Psalms 125 (BOLCB)
undefined Oluyimba nga balinnya amadaala. 1 Abeesiga MUKAMA bali ng’olusozi Sayuuniolutayinza kusiguukululwa, naye olubeerawo emirembe gyonna. 2 Ensozi nga bwe zeetooloola Yerusaalemi,ne MUKAMA bw’atyo bwe yeetooloola abantu be,okuva kaakano n’okutuusa emirembe gyonna. 3 Kubanga abafuzi abakola ebibi tebalifugiramu nsi y’abatuukirivu,baleme okuwaliriza abatuukirivuokukola ebibi. 4 Ayi MUKAMA, abalungi n’abo abalina omutima omulongoofubakolere ebirungi. 5 Naye abo abalaga mu makubo gaabwe amakyamu, MUKAMA alibawaŋŋangusa wamu n’abakola ebitali bya butuukirivu. Emirembe gibe ku Isirayiri.