Deuteronomy 29 (BOLCB)

1 Bino bye bigambo by’endagaano MUKAMA Katonda gye yalagira Musa okukola n’abaana ba Isirayiri nga bali mu nsi ya Mowaabu, ng’egattibwa ku ndagaano gye yali akoze nabo ku Kolebu. 2 Awo Musa n’ayita Abayisirayiri bonna n’abagamba nti, Mwalaba n’amaaso gammwe ebyo byonna MUKAMA Katonda bye yakolera mu nsi y’e Misiri ku Falaawo ne ku bakungu be, ne ku nsi ye yonna. 3 Walaba n’amaaso go ebigezo ebinene, n’obubonero obw’ebyamagero, n’ebyewuunyisa ebikulu. 4 Naye n’okutuusa ku lunaku lwa leero MUKAMA tabawanga mutima ogutegeera, oba amaaso agalaba, oba amatu agawulira. 5 Bwe nabakulembera okumala emyaka amakumi ana mu ddungu engoye zammwe tezaakaddiwako, n’engatto y’omu kigere kyo teyakaddiwa. 6 Temwalya ku mugaati wadde okunywa ku nvinnyo, oba ku kyokunywa ekirala kyonna ekitamiiza. Ekyo nakikola mulyoke mumanye nga nze MUKAMA Katonda wammwe. 7 Bwe mwatuuka mu kifo kino, Sikoni kabaka w’e Kesuboni, ne Ogi kabaka w’e Basani, ne basituka okutulwanyisa, naye ne tubawangula. 8 Twatwala ensi yaabwe, ne tugigabira Abalewubeeni, n’Abagaadi, n’ekitundu ky’ekika eky’Abamanase, okuba obutaka bwabwe obw’ensikirano. 9 Noolwekyo mukwatenga ebigambo by’endagaano eno n’obwegendereza, mulyoke muwangulenga mu buli kimu kye munaakolanga. 10 Mukuŋŋaanye wano leero mwenna mu maaso ga MUKAMA Katonda wammwe, nga muli n’abakulembeze b’ebika byammwe, n’abakulu bammwe abakulembeze, n’abafuzi bammwe, n’abasajja bonna aba Isirayiri, 11 n’abaana bammwe abato, ne bakazi bammwe, ne munnaggwanga asula awamu naawe mu lusiisira lwo, okukutyabira enku, n’okukukimira amazzi. 12 Oli wano okukola endagaano ne MUKAMA Katonda wo, ng’ekirayiro gy’ali, MUKAMA Katonda wo gy’akola naawe leero; 13 alyoke akukakase ng’akunyweza leero okubeeranga eggwanga lye, naye nga ye Katonda wo, nga bwe yakusuubiza, era nga bwe yalayirira bakadde bo: Ibulayimu ne Isaaka. 14 Endagaano eno gye nkola, ng’eriko n’ekirayiro kyayo, 15 sigikola nammwe abayimiridde wano naffe leero mwekka, wabula ngikola wamu n’oyo atali wano naffe leero. 16 Mujjukira bulungi nga bwe twali mu nsi y’e Misiri, ne bwe twajjanga tuyita wakati mu mawanga okutuukira ddala wano. 17 Mwalabanga ebintu eby’ekikaafiiri, nga mwe mwalinga ebifaananyi ebibajje mu miti n’ebiwoole mu mayinja ne mu ffeeza ne mu zaabu. 18 Mukakasize ddala leero nga mu maka gammwe oba mu bika byammwe temulinaamu musajja oba mukazi n’omu akyamizza omutima gwe okuva ku MUKAMA Katonda waffe agende asinze bakatonda bali abalala abamawanga ago. Mukakasize ddala nga mu mmwe temuliimu kikolo okuyinza okukula obutwa obw’engeri eyo obukaawa ng’omususa. 19 Omuntu ow’engeri ng’eyo ng’awulidde ebigambo eby’ekikolimo kino n’amala yeeyibaala, ne yeetukuza ku bubwe yekka, n’alowooza munda ye nti, “Nzija kubeera bulungi newaakubadde nga mmaliridde okukwata ekkubo eryange ery’obujeemu,” ekyo kinaaletanga akacwano ku ttaka erinnyogovu obulungi ne ku kkalu. 20 MUKAMA taamusonyiwenga, kubanga obusungu bwa MUKAMA n’ekiruyi kye binaabuubuukiranga ku muntu oyo. Ebikolimo byonna ebiwandiikiddwa mu Kitabo kino binaamukkangako, era MUKAMA alisangula erinnya lye n’aliggya wansi w’eggulu. 21 MUKAMA anaamwawulanga n’amuggya mu bika byonna ebya Isirayiri n’amubonereza nnyo, nga bwe kiri mu bikolimo byonna eby’endagaano ebiwandiikiddwa mu Kitabo ky’Amateeka kino. 22 Abaana bammwe abaliddawo ne bannamawanga abaliva mu nsi ezeewala baliraba ekibonerezo ekiriba kigudde ku nsi n’obulwadde MUKAMA bw’aliba aleese ku ttaka ly’ensi. 23 Ettaka liriba lyonoonese nga lya munnyo n’amayinja agookya, nga tekuyinza kusimbibwako kintu wadde okubaako n’ekimerako, nga n’omuddo tegusobola kumerako. Ensi erifaanana ng’okuzikirizibwa kwa Sodomu, ne Ggomola, ne Aduma, ne Zeboyimu, MUKAMA bye yazikiriza mu busungu bwe obungi. 24 Amawanga galyebuuza nga geewunya nti, “Lwaki MUKAMA akoze ekintu kino, n’akikola n’obusungu obungi butyo?” 25 Na kino kye kiriba eky’okuddamu nti, “Kubanga abantu bano basudde eri endagaano ya MUKAMA Katonda wa bajjajjaabwe, endagaano gye yakola nabo bwe yabaggya mu nsi y’e Misiri. 26 Baagenda ne basinza bakatonda abalala, ne babaweereza, bakatonda be baali batamanyi, era Katonda waabwe be yali tabawadde. 27 Bwe butyo obusungu bwa MUKAMA ne bubuubuukira ku nsi eyo, n’agireetako ebikolimo byonna ebiwandiikiddwa mu Kitabo kino. 28 MUKAMA n’abasiguukulula mu nsi yaabwe ng’aliko ekiruyi, era ng’ajjudde obusungu bungi, n’abakasuka mu nsi endala, nga bwe kiri leero.” 29 Ebintu eby’ekyama bya MUKAMA Katonda waffe, naye ebyo ebyabikkulibwa bye byaffe n’abaana baffe emirembe gyonna, tulyoke tugonderenga ebigambo byonna ebiri mu mateeka gano.

In Other Versions

Deuteronomy 29 in the ANGEFD

Deuteronomy 29 in the ANTPNG2D

Deuteronomy 29 in the AS21

Deuteronomy 29 in the BAGH

Deuteronomy 29 in the BBPNG

Deuteronomy 29 in the BBT1E

Deuteronomy 29 in the BDS

Deuteronomy 29 in the BEV

Deuteronomy 29 in the BHAD

Deuteronomy 29 in the BIB

Deuteronomy 29 in the BLPT

Deuteronomy 29 in the BNT

Deuteronomy 29 in the BNTABOOT

Deuteronomy 29 in the BNTLV

Deuteronomy 29 in the BOATCB

Deuteronomy 29 in the BOATCB2

Deuteronomy 29 in the BOBCV

Deuteronomy 29 in the BOCNT

Deuteronomy 29 in the BOECS

Deuteronomy 29 in the BOGWICC

Deuteronomy 29 in the BOHCB

Deuteronomy 29 in the BOHCV

Deuteronomy 29 in the BOHLNT

Deuteronomy 29 in the BOHNTLTAL

Deuteronomy 29 in the BOICB

Deuteronomy 29 in the BOILNTAP

Deuteronomy 29 in the BOITCV

Deuteronomy 29 in the BOKCV

Deuteronomy 29 in the BOKCV2

Deuteronomy 29 in the BOKHWOG

Deuteronomy 29 in the BOKSSV

Deuteronomy 29 in the BOLCB2

Deuteronomy 29 in the BOMCV

Deuteronomy 29 in the BONAV

Deuteronomy 29 in the BONCB

Deuteronomy 29 in the BONLT

Deuteronomy 29 in the BONUT2

Deuteronomy 29 in the BOPLNT

Deuteronomy 29 in the BOSCB

Deuteronomy 29 in the BOSNC

Deuteronomy 29 in the BOTLNT

Deuteronomy 29 in the BOVCB

Deuteronomy 29 in the BOYCB

Deuteronomy 29 in the BPBB

Deuteronomy 29 in the BPH

Deuteronomy 29 in the BSB

Deuteronomy 29 in the CCB

Deuteronomy 29 in the CUV

Deuteronomy 29 in the CUVS

Deuteronomy 29 in the DBT

Deuteronomy 29 in the DGDNT

Deuteronomy 29 in the DHNT

Deuteronomy 29 in the DNT

Deuteronomy 29 in the ELBE

Deuteronomy 29 in the EMTV

Deuteronomy 29 in the ESV

Deuteronomy 29 in the FBV

Deuteronomy 29 in the FEB

Deuteronomy 29 in the GGMNT

Deuteronomy 29 in the GNT

Deuteronomy 29 in the HARY

Deuteronomy 29 in the HNT

Deuteronomy 29 in the IRVA

Deuteronomy 29 in the IRVB

Deuteronomy 29 in the IRVG

Deuteronomy 29 in the IRVH

Deuteronomy 29 in the IRVK

Deuteronomy 29 in the IRVM

Deuteronomy 29 in the IRVM2

Deuteronomy 29 in the IRVO

Deuteronomy 29 in the IRVP

Deuteronomy 29 in the IRVT

Deuteronomy 29 in the IRVT2

Deuteronomy 29 in the IRVU

Deuteronomy 29 in the ISVN

Deuteronomy 29 in the JSNT

Deuteronomy 29 in the KAPI

Deuteronomy 29 in the KBT1ETNIK

Deuteronomy 29 in the KBV

Deuteronomy 29 in the KJV

Deuteronomy 29 in the KNFD

Deuteronomy 29 in the LBA

Deuteronomy 29 in the LBLA

Deuteronomy 29 in the LNT

Deuteronomy 29 in the LSV

Deuteronomy 29 in the MAAL

Deuteronomy 29 in the MBV

Deuteronomy 29 in the MBV2

Deuteronomy 29 in the MHNT

Deuteronomy 29 in the MKNFD

Deuteronomy 29 in the MNG

Deuteronomy 29 in the MNT

Deuteronomy 29 in the MNT2

Deuteronomy 29 in the MRS1T

Deuteronomy 29 in the NAA

Deuteronomy 29 in the NASB

Deuteronomy 29 in the NBLA

Deuteronomy 29 in the NBS

Deuteronomy 29 in the NBVTP

Deuteronomy 29 in the NET2

Deuteronomy 29 in the NIV11

Deuteronomy 29 in the NNT

Deuteronomy 29 in the NNT2

Deuteronomy 29 in the NNT3

Deuteronomy 29 in the PDDPT

Deuteronomy 29 in the PFNT

Deuteronomy 29 in the RMNT

Deuteronomy 29 in the SBIAS

Deuteronomy 29 in the SBIBS

Deuteronomy 29 in the SBIBS2

Deuteronomy 29 in the SBICS

Deuteronomy 29 in the SBIDS

Deuteronomy 29 in the SBIGS

Deuteronomy 29 in the SBIHS

Deuteronomy 29 in the SBIIS

Deuteronomy 29 in the SBIIS2

Deuteronomy 29 in the SBIIS3

Deuteronomy 29 in the SBIKS

Deuteronomy 29 in the SBIKS2

Deuteronomy 29 in the SBIMS

Deuteronomy 29 in the SBIOS

Deuteronomy 29 in the SBIPS

Deuteronomy 29 in the SBISS

Deuteronomy 29 in the SBITS

Deuteronomy 29 in the SBITS2

Deuteronomy 29 in the SBITS3

Deuteronomy 29 in the SBITS4

Deuteronomy 29 in the SBIUS

Deuteronomy 29 in the SBIVS

Deuteronomy 29 in the SBT

Deuteronomy 29 in the SBT1E

Deuteronomy 29 in the SCHL

Deuteronomy 29 in the SNT

Deuteronomy 29 in the SUSU

Deuteronomy 29 in the SUSU2

Deuteronomy 29 in the SYNO

Deuteronomy 29 in the TBIAOTANT

Deuteronomy 29 in the TBT1E

Deuteronomy 29 in the TBT1E2

Deuteronomy 29 in the TFTIP

Deuteronomy 29 in the TFTU

Deuteronomy 29 in the TGNTATF3T

Deuteronomy 29 in the THAI

Deuteronomy 29 in the TNFD

Deuteronomy 29 in the TNT

Deuteronomy 29 in the TNTIK

Deuteronomy 29 in the TNTIL

Deuteronomy 29 in the TNTIN

Deuteronomy 29 in the TNTIP

Deuteronomy 29 in the TNTIZ

Deuteronomy 29 in the TOMA

Deuteronomy 29 in the TTENT

Deuteronomy 29 in the UBG

Deuteronomy 29 in the UGV

Deuteronomy 29 in the UGV2

Deuteronomy 29 in the UGV3

Deuteronomy 29 in the VBL

Deuteronomy 29 in the VDCC

Deuteronomy 29 in the YALU

Deuteronomy 29 in the YAPE

Deuteronomy 29 in the YBVTP

Deuteronomy 29 in the ZBP