Psalms 13 (BOLCB)
undefined Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi. 1 Olinneerabira kutuusa ddi, Ayi MUKAMA? Okutuusa emirembe gyonna?Olikomya ddi okunkweka amaaso go? 2 Okulumwa mu mmeeme yange kulikoma ddi,n’okunyolwa okwa buli lunaku mu mutima gwange kuliggwaamu ddi?Abalabe bange balikomya ddi okumpangulanga nga beegulumiza? 3 Onnyanukule, Ayi MUKAMA Katonda wange;onzizeemu amaanyi nneme okufa. 4 Si kulwa ng’omulabe wange yeewaana nti, “Mmuwangudde;”abalabe bange ne bajaguza nga ngudde. 5 Naye nze neesiga okwagala kwo okutajjulukuka;era omutima gwange gunaasanyukiranga mu bulokozi bwo. 6 Nnaayimbiranga MUKAMA,kubanga ankoledde ebirungi.