Deuteronomy 32 (BOLCB)

1 Tega okutu ggwe eggulu, nange nnaayogera,wulira ebigambo by’omu kamwa kange. 2 Okuyigiriza kwange ka kutonnye ng’enkuba,n’ebigambo byange bigwe ng’omusulo,bigwe ng’obufuuyirize ku muddo,ng’oluwandagirize ku bisimbe ebito. 3 Kubanga ndirangirira erinnya lya MUKAMA;mutendereze ekitiibwa kya Katonda waffe! 4 Lwe lwazi, emirimu gye mituukirivu,n’ebikolwa bye byonna bya bwenkanya.Ye Katonda omwesigwa, ataliiko bukuusa,omwenkanya era omutereevu mu byonna. 5 Beeyisizza ng’abagwenyufu gy’ali,baswavu era tebakyali baana be,wabula omulembe omukyamu era ogw’amawaggali. 6 Bwe mutyo bwe musasula MUKAMA Katonda,mmwe abantu abasirusiru era abatalina magezi?Si ye kitaawo eyakutonda,n’akussaawo n’akunyweza? 7 Jjukira ebiseera eby’edda,fumiitiriza ku myaka egyayita edda.Buuza kitaawo ajja kukubuulirane bakadde bo abakulembeze bajja kukutegeeza. 8 Ali Waggulu Ennyo bwe yagabanyiza amawanga ensi zaagoabantu bonna bwe yabayawulayawulamu,yategeka ensalo z’amawangang’omuwendo gw’abaana ba Isirayiri bwe gwali. 9 Omugabo gwa MUKAMA Katonda be bantu be,Yakobo bwe busika bwe bwe yagabana. 10 Yamuyisanga mu ddungu,mu nsi enkalu eya kikuŋŋunta.Yamuzibiranga, n’amulabiriranga,n’amukuumanga ng’emmunye ey’eriiso lye. 11 Ng’empungu bw’enyegenya ku kisu kyayo,n’epaapaalira waggulu w’obwana bwayo,era nga bw’eyanjuluza ebiwaawaatiro byayo, n’ebusitula,n’ebutumbiiza ku biwaawaatiro byayo, 12 MUKAMA Katonda yekka ye yamukulemberanga;so tewabangawo katonda mulala. 13 Yamuteeka ku ntikko z’ensozi ez’ensi eyo,n’amuliisanga ku bibala by’omu nnimiro.Yamukulizanga ku mubisi gw’enjuki ogw’omu njatika z’enjazin’amafuta agaavanga mu mayinja amagumu 14 ne bbongo eyavanga mu biraalo, n’amata okuva mu bisibo,n’amasavu ag’endiga ento n’ennume,n’embuzi ennume n’enduusi ez’e Basani,awamu n’eŋŋaano esinga obulungi,wanywanga wayini ow’ejjovu eyavanga mu mizabbibu. 15 Yesuluuni yakkuta n’agejja n’asambagala;ng’ojjudde emmere nga weezitoowerera n’oggwaamu amaanyi.Yava ku Katonda eyamukola,n’alekulira Olwazi olw’Obulokozi bwe. 16 Baamukwasa obuggya olwa bakatonda abalalane bamusunguwaza ne bakatonda abalala. 17 Baawaayo ssaddaaka eri baddayimooni, so si eri Katonda,eri bakatonda be batamanyangako,bakatonda abaggya abaali baakatuukabakatonda abo bajjajjammwe be bataatyanga. 18 Weerabira Olwazi eyakuzaala,weerabira Katonda eyakuzaala. 19 MUKAMA Katonda bwe yakiraba n’abeegobakokubanga yasunguwazibwa batabani be ne bawala be. 20 N’agamba nti, Nzija kubakweka amaaso gangendabe ebinaabatuukako;kubanga omulembe gwabwe mwonoonefu,abaana abatalinaamu bwesigwa. 21 Bankwasa obuggya ne bakatonda abalala,ne banyiiza n’ebifaananyi byabwe omutali nsa.Ndibakwasa obuggya olw’abo abatali ggwanga,ndibakwasa obusungu olw’eggwanga eritategeera. 22 Kubanga obusungu bwange bukumye omuliro,ne gwaka okutuukira ddala wansi mu magombe,gusenkenya ensi n’ebibala byayo,ne gwokya amasozi okutandikira ku bikolo byago. 23 Nzija kubatuumangako emitawaanane mbayiwangako obusaale bwange. 24 Nnaabasindikiranga enjala namuzisa,n’obulwadde obwokya, ne kawumpuli omuzikiriza;ndibaweereza ebisolo eby’amannyo amasongovun’ebyewalula mu nfuufu eby’obusagwa. 25 Ekitala kinaabamalangako abaana baabwene mu maka gaabwe eneebanga ntiisa njereere.Abavubuka abalenzi n’abawala balizikiriraabaana abawere n’abasajja ab’envi bonna batyo. 26 Nalowoozaako ku ky’okubasaasaanyawabulewo akyabajjukiranga ku nsi. 27 Naye ne saagala abalabe baabwe kubasosonkereza,kubanga abaabalumbagana bandiremeddwa okukitegeera,ne beewaana nti, “Ffe tuwangudde, MUKAMA ebyo byonna si ye yabikoze.” 28 Lye ggwanga omutali magezi,mu bo temuliimu kutegeera. 29 Singa baali bagezi ekyo bandikitegedde,ne balowooza ku biribatuukako ku nkomerero. 30 Omusajja omu yandisobodde atya okugoba abantu olukumi,oba ababiri okudumya omutwalo ne badduka,wabula nga Lwazi waabwe y’abatunzeeyo, MUKAMA Katonda ng’abawaddeyo? 31 Kya mazima lwazi waabwe tali nga Lwazi waffe,abalabe baffe bakiriziganya naffe. 32 Wayini waabwe ava mu terekero lya wayini wa Sodomu,n’ennimiro z’emizabbibu za Ggomola;ezzabbibu zaabwe zabbibu za butwa,ebirimba byazo bikaawa; 33 wayini waazo bwe butwa bw’emisotaobusagwa obukambwe obw’amasalambwa. 34 Ekyo saakyeterekera,nga kuliko n’envumbo mu mawanika gange? 35 Okuwoolera eggwanga kwange, nze ndisasula.Luliba lumu ebigere byabwe ne biseerera,obudde bwabwe obw’okuzikirira busembedde,n’okubonerezebwa kwabwe kubafubutukirako. 36 MUKAMA Katonda alisalira abantu omusango mu bwenkanya,alisaasira abaweereza be,bw’aliraba ng’amaanyi gonna gabaweddemu,omuddu n’ow’eddembe nga tewasigadde n’omu. 37 N’alyoka abuuza nti, Kale nno bakatonda baabwe bali ludda wa,olwazi mwe beekweka. 38 Baani abaalyanga amasavu ku ssaddaaka zaabwe,ne banywa envinnyo ey’ekiweebwayo ekyokunywa?Basituke bajje babayambe,kale babawe obubudamo babakuume! 39 Mulabe kaakano, nga nze kennyini, nze Ye!Tewali katonda mulala wabula Nze;nzita era ne nzuukiza,nfumita era ne mponya;era tewali atangira mukono gwange nga gukola. 40 Ngolola omukono gwange eri eggulu ne nangirira nti,ddala ddala nga bwe ndi omulamu emirembe gyonna 41 bwe mpagala ekitala kyange ekimasamasa,n’omukono gwange ne gukikwata nga nsala emisango,nnaawalananga abalabe bange,ne neesasuzanga eri abanaankyawanga. 42 Obusaale bwange ndibutamiiza omusaayi,n’ekitala kyange kirirya ennyama,n’omusaayi gw’abattiddwa n’abawambiddwa,n’ogw’emitwe egy’abakulembeze b’abalabe. 43 Mujaguze mmwe amawanga awamu n’abantu be,kubanga aliwalanira omusaayi gw’abaweereza be,aliwalana abalabe be,era alitangirira olw’ensi ye n’abantu be. 44 Awo Musa n’ajja awamu ne Yoswa mutabani wa Nuuni, n’addamu ebigambo byonna eby’oluyimba olwo ng’abantu bonna bawulira. 45 Musa bwe yamala okuddamu ebigambo ebyo byonna eri abaana ba Isirayiri, 46 n’abagamba nti, “Mukwate ku mutima gwammwe ebigambo byonna bye mbategeezezza leero n’obuwombeefu obungi, mulyoke mulagire abaana bammwe bagonderenga n’obwegendereza ebigambo byonna eby’amateeka gano. 47 Ebigambo ebyo si bya kusaagasaaga, wabula bye bigambo ebikwatira ddala ku bulamu bwammwe bwennyini. Okusinziira ku bigambo bino, mugenda kuwangaala nga muli mu nsi gye mugenda okusomokera omugga Yoludaani okugifuna.” 48 Ku lunaku olwo lwennyini MUKAMA Katonda n’agamba Musa bw’ati nti, 49 “Yambuka olinnyerinnye ku Lusozi Nebo oluli mu nsozi za Abalimu mu nsi ya Mowaabu, osusse amaaso Yeriko olengere ensi ya Kanani gy’empa abaana ba Isirayiri okuba obutaka bwabwe obw’enkalakkalira. 50 Ku lusozi olwo lw’ojja okulinnya kw’olifiira okuŋŋaanyizibwe eri abantu bo, nga muganda wo Alooni bwe yafiira ku lusozi Koola, n’akuŋŋaanyizibwa eri abantu be. 51 Kubanga mwembi mwanziggyamu obwesige mu maaso g’abaana ba Isirayiri ku mazzi g’e Meriba-Kadesi mu ddungu ly’e Zini, olw’okulemwa okussa ekitiibwa ekituukiridde mu butukuvu bwange mu maaso g’abaana ba Isirayiri. 52 Noolwekyo ensi ojja kugirengera bulengezi, so toligiyingiramu, ensi gye mpa abaana ba Isirayiri.”

In Other Versions

Deuteronomy 32 in the ANGEFD

Deuteronomy 32 in the ANTPNG2D

Deuteronomy 32 in the AS21

Deuteronomy 32 in the BAGH

Deuteronomy 32 in the BBPNG

Deuteronomy 32 in the BBT1E

Deuteronomy 32 in the BDS

Deuteronomy 32 in the BEV

Deuteronomy 32 in the BHAD

Deuteronomy 32 in the BIB

Deuteronomy 32 in the BLPT

Deuteronomy 32 in the BNT

Deuteronomy 32 in the BNTABOOT

Deuteronomy 32 in the BNTLV

Deuteronomy 32 in the BOATCB

Deuteronomy 32 in the BOATCB2

Deuteronomy 32 in the BOBCV

Deuteronomy 32 in the BOCNT

Deuteronomy 32 in the BOECS

Deuteronomy 32 in the BOGWICC

Deuteronomy 32 in the BOHCB

Deuteronomy 32 in the BOHCV

Deuteronomy 32 in the BOHLNT

Deuteronomy 32 in the BOHNTLTAL

Deuteronomy 32 in the BOICB

Deuteronomy 32 in the BOILNTAP

Deuteronomy 32 in the BOITCV

Deuteronomy 32 in the BOKCV

Deuteronomy 32 in the BOKCV2

Deuteronomy 32 in the BOKHWOG

Deuteronomy 32 in the BOKSSV

Deuteronomy 32 in the BOLCB2

Deuteronomy 32 in the BOMCV

Deuteronomy 32 in the BONAV

Deuteronomy 32 in the BONCB

Deuteronomy 32 in the BONLT

Deuteronomy 32 in the BONUT2

Deuteronomy 32 in the BOPLNT

Deuteronomy 32 in the BOSCB

Deuteronomy 32 in the BOSNC

Deuteronomy 32 in the BOTLNT

Deuteronomy 32 in the BOVCB

Deuteronomy 32 in the BOYCB

Deuteronomy 32 in the BPBB

Deuteronomy 32 in the BPH

Deuteronomy 32 in the BSB

Deuteronomy 32 in the CCB

Deuteronomy 32 in the CUV

Deuteronomy 32 in the CUVS

Deuteronomy 32 in the DBT

Deuteronomy 32 in the DGDNT

Deuteronomy 32 in the DHNT

Deuteronomy 32 in the DNT

Deuteronomy 32 in the ELBE

Deuteronomy 32 in the EMTV

Deuteronomy 32 in the ESV

Deuteronomy 32 in the FBV

Deuteronomy 32 in the FEB

Deuteronomy 32 in the GGMNT

Deuteronomy 32 in the GNT

Deuteronomy 32 in the HARY

Deuteronomy 32 in the HNT

Deuteronomy 32 in the IRVA

Deuteronomy 32 in the IRVB

Deuteronomy 32 in the IRVG

Deuteronomy 32 in the IRVH

Deuteronomy 32 in the IRVK

Deuteronomy 32 in the IRVM

Deuteronomy 32 in the IRVM2

Deuteronomy 32 in the IRVO

Deuteronomy 32 in the IRVP

Deuteronomy 32 in the IRVT

Deuteronomy 32 in the IRVT2

Deuteronomy 32 in the IRVU

Deuteronomy 32 in the ISVN

Deuteronomy 32 in the JSNT

Deuteronomy 32 in the KAPI

Deuteronomy 32 in the KBT1ETNIK

Deuteronomy 32 in the KBV

Deuteronomy 32 in the KJV

Deuteronomy 32 in the KNFD

Deuteronomy 32 in the LBA

Deuteronomy 32 in the LBLA

Deuteronomy 32 in the LNT

Deuteronomy 32 in the LSV

Deuteronomy 32 in the MAAL

Deuteronomy 32 in the MBV

Deuteronomy 32 in the MBV2

Deuteronomy 32 in the MHNT

Deuteronomy 32 in the MKNFD

Deuteronomy 32 in the MNG

Deuteronomy 32 in the MNT

Deuteronomy 32 in the MNT2

Deuteronomy 32 in the MRS1T

Deuteronomy 32 in the NAA

Deuteronomy 32 in the NASB

Deuteronomy 32 in the NBLA

Deuteronomy 32 in the NBS

Deuteronomy 32 in the NBVTP

Deuteronomy 32 in the NET2

Deuteronomy 32 in the NIV11

Deuteronomy 32 in the NNT

Deuteronomy 32 in the NNT2

Deuteronomy 32 in the NNT3

Deuteronomy 32 in the PDDPT

Deuteronomy 32 in the PFNT

Deuteronomy 32 in the RMNT

Deuteronomy 32 in the SBIAS

Deuteronomy 32 in the SBIBS

Deuteronomy 32 in the SBIBS2

Deuteronomy 32 in the SBICS

Deuteronomy 32 in the SBIDS

Deuteronomy 32 in the SBIGS

Deuteronomy 32 in the SBIHS

Deuteronomy 32 in the SBIIS

Deuteronomy 32 in the SBIIS2

Deuteronomy 32 in the SBIIS3

Deuteronomy 32 in the SBIKS

Deuteronomy 32 in the SBIKS2

Deuteronomy 32 in the SBIMS

Deuteronomy 32 in the SBIOS

Deuteronomy 32 in the SBIPS

Deuteronomy 32 in the SBISS

Deuteronomy 32 in the SBITS

Deuteronomy 32 in the SBITS2

Deuteronomy 32 in the SBITS3

Deuteronomy 32 in the SBITS4

Deuteronomy 32 in the SBIUS

Deuteronomy 32 in the SBIVS

Deuteronomy 32 in the SBT

Deuteronomy 32 in the SBT1E

Deuteronomy 32 in the SCHL

Deuteronomy 32 in the SNT

Deuteronomy 32 in the SUSU

Deuteronomy 32 in the SUSU2

Deuteronomy 32 in the SYNO

Deuteronomy 32 in the TBIAOTANT

Deuteronomy 32 in the TBT1E

Deuteronomy 32 in the TBT1E2

Deuteronomy 32 in the TFTIP

Deuteronomy 32 in the TFTU

Deuteronomy 32 in the TGNTATF3T

Deuteronomy 32 in the THAI

Deuteronomy 32 in the TNFD

Deuteronomy 32 in the TNT

Deuteronomy 32 in the TNTIK

Deuteronomy 32 in the TNTIL

Deuteronomy 32 in the TNTIN

Deuteronomy 32 in the TNTIP

Deuteronomy 32 in the TNTIZ

Deuteronomy 32 in the TOMA

Deuteronomy 32 in the TTENT

Deuteronomy 32 in the UBG

Deuteronomy 32 in the UGV

Deuteronomy 32 in the UGV2

Deuteronomy 32 in the UGV3

Deuteronomy 32 in the VBL

Deuteronomy 32 in the VDCC

Deuteronomy 32 in the YALU

Deuteronomy 32 in the YAPE

Deuteronomy 32 in the YBVTP

Deuteronomy 32 in the ZBP