Proverbs 19 (BOLCB)
1 Omuntu omwavu atambulira mu butuukirivu,asinga akamwa ak’omusirusiru akaweebuula. 2 Si kirungi okuba omujjumbize naye nga tolina kumanya,n’okwanguyiriza okukola ekintu kuleetera omuntu okukwata ekkubo ekyamu. 3 Obusirusiru bw’omuntu bwe bwonoona obulamu bwe,kyokka omutima gwe ne gunenya MUKAMA. 4 Obugagga buleeta emikwano mingi,naye emikwano gy’omwavu gimuddukako. 5 Omujulizi ow’obulimba talirema kubonerezebwa,era oyo ayogera eby’obulimba taliba na buddukiro. 6 Bangi banoonya okuganja mu maaso g’omufuzi,era buli muntu aba mukwano gw’oyo agaba ebirabo. 7 Baganda b’omwavu bonna bamwewala,mikwano gye tebaasingewo nnyo okumwewala? Wadde abagoberera ng’abeegayirira,naye tabalaba. 8 Oyo afuna amagezi ayagala emmeeme ye,n’oyo asanyukira okutegeera, akulaakulana. 9 Omujulizi ow’obulimba talirema kubonerezebwa,n’oyo ayogera eby’obulimba alizikirira. 10 Omusirusiru tasaana kubeera mu bulamu bwa kwejalabya,kale kiwulikika kitya ng’omuddu afuga abalangira? 11 Omuntu omutegeevu alwawo okusunguwala,era kiba kya kitiibwa obutafa ku bye bamusobezza. 12 Obusungu bwa kabaka buli ng’okuwuluguma kw’empologoma,naye ekisa kye kiri ng’omusulo ku ssubi. 13 Omwana omusirusiru aleetera kitaawe okuzikirira,n’omukazi omuyombi ali ng’enkuba etonnya olutata. 14 Ennyumba n’obugagga bisikirwa okuva ku bazadde,naye omukazi omutegeevu ava eri MUKAMA. 15 Obugayaavu buleeta otulo tungi,n’omuntu atakola mirimu alirumwa enjala. 16 Oyo akwata ebiragiro akuuma obulamu bwe,naye oyo eyeeyisa mu ngeri embi alifa. 17 Oyo akwatirwa omwavu ekisa awola MUKAMA,era MUKAMA alimusasula olw’ekikolwa kye ekyo. 18 Kangavvulanga omwana wo kubanga mu ekyo mulimu essuubi,oleme kumuwaayo mu kuzikirira. 19 Omuntu omukambwe ennyo alisasula ebiriva mu bukambwe bwe,kubanga ne bw’omununula ogusooka era oteekwa okukiddiŋŋaana. 20 Ssangayo omwoyo ku magezi agakuweebwa ne ku kuyigirizibwa,oluvannyuma lwa byonna oliba n’amagezi. 21 Enteekateeka z’omuntu ziba nnyingi mu mutima gwe;byo ebigendererwa bya MUKAMA bituukirira. 22 Ekintu omuntu kye yeegomba kwe kwagala okutaggwaawo,okuba omwavu kisinga okuba omulimba. 23 Okutya MUKAMA kutuusa mu bulamu;olwo omuntu n’awummula nga mumativu nga tatuukiddwako kabi. 24 Omugayaavu annyika omukono gwe mu kibya,n’atagukomyawo nate ku mumwa gwe. 25 Kangavvula omunyoomi, abatamanyi bayigire ku ye,buulirira ategeera, ajja kweyongera okutegeera. 26 Omwana abba ebya kitaawe n’agobaganya ne nnyina,aleeta obuswavu n’obuyinike. 27 Mwana wange konoolekayo okuyigirizibwa,onoowaba okuva ku bigambo by’okumanya. 28 Omujulizi omulimba atyoboola ensala ey’amazima,n’akamwa k’ababi, kavaabira ebitali bya butuukirivu. 29 Ebibonerezo bitekebwawo kukangavvula banyoomi,n’embooko zaakolebwa lwa migongo gy’abasirusiru.
In Other Versions
Proverbs 19 in the ANGEFD
Proverbs 19 in the ANTPNG2D
Proverbs 19 in the AS21
Proverbs 19 in the BAGH
Proverbs 19 in the BBPNG
Proverbs 19 in the BBT1E
Proverbs 19 in the BDS
Proverbs 19 in the BEV
Proverbs 19 in the BHAD
Proverbs 19 in the BIB
Proverbs 19 in the BLPT
Proverbs 19 in the BNT
Proverbs 19 in the BNTABOOT
Proverbs 19 in the BNTLV
Proverbs 19 in the BOATCB
Proverbs 19 in the BOATCB2
Proverbs 19 in the BOBCV
Proverbs 19 in the BOCNT
Proverbs 19 in the BOECS
Proverbs 19 in the BOGWICC
Proverbs 19 in the BOHCB
Proverbs 19 in the BOHCV
Proverbs 19 in the BOHLNT
Proverbs 19 in the BOHNTLTAL
Proverbs 19 in the BOICB
Proverbs 19 in the BOILNTAP
Proverbs 19 in the BOITCV
Proverbs 19 in the BOKCV
Proverbs 19 in the BOKCV2
Proverbs 19 in the BOKHWOG
Proverbs 19 in the BOKSSV
Proverbs 19 in the BOLCB2
Proverbs 19 in the BOMCV
Proverbs 19 in the BONAV
Proverbs 19 in the BONCB
Proverbs 19 in the BONLT
Proverbs 19 in the BONUT2
Proverbs 19 in the BOPLNT
Proverbs 19 in the BOSCB
Proverbs 19 in the BOSNC
Proverbs 19 in the BOTLNT
Proverbs 19 in the BOVCB
Proverbs 19 in the BOYCB
Proverbs 19 in the BPBB
Proverbs 19 in the BPH
Proverbs 19 in the BSB
Proverbs 19 in the CCB
Proverbs 19 in the CUV
Proverbs 19 in the CUVS
Proverbs 19 in the DBT
Proverbs 19 in the DGDNT
Proverbs 19 in the DHNT
Proverbs 19 in the DNT
Proverbs 19 in the ELBE
Proverbs 19 in the EMTV
Proverbs 19 in the ESV
Proverbs 19 in the FBV
Proverbs 19 in the FEB
Proverbs 19 in the GGMNT
Proverbs 19 in the GNT
Proverbs 19 in the HARY
Proverbs 19 in the HNT
Proverbs 19 in the IRVA
Proverbs 19 in the IRVB
Proverbs 19 in the IRVG
Proverbs 19 in the IRVH
Proverbs 19 in the IRVK
Proverbs 19 in the IRVM
Proverbs 19 in the IRVM2
Proverbs 19 in the IRVO
Proverbs 19 in the IRVP
Proverbs 19 in the IRVT
Proverbs 19 in the IRVT2
Proverbs 19 in the IRVU
Proverbs 19 in the ISVN
Proverbs 19 in the JSNT
Proverbs 19 in the KAPI
Proverbs 19 in the KBT1ETNIK
Proverbs 19 in the KBV
Proverbs 19 in the KJV
Proverbs 19 in the KNFD
Proverbs 19 in the LBA
Proverbs 19 in the LBLA
Proverbs 19 in the LNT
Proverbs 19 in the LSV
Proverbs 19 in the MAAL
Proverbs 19 in the MBV
Proverbs 19 in the MBV2
Proverbs 19 in the MHNT
Proverbs 19 in the MKNFD
Proverbs 19 in the MNG
Proverbs 19 in the MNT
Proverbs 19 in the MNT2
Proverbs 19 in the MRS1T
Proverbs 19 in the NAA
Proverbs 19 in the NASB
Proverbs 19 in the NBLA
Proverbs 19 in the NBS
Proverbs 19 in the NBVTP
Proverbs 19 in the NET2
Proverbs 19 in the NIV11
Proverbs 19 in the NNT
Proverbs 19 in the NNT2
Proverbs 19 in the NNT3
Proverbs 19 in the PDDPT
Proverbs 19 in the PFNT
Proverbs 19 in the RMNT
Proverbs 19 in the SBIAS
Proverbs 19 in the SBIBS
Proverbs 19 in the SBIBS2
Proverbs 19 in the SBICS
Proverbs 19 in the SBIDS
Proverbs 19 in the SBIGS
Proverbs 19 in the SBIHS
Proverbs 19 in the SBIIS
Proverbs 19 in the SBIIS2
Proverbs 19 in the SBIIS3
Proverbs 19 in the SBIKS
Proverbs 19 in the SBIKS2
Proverbs 19 in the SBIMS
Proverbs 19 in the SBIOS
Proverbs 19 in the SBIPS
Proverbs 19 in the SBISS
Proverbs 19 in the SBITS
Proverbs 19 in the SBITS2
Proverbs 19 in the SBITS3
Proverbs 19 in the SBITS4
Proverbs 19 in the SBIUS
Proverbs 19 in the SBIVS
Proverbs 19 in the SBT
Proverbs 19 in the SBT1E
Proverbs 19 in the SCHL
Proverbs 19 in the SNT
Proverbs 19 in the SUSU
Proverbs 19 in the SUSU2
Proverbs 19 in the SYNO
Proverbs 19 in the TBIAOTANT
Proverbs 19 in the TBT1E
Proverbs 19 in the TBT1E2
Proverbs 19 in the TFTIP
Proverbs 19 in the TFTU
Proverbs 19 in the TGNTATF3T
Proverbs 19 in the THAI
Proverbs 19 in the TNFD
Proverbs 19 in the TNT
Proverbs 19 in the TNTIK
Proverbs 19 in the TNTIL
Proverbs 19 in the TNTIN
Proverbs 19 in the TNTIP
Proverbs 19 in the TNTIZ
Proverbs 19 in the TOMA
Proverbs 19 in the TTENT
Proverbs 19 in the UBG
Proverbs 19 in the UGV
Proverbs 19 in the UGV2
Proverbs 19 in the UGV3
Proverbs 19 in the VBL
Proverbs 19 in the VDCC
Proverbs 19 in the YALU
Proverbs 19 in the YAPE
Proverbs 19 in the YBVTP
Proverbs 19 in the ZBP