Revelation 22 (BOLCB)
1 Awo malayika n’andaga omugga ogw’amazzi ag’obulamu agamasamasa ng’endabirwamu, nga gukulukuta okuva mu ntebe ey’obwakabaka eya Katonda, n’ey’Omwana gw’Endiga, 2 nga gukulukutira wakati mu luguudo olunene. Ku mbalama zombi ez’omugga kwaliko emiti egy’obulamu, gumu ku buli ludda, egibala ebibala ekkumi n’ebibiri era nga buli mwezi kubeerako ebibala eby’engeri endala; n’amakoola gaagwo nga gakozesebwa ng’eddagala okuwonya amawanga. 3 Mu kibuga ekyo tewalibaayo kikolimo nate. Entebe ey’obwakabaka eya Katonda n’ey’Omwana gw’Endiga ziribeera eyo, n’abaddu be balimuweereza, 4 era banaalabanga amaaso ge, n’erinnya lye liriwandiikibwa mu byenyi byabwe. 5 Teribaayo kiro, noolwekyo ettabaaza oba enjuba tebiryetaagibwa, kubanga Mukama Katonda y’anaabaakiranga era banaafuganga emirembe n’emirembe. 6 Awo malayika n’aŋŋamba nti, “Ebigambo bino bituufu, bya mazima. Era Katonda w’emyoyo gya bannabbi, atumye malayika we okulaga abaddu be ebyo ebiteekwa okubaawo amangu.” 7 “Era laba, nzija mangu. Alina omukisa oyo akwata ebigambo by’obunnabbi ebiri mu kitabo kino.” 8 Nze Yokaana nalaba era ne mpulira ebintu ebyo. Era bwe nabiraba ne mbiwulira ne ngwa wansi okusinza malayika oyo eyabindaga; 9 kyokka ye n’aŋŋamba nti, “Tokola kintu ekyo kubanga nange ndi muddu nga ggwe era nga baganda bo bannabbi bwe bali, awamu n’abo bonna abakwata ebigambo ebiwandiikiddwa mu kitabo kino. Ssinza Katonda.” 10 Awo n’aŋŋamba nti, “Ebyo by’owandiise eby’obunnabbi tobikuuma nga bya kyama kubanga biri kumpi okutuukirira. 11 Era ekiseera ekyo bwe kirituuka, buli akola ebitali bya butuukirivu alyeyongera okukola ebitali bya butuukirivu, era n’omugwagwa alyeyongera okugwagwawala, kyokka abatuukirivu balyeyongera okuba abatuukirivu, n’abatukuvu balyeyongera okuba abatukuvu. 12 “Laba, nzija mangu nsasule buli omu ng’ebikolwa bye bwe biri. 13 Nze Alufa era nze Omega, Owoolubereberye era Asembayo, Entandikwa era Enkomerero. 14 “Balina omukisa abo abayoza ebyambalo byabwe, baliweebwa obuyinza okuyingira mu miryango gy’ekibuga ne balya ne ku bibala ebiva ku muti ogw’obulamu. 15 Ebweru w’ekibuga y’ebeera embwa, n’abalogo, n’abenzi, n’abassi, n’abasinza bakatonda abalala n’abo bonna abaagala era abakola eby’obulimba. 16 “Nze Yesu, ow’omu kikolo era ow’omu lulyo lwa Dawudi, ntumye malayika wange gye muli okubuulira Ekkanisa ebigambo bino. Nze Mmunyeenye eyaka ey’Enkya.” 17 Omwoyo n’Omugole boogera nti, “Jjangu.” Na buli awulira ayogere nti, “Jjangu.” Buli alumwa ennyonta ajje, buli ayagala ajje anywe ku mazzi ag’obulamu ag’obuwa. 18 Ntegeeza buli omu awulira ebigambo eby’obunnabbi ebiri mu kitabo: Omuntu yenna alibyongerako, Katonda alimwongerako ebibonoobono ebiwandiikiddwa mu kitabo kino. 19 Era omuntu yenna alikendeeza ku bigambo by’obunnabbi ebiri mu kitabo kino, Mukama alimuggyako omugabo gwe ku muti ogw’obulamu ne mu kibuga ekyo ekitukuvu ekiwandiikiddwako mu kitabo kino. 20 Oyo ayogedde ebintu bino agamba nti, “Weewaawo nzija mangu!”Amiina! Jjangu Mukama waffe Yesu! 21 Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga ne bonna. Amiina.
In Other Versions
Revelation 22 in the ANGEFD
Revelation 22 in the ANTPNG2D
Revelation 22 in the AS21
Revelation 22 in the BAGH
Revelation 22 in the BBPNG
Revelation 22 in the BBT1E
Revelation 22 in the BDS
Revelation 22 in the BEV
Revelation 22 in the BHAD
Revelation 22 in the BIB
Revelation 22 in the BLPT
Revelation 22 in the BNT
Revelation 22 in the BNTABOOT
Revelation 22 in the BNTLV
Revelation 22 in the BOATCB
Revelation 22 in the BOATCB2
Revelation 22 in the BOBCV
Revelation 22 in the BOCNT
Revelation 22 in the BOECS
Revelation 22 in the BOGWICC
Revelation 22 in the BOHCB
Revelation 22 in the BOHCV
Revelation 22 in the BOHLNT
Revelation 22 in the BOHNTLTAL
Revelation 22 in the BOICB
Revelation 22 in the BOILNTAP
Revelation 22 in the BOITCV
Revelation 22 in the BOKCV
Revelation 22 in the BOKCV2
Revelation 22 in the BOKHWOG
Revelation 22 in the BOKSSV
Revelation 22 in the BOLCB2
Revelation 22 in the BOMCV
Revelation 22 in the BONAV
Revelation 22 in the BONCB
Revelation 22 in the BONLT
Revelation 22 in the BONUT2
Revelation 22 in the BOPLNT
Revelation 22 in the BOSCB
Revelation 22 in the BOSNC
Revelation 22 in the BOTLNT
Revelation 22 in the BOVCB
Revelation 22 in the BOYCB
Revelation 22 in the BPBB
Revelation 22 in the BPH
Revelation 22 in the BSB
Revelation 22 in the CCB
Revelation 22 in the CUV
Revelation 22 in the CUVS
Revelation 22 in the DBT
Revelation 22 in the DGDNT
Revelation 22 in the DHNT
Revelation 22 in the DNT
Revelation 22 in the ELBE
Revelation 22 in the EMTV
Revelation 22 in the ESV
Revelation 22 in the FBV
Revelation 22 in the FEB
Revelation 22 in the GGMNT
Revelation 22 in the GNT
Revelation 22 in the HARY
Revelation 22 in the HNT
Revelation 22 in the IRVA
Revelation 22 in the IRVB
Revelation 22 in the IRVG
Revelation 22 in the IRVH
Revelation 22 in the IRVK
Revelation 22 in the IRVM
Revelation 22 in the IRVM2
Revelation 22 in the IRVO
Revelation 22 in the IRVP
Revelation 22 in the IRVT
Revelation 22 in the IRVT2
Revelation 22 in the IRVU
Revelation 22 in the ISVN
Revelation 22 in the JSNT
Revelation 22 in the KAPI
Revelation 22 in the KBT1ETNIK
Revelation 22 in the KBV
Revelation 22 in the KJV
Revelation 22 in the KNFD
Revelation 22 in the LBA
Revelation 22 in the LBLA
Revelation 22 in the LNT
Revelation 22 in the LSV
Revelation 22 in the MAAL
Revelation 22 in the MBV
Revelation 22 in the MBV2
Revelation 22 in the MHNT
Revelation 22 in the MKNFD
Revelation 22 in the MNG
Revelation 22 in the MNT
Revelation 22 in the MNT2
Revelation 22 in the MRS1T
Revelation 22 in the NAA
Revelation 22 in the NASB
Revelation 22 in the NBLA
Revelation 22 in the NBS
Revelation 22 in the NBVTP
Revelation 22 in the NET2
Revelation 22 in the NIV11
Revelation 22 in the NNT
Revelation 22 in the NNT2
Revelation 22 in the NNT3
Revelation 22 in the PDDPT
Revelation 22 in the PFNT
Revelation 22 in the RMNT
Revelation 22 in the SBIAS
Revelation 22 in the SBIBS
Revelation 22 in the SBIBS2
Revelation 22 in the SBICS
Revelation 22 in the SBIDS
Revelation 22 in the SBIGS
Revelation 22 in the SBIHS
Revelation 22 in the SBIIS
Revelation 22 in the SBIIS2
Revelation 22 in the SBIIS3
Revelation 22 in the SBIKS
Revelation 22 in the SBIKS2
Revelation 22 in the SBIMS
Revelation 22 in the SBIOS
Revelation 22 in the SBIPS
Revelation 22 in the SBISS
Revelation 22 in the SBITS
Revelation 22 in the SBITS2
Revelation 22 in the SBITS3
Revelation 22 in the SBITS4
Revelation 22 in the SBIUS
Revelation 22 in the SBIVS
Revelation 22 in the SBT
Revelation 22 in the SBT1E
Revelation 22 in the SCHL
Revelation 22 in the SNT
Revelation 22 in the SUSU
Revelation 22 in the SUSU2
Revelation 22 in the SYNO
Revelation 22 in the TBIAOTANT
Revelation 22 in the TBT1E
Revelation 22 in the TBT1E2
Revelation 22 in the TFTIP
Revelation 22 in the TFTU
Revelation 22 in the TGNTATF3T
Revelation 22 in the THAI
Revelation 22 in the TNFD
Revelation 22 in the TNT
Revelation 22 in the TNTIK
Revelation 22 in the TNTIL
Revelation 22 in the TNTIN
Revelation 22 in the TNTIP
Revelation 22 in the TNTIZ
Revelation 22 in the TOMA
Revelation 22 in the TTENT
Revelation 22 in the UBG
Revelation 22 in the UGV
Revelation 22 in the UGV2
Revelation 22 in the UGV3
Revelation 22 in the VBL
Revelation 22 in the VDCC
Revelation 22 in the YALU
Revelation 22 in the YAPE
Revelation 22 in the YBVTP
Revelation 22 in the ZBP