1 Thessalonians 5 (BOLCB)
1 Naye ku bikwata ku by’entuuko n’ebiro, abooluganda, ssetaaga kwongera kubawandiikira. 2 Kubanga mmwe mwennyini mumanyi bulungi nti olunaku lwa Mukama waffe lulijja ng’omubbi bw’ajja ekiro. 3 Abantu balirowooza mu mitima gyabwe nti, “Tulina emirembe era tulina obukuumi,” amangwango okuzikirira ne kulyoka kubajjira, ng’okulumwa bwe kujjira omukazi agenda okuzaala omwana; ne batawona n’akatono. 4 Naye mmwe, abooluganda abaagalwa temuli mu kizikiza ku nsonga zino, era temugenda kwekanga lunaku olwo ng’abayingiriddwa omubbi; 5 Kubanga mmwe mwenna muli baana ba musana era baana ba butangaavu. Tetuli ba kiro yadde ab’ekizikiza. 6 Noolwekyo tuleme kwebaka ng’abalala naye tutunulenga okwegomba kuleme okutufuga. 7 Kubanga abeebaka beebaka kiro, n’abatamiira batamiira kiro. 8 Naye ffe, kubanga tuli ba musana, tulemenga okutamiira. Twambale okukkiriza n’okwagala ng’ekyomu kifuba, era tube n’essuubi ery’obulokozi nga ye nkufiira yaffe. 9 Kubanga ffe Katonda teyatulondera kufukibwako kiruyi kya busungu, wabula okutulokola ng’ayita mu Mukama waffe Yesu Kristo, 10 eyatufiirira ka tube nga tuli balamu oba nga tufudde, tulyoke tubeere balamu wamu naye. 11 Kale mugumyaganenga era muzimbaganenga nga bwe mubadde mukola. 12 Kaakano tubeegayirira abooluganda, mumanye abafuba okukola emirimu mu mmwe era ababakulembera mu Mukama waffe era abababuulirira, 13 mubassengamu nnyo ekitiibwa mu kwagala olw’omulimu gwabwe. Mubenga bantu ba mirembe. 14 Tubakuutira abooluganda, mubuulirirenga abagayaavu, mugumyenga abo abalimu okutya, muyambenga abatalina maanyi, mubenga bagumiikiriza eri abantu bonna. 15 Mulabenga nga mu mmwe temuli muntu asasula ekibi olw’ekibi, naye bulijjo mukolenga obulungi buli muntu ne munne, era n’eri abantu bonna. 16 Musanyukenga ennaku zonna. 17 Musabenga obutayosa. 18 Mwebazenga olwa buli kintu kyonna, kubanga ekyo Katonda ky’abaagaliza mmwe abali mu Kristo Yesu. 19 Temuzikizanga Mwoyo Mutukuvu, 20 era temunyoomanga abo aboogera eby’obunnabbi, 21 naye mwekenneenyenga ebintu byonna, kale bwe bibanga ebirungi mubinywezenga. 22 Mwewalenga buli ngeri ya kibi. 23 Katonda ow’emirembe abatukulize ddala, era omwoyo gwammwe gwonna, n’emmeeme yammwe n’omubiri gwammwe, bikuumibwenga nga tebiriiko kya kunenyezebwa okutuusa ku lunaku olw’okujja kwa Mukama waffe Yesu Kristo. 24 Oyo eyabayita mwesigwa era alikituukiriza. 25 Abooluganda, naffe, mutusabirenga. 26 Mulamuse abooluganda bonna mu kulamusa okutukuvu. 27 Mbalagira mu linnya lya Mukama waffe ebbaluwa eno mugisomere abooluganda bonna. 28 Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga nammwe.
In Other Versions
1 Thessalonians 5 in the ANGEFD
1 Thessalonians 5 in the ANTPNG2D
1 Thessalonians 5 in the BBPNG
1 Thessalonians 5 in the BBT1E
1 Thessalonians 5 in the BNTABOOT
1 Thessalonians 5 in the BNTLV
1 Thessalonians 5 in the BOATCB
1 Thessalonians 5 in the BOATCB2
1 Thessalonians 5 in the BOBCV
1 Thessalonians 5 in the BOCNT
1 Thessalonians 5 in the BOECS
1 Thessalonians 5 in the BOGWICC
1 Thessalonians 5 in the BOHCB
1 Thessalonians 5 in the BOHCV
1 Thessalonians 5 in the BOHLNT
1 Thessalonians 5 in the BOHNTLTAL
1 Thessalonians 5 in the BOICB
1 Thessalonians 5 in the BOILNTAP
1 Thessalonians 5 in the BOITCV
1 Thessalonians 5 in the BOKCV
1 Thessalonians 5 in the BOKCV2
1 Thessalonians 5 in the BOKHWOG
1 Thessalonians 5 in the BOKSSV
1 Thessalonians 5 in the BOLCB2
1 Thessalonians 5 in the BOMCV
1 Thessalonians 5 in the BONAV
1 Thessalonians 5 in the BONCB
1 Thessalonians 5 in the BONLT
1 Thessalonians 5 in the BONUT2
1 Thessalonians 5 in the BOPLNT
1 Thessalonians 5 in the BOSCB
1 Thessalonians 5 in the BOSNC
1 Thessalonians 5 in the BOTLNT
1 Thessalonians 5 in the BOVCB
1 Thessalonians 5 in the BOYCB
1 Thessalonians 5 in the DGDNT
1 Thessalonians 5 in the GGMNT
1 Thessalonians 5 in the IRVM2
1 Thessalonians 5 in the IRVT2
1 Thessalonians 5 in the KBT1ETNIK
1 Thessalonians 5 in the MKNFD
1 Thessalonians 5 in the MRS1T
1 Thessalonians 5 in the NBVTP
1 Thessalonians 5 in the NIV11
1 Thessalonians 5 in the PDDPT
1 Thessalonians 5 in the SBIAS
1 Thessalonians 5 in the SBIBS
1 Thessalonians 5 in the SBIBS2
1 Thessalonians 5 in the SBICS
1 Thessalonians 5 in the SBIDS
1 Thessalonians 5 in the SBIGS
1 Thessalonians 5 in the SBIHS
1 Thessalonians 5 in the SBIIS
1 Thessalonians 5 in the SBIIS2
1 Thessalonians 5 in the SBIIS3
1 Thessalonians 5 in the SBIKS
1 Thessalonians 5 in the SBIKS2
1 Thessalonians 5 in the SBIMS
1 Thessalonians 5 in the SBIOS
1 Thessalonians 5 in the SBIPS
1 Thessalonians 5 in the SBISS
1 Thessalonians 5 in the SBITS
1 Thessalonians 5 in the SBITS2
1 Thessalonians 5 in the SBITS3
1 Thessalonians 5 in the SBITS4
1 Thessalonians 5 in the SBIUS
1 Thessalonians 5 in the SBIVS
1 Thessalonians 5 in the SBT1E
1 Thessalonians 5 in the SUSU2
1 Thessalonians 5 in the TBIAOTANT
1 Thessalonians 5 in the TBT1E
1 Thessalonians 5 in the TBT1E2
1 Thessalonians 5 in the TFTIP
1 Thessalonians 5 in the TGNTATF3T
1 Thessalonians 5 in the TNTIK
1 Thessalonians 5 in the TNTIL
1 Thessalonians 5 in the TNTIN
1 Thessalonians 5 in the TNTIP
1 Thessalonians 5 in the TNTIZ
1 Thessalonians 5 in the TTENT