Philippians 2 (BOLCB)
1 Kale bwe wabaawo okubazaamu endasi kwonna mu Kristo, oba okusanyusa kwonna okw’okwagala, oba okussa ekimu mu mwoyo, oba okwagala okw’engeri yonna, oba okusaasira, 2 mutuukirize essanyu lyange, mulowoozenga bumu, nga mulina okwagala, n’omwoyo gumu, nga mulowooza bumu, 3 nga temukola kintu na kimu olw’okuvuganya wadde okwewaana okutaliimu, wabula mu bwetoowaze nga buli muntu agulumiza munne okusinga bwe mwegulumiza mwekka, 4 nga buli muntu tatunuulira bibye yekka, naye ng’afaayo ne ku by’abalala. 5 Mubengamu endowooza eri eyali mu Kristo Yesu, 6 ye newaakubadde nga yali mu kifaananyi kya Katonda,Teyeerowooza kwenkanankana ne Katonda, 7 wabula yeewaayo n’afuuka ng’omuddu,era n’azaalibwa ng’omuntu,era n’alabikira mu kifaananyi ky’omuntu, 8 ne yeetoowaza,n’aba muwulize n’okutuukira ddala ku kufa,ate okufa okw’okukomererwa ku musaalaba. 9 Katonda kyeyava amugulumiza,n’amuwa erinnya erisinga amannya gonna; 10 buli vviivi ery’abo abali mu ggulu n’abali ku nsi,era n’abali wansi w’ensi liryoke lifukaamirirenga erinnya lya Yesu, 11 era buli lulimi lwatulenga nga Yesu Kristo ye Mukama,Katonda Kitaffe aweebwe ekitiibwa. 12 Noolwekyo abaagalwa, nga bwe muli abawulize bulijjo nga ndi nammwe, kaakano nga bwe siri nammwe mube bawulize nnyo n’okusinga bwe mwali. Munyiikirenga okukola ebiraga nti mwalokolebwa, nga mutya era nga mukankana. 13 Kubanga Katonda yakolera mu mmwe, era yabaagazisa n’abasobozesa okukola by’ayagala, olw’okumusanyusa. 14 Buli kye mukola mukikolenga awatali kwemulugunya wadde empaka, 15 mulyoke mube nga temuliiko kyakunenyezebwa nga muli balongoofu, mube abaana ba Katonda abatalina bbala, wakati mu mulembe ogwakyama era omwonoonefu, mwe mubeere ekyokulabirako eky’amaanyi mu nsi, 16 nga munyweza ekigambo ky’obulamu gye bali, ndyoke mbeere n’eky’okwenyumiriza ku lunaku lwa Kristo, okulaga nti ssaddukira bwereere so ssaateganira busa. 17 Naye singa ddala nfukibwa ng’ekiweebwayo ekyokunywa ku ssaddaaka ne ku kuweereza okw’obwakabona okw’okukkiriza kwammwe, nsanyukira wamu nammwe mwenna. 18 Era nammwe musanyukire wamu nange. 19 Mukama waffe Yesu bw’alisiima nsuubira okubatumira mangu Timoseewo, ndyoke ntereere omwoyo nga ntegedde ebibafaako. 20 Kubanga tewali mulala alina ndowooza nga yange, 21 kubanga abalala bonna beenoonyeza byabwe ku bwabwe, so si ebya Yesu Kristo. 22 Naye ye Timoseewo mumumanyi nga bw’asaanira, kubanga aweerereza wamu nange, ng’omwana bw’akolera awamu ne kitaawe nga tukola omulimu gw’okubuulira Enjiri. 23 Kale oyo gwe nsuubira okubatumira amangu ddala nga naakamanya nga bwe nnaabeera. 24 Naye nkakasa nti Mukama waffe bw’alisiima, nange nze kennyini sirimala bbanga ddene nga sinnajja eyo. 25 Era ndabye nga kisaanye okubatumira owooluganda Epafuladito mukozi munnange, era mulwanyi munnange, naye ate nga mutume wammwe, omuweereza ow’eby’obwakabona ow’eby’etaago byange, 26 ayagala ennyo okubalaba, mwenna, eyeeraliikirira ennyo olw’obutabalaba, kubanga mwawulira nga yalwala. 27 Ddala yalwala era yali kumpi n’okufa. Kyokka Katonda yamusaasira, naye era teyasaasira ye yekka, wabula nange yansaasira ennaku n’eteenneeyongera. 28 Noolwekyo nayagala nnyo okumutuma gye muli mulyoke musanyuke okumulaba nate, ekyo kikendeeze ku nnaku gye nnina. 29 Kale mumwanirize nnyo n’essanyu lyonna mu Mukama waffe, era abantu abali ng’oyo mubassangamu ekitiibwa, 30 kubanga yabulako katono okufa ng’ali ku mulimu gwa Kristo, ng’akola ebyo bye mwandinkoledde singa mwali nange.
In Other Versions
Philippians 2 in the ANGEFD
Philippians 2 in the ANTPNG2D
Philippians 2 in the AS21
Philippians 2 in the BAGH
Philippians 2 in the BBPNG
Philippians 2 in the BBT1E
Philippians 2 in the BDS
Philippians 2 in the BEV
Philippians 2 in the BHAD
Philippians 2 in the BIB
Philippians 2 in the BLPT
Philippians 2 in the BNT
Philippians 2 in the BNTABOOT
Philippians 2 in the BNTLV
Philippians 2 in the BOATCB
Philippians 2 in the BOATCB2
Philippians 2 in the BOBCV
Philippians 2 in the BOCNT
Philippians 2 in the BOECS
Philippians 2 in the BOGWICC
Philippians 2 in the BOHCB
Philippians 2 in the BOHCV
Philippians 2 in the BOHLNT
Philippians 2 in the BOHNTLTAL
Philippians 2 in the BOICB
Philippians 2 in the BOILNTAP
Philippians 2 in the BOITCV
Philippians 2 in the BOKCV
Philippians 2 in the BOKCV2
Philippians 2 in the BOKHWOG
Philippians 2 in the BOKSSV
Philippians 2 in the BOLCB2
Philippians 2 in the BOMCV
Philippians 2 in the BONAV
Philippians 2 in the BONCB
Philippians 2 in the BONLT
Philippians 2 in the BONUT2
Philippians 2 in the BOPLNT
Philippians 2 in the BOSCB
Philippians 2 in the BOSNC
Philippians 2 in the BOTLNT
Philippians 2 in the BOVCB
Philippians 2 in the BOYCB
Philippians 2 in the BPBB
Philippians 2 in the BPH
Philippians 2 in the BSB
Philippians 2 in the CCB
Philippians 2 in the CUV
Philippians 2 in the CUVS
Philippians 2 in the DBT
Philippians 2 in the DGDNT
Philippians 2 in the DHNT
Philippians 2 in the DNT
Philippians 2 in the ELBE
Philippians 2 in the EMTV
Philippians 2 in the ESV
Philippians 2 in the FBV
Philippians 2 in the FEB
Philippians 2 in the GGMNT
Philippians 2 in the GNT
Philippians 2 in the HARY
Philippians 2 in the HNT
Philippians 2 in the IRVA
Philippians 2 in the IRVB
Philippians 2 in the IRVG
Philippians 2 in the IRVH
Philippians 2 in the IRVK
Philippians 2 in the IRVM
Philippians 2 in the IRVM2
Philippians 2 in the IRVO
Philippians 2 in the IRVP
Philippians 2 in the IRVT
Philippians 2 in the IRVT2
Philippians 2 in the IRVU
Philippians 2 in the ISVN
Philippians 2 in the JSNT
Philippians 2 in the KAPI
Philippians 2 in the KBT1ETNIK
Philippians 2 in the KBV
Philippians 2 in the KJV
Philippians 2 in the KNFD
Philippians 2 in the LBA
Philippians 2 in the LBLA
Philippians 2 in the LNT
Philippians 2 in the LSV
Philippians 2 in the MAAL
Philippians 2 in the MBV
Philippians 2 in the MBV2
Philippians 2 in the MHNT
Philippians 2 in the MKNFD
Philippians 2 in the MNG
Philippians 2 in the MNT
Philippians 2 in the MNT2
Philippians 2 in the MRS1T
Philippians 2 in the NAA
Philippians 2 in the NASB
Philippians 2 in the NBLA
Philippians 2 in the NBS
Philippians 2 in the NBVTP
Philippians 2 in the NET2
Philippians 2 in the NIV11
Philippians 2 in the NNT
Philippians 2 in the NNT2
Philippians 2 in the NNT3
Philippians 2 in the PDDPT
Philippians 2 in the PFNT
Philippians 2 in the RMNT
Philippians 2 in the SBIAS
Philippians 2 in the SBIBS
Philippians 2 in the SBIBS2
Philippians 2 in the SBICS
Philippians 2 in the SBIDS
Philippians 2 in the SBIGS
Philippians 2 in the SBIHS
Philippians 2 in the SBIIS
Philippians 2 in the SBIIS2
Philippians 2 in the SBIIS3
Philippians 2 in the SBIKS
Philippians 2 in the SBIKS2
Philippians 2 in the SBIMS
Philippians 2 in the SBIOS
Philippians 2 in the SBIPS
Philippians 2 in the SBISS
Philippians 2 in the SBITS
Philippians 2 in the SBITS2
Philippians 2 in the SBITS3
Philippians 2 in the SBITS4
Philippians 2 in the SBIUS
Philippians 2 in the SBIVS
Philippians 2 in the SBT
Philippians 2 in the SBT1E
Philippians 2 in the SCHL
Philippians 2 in the SNT
Philippians 2 in the SUSU
Philippians 2 in the SUSU2
Philippians 2 in the SYNO
Philippians 2 in the TBIAOTANT
Philippians 2 in the TBT1E
Philippians 2 in the TBT1E2
Philippians 2 in the TFTIP
Philippians 2 in the TFTU
Philippians 2 in the TGNTATF3T
Philippians 2 in the THAI
Philippians 2 in the TNFD
Philippians 2 in the TNT
Philippians 2 in the TNTIK
Philippians 2 in the TNTIL
Philippians 2 in the TNTIN
Philippians 2 in the TNTIP
Philippians 2 in the TNTIZ
Philippians 2 in the TOMA
Philippians 2 in the TTENT
Philippians 2 in the UBG
Philippians 2 in the UGV
Philippians 2 in the UGV2
Philippians 2 in the UGV3
Philippians 2 in the VBL
Philippians 2 in the VDCC
Philippians 2 in the YALU
Philippians 2 in the YAPE
Philippians 2 in the YBVTP
Philippians 2 in the ZBP