Acts 28 (BOLCB)

1 Awo bwe twamala okutuuka obulungi ku lukalu ne tulyoka tutegeera nti tuli ku kizinga Merita. 2 Bannansi b’oku kizinga baatulaga ekisa kingi ekitali kya bulijjo, ne bakuma omuliro ne twota, kubanga obudde bwali bwa butiti nga n’enkuba etandise okutonnya. 3 Pawulo yali akuŋŋaanyizza akaganda k’obuku, naye yali akassa ku muliro, omusota ogw’obutwa ennyo ne guva mu buku obwo ne gweripa ku mukono gwe. 4 Bwe baalaba ekintu ekireebeeta ku mukono gwa Pawulo ne bagambagana nti, “Ddala oyo mutemu. Newaakubadde ng’ennyanja yagiwonye, naye era omusango gukyamulondoola teguumuganye kulama!” 5 Naye Pawulo omusota n’agukunkumulira mu muliro n’atabaako kabi konna. 6 Abantu ne balindirira balabe bw’atandika okuzimba oba okugwa eri afiirewo, naye bwe baalindiririra ebbanga eddene nga tebamulabako kamogo, ne baddamu okwerowooza, ne bagamba nti, “Oyo katonda!” 7 Waaliwo ennimiro okuliraana n’olubalama lw’ennyanja we twali, nga ya Pabuliyo eyali omukulu w’ekizinga ekyo. Awo n’atwaniriza mu maka ge n’atusembeza n’atulabirira okumala ennaku ssatu. 8 Mu kiseera ekyo kitaawe yali mulwadde omusujja ng’alimu ekiddukano ky’omusaayi. Pawulo n’agenda gy’ali n’amusabira, n’amussaako emikono n’amuwonya! 9 Ekyo bwe kyabaawo, n’abalwadde abalala bonna ku kizinga abaalina endwadde ne bajja gy’ali ne bawonyezebwa. 10 Ne batuwa ebirabo bingi, era ekiseera kyaffe eky’okusaabala ku nnyanja bwe kyatuuka, ne batuleetera ebintu bingi ku kyombo bye twali twetaaga okukozesa mu lugendo lwaffe. 11 Oluvannyuma lw’emyezi esatu ne tulyoka tusitula. Twagendera mu kyombo eky’e Alegezanderiya ekiyitibwa Abooluganda Abalongo. Kyali kyewogomye awo ku kizinga okumala obudde bwonna olw’obutiti. 12 Ne tusooka okugoba mu Sirakusi, ne tumalawo ennaku ssatu. 13 Bwe twava awo ne twetooloola ne tutuuka e Regio. Oluvannyuma lw’olunaku lumu ne tujjirwa empewo eva obukiikaddyo bwa bugwanjuba, olunaku olwaddirira ne tutuuka e Putiyooli. 14 Wano twasangawo abooluganda, ne batusaba tubeere nabo ennaku musanvu. Bwe twava awo ne tutuuka e Ruumi. 15 Abooluganda abaali eyo bwe baawulira ebyatutuukako, ne bajja okutusisinkana mu Katale ka Apiya ne ku Bisulo Ebisatu. Pawulo bwe yabalaba ne yeebaza Katonda era n’aguma omwoyo. 16 Bwe twatuuka mu Ruumi Pawulo n’akkirizibwa okubeera yekka, kyokka ng’abeera n’omuserikale amukuuma. 17 Awo nga wayiseewo ennaku ssatu, Pawulo n’ayita abakulembeze b’Abayudaaya. Bwe baakuŋŋaana n’ayogera nabo nti, “Abasajja baganda bange, Abayudaaya bankwatira bwereere mu Yerusaalemi, ne bampaayo mu Baruumi, so nga sirina ky’ensobezza ku bantu, wadde ku mpisa z’abajjajjaffe wadde obulombolombo. 18 Abaruumi ne bampozesa, era ne baagala okunta, kubanga tebaalabawo musango gwe nzizizza gunsaanyiza kufa. 19 Naye Abayudaaya bwe baagaana okukkiriza ensala eyo, ne mpalirizibwa okujulira ewa Kayisaali, newaakubadde nga saaliko kye mpawaabira bantu ba ggwanga lyange. 20 Noolwekyo mbayise wano tumanyagane era twogeraganye. Olw’essuubi lya Isirayiri, kyenvudde nsibibwa n’olujegere luno.” 21 Ne bamuddamu nti, “Tetufunanga ku bbaluwa ziva mu Buyudaaya nga zikwogerako, wadde baganda baffe okubaako bye batutegeeza ku ggwe nga bibi. 22 Kyokka twagala okuwulira ebirowoozo byo ku kibiina ekyo, kubanga tumanyi nti buli wamu teriiyo gw’owulira ng’akyogerako bulungi.” 23 Awo ne bategeka olunaku, era ku olwo abantu ne bajja bangi, mu kifo we yasulanga. N’abannyonnyola ng’ajulira obwakabaka bwa Katonda, n’abategeeza ku Yesu, nga byonna abyesigamya ku mateeka ga Musa ne ku bannabbi. Yatandika ku nkya n’amala akawungeezi. 24 Abamu ne bakkiriza bye yayogera, naye abalala ne batakkiriza. 25 Awo nga balemeddwa okukkiriziganya, Pawulo n’abasiibuza ebigambo bino nti, “Mwoyo Mutukuvu yali mutuufu bwe yayogera eri bajjajjammwe ng’ayita mu nnabbi Isaaya nti, 26 “ ‘Genda eri abantu bano obagambe nti,Okuwulira muliwulira, naye temulitegeeran’okulaba muliraba naye temulyetegereza. 27 Kubanga omutima gw’abantu bano gugubye.N’amatu gaabwe gazibikidde,n’amaaso gaabwe gazibiridde.Si kulwa nga balaba n’amaaso gaabwe,ne bawulira n’amatu gaabwe,ne bategeera n’emitima gyabwe,ne bakyuka okudda gye ndi, ne mbawonya.’ 28 “Noolwekyo mumanye nti obulokozi obuva eri Katonda buweereddwa Abaamawanga era bajja kubuwuliriza.” 29 Pawulo bwe yamala okwogera ebyo, Abayudaaya ne bagenda nga bawakana nnyo bokka na bokka. 30 Awo Pawulo n’amala emyaka ebiri miramba ng’asula mu nnyumba ye gye yeepangisiza, era n’ayanirizanga buli eyajjanga okumulaba. 31 N’abuuliranga obwakabaka bwa Katonda, era n’ayigirizanga ebigambo bya Mukama waffe Yesu Kristo mu lwatu nga tewali amuziyiza.

In Other Versions

Acts 28 in the ANGEFD

Acts 28 in the ANTPNG2D

Acts 28 in the AS21

Acts 28 in the BAGH

Acts 28 in the BBPNG

Acts 28 in the BBT1E

Acts 28 in the BDS

Acts 28 in the BEV

Acts 28 in the BHAD

Acts 28 in the BIB

Acts 28 in the BLPT

Acts 28 in the BNT

Acts 28 in the BNTABOOT

Acts 28 in the BNTLV

Acts 28 in the BOATCB

Acts 28 in the BOATCB2

Acts 28 in the BOBCV

Acts 28 in the BOCNT

Acts 28 in the BOECS

Acts 28 in the BOGWICC

Acts 28 in the BOHCB

Acts 28 in the BOHCV

Acts 28 in the BOHLNT

Acts 28 in the BOHNTLTAL

Acts 28 in the BOICB

Acts 28 in the BOILNTAP

Acts 28 in the BOITCV

Acts 28 in the BOKCV

Acts 28 in the BOKCV2

Acts 28 in the BOKHWOG

Acts 28 in the BOKSSV

Acts 28 in the BOLCB2

Acts 28 in the BOMCV

Acts 28 in the BONAV

Acts 28 in the BONCB

Acts 28 in the BONLT

Acts 28 in the BONUT2

Acts 28 in the BOPLNT

Acts 28 in the BOSCB

Acts 28 in the BOSNC

Acts 28 in the BOTLNT

Acts 28 in the BOVCB

Acts 28 in the BOYCB

Acts 28 in the BPBB

Acts 28 in the BPH

Acts 28 in the BSB

Acts 28 in the CCB

Acts 28 in the CUV

Acts 28 in the CUVS

Acts 28 in the DBT

Acts 28 in the DGDNT

Acts 28 in the DHNT

Acts 28 in the DNT

Acts 28 in the ELBE

Acts 28 in the EMTV

Acts 28 in the ESV

Acts 28 in the FBV

Acts 28 in the FEB

Acts 28 in the GGMNT

Acts 28 in the GNT

Acts 28 in the HARY

Acts 28 in the HNT

Acts 28 in the IRVA

Acts 28 in the IRVB

Acts 28 in the IRVG

Acts 28 in the IRVH

Acts 28 in the IRVK

Acts 28 in the IRVM

Acts 28 in the IRVM2

Acts 28 in the IRVO

Acts 28 in the IRVP

Acts 28 in the IRVT

Acts 28 in the IRVT2

Acts 28 in the IRVU

Acts 28 in the ISVN

Acts 28 in the JSNT

Acts 28 in the KAPI

Acts 28 in the KBT1ETNIK

Acts 28 in the KBV

Acts 28 in the KJV

Acts 28 in the KNFD

Acts 28 in the LBA

Acts 28 in the LBLA

Acts 28 in the LNT

Acts 28 in the LSV

Acts 28 in the MAAL

Acts 28 in the MBV

Acts 28 in the MBV2

Acts 28 in the MHNT

Acts 28 in the MKNFD

Acts 28 in the MNG

Acts 28 in the MNT

Acts 28 in the MNT2

Acts 28 in the MRS1T

Acts 28 in the NAA

Acts 28 in the NASB

Acts 28 in the NBLA

Acts 28 in the NBS

Acts 28 in the NBVTP

Acts 28 in the NET2

Acts 28 in the NIV11

Acts 28 in the NNT

Acts 28 in the NNT2

Acts 28 in the NNT3

Acts 28 in the PDDPT

Acts 28 in the PFNT

Acts 28 in the RMNT

Acts 28 in the SBIAS

Acts 28 in the SBIBS

Acts 28 in the SBIBS2

Acts 28 in the SBICS

Acts 28 in the SBIDS

Acts 28 in the SBIGS

Acts 28 in the SBIHS

Acts 28 in the SBIIS

Acts 28 in the SBIIS2

Acts 28 in the SBIIS3

Acts 28 in the SBIKS

Acts 28 in the SBIKS2

Acts 28 in the SBIMS

Acts 28 in the SBIOS

Acts 28 in the SBIPS

Acts 28 in the SBISS

Acts 28 in the SBITS

Acts 28 in the SBITS2

Acts 28 in the SBITS3

Acts 28 in the SBITS4

Acts 28 in the SBIUS

Acts 28 in the SBIVS

Acts 28 in the SBT

Acts 28 in the SBT1E

Acts 28 in the SCHL

Acts 28 in the SNT

Acts 28 in the SUSU

Acts 28 in the SUSU2

Acts 28 in the SYNO

Acts 28 in the TBIAOTANT

Acts 28 in the TBT1E

Acts 28 in the TBT1E2

Acts 28 in the TFTIP

Acts 28 in the TFTU

Acts 28 in the TGNTATF3T

Acts 28 in the THAI

Acts 28 in the TNFD

Acts 28 in the TNT

Acts 28 in the TNTIK

Acts 28 in the TNTIL

Acts 28 in the TNTIN

Acts 28 in the TNTIP

Acts 28 in the TNTIZ

Acts 28 in the TOMA

Acts 28 in the TTENT

Acts 28 in the UBG

Acts 28 in the UGV

Acts 28 in the UGV2

Acts 28 in the UGV3

Acts 28 in the VBL

Acts 28 in the VDCC

Acts 28 in the YALU

Acts 28 in the YAPE

Acts 28 in the YBVTP

Acts 28 in the ZBP