Binaabanga bitukuvu era nga bya kabona awamu n’ekifuba ekiwuubibwa n’ekisambi ekinaaweebwangayo. Ebyo bwe binaggwanga, Omunnazaalayiti anaayinzanga okunywa envinnyo. 21 “Eryo lye tteeka ery’Omunnazaalayiti aneeyamanga okwewaayo eri MUKAMA Katonda ng’obweyamo bwe obw’okweyawula bwe bunaabanga, ng’agasseeko n’ebirala nga bw’anaasobolanga. Anaateekwanga okutuukiriza obweyamo bwe bwanaabanga akoze, ng’etteeka ly’Omunnazaalayiti bwe liragira.” 22 MUKAMA Katonda n’agamba Musa nti, 23 “Tegeeza Alooni ne batabani be nti, Bwe muti bwe munaasabiranga abaana ba Isirayiri omukisa: munaabagambanga nti: 24 “ ‘MUKAMA Katonda akuwe omukisa,akukuume; 25 MUKAMA Katonda akwakize amaaso geakukwatirwe ekisa; 26 MUKAMA Katonda akwolekeze amaaso geakuwe emirembe.’  27 “Bwe batyo banaateekanga erinnya lyange ku baana ba Isirayiri, nange naabawanga omukisa.”

In Other Versions

Numbers 6 in the ANGEFD

Numbers 6 in the ANTPNG2D

Numbers 6 in the AS21

Numbers 6 in the BAGH

Numbers 6 in the BBPNG

Numbers 6 in the BBT1E

Numbers 6 in the BDS

Numbers 6 in the BEV

Numbers 6 in the BHAD

Numbers 6 in the BIB

Numbers 6 in the BLPT

Numbers 6 in the BNT

Numbers 6 in the BNTABOOT

Numbers 6 in the BNTLV

Numbers 6 in the BOATCB

Numbers 6 in the BOATCB2

Numbers 6 in the BOBCV

Numbers 6 in the BOCNT

Numbers 6 in the BOECS

Numbers 6 in the BOGWICC

Numbers 6 in the BOHCB

Numbers 6 in the BOHCV

Numbers 6 in the BOHLNT

Numbers 6 in the BOHNTLTAL

Numbers 6 in the BOICB

Numbers 6 in the BOILNTAP

Numbers 6 in the BOITCV

Numbers 6 in the BOKCV

Numbers 6 in the BOKCV2

Numbers 6 in the BOKHWOG

Numbers 6 in the BOKSSV

Numbers 6 in the BOLCB2

Numbers 6 in the BOMCV

Numbers 6 in the BONAV

Numbers 6 in the BONCB

Numbers 6 in the BONLT

Numbers 6 in the BONUT2

Numbers 6 in the BOPLNT

Numbers 6 in the BOSCB

Numbers 6 in the BOSNC

Numbers 6 in the BOTLNT

Numbers 6 in the BOVCB

Numbers 6 in the BOYCB

Numbers 6 in the BPBB

Numbers 6 in the BPH

Numbers 6 in the BSB

Numbers 6 in the CCB

Numbers 6 in the CUV

Numbers 6 in the CUVS

Numbers 6 in the DBT

Numbers 6 in the DGDNT

Numbers 6 in the DHNT

Numbers 6 in the DNT

Numbers 6 in the ELBE

Numbers 6 in the EMTV

Numbers 6 in the ESV

Numbers 6 in the FBV

Numbers 6 in the FEB

Numbers 6 in the GGMNT

Numbers 6 in the GNT

Numbers 6 in the HARY

Numbers 6 in the HNT

Numbers 6 in the IRVA

Numbers 6 in the IRVB

Numbers 6 in the IRVG

Numbers 6 in the IRVH

Numbers 6 in the IRVK

Numbers 6 in the IRVM

Numbers 6 in the IRVM2

Numbers 6 in the IRVO

Numbers 6 in the IRVP

Numbers 6 in the IRVT

Numbers 6 in the IRVT2

Numbers 6 in the IRVU

Numbers 6 in the ISVN

Numbers 6 in the JSNT

Numbers 6 in the KAPI

Numbers 6 in the KBT1ETNIK

Numbers 6 in the KBV

Numbers 6 in the KJV

Numbers 6 in the KNFD

Numbers 6 in the LBA

Numbers 6 in the LBLA

Numbers 6 in the LNT

Numbers 6 in the LSV

Numbers 6 in the MAAL

Numbers 6 in the MBV

Numbers 6 in the MBV2

Numbers 6 in the MHNT

Numbers 6 in the MKNFD

Numbers 6 in the MNG

Numbers 6 in the MNT

Numbers 6 in the MNT2

Numbers 6 in the MRS1T

Numbers 6 in the NAA

Numbers 6 in the NASB

Numbers 6 in the NBLA

Numbers 6 in the NBS

Numbers 6 in the NBVTP

Numbers 6 in the NET2

Numbers 6 in the NIV11

Numbers 6 in the NNT

Numbers 6 in the NNT2

Numbers 6 in the NNT3

Numbers 6 in the PDDPT

Numbers 6 in the PFNT

Numbers 6 in the RMNT

Numbers 6 in the SBIAS

Numbers 6 in the SBIBS

Numbers 6 in the SBIBS2

Numbers 6 in the SBICS

Numbers 6 in the SBIDS

Numbers 6 in the SBIGS

Numbers 6 in the SBIHS

Numbers 6 in the SBIIS

Numbers 6 in the SBIIS2

Numbers 6 in the SBIIS3

Numbers 6 in the SBIKS

Numbers 6 in the SBIKS2

Numbers 6 in the SBIMS

Numbers 6 in the SBIOS

Numbers 6 in the SBIPS

Numbers 6 in the SBISS

Numbers 6 in the SBITS

Numbers 6 in the SBITS2

Numbers 6 in the SBITS3

Numbers 6 in the SBITS4

Numbers 6 in the SBIUS

Numbers 6 in the SBIVS

Numbers 6 in the SBT

Numbers 6 in the SBT1E

Numbers 6 in the SCHL

Numbers 6 in the SNT

Numbers 6 in the SUSU

Numbers 6 in the SUSU2

Numbers 6 in the SYNO

Numbers 6 in the TBIAOTANT

Numbers 6 in the TBT1E

Numbers 6 in the TBT1E2

Numbers 6 in the TFTIP

Numbers 6 in the TFTU

Numbers 6 in the TGNTATF3T

Numbers 6 in the THAI

Numbers 6 in the TNFD

Numbers 6 in the TNT

Numbers 6 in the TNTIK

Numbers 6 in the TNTIL

Numbers 6 in the TNTIN

Numbers 6 in the TNTIP

Numbers 6 in the TNTIZ

Numbers 6 in the TOMA

Numbers 6 in the TTENT

Numbers 6 in the UBG

Numbers 6 in the UGV

Numbers 6 in the UGV2

Numbers 6 in the UGV3

Numbers 6 in the VBL

Numbers 6 in the VDCC

Numbers 6 in the YALU

Numbers 6 in the YAPE

Numbers 6 in the YBVTP

Numbers 6 in the ZBP