1 Chronicles 16 (BOLCB)

1 Awo ne baleeta essanduuko ya MUKAMA, ne bagiyingiza mu weema Dawudi gye yali agisimbidde, ne bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo olw’emirembe eri Katonda. 2 Awo Dawudi bwe yamala okuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo olw’emirembe, n’asabira abantu omukisa mu linnya lya MUKAMA, 3 era n’agabira buli Muyisirayiri omusajja n’omukazi, omugaati n’ekitole eky’ezabbibu enkalu, n’ekiyungula ky’ennyama. 4 Yalonda abamu ku Baleevi okuweerezanga mu maaso g’essanduuko ya MUKAMA, okukoowoola nga basaba, nga beebaza, era nga batendereza MUKAMA, Katonda wa Isirayiri. 5 Asafu ye yali omukulu waabwe, Zekkaliya n’amuddirira, Yeyeeri n’addako, n’oluvannyuma Semiramosi, ne Yekyeri, ne Mattisiya, ne Eriyaabu, ne Benaya, ne Obededomu, ne Yeyeri, abookukuba entongooli n’ennanga, Asafu ye ng’akuba ebitaasa. 6 Benaya ne Yakaziyeeri bakabona be baafuuwanga amakondeere bulijjo mu maaso g’essanduuko ey’endagaano ya Katonda. 7 Awo ku lunaku olwo, Dawudi n’alagira Asafu n’abantu be yakolanga nabo, basooke okwebaza MUKAMA nga bagamba nti: 8 Mwebaze MUKAMA, mukoowoole erinnya lye,mumanyise ebikolwa bye mu mawanga. 9 Mumuyimbire, muyimbe okumutenderezamwogere ku byamagero bye byonna. 10 Erinnya lye ligulumizibwe,n’emitima gy’abo abanoonya MUKAMA gisanyuke. 11 Mutunuulire MUKAMA n’amaanyi ge;munoonye amaaso ge ennaku zonna. 12 Mujjukire ebyewuunyo by’akoze,n’ebyamagero bye, n’ensala ye ey’emisango gy’alangirira, 13 mmwe abazzukulu ba Isirayiri, abaweereza be,mmwe abaana ba Yakobo, abalonde be. 14 Ye MUKAMA Katonda waffe;okusalawo kwe okw’emisango kubuna ensi yonna. 15 Ajjukira endagaano ye emirembe gyonna,n’ekigambo kye yalagira, okutuusa ku mirembe olukumi, 16 gye yakola ne Ibulayimu,era n’agirayiza Isaaka. 17 N’aginyweza ng’etteeka eri Yakobo,n’eri Isirayiri ng’endagaano ey’olubeerera, 18 ng’agamba nti, “Ndikuwa ensi ya Kanani, ng’omugabo, ogw’obusika bwo.” 19 Omuwendo gwabwe bwe gwali omutono,era omutono ddala, nga batambuze mu yo, 20 baatambulatambulanga okuva mu nsi emu okudda mu ndala,n’okuva mu bwakabaka obumu okudda mu bantu abalala. 21 Teyaganya muntu n’omu kubanyigiriza;weewaawo, yanenya bakabaka ku lwabwe: 22 ng’agamba nti, “Temukwatanga ku abo be nnafukako amafuta,so bannabbi bange temubakolanga akabi.” 23 Muyimbire MUKAMA, mmwe ensi zonna;mulangirire obulokozi bwe buli lunaku. 24 Mubuulire ekitiibwa kye mu mawanga,n’ebikolwa bye ebyamagero mu bantu bonna. 25 MUKAMA mukulu era asaanira okutenderezebwa;era atiibwenga okusinga bakatonda abalala bonna. 26 Bakatonda bonna abamawanga bifaananyi,naye MUKAMA ye yakola eggulu. 27 Ekitiibwa n’obukulu biri mu maaso ge,amaanyi n’essanyu biri wamu naye. 28 Mugulumize MUKAMA, mmwe ebika eby’amawanga byonna,mutende ekitiibwa kya MUKAMA awamu n’amaanyi ge. 29 Muyimusize MUKAMA ekitiibwa ekigwanira erinnya lye;muleete ekiweebwayo, mujje mu maaso ge;musinze MUKAMA mu kitiibwa ky’obutukuvu bwe. 30 Mukankane mu maaso ge ensi yonna,weewaawo ensi nywevu, teyinza kusesetulwa. 31 Eggulu lisanyuke, n’ensi ejaguze;boogere mu mawanga nti, “MUKAMA afuga!” 32 Ennyanja ewuume, n’ebigirimu byonna,n’ennimiro zijaguze, n’okujjula kwazo! 33 Awo emiti egy’omu kibira ginaayimba,ginaayimbira MUKAMA n’essanyu,kubanga akomawo okusalira ensi omusango. 34 Weebaze MUKAMA kubanga mulungi;era okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna. 35 Mwogerere waggulu nti, “Tulokole, Ayi Katonda ow’obulokozi bwaffe;tukuŋŋaanye, otulokole eri amawanga,twebaze erinnya lyo ettukuvu,era tujagulize mu ttendo lyo.” 36 MUKAMA yeebazibwe, Katonda wa Isirayiriow’emirembe n’emirembe.Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina, MUKAMA yeebazibwe.” 37 Awo Dawudi n’aleka Asafu n’ababeezi be, okuweereza MUKAMA mu maaso g’essanduuko ey’endagaano ya MUKAMA, nga bwe kyagwaniranga buli lunaku. 38 Obededomu n’ababeezi be enkaaga mu omunaana nabo yabaleka baweereze eyo. Obededomu mutabani wa Yedusuni, era ne Kosa be baali abaggazi. 39 Dawudi yaleka Zadooki, kabona ne bakabona banne mu maaso g’eweema ya MUKAMA mu kifo ekigulumivu e Gibyoni 40 okuwangayo ebiweebwayo ebyokebwa eri MUKAMA ku kyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa, buli nkya na buli kawungeezi, nga byonna bwe byawandiikibwa mu mateeka ga MUKAMA, ge yawa Isirayiri. 41 Kemani ne Yedusuni n’abalala abaalondebwa ne bayitibwa amannya gaabwe okwebaza MUKAMA, “kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna,” baali wamu nabo. 42 Era Kemani ne Yedusuni baavunaanyizibwanga okufuuwa amakondeere, n’okukuba ebitaasa, n’okukubira ebivuga ebirala ku luyimba lwa Katonda. Batabani ba Yedusuni baabeeranga ku wankaaki. 43 Awo abantu bonna ne baddayo ewaabwe, ne Dawudi n’addayo okusabira ennyumba ye omukisa.

In Other Versions

1 Chronicles 16 in the ANGEFD

1 Chronicles 16 in the ANTPNG2D

1 Chronicles 16 in the AS21

1 Chronicles 16 in the BAGH

1 Chronicles 16 in the BBPNG

1 Chronicles 16 in the BBT1E

1 Chronicles 16 in the BDS

1 Chronicles 16 in the BEV

1 Chronicles 16 in the BHAD

1 Chronicles 16 in the BIB

1 Chronicles 16 in the BLPT

1 Chronicles 16 in the BNT

1 Chronicles 16 in the BNTABOOT

1 Chronicles 16 in the BNTLV

1 Chronicles 16 in the BOATCB

1 Chronicles 16 in the BOATCB2

1 Chronicles 16 in the BOBCV

1 Chronicles 16 in the BOCNT

1 Chronicles 16 in the BOECS

1 Chronicles 16 in the BOGWICC

1 Chronicles 16 in the BOHCB

1 Chronicles 16 in the BOHCV

1 Chronicles 16 in the BOHLNT

1 Chronicles 16 in the BOHNTLTAL

1 Chronicles 16 in the BOICB

1 Chronicles 16 in the BOILNTAP

1 Chronicles 16 in the BOITCV

1 Chronicles 16 in the BOKCV

1 Chronicles 16 in the BOKCV2

1 Chronicles 16 in the BOKHWOG

1 Chronicles 16 in the BOKSSV

1 Chronicles 16 in the BOLCB2

1 Chronicles 16 in the BOMCV

1 Chronicles 16 in the BONAV

1 Chronicles 16 in the BONCB

1 Chronicles 16 in the BONLT

1 Chronicles 16 in the BONUT2

1 Chronicles 16 in the BOPLNT

1 Chronicles 16 in the BOSCB

1 Chronicles 16 in the BOSNC

1 Chronicles 16 in the BOTLNT

1 Chronicles 16 in the BOVCB

1 Chronicles 16 in the BOYCB

1 Chronicles 16 in the BPBB

1 Chronicles 16 in the BPH

1 Chronicles 16 in the BSB

1 Chronicles 16 in the CCB

1 Chronicles 16 in the CUV

1 Chronicles 16 in the CUVS

1 Chronicles 16 in the DBT

1 Chronicles 16 in the DGDNT

1 Chronicles 16 in the DHNT

1 Chronicles 16 in the DNT

1 Chronicles 16 in the ELBE

1 Chronicles 16 in the EMTV

1 Chronicles 16 in the ESV

1 Chronicles 16 in the FBV

1 Chronicles 16 in the FEB

1 Chronicles 16 in the GGMNT

1 Chronicles 16 in the GNT

1 Chronicles 16 in the HARY

1 Chronicles 16 in the HNT

1 Chronicles 16 in the IRVA

1 Chronicles 16 in the IRVB

1 Chronicles 16 in the IRVG

1 Chronicles 16 in the IRVH

1 Chronicles 16 in the IRVK

1 Chronicles 16 in the IRVM

1 Chronicles 16 in the IRVM2

1 Chronicles 16 in the IRVO

1 Chronicles 16 in the IRVP

1 Chronicles 16 in the IRVT

1 Chronicles 16 in the IRVT2

1 Chronicles 16 in the IRVU

1 Chronicles 16 in the ISVN

1 Chronicles 16 in the JSNT

1 Chronicles 16 in the KAPI

1 Chronicles 16 in the KBT1ETNIK

1 Chronicles 16 in the KBV

1 Chronicles 16 in the KJV

1 Chronicles 16 in the KNFD

1 Chronicles 16 in the LBA

1 Chronicles 16 in the LBLA

1 Chronicles 16 in the LNT

1 Chronicles 16 in the LSV

1 Chronicles 16 in the MAAL

1 Chronicles 16 in the MBV

1 Chronicles 16 in the MBV2

1 Chronicles 16 in the MHNT

1 Chronicles 16 in the MKNFD

1 Chronicles 16 in the MNG

1 Chronicles 16 in the MNT

1 Chronicles 16 in the MNT2

1 Chronicles 16 in the MRS1T

1 Chronicles 16 in the NAA

1 Chronicles 16 in the NASB

1 Chronicles 16 in the NBLA

1 Chronicles 16 in the NBS

1 Chronicles 16 in the NBVTP

1 Chronicles 16 in the NET2

1 Chronicles 16 in the NIV11

1 Chronicles 16 in the NNT

1 Chronicles 16 in the NNT2

1 Chronicles 16 in the NNT3

1 Chronicles 16 in the PDDPT

1 Chronicles 16 in the PFNT

1 Chronicles 16 in the RMNT

1 Chronicles 16 in the SBIAS

1 Chronicles 16 in the SBIBS

1 Chronicles 16 in the SBIBS2

1 Chronicles 16 in the SBICS

1 Chronicles 16 in the SBIDS

1 Chronicles 16 in the SBIGS

1 Chronicles 16 in the SBIHS

1 Chronicles 16 in the SBIIS

1 Chronicles 16 in the SBIIS2

1 Chronicles 16 in the SBIIS3

1 Chronicles 16 in the SBIKS

1 Chronicles 16 in the SBIKS2

1 Chronicles 16 in the SBIMS

1 Chronicles 16 in the SBIOS

1 Chronicles 16 in the SBIPS

1 Chronicles 16 in the SBISS

1 Chronicles 16 in the SBITS

1 Chronicles 16 in the SBITS2

1 Chronicles 16 in the SBITS3

1 Chronicles 16 in the SBITS4

1 Chronicles 16 in the SBIUS

1 Chronicles 16 in the SBIVS

1 Chronicles 16 in the SBT

1 Chronicles 16 in the SBT1E

1 Chronicles 16 in the SCHL

1 Chronicles 16 in the SNT

1 Chronicles 16 in the SUSU

1 Chronicles 16 in the SUSU2

1 Chronicles 16 in the SYNO

1 Chronicles 16 in the TBIAOTANT

1 Chronicles 16 in the TBT1E

1 Chronicles 16 in the TBT1E2

1 Chronicles 16 in the TFTIP

1 Chronicles 16 in the TFTU

1 Chronicles 16 in the TGNTATF3T

1 Chronicles 16 in the THAI

1 Chronicles 16 in the TNFD

1 Chronicles 16 in the TNT

1 Chronicles 16 in the TNTIK

1 Chronicles 16 in the TNTIL

1 Chronicles 16 in the TNTIN

1 Chronicles 16 in the TNTIP

1 Chronicles 16 in the TNTIZ

1 Chronicles 16 in the TOMA

1 Chronicles 16 in the TTENT

1 Chronicles 16 in the UBG

1 Chronicles 16 in the UGV

1 Chronicles 16 in the UGV2

1 Chronicles 16 in the UGV3

1 Chronicles 16 in the VBL

1 Chronicles 16 in the VDCC

1 Chronicles 16 in the YALU

1 Chronicles 16 in the YAPE

1 Chronicles 16 in the YBVTP

1 Chronicles 16 in the ZBP