Ecclesiastes 7 (BOLCB)
1 Obwatiikirivu bw’erinnya eddungi businga eby’akawoowo ebirungi;n’olunaku olw’okufa lusinga olwo olw’okuzaalirwako. 2 Kirungi okulaga mu nnyumba ey’abakungubagaokusinga okulaga mu nnyumba ey’ebyassava.Kubanga buli omu wa kufa,ekyo kiteekwa okuba ku mutima gwa buli muntu. 3 Okunakuwala kusinga okuseka,kubanga amaaso amanakuwavu gazzaamu omutima amaanyi. 4 Omutima gw’omugezi guba wamu n’abo abali mu nnaku;naye ogw’omusirusiru guba mu kusanyuka. 5 Kirungi okussaayo omwoyo ku kunenya kw’omuntu ow’amageziokusinga okuwuliriza ennyimba z’abasirusiru. 6 Okuseka kw’abasirusirukuli ng’okutulikatulika kw’amaggwa agali mu muliro gw’entamu;na kino nakyo butaliimu. 7 Kya mazima, okunyigirizibwa kufuula ow’amagezi okuba omusirusiru,n’enguzi efaafaaganya okutegeera. 8 Enkomerero y’ekintu esinga entandikwa yaakyo,n’omugumiikiriza asinga ow’amalala. 9 Tosunguwalanga mangu nga waliwo akusokaasoka,kubanga obusungu bubeera munda y’abasirusiru. 10 Teweebuuzanga nti, “Lwaki ennaku ziri ez’edda zisinga zino?”Kubanga si kya magezi okwebuuza ekibuuzo ng’ekyo. 11 Amagezi kintu kirungi, okufaanana ng’eky’obugagga ky’obusika,era kigasa abo abakyalaba enjuba. 12 Amagezi kiwummulo,ng’ensimbi bwe ziri ekiwummulo,naye enkizo y’okumanya y’eno:amagezi gakuuma obulamu bw’oyo agalina. 13 Lowooza ku Katonda ky’akoze:ani ayinza okugolola ekyo ekyakyama Katonda kye yakola? 14 Ebiseera bwe biba ebirungi, sanyuka;naye bwe biba ebibi, kirowoozeeko;Katonda eyakola ekimuera ye yakola ne kinnaakyo.Noolwekyo omuntu tayinza kuzuula kirimubaakomu nnaku ze ez’omu maaso. 15 Mu bulamu bwange buno obutaliimu ndabye bino byombi:omutuukirivu azikiririra mu butuukirivu bwe,n’omukozi w’ebibi n’awangaalira mu bibi bye. 16 Teweefuulanga mutuukirivu ayitiriddewadde okwefuula ow’amagezi ow’ekitalo;oleme okwezikiriza. 17 Tobanga mwonoonyi kakuzziwadde okuba omusirusiru;oleme okufa ng’ekiseera kyo tekinnatuuka. 18 Ekyo kirungi okiyige, na kiri oleme kukibuusa maaso,kubanga oyo atya Katonda abyewala okubiyitiriza. 19 Ow’amagezi ne bw’aba omu mu kibuga,aba w’amaanyi okusinga abakulembeze ekkumi ab’omu kibuga ekyo. 20 Ddala ku nsi tekuli muntu mutuukirivu,atakola bibi. 21 Towulirizanga buli kigambo, bantu kye boogera,si kulwa ng’owulira omuweereza wo ng’akukolimira, 22 kubanga naawe okimanyidde ddala mu mutima gwo,ng’emirundi mingi okolimidde abalala. 23 Ebyo byonna nabyekenneenya n’amagezi ne ŋŋamba nti,“Mmaliridde okuba omugezi,”wabula kino kyandi wala. 24 Amagezi ne bwe gaba ga kikula ki, gali wala nnyo era tegalojjeka,kale ani ayinza okugavumbula? 25 Bwe ntyo ne nkyusa omutima gwange nnoonye okutegeera,nekkanye, era nnoonyereze amagezi ndowooze ne ku bintu nga bwe biri,n’okutegeera obusirusiru bw’okukola ebibi:n’eddalu ery’obusirusiru. 26 Ekintu kye nalaba eky’obulabe ekisinga okufa,ye mukazi alina omutima ogusendasenda,era ogusikiriza,era emikono gye gisiba ng’enjegere.Oyo ayagala Katonda, y’awona omukazi oyo,kyokka ye omwonoonyi talema kugwa mu mutego gwe. 27 Omubuulizi agamba nti, “Laba, kino kyenvumbudde:“Okugatta ekintu ku kinnaakyo, okuzuula enkola y’ebintu, 28 bwe nnali nga nkyanoonyerezanabulako kye nzuula,okuggyako okulaba omusajja omwesimbu omu mu basajja lukumi,kyokka mu bakazi bonna ssaalabamu n’omu atuukiridde. 29 Wabula kino kyokka kye nalaba:Katonda yatonda omuntu nga mugolokofu,naye abantu ne beenoonyeza ebintu ebirala bingi.”
In Other Versions
Ecclesiastes 7 in the ANGEFD
Ecclesiastes 7 in the ANTPNG2D
Ecclesiastes 7 in the AS21
Ecclesiastes 7 in the BAGH
Ecclesiastes 7 in the BBPNG
Ecclesiastes 7 in the BBT1E
Ecclesiastes 7 in the BDS
Ecclesiastes 7 in the BEV
Ecclesiastes 7 in the BHAD
Ecclesiastes 7 in the BIB
Ecclesiastes 7 in the BLPT
Ecclesiastes 7 in the BNT
Ecclesiastes 7 in the BNTABOOT
Ecclesiastes 7 in the BNTLV
Ecclesiastes 7 in the BOATCB
Ecclesiastes 7 in the BOATCB2
Ecclesiastes 7 in the BOBCV
Ecclesiastes 7 in the BOCNT
Ecclesiastes 7 in the BOECS
Ecclesiastes 7 in the BOGWICC
Ecclesiastes 7 in the BOHCB
Ecclesiastes 7 in the BOHCV
Ecclesiastes 7 in the BOHLNT
Ecclesiastes 7 in the BOHNTLTAL
Ecclesiastes 7 in the BOICB
Ecclesiastes 7 in the BOILNTAP
Ecclesiastes 7 in the BOITCV
Ecclesiastes 7 in the BOKCV
Ecclesiastes 7 in the BOKCV2
Ecclesiastes 7 in the BOKHWOG
Ecclesiastes 7 in the BOKSSV
Ecclesiastes 7 in the BOLCB2
Ecclesiastes 7 in the BOMCV
Ecclesiastes 7 in the BONAV
Ecclesiastes 7 in the BONCB
Ecclesiastes 7 in the BONLT
Ecclesiastes 7 in the BONUT2
Ecclesiastes 7 in the BOPLNT
Ecclesiastes 7 in the BOSCB
Ecclesiastes 7 in the BOSNC
Ecclesiastes 7 in the BOTLNT
Ecclesiastes 7 in the BOVCB
Ecclesiastes 7 in the BOYCB
Ecclesiastes 7 in the BPBB
Ecclesiastes 7 in the BPH
Ecclesiastes 7 in the BSB
Ecclesiastes 7 in the CCB
Ecclesiastes 7 in the CUV
Ecclesiastes 7 in the CUVS
Ecclesiastes 7 in the DBT
Ecclesiastes 7 in the DGDNT
Ecclesiastes 7 in the DHNT
Ecclesiastes 7 in the DNT
Ecclesiastes 7 in the ELBE
Ecclesiastes 7 in the EMTV
Ecclesiastes 7 in the ESV
Ecclesiastes 7 in the FBV
Ecclesiastes 7 in the FEB
Ecclesiastes 7 in the GGMNT
Ecclesiastes 7 in the GNT
Ecclesiastes 7 in the HARY
Ecclesiastes 7 in the HNT
Ecclesiastes 7 in the IRVA
Ecclesiastes 7 in the IRVB
Ecclesiastes 7 in the IRVG
Ecclesiastes 7 in the IRVH
Ecclesiastes 7 in the IRVK
Ecclesiastes 7 in the IRVM
Ecclesiastes 7 in the IRVM2
Ecclesiastes 7 in the IRVO
Ecclesiastes 7 in the IRVP
Ecclesiastes 7 in the IRVT
Ecclesiastes 7 in the IRVT2
Ecclesiastes 7 in the IRVU
Ecclesiastes 7 in the ISVN
Ecclesiastes 7 in the JSNT
Ecclesiastes 7 in the KAPI
Ecclesiastes 7 in the KBT1ETNIK
Ecclesiastes 7 in the KBV
Ecclesiastes 7 in the KJV
Ecclesiastes 7 in the KNFD
Ecclesiastes 7 in the LBA
Ecclesiastes 7 in the LBLA
Ecclesiastes 7 in the LNT
Ecclesiastes 7 in the LSV
Ecclesiastes 7 in the MAAL
Ecclesiastes 7 in the MBV
Ecclesiastes 7 in the MBV2
Ecclesiastes 7 in the MHNT
Ecclesiastes 7 in the MKNFD
Ecclesiastes 7 in the MNG
Ecclesiastes 7 in the MNT
Ecclesiastes 7 in the MNT2
Ecclesiastes 7 in the MRS1T
Ecclesiastes 7 in the NAA
Ecclesiastes 7 in the NASB
Ecclesiastes 7 in the NBLA
Ecclesiastes 7 in the NBS
Ecclesiastes 7 in the NBVTP
Ecclesiastes 7 in the NET2
Ecclesiastes 7 in the NIV11
Ecclesiastes 7 in the NNT
Ecclesiastes 7 in the NNT2
Ecclesiastes 7 in the NNT3
Ecclesiastes 7 in the PDDPT
Ecclesiastes 7 in the PFNT
Ecclesiastes 7 in the RMNT
Ecclesiastes 7 in the SBIAS
Ecclesiastes 7 in the SBIBS
Ecclesiastes 7 in the SBIBS2
Ecclesiastes 7 in the SBICS
Ecclesiastes 7 in the SBIDS
Ecclesiastes 7 in the SBIGS
Ecclesiastes 7 in the SBIHS
Ecclesiastes 7 in the SBIIS
Ecclesiastes 7 in the SBIIS2
Ecclesiastes 7 in the SBIIS3
Ecclesiastes 7 in the SBIKS
Ecclesiastes 7 in the SBIKS2
Ecclesiastes 7 in the SBIMS
Ecclesiastes 7 in the SBIOS
Ecclesiastes 7 in the SBIPS
Ecclesiastes 7 in the SBISS
Ecclesiastes 7 in the SBITS
Ecclesiastes 7 in the SBITS2
Ecclesiastes 7 in the SBITS3
Ecclesiastes 7 in the SBITS4
Ecclesiastes 7 in the SBIUS
Ecclesiastes 7 in the SBIVS
Ecclesiastes 7 in the SBT
Ecclesiastes 7 in the SBT1E
Ecclesiastes 7 in the SCHL
Ecclesiastes 7 in the SNT
Ecclesiastes 7 in the SUSU
Ecclesiastes 7 in the SUSU2
Ecclesiastes 7 in the SYNO
Ecclesiastes 7 in the TBIAOTANT
Ecclesiastes 7 in the TBT1E
Ecclesiastes 7 in the TBT1E2
Ecclesiastes 7 in the TFTIP
Ecclesiastes 7 in the TFTU
Ecclesiastes 7 in the TGNTATF3T
Ecclesiastes 7 in the THAI
Ecclesiastes 7 in the TNFD
Ecclesiastes 7 in the TNT
Ecclesiastes 7 in the TNTIK
Ecclesiastes 7 in the TNTIL
Ecclesiastes 7 in the TNTIN
Ecclesiastes 7 in the TNTIP
Ecclesiastes 7 in the TNTIZ
Ecclesiastes 7 in the TOMA
Ecclesiastes 7 in the TTENT
Ecclesiastes 7 in the UBG
Ecclesiastes 7 in the UGV
Ecclesiastes 7 in the UGV2
Ecclesiastes 7 in the UGV3
Ecclesiastes 7 in the VBL
Ecclesiastes 7 in the VDCC
Ecclesiastes 7 in the YALU
Ecclesiastes 7 in the YAPE
Ecclesiastes 7 in the YBVTP
Ecclesiastes 7 in the ZBP