1 Samuel 12 (BOLCB)

1 Samwiri n’ayogera eri Isirayiri yenna, ng’agamba nti, “Mpulirizza buli kintu kye muŋŋambye, ne mbateerawo kabaka okubafuga. 2 Kaakano mulina kabaka ng’omukulembeze wammwe. Naye nze nkaddiye, mmeze n’envi, era n’abaana bange bali wano nammwe. Mbadde mukulembeze wammwe okuva mu buvubuka bwange n’okutuusa leero. 3 Nzuuno mu maaso gammwe. Munnumirize ensonga yonna mu maaso ga MUKAMA ne mu maaso g’oyo gwe yafukako amafuta. Ani gwe nnali ntwalidde ente ye? Oba ani gwe nnali ntwalidde endogoyi ye? Oba ani gwe nnali ndyazaamaanyizza? Oba ani gwe nnali njooze? Oba ani gwe nnali nsabye enguzi? Bwe wabaawo anvunaana mu nsonga yonna nzija kumuliyira.” 4 Ne baddamu nti, “Totunyagangako newaakubadde okutujooga, wadde okulya enguzi okuva mu mukono gw’omuntu yenna.” 5 Awo Samwiri n’abaddamu nti, “MUKAMA ye mujulirwa gye muli, era n’oyo gwe yafukako amafuta mujulirwa leero, nga sirina nsobi yonna mu maaso gammwe.” Ne baddamu nti, “Mujulirwa.” 6 Samwiri n’agamba abantu nti, “MUKAMA ye yalonda Musa ne Alooni era n’aggya bajjajjammwe mu Misiri. 7 Kale nno, musseeyo omwoyo mutege amatu mu maaso ga MUKAMA, eri okubalamula era n’okubajjukiza ebikolwa eby’obutuukirivu MUKAMA bye yabakolera mmwe ne bajjajjammwe. 8 “Yakobo bwe yabeera mu Misiri, bajjajjammwe ne bakaabirira MUKAMA; MUKAMA yatuma Musa ne Alooni, abaabaggya mu Misiri, n’abateeka mu kifo kino. 9 “Naye ne beerabira MUKAMA Katonda waabwe, kyeyava abatunda mu mukono gwa Sisera omuduumizi w’eggye lya Kazoli, ne mu mukono gw’Abafirisuuti, ne mu mukono gwa kabaka wa Mowaabu, abaabalwanyisanga. 10 Abayisirayiri ne bakaabirira MUKAMA, nga boogera nti, ‘Twasobya, twava ku MUKAMA ne tuweereza Babaali ne Baasutoleesi. Naye kaakano tulokole okuva mu mukono gw’abalabe baffe, tunaakuweerezanga.’ 11 MUKAMA n’alyoka atuma Yerubbaali, ne Bedani, ne Yefusa ne Samwiri ne babalokola mu mukono gw’abalabe bammwe enjuuyi zonna, ne mutuula mirembe. 12 Naye bwe mwalaba Nakkasi kabaka w’Abamoni ng’abalumba, newaakubadde nga MUKAMA Katonda wammwe ye yali kabaka wammwe ne muŋŋamba nti, ‘Nedda, ffe twagala kabaka okutufuga.’ 13 Kaakano kabaka gwe mulonze era gwe mwasaba wuuno, era laba MUKAMA ataddewo kabaka okubafuga. 14 Bwe munaatyanga MUKAMA ne mumuweerezanga, ne mugonderanga eddoboozi lye, ne mutajeemera biragiro bye, mmwe ne kabaka abafuga ne mugobereranga MUKAMA Katonda wammwe, kinaabanga kirungi. 15 Naye bwe mutaagonderenga MUKAMA, ne mujeemera ebiragiro bye, omukono gwe gunaalwananga nammwe, nga bwe kyali ku bajjajjammwe. 16 “Kale nno mulindirire mulabe ekintu ekikulu MUKAMA kyagenda okukola mu maaso gammwe. 17 Bino kaakano si biseera bya kukungula ŋŋaano. Naye nzija kusaba MUKAMA, aweereze okubwatuka n’enkuba, mulyoke mutegeere nga kye mwakola okusaba kabaka kyali kibi mu maaso ga MUKAMA.” 18 Awo Samwiri n’asaba MUKAMA, MUKAMA n’aweereza okubwatuka n’enkuba, abantu bonna ne batya nnyo MUKAMA ne Samwiri. 19 Awo abantu bonna ne bagamba Samwiri nti, “Tusabire eri MUKAMA Katonda wo, ffe abaweereza bo, tuleme kufa, kubanga twongedde ku bibi byaffe ebirala byonna, bwe twasabye kabaka.” 20 Samwiri n’addamu abantu nti, “Temutya, okukola mwakola ebibi ebyo byonna, naye temuvanga ku MUKAMA, kaakano mumuweerezenga n’omutima gwammwe gwonna. 21 Temukyukanga okugoberera ebintu ebitaliimu, ebitayinza kubagasa wadde okubawonya, kubanga tebiriimu nsa. 22 MUKAMA tagenda kwabulira bantu be, olw’erinnya lye ekkulu, kubanga MUKAMA yasiima okubafuula ababe. 23 Nze ku lwange, kikafuuwe, okwonoona eri MUKAMA ne ssibasabira; nnaabalaganga ekkubo ettuufu era eggolokofu. 24 Kyokka mutyenga MUKAMA era mumuweerezenga n’obwesigwa n’omutima gwammwe gwonna, nga mujjukira ebintu ebikulu bye yabakolera. 25 Naye bwe muneeyongeranga okukola ebibi, mmwe ne kabaka wammwe mulizikirizibwa.”

In Other Versions

1 Samuel 12 in the ANGEFD

1 Samuel 12 in the ANTPNG2D

1 Samuel 12 in the AS21

1 Samuel 12 in the BAGH

1 Samuel 12 in the BBPNG

1 Samuel 12 in the BBT1E

1 Samuel 12 in the BDS

1 Samuel 12 in the BEV

1 Samuel 12 in the BHAD

1 Samuel 12 in the BIB

1 Samuel 12 in the BLPT

1 Samuel 12 in the BNT

1 Samuel 12 in the BNTABOOT

1 Samuel 12 in the BNTLV

1 Samuel 12 in the BOATCB

1 Samuel 12 in the BOATCB2

1 Samuel 12 in the BOBCV

1 Samuel 12 in the BOCNT

1 Samuel 12 in the BOECS

1 Samuel 12 in the BOGWICC

1 Samuel 12 in the BOHCB

1 Samuel 12 in the BOHCV

1 Samuel 12 in the BOHLNT

1 Samuel 12 in the BOHNTLTAL

1 Samuel 12 in the BOICB

1 Samuel 12 in the BOILNTAP

1 Samuel 12 in the BOITCV

1 Samuel 12 in the BOKCV

1 Samuel 12 in the BOKCV2

1 Samuel 12 in the BOKHWOG

1 Samuel 12 in the BOKSSV

1 Samuel 12 in the BOLCB2

1 Samuel 12 in the BOMCV

1 Samuel 12 in the BONAV

1 Samuel 12 in the BONCB

1 Samuel 12 in the BONLT

1 Samuel 12 in the BONUT2

1 Samuel 12 in the BOPLNT

1 Samuel 12 in the BOSCB

1 Samuel 12 in the BOSNC

1 Samuel 12 in the BOTLNT

1 Samuel 12 in the BOVCB

1 Samuel 12 in the BOYCB

1 Samuel 12 in the BPBB

1 Samuel 12 in the BPH

1 Samuel 12 in the BSB

1 Samuel 12 in the CCB

1 Samuel 12 in the CUV

1 Samuel 12 in the CUVS

1 Samuel 12 in the DBT

1 Samuel 12 in the DGDNT

1 Samuel 12 in the DHNT

1 Samuel 12 in the DNT

1 Samuel 12 in the ELBE

1 Samuel 12 in the EMTV

1 Samuel 12 in the ESV

1 Samuel 12 in the FBV

1 Samuel 12 in the FEB

1 Samuel 12 in the GGMNT

1 Samuel 12 in the GNT

1 Samuel 12 in the HARY

1 Samuel 12 in the HNT

1 Samuel 12 in the IRVA

1 Samuel 12 in the IRVB

1 Samuel 12 in the IRVG

1 Samuel 12 in the IRVH

1 Samuel 12 in the IRVK

1 Samuel 12 in the IRVM

1 Samuel 12 in the IRVM2

1 Samuel 12 in the IRVO

1 Samuel 12 in the IRVP

1 Samuel 12 in the IRVT

1 Samuel 12 in the IRVT2

1 Samuel 12 in the IRVU

1 Samuel 12 in the ISVN

1 Samuel 12 in the JSNT

1 Samuel 12 in the KAPI

1 Samuel 12 in the KBT1ETNIK

1 Samuel 12 in the KBV

1 Samuel 12 in the KJV

1 Samuel 12 in the KNFD

1 Samuel 12 in the LBA

1 Samuel 12 in the LBLA

1 Samuel 12 in the LNT

1 Samuel 12 in the LSV

1 Samuel 12 in the MAAL

1 Samuel 12 in the MBV

1 Samuel 12 in the MBV2

1 Samuel 12 in the MHNT

1 Samuel 12 in the MKNFD

1 Samuel 12 in the MNG

1 Samuel 12 in the MNT

1 Samuel 12 in the MNT2

1 Samuel 12 in the MRS1T

1 Samuel 12 in the NAA

1 Samuel 12 in the NASB

1 Samuel 12 in the NBLA

1 Samuel 12 in the NBS

1 Samuel 12 in the NBVTP

1 Samuel 12 in the NET2

1 Samuel 12 in the NIV11

1 Samuel 12 in the NNT

1 Samuel 12 in the NNT2

1 Samuel 12 in the NNT3

1 Samuel 12 in the PDDPT

1 Samuel 12 in the PFNT

1 Samuel 12 in the RMNT

1 Samuel 12 in the SBIAS

1 Samuel 12 in the SBIBS

1 Samuel 12 in the SBIBS2

1 Samuel 12 in the SBICS

1 Samuel 12 in the SBIDS

1 Samuel 12 in the SBIGS

1 Samuel 12 in the SBIHS

1 Samuel 12 in the SBIIS

1 Samuel 12 in the SBIIS2

1 Samuel 12 in the SBIIS3

1 Samuel 12 in the SBIKS

1 Samuel 12 in the SBIKS2

1 Samuel 12 in the SBIMS

1 Samuel 12 in the SBIOS

1 Samuel 12 in the SBIPS

1 Samuel 12 in the SBISS

1 Samuel 12 in the SBITS

1 Samuel 12 in the SBITS2

1 Samuel 12 in the SBITS3

1 Samuel 12 in the SBITS4

1 Samuel 12 in the SBIUS

1 Samuel 12 in the SBIVS

1 Samuel 12 in the SBT

1 Samuel 12 in the SBT1E

1 Samuel 12 in the SCHL

1 Samuel 12 in the SNT

1 Samuel 12 in the SUSU

1 Samuel 12 in the SUSU2

1 Samuel 12 in the SYNO

1 Samuel 12 in the TBIAOTANT

1 Samuel 12 in the TBT1E

1 Samuel 12 in the TBT1E2

1 Samuel 12 in the TFTIP

1 Samuel 12 in the TFTU

1 Samuel 12 in the TGNTATF3T

1 Samuel 12 in the THAI

1 Samuel 12 in the TNFD

1 Samuel 12 in the TNT

1 Samuel 12 in the TNTIK

1 Samuel 12 in the TNTIL

1 Samuel 12 in the TNTIN

1 Samuel 12 in the TNTIP

1 Samuel 12 in the TNTIZ

1 Samuel 12 in the TOMA

1 Samuel 12 in the TTENT

1 Samuel 12 in the UBG

1 Samuel 12 in the UGV

1 Samuel 12 in the UGV2

1 Samuel 12 in the UGV3

1 Samuel 12 in the VBL

1 Samuel 12 in the VDCC

1 Samuel 12 in the YALU

1 Samuel 12 in the YAPE

1 Samuel 12 in the YBVTP

1 Samuel 12 in the ZBP