Psalms 126 (BOLCB)
undefined Oluyimba nga balinnya amadaala. 1 MUKAMA bwe yakomyawo abawaŋŋanguse ba Sayuuni,twafaanana ng’abaloota. 2 Olwo akamwa kaffe ne kajjula enseko,ne nnimi zaffe ne ziyimba ennyimba ez’essanyu.Amawanga ne gagamba nti,“MUKAMA abakoledde ebikulu.” 3 MUKAMA atukoledde ebikulu,kyetuvudde tusanyuka. 4 Otuzze obuggya, Ayi MUKAMA,tufaanane ng’emigga egikulukutira mu lusenyi. 5 Abo abasiga nga bakaaba amaziga,baliyimba ennyimba ez’essanyu nga bakungula. 6 Oyo agenda ng’akaabang’atwala ensigo okusiga;alikomawo ng’ayimba ennyimba ez’essanyung’aleeta ebinywa bye.