Psalms 129 (BOLCB)
undefined Oluyimba nga balinnya amadaala. 1 Isirayiri ayogere nti,“Bambonyaabonyezza nnyo okuva mu buvubuka bwange.” 2 Ddala bambonyaabonyezza nnyo okuva mu buvubuka bwange;naye tebampangudde. 3 Newaakubadde ng’omugongo gwange gujjudde enkovu olw’embooko ze bankubyeera ne gulabika nga kwe bayisizza ekyuma ekirima, 4 kyokka MUKAMA mutuukirivu;amenyeemenye enjegere z’abakola ebibi. 5 Abo bonna abakyawa Sayuuni bagobebweera bazzibweyo emabega nga baswadde. 6 Babeere ng’omuddo ogumera waggulu ku nnyumba,oguwotoka nga tegunnakula. 7 Omukunguzi tagufaako, n’oyo asiba ebinywa agunyooma. 8 Wadde abayitawo baleme kwogera nti,“Omukisa gwa MUKAMA gube ku mmwe.Tubasabidde omukisa mu linnya lya MUKAMA.”