Revelation 6 (BOLCB)
1 Awo ne ndaba Omwana gw’Endiga ng’abembulula akamu ku bubonero bw’envumbo; ne mpulira ekimu ku biramu ebina nga kyogera n’eddoboozi eryawulikika ng’okubwatuka nga kigamba nti, “Jjangu!” 2 Ne ndaba, era laba, embalaasi enjeru, ng’agyebagadde alina omutego ogulasa akasaale; n’aweebwa engule n’agenda ng’awangula, n’awangulira ddala. 3 Bwe yabembulula akabonero k’envumbo akookubiri, ne mpulira ekiramu ekyokubiri nga kyogera nti, “Jjangu!” 4 Ne wavaayo embalaasi endala nga myufu, eyali agyebagadde n’aweebwa ekitala ekiwanvu, n’aweebwa n’obuyinza okuggyawo emirembe ku nsi, n’okuleeta entalo wakati w’abantu, battiŋŋane bokka na bokka. 5 Bwe yabembulula akabonero k’envumbo akokusatu ne mpulira ekiramu ekyokusatu nga kyogera nti, “Jjangu!” Era laba, ne ndaba embalaasi enzirugavu n’eyali agyebagadde ng’akutte minzaani mu mukono gwe. 6 Ne mpulira eddoboozi eryawulikika ng’eriva wakati w’ebiramu ebina nga ligamba nti, “Omugaati gumu gugula ddinaali, ne kilo y’obuwunga bwa sayiri nayo bw’eba egula, kyokka omuzigo n’envinnyo tobyonoona.” 7 Bwe yabembulula akabonero k’envumbo akookuna ne mpulira ekiramu ekyokuna nga kyogera nti, “Jjangu!” 8 Ne ndaba, era laba, embalaasi ey’erangi ensiiwuukirivu n’eyali agyebagadde ng’ayitibwa Walumbe, ne Magombe n’agenda naye. Ne baweebwa okufuga ekitundu ekyokuna eky’ensi, okutta n’ekitala, n’enjala, n’olumbe, n’ensolo enkambwe ez’oku nsi. 9 Bwe yabembulula akabonero k’envumbo akookutaano ne ndaba wansi w’ekyoto emyoyo egy’abo abattibwa olw’okubuulira ekigambo kya Katonda n’olw’okuba abeesigwa mu bujulizi bwabwe. 10 Ne bakaabirira Mukama n’eddoboozi ery’omwanguka nga bagamba nti, “Ayi Mukama, Omutukuvu era ow’amazima, onoosalira ddi abantu b’ensi omusango, n’owoolera eggwanga olw’omusaayi gwaffe?” 11 Buli omu ku bo n’aweebwa ekyambalo ekyeru, era ne bagambibwa okugira nga bawummulako okutuusa baganda baabwe abalala era baweereza bannaabwe aba Yesu abaali bagenda okuttibwa, lwe balibeegattako. 12 Awo ne ndaba ng’abembulula akabonero k’envumbo ak’omukaaga; ne wabaawo musisi ow’amaanyi ennyo, era enjuba n’eddugala n’efuuka nzirugavu ng’ekibukutu ekyakolebwa mu bwoya, n’omwezi gwonna ne gumyuka ng’omusaayi. 13 Awo emmunyeenye ez’omu ggulu ne zigwa ku nsi ng’omutiini bwe gukunkumula emitiini egitanayengera olwa kibuyaga ow’amaanyi, 14 n’eggulu ne lyezingako ng’omuzingo gw’ekitabo bwe gwezingazinga na buli lusozi na buli kizinga ne biggibwawo mu bifo byabyo. 15 Bakabaka b’ensi, n’abafuzi ab’oku ntikko n’abantu abagagga, n’abakulu b’amaggye n’ab’amaanyi, na buli muddu n’ow’eddembe, ne beekweka mu mpuku ne mu njazi z’ensozi. 16 Ne bagamba ensozi nti, “Mutugweko mutukweke mu maaso g’Oyo atudde ku ntebe ey’obwakabaka, ne mu busungu bw’Omwana gw’Endiga. 17 Kubanga olunaku olukulu olw’obusungu bwabwe lutuuse era ani ayinza okugumira obusungu bwabwe!”
In Other Versions
Revelation 6 in the ANGEFD
Revelation 6 in the ANTPNG2D
Revelation 6 in the AS21
Revelation 6 in the BAGH
Revelation 6 in the BBPNG
Revelation 6 in the BBT1E
Revelation 6 in the BDS
Revelation 6 in the BEV
Revelation 6 in the BHAD
Revelation 6 in the BIB
Revelation 6 in the BLPT
Revelation 6 in the BNT
Revelation 6 in the BNTABOOT
Revelation 6 in the BNTLV
Revelation 6 in the BOATCB
Revelation 6 in the BOATCB2
Revelation 6 in the BOBCV
Revelation 6 in the BOCNT
Revelation 6 in the BOECS
Revelation 6 in the BOGWICC
Revelation 6 in the BOHCB
Revelation 6 in the BOHCV
Revelation 6 in the BOHLNT
Revelation 6 in the BOHNTLTAL
Revelation 6 in the BOICB
Revelation 6 in the BOILNTAP
Revelation 6 in the BOITCV
Revelation 6 in the BOKCV
Revelation 6 in the BOKCV2
Revelation 6 in the BOKHWOG
Revelation 6 in the BOKSSV
Revelation 6 in the BOLCB2
Revelation 6 in the BOMCV
Revelation 6 in the BONAV
Revelation 6 in the BONCB
Revelation 6 in the BONLT
Revelation 6 in the BONUT2
Revelation 6 in the BOPLNT
Revelation 6 in the BOSCB
Revelation 6 in the BOSNC
Revelation 6 in the BOTLNT
Revelation 6 in the BOVCB
Revelation 6 in the BOYCB
Revelation 6 in the BPBB
Revelation 6 in the BPH
Revelation 6 in the BSB
Revelation 6 in the CCB
Revelation 6 in the CUV
Revelation 6 in the CUVS
Revelation 6 in the DBT
Revelation 6 in the DGDNT
Revelation 6 in the DHNT
Revelation 6 in the DNT
Revelation 6 in the ELBE
Revelation 6 in the EMTV
Revelation 6 in the ESV
Revelation 6 in the FBV
Revelation 6 in the FEB
Revelation 6 in the GGMNT
Revelation 6 in the GNT
Revelation 6 in the HARY
Revelation 6 in the HNT
Revelation 6 in the IRVA
Revelation 6 in the IRVB
Revelation 6 in the IRVG
Revelation 6 in the IRVH
Revelation 6 in the IRVK
Revelation 6 in the IRVM
Revelation 6 in the IRVM2
Revelation 6 in the IRVO
Revelation 6 in the IRVP
Revelation 6 in the IRVT
Revelation 6 in the IRVT2
Revelation 6 in the IRVU
Revelation 6 in the ISVN
Revelation 6 in the JSNT
Revelation 6 in the KAPI
Revelation 6 in the KBT1ETNIK
Revelation 6 in the KBV
Revelation 6 in the KJV
Revelation 6 in the KNFD
Revelation 6 in the LBA
Revelation 6 in the LBLA
Revelation 6 in the LNT
Revelation 6 in the LSV
Revelation 6 in the MAAL
Revelation 6 in the MBV
Revelation 6 in the MBV2
Revelation 6 in the MHNT
Revelation 6 in the MKNFD
Revelation 6 in the MNG
Revelation 6 in the MNT
Revelation 6 in the MNT2
Revelation 6 in the MRS1T
Revelation 6 in the NAA
Revelation 6 in the NASB
Revelation 6 in the NBLA
Revelation 6 in the NBS
Revelation 6 in the NBVTP
Revelation 6 in the NET2
Revelation 6 in the NIV11
Revelation 6 in the NNT
Revelation 6 in the NNT2
Revelation 6 in the NNT3
Revelation 6 in the PDDPT
Revelation 6 in the PFNT
Revelation 6 in the RMNT
Revelation 6 in the SBIAS
Revelation 6 in the SBIBS
Revelation 6 in the SBIBS2
Revelation 6 in the SBICS
Revelation 6 in the SBIDS
Revelation 6 in the SBIGS
Revelation 6 in the SBIHS
Revelation 6 in the SBIIS
Revelation 6 in the SBIIS2
Revelation 6 in the SBIIS3
Revelation 6 in the SBIKS
Revelation 6 in the SBIKS2
Revelation 6 in the SBIMS
Revelation 6 in the SBIOS
Revelation 6 in the SBIPS
Revelation 6 in the SBISS
Revelation 6 in the SBITS
Revelation 6 in the SBITS2
Revelation 6 in the SBITS3
Revelation 6 in the SBITS4
Revelation 6 in the SBIUS
Revelation 6 in the SBIVS
Revelation 6 in the SBT
Revelation 6 in the SBT1E
Revelation 6 in the SCHL
Revelation 6 in the SNT
Revelation 6 in the SUSU
Revelation 6 in the SUSU2
Revelation 6 in the SYNO
Revelation 6 in the TBIAOTANT
Revelation 6 in the TBT1E
Revelation 6 in the TBT1E2
Revelation 6 in the TFTIP
Revelation 6 in the TFTU
Revelation 6 in the TGNTATF3T
Revelation 6 in the THAI
Revelation 6 in the TNFD
Revelation 6 in the TNT
Revelation 6 in the TNTIK
Revelation 6 in the TNTIL
Revelation 6 in the TNTIN
Revelation 6 in the TNTIP
Revelation 6 in the TNTIZ
Revelation 6 in the TOMA
Revelation 6 in the TTENT
Revelation 6 in the UBG
Revelation 6 in the UGV
Revelation 6 in the UGV2
Revelation 6 in the UGV3
Revelation 6 in the VBL
Revelation 6 in the VDCC
Revelation 6 in the YALU
Revelation 6 in the YAPE
Revelation 6 in the YBVTP
Revelation 6 in the ZBP