Ezekiel 12 (BOLCB)

1 Ekigambo kya MUKAMA ne kinzijira ng’agamba nti, 2 “Omwana w’omuntu obeera mu bantu abajeemu. Balina amaaso okulaba, naye tebalaba, balina n’amatu okuwulira naye tebawulira, kubanga bantu bajeemu. 3 “Noolwekyo omwana w’omuntu, sibako ebibyo ogende mu buwaŋŋanguse, ate kikole misana, nga balaba ogende mu kifo ekirala. Oboolyawo balitegeera, newaakubadde nga nnyumba njeemu. 4 Fulumya ebibyo by’otwala mu buwaŋŋanguse emisana, nga balaba. Ate akawungeezi, ofulume nga balaba, ogende ng’abo abagenda mu buwaŋŋanguse. 5 Botola ekituli mu bbugwe oyiseemu ebibyo, nga balaba. 6 Biteeke ku kibegabega kyo nga balaba, obifulumye obudde nga buwungeera. Bikka ku maaso oleme okulaba ensi, kubanga nkufudde akabonero eri ennyumba ya Isirayiri.” 7 Ne nkola nga bwe ndagiddwa. Emisana, ne nfulumya ebintu byange nga neetegese okugenda mu buwaŋŋanguse. Akawungeezi ne nkuba ekituli mu bbugwe n’engalo zange, ne nfulumya ebyange nga mbitadde ku kibegabega kyange nga balaba, obudde nga buwungedde, enjuba ng’ebuliddeyo. 8 Ku makya, ekigambo kya MUKAMA ne kinzijira ng’agamba nti, 9 “Omwana w’omuntu, ennyumba ya Isirayiri enjeemu teyakubuuza nti, ‘Okola ki ekyo?’ 10 “Bagambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera MUKAMA Katonda nti, obubaka buno bukwata ku mufuzi ali mu Yerusaalemi, n’abantu ba Isirayiri bonna abaliyo.’ 11 Bagambe nti, ‘Ndi kabonero gye muli.’“Nga bwe nkoze, nabo bwe balikibakola. Baliwaŋŋangusibwa ne batwalibwa nga bawambe. 12 “Omufuzi ali mu bo aliteeka ebintu bye ku kibegabega kye agende ng’obudde buwungedde, enjuba ng’ebuliddeyo, balibotola ekituli mu bbugwe ayitemu agende. Alibikka amaaso ge, aleme kulaba nsi. 13 Ndimwanjuliriza ekitimba kyange, akwatibwe mu mutego gwange. Ndimutwala e Babulooni, mu nsi ey’Abakaludaaya, naye taligiraba, era eyo gy’alifiira. 14 Ndisaasaanyiza eri empewo zonna, bonna abamwetoolodde, abakozi be n’eggye lye lyonna era ndibawondera n’ekitala ekisowoddwa. 15 “Balimanya nga nze MUKAMA bwe ndibasaasaanya mu mawanga, ne mbabunya mu nsi. 16 Kyokka ndirekawo batono ku bo abaliwona ekitala, n’abaliwona enjala n’abaliwona kawumpuli, balyoke bejjuse olw’ebikolwa byabwe eby’emizizo, nga bali eyo mu mawanga. Olwo balitegeera nga nze MUKAMA.” 17 Ekigambo kya MUKAMA ne kinzijira ng’agamba nti, 18 “Omwana w’omuntu, lya emmere yo ng’okankana, era nnywa amazzi go ng’ojugumira.” 19 Tegeeza abantu ab’omu nsi nti, “Bw’ati bw’ayogera MUKAMA Katonda ku abo ababeera mu Yerusaalemi ne mu nsi ya Isirayiri nti, Balirya emmere yaabwe nga beeraliikirira, banywe n’amazzi gaabwe nga batya, kubanga ensi yaabwe erinyagibwa mu buli kintu ekirimu, olw’obukambwe bw’abo bonna ababeera eyo. 20 Ebibuga ebituulwamu birizikirizibwa, n’ensi n’efuuka amatongo, mulyoke mumanye nga nze MUKAMA.” 21 Ekigambo kya MUKAMA ne kinzijira ng’agamba nti, 22 “Omwana w’omuntu, makulu ki agali mu lugero olukwata ku nsi ya Isirayiri, olugamba nti, ‘Ennaku ziggwaayo naye teri kwolesebwa kutuukirira?’ 23 Bagambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera MUKAMA Katonda nti, ŋŋenda kukomya olugero luno, era tebaliddayo nate kulwogera, mu Isirayiri.’ Bagambe nti, ‘Ebiro binaatera okutuuka, okwolesebwa kwonna lwe kulituukirira. 24 Tewaliba nate kwolesebwa kwa bulimba newaakubadde obunnabbi obusavuwaze mu bantu ba Isirayiri. 25 Naye nze MUKAMA ndyogera kye ndisiima, era kirituukirira amangu ddala. Mu nnaku zo ggwe ennyumba enjeemu, ndyogera ekigambo era ndikituukiriza, bw’ayogera MUKAMA Katonda.’ ” 26 Ekigambo kya MUKAMA ne kinzijira ng’agamba nti, 27 “Omwana w’omuntu, laba, ennyumba ya Isirayiri egamba nti, ‘Okwolesebwa kwalaba kw’amyaka mingi okuva ne kaakano, era ayogera obunnabbi obulibaawo mu bbanga ery’ewala.’ 28 “Noolwekyo bagambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera MUKAMA Katonda nti, tewalibaawo nate kigambo kyange na kimu ekirirwisibwa, buli kye njogera kirituukirira, bw’ayogera MUKAMA Katonda.’ ”

In Other Versions

Ezekiel 12 in the ANGEFD

Ezekiel 12 in the ANTPNG2D

Ezekiel 12 in the AS21

Ezekiel 12 in the BAGH

Ezekiel 12 in the BBPNG

Ezekiel 12 in the BBT1E

Ezekiel 12 in the BDS

Ezekiel 12 in the BEV

Ezekiel 12 in the BHAD

Ezekiel 12 in the BIB

Ezekiel 12 in the BLPT

Ezekiel 12 in the BNT

Ezekiel 12 in the BNTABOOT

Ezekiel 12 in the BNTLV

Ezekiel 12 in the BOATCB

Ezekiel 12 in the BOATCB2

Ezekiel 12 in the BOBCV

Ezekiel 12 in the BOCNT

Ezekiel 12 in the BOECS

Ezekiel 12 in the BOGWICC

Ezekiel 12 in the BOHCB

Ezekiel 12 in the BOHCV

Ezekiel 12 in the BOHLNT

Ezekiel 12 in the BOHNTLTAL

Ezekiel 12 in the BOICB

Ezekiel 12 in the BOILNTAP

Ezekiel 12 in the BOITCV

Ezekiel 12 in the BOKCV

Ezekiel 12 in the BOKCV2

Ezekiel 12 in the BOKHWOG

Ezekiel 12 in the BOKSSV

Ezekiel 12 in the BOLCB2

Ezekiel 12 in the BOMCV

Ezekiel 12 in the BONAV

Ezekiel 12 in the BONCB

Ezekiel 12 in the BONLT

Ezekiel 12 in the BONUT2

Ezekiel 12 in the BOPLNT

Ezekiel 12 in the BOSCB

Ezekiel 12 in the BOSNC

Ezekiel 12 in the BOTLNT

Ezekiel 12 in the BOVCB

Ezekiel 12 in the BOYCB

Ezekiel 12 in the BPBB

Ezekiel 12 in the BPH

Ezekiel 12 in the BSB

Ezekiel 12 in the CCB

Ezekiel 12 in the CUV

Ezekiel 12 in the CUVS

Ezekiel 12 in the DBT

Ezekiel 12 in the DGDNT

Ezekiel 12 in the DHNT

Ezekiel 12 in the DNT

Ezekiel 12 in the ELBE

Ezekiel 12 in the EMTV

Ezekiel 12 in the ESV

Ezekiel 12 in the FBV

Ezekiel 12 in the FEB

Ezekiel 12 in the GGMNT

Ezekiel 12 in the GNT

Ezekiel 12 in the HARY

Ezekiel 12 in the HNT

Ezekiel 12 in the IRVA

Ezekiel 12 in the IRVB

Ezekiel 12 in the IRVG

Ezekiel 12 in the IRVH

Ezekiel 12 in the IRVK

Ezekiel 12 in the IRVM

Ezekiel 12 in the IRVM2

Ezekiel 12 in the IRVO

Ezekiel 12 in the IRVP

Ezekiel 12 in the IRVT

Ezekiel 12 in the IRVT2

Ezekiel 12 in the IRVU

Ezekiel 12 in the ISVN

Ezekiel 12 in the JSNT

Ezekiel 12 in the KAPI

Ezekiel 12 in the KBT1ETNIK

Ezekiel 12 in the KBV

Ezekiel 12 in the KJV

Ezekiel 12 in the KNFD

Ezekiel 12 in the LBA

Ezekiel 12 in the LBLA

Ezekiel 12 in the LNT

Ezekiel 12 in the LSV

Ezekiel 12 in the MAAL

Ezekiel 12 in the MBV

Ezekiel 12 in the MBV2

Ezekiel 12 in the MHNT

Ezekiel 12 in the MKNFD

Ezekiel 12 in the MNG

Ezekiel 12 in the MNT

Ezekiel 12 in the MNT2

Ezekiel 12 in the MRS1T

Ezekiel 12 in the NAA

Ezekiel 12 in the NASB

Ezekiel 12 in the NBLA

Ezekiel 12 in the NBS

Ezekiel 12 in the NBVTP

Ezekiel 12 in the NET2

Ezekiel 12 in the NIV11

Ezekiel 12 in the NNT

Ezekiel 12 in the NNT2

Ezekiel 12 in the NNT3

Ezekiel 12 in the PDDPT

Ezekiel 12 in the PFNT

Ezekiel 12 in the RMNT

Ezekiel 12 in the SBIAS

Ezekiel 12 in the SBIBS

Ezekiel 12 in the SBIBS2

Ezekiel 12 in the SBICS

Ezekiel 12 in the SBIDS

Ezekiel 12 in the SBIGS

Ezekiel 12 in the SBIHS

Ezekiel 12 in the SBIIS

Ezekiel 12 in the SBIIS2

Ezekiel 12 in the SBIIS3

Ezekiel 12 in the SBIKS

Ezekiel 12 in the SBIKS2

Ezekiel 12 in the SBIMS

Ezekiel 12 in the SBIOS

Ezekiel 12 in the SBIPS

Ezekiel 12 in the SBISS

Ezekiel 12 in the SBITS

Ezekiel 12 in the SBITS2

Ezekiel 12 in the SBITS3

Ezekiel 12 in the SBITS4

Ezekiel 12 in the SBIUS

Ezekiel 12 in the SBIVS

Ezekiel 12 in the SBT

Ezekiel 12 in the SBT1E

Ezekiel 12 in the SCHL

Ezekiel 12 in the SNT

Ezekiel 12 in the SUSU

Ezekiel 12 in the SUSU2

Ezekiel 12 in the SYNO

Ezekiel 12 in the TBIAOTANT

Ezekiel 12 in the TBT1E

Ezekiel 12 in the TBT1E2

Ezekiel 12 in the TFTIP

Ezekiel 12 in the TFTU

Ezekiel 12 in the TGNTATF3T

Ezekiel 12 in the THAI

Ezekiel 12 in the TNFD

Ezekiel 12 in the TNT

Ezekiel 12 in the TNTIK

Ezekiel 12 in the TNTIL

Ezekiel 12 in the TNTIN

Ezekiel 12 in the TNTIP

Ezekiel 12 in the TNTIZ

Ezekiel 12 in the TOMA

Ezekiel 12 in the TTENT

Ezekiel 12 in the UBG

Ezekiel 12 in the UGV

Ezekiel 12 in the UGV2

Ezekiel 12 in the UGV3

Ezekiel 12 in the VBL

Ezekiel 12 in the VDCC

Ezekiel 12 in the YALU

Ezekiel 12 in the YAPE

Ezekiel 12 in the YBVTP

Ezekiel 12 in the ZBP