Ezekiel 26 (BOLCB)

1 Awo olwatuuka mu mwaka ogw’ekkumi n’ogumu ku lunaku olw’olubereberye mu mwezi, ekigambo kya MUKAMA Katonda ne kinzijira n’aŋŋamba nti, 2 “Omwana w’omuntu, kubanga Ttuulo yakuba mu ngalo n’ayogera ku Yerusaalemi nti, ‘Otyo! Omulyango ogw’amawanga gumenyeddwa, era n’enzigi zinzigguliddwa kaakano nga bw’afuuse amatongo, ndigaggawala,’ 3 MUKAMA Katonda kyava ayogera nti, Nkuvunaana ggwe Ttuulo, ndiyimusa amawanga mangi gakulumbe, ng’ennyanja bw’esitula amayengo gaayo. 4 Balimenya bbugwe wa Ttuulo, ne basuula n’emirongooti gye, era ndiggyawo ebifunfugu bye byonna ne mmufuula olwazi olwereere. 5 Wakati mu nnyanja alibeera ekifo eky’okwanjulurizangamu obutimba obw’ebyennyanja, kubanga nze njogedde bw’ayogera MUKAMA Katonda. Alifuuka omunyago ogw’amawanga, 6 era ebifo bye eby’oku lukalu kw’abeera birimalibwawo ekitala. Olwo balimanya nga nze MUKAMA. 7 “Era MUKAMA Katonda agamba nti, ‘Ndiweereza Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni kabaka wa bakabaka, eri Ttuulo okuva mu bukiikakkono, ng’alina embalaasi n’amagaali, n’abeebagala embalaasi n’eggye eddene. 8 Alitta n’ekitala abatuuze bo ababeera ku lukalu, era alizimba ebigo okukwolekera, n’ateekawo n’ebitindiro okutuuka ku bbugwe wo n’akwolekeza n’engabo. 9 Alitunuza ebintu bye ebitomera eri bbugwe wo, n’amenyaamenya emirongooti gyo n’ebyokulwanyisa bye. 10 Embalaasi ze ziriba nnyingi nnyo, n’enfuufu yaazo erikubikka era ne bbugwe wo alinyeenyezebwa olw’amaloboozi g’embalaasi ennwanyi, n’olw’ebiwalulibwa n’amagaali bw’aliyingira mu wankaaki wo, ng’abasajja bwe bayingira mu kibuga, nga bbugwe waakyo abotoddwamu ekituli. 11 Embalaasi ze ziririnyirira enguudo zo; n’abantu bo alibatta n’ekitala era n’empagi zo ez’amaanyi zirisuulibwa ku ttaka. 12 Balinyaga obugagga bwo ne babba n’ebyamaguzi byo; balimenya bbugwe wo ne basaanyaawo n’ennyumba zo ennungi, n’amayinja go n’embaawo zo era n’ebifunfugu birisuulibwa wakati mu nnyanja. 13 Ndikomya okuyimba kwo, era n’amaloboozi ag’ennanga zo tegaliwulirwa nate. 14 Ndikufuula olwazi olwereere, era olibeera ekifo eky’okwanjulurizangamu obutimba obw’ebyennyanja. Tolizimbibwa nate, kubanga nze MUKAMA njogedde, bw’ayogera MUKAMA Katonda.’  15 “Bw’ati bw’ayogera MUKAMA Katonda eri Ttuulo nti, Ebifo ebiri ku lubalama lw’ennyanja tebirikankana olw’okubwatuka olw’okugwa kwo, abaliba balumizibbwa bwe balisinda, n’abalala ne battibwa wakati mu ggwe? 16 Olwo abalangira bonna ab’oku lukalu lw’ennyanja baliva ku ntebe zaabwe ez’obwakabaka ne bambulamu ebyambalo byabwe ne baggyako n’engoye zaabwe ez’emiddalizo. Mu kutya okungi, balituula wansi ku ttaka, nga bakankana buli kaseera nga basamaaliridde. 17 Balikukungubagira ne bakugamba nti,“ ‘Ng’ozikiriziddwa, ggwe ekibuga ekyatutumuka,ekyabeerangamu abantu abalunnyanja.Wali wa maanyi ku nnyanja, ggwe n’abantu bo,watiisatiisanga bonna abaabeeranga ku lubalama lw’ennyanja. 18 Kaakano olubalama lw’ennyanjalukankana ku lunaku olw’okugwa kwo,era n’ebizinga ebiri mu nnyanjabitidde olw’okugwa kwo.’ 19 “Bw’ati bw’ayogera MUKAMA Katonda nti, ‘Bwe ndikufuula ekibuga ekirimu ebifulukwa, ng’ebibuga ebitakyabaamu bantu era bwe ndikuyimusizaako obuziba bw’ennyanja, n’amazzi gaayo ne gakubikka, 20 kale ndikussa wansi ng’abo abagenda mu bunnya eri abaafa edda. Olibeera wansi mu ttaka, mu bifo ebyazika edda ennyo, n’abo abaserengeta mu bunnya, so tojja kudda wadde okufuna ekifo mu nsi ya balamu. 21 Ndikutuusa ku nkomerero embi, so toliwulirwa nate. Balikunoonya, naye toliddayo kulabika,’ bw’ayogera MUKAMA Katonda.”

In Other Versions

Ezekiel 26 in the ANGEFD

Ezekiel 26 in the ANTPNG2D

Ezekiel 26 in the AS21

Ezekiel 26 in the BAGH

Ezekiel 26 in the BBPNG

Ezekiel 26 in the BBT1E

Ezekiel 26 in the BDS

Ezekiel 26 in the BEV

Ezekiel 26 in the BHAD

Ezekiel 26 in the BIB

Ezekiel 26 in the BLPT

Ezekiel 26 in the BNT

Ezekiel 26 in the BNTABOOT

Ezekiel 26 in the BNTLV

Ezekiel 26 in the BOATCB

Ezekiel 26 in the BOATCB2

Ezekiel 26 in the BOBCV

Ezekiel 26 in the BOCNT

Ezekiel 26 in the BOECS

Ezekiel 26 in the BOGWICC

Ezekiel 26 in the BOHCB

Ezekiel 26 in the BOHCV

Ezekiel 26 in the BOHLNT

Ezekiel 26 in the BOHNTLTAL

Ezekiel 26 in the BOICB

Ezekiel 26 in the BOILNTAP

Ezekiel 26 in the BOITCV

Ezekiel 26 in the BOKCV

Ezekiel 26 in the BOKCV2

Ezekiel 26 in the BOKHWOG

Ezekiel 26 in the BOKSSV

Ezekiel 26 in the BOLCB2

Ezekiel 26 in the BOMCV

Ezekiel 26 in the BONAV

Ezekiel 26 in the BONCB

Ezekiel 26 in the BONLT

Ezekiel 26 in the BONUT2

Ezekiel 26 in the BOPLNT

Ezekiel 26 in the BOSCB

Ezekiel 26 in the BOSNC

Ezekiel 26 in the BOTLNT

Ezekiel 26 in the BOVCB

Ezekiel 26 in the BOYCB

Ezekiel 26 in the BPBB

Ezekiel 26 in the BPH

Ezekiel 26 in the BSB

Ezekiel 26 in the CCB

Ezekiel 26 in the CUV

Ezekiel 26 in the CUVS

Ezekiel 26 in the DBT

Ezekiel 26 in the DGDNT

Ezekiel 26 in the DHNT

Ezekiel 26 in the DNT

Ezekiel 26 in the ELBE

Ezekiel 26 in the EMTV

Ezekiel 26 in the ESV

Ezekiel 26 in the FBV

Ezekiel 26 in the FEB

Ezekiel 26 in the GGMNT

Ezekiel 26 in the GNT

Ezekiel 26 in the HARY

Ezekiel 26 in the HNT

Ezekiel 26 in the IRVA

Ezekiel 26 in the IRVB

Ezekiel 26 in the IRVG

Ezekiel 26 in the IRVH

Ezekiel 26 in the IRVK

Ezekiel 26 in the IRVM

Ezekiel 26 in the IRVM2

Ezekiel 26 in the IRVO

Ezekiel 26 in the IRVP

Ezekiel 26 in the IRVT

Ezekiel 26 in the IRVT2

Ezekiel 26 in the IRVU

Ezekiel 26 in the ISVN

Ezekiel 26 in the JSNT

Ezekiel 26 in the KAPI

Ezekiel 26 in the KBT1ETNIK

Ezekiel 26 in the KBV

Ezekiel 26 in the KJV

Ezekiel 26 in the KNFD

Ezekiel 26 in the LBA

Ezekiel 26 in the LBLA

Ezekiel 26 in the LNT

Ezekiel 26 in the LSV

Ezekiel 26 in the MAAL

Ezekiel 26 in the MBV

Ezekiel 26 in the MBV2

Ezekiel 26 in the MHNT

Ezekiel 26 in the MKNFD

Ezekiel 26 in the MNG

Ezekiel 26 in the MNT

Ezekiel 26 in the MNT2

Ezekiel 26 in the MRS1T

Ezekiel 26 in the NAA

Ezekiel 26 in the NASB

Ezekiel 26 in the NBLA

Ezekiel 26 in the NBS

Ezekiel 26 in the NBVTP

Ezekiel 26 in the NET2

Ezekiel 26 in the NIV11

Ezekiel 26 in the NNT

Ezekiel 26 in the NNT2

Ezekiel 26 in the NNT3

Ezekiel 26 in the PDDPT

Ezekiel 26 in the PFNT

Ezekiel 26 in the RMNT

Ezekiel 26 in the SBIAS

Ezekiel 26 in the SBIBS

Ezekiel 26 in the SBIBS2

Ezekiel 26 in the SBICS

Ezekiel 26 in the SBIDS

Ezekiel 26 in the SBIGS

Ezekiel 26 in the SBIHS

Ezekiel 26 in the SBIIS

Ezekiel 26 in the SBIIS2

Ezekiel 26 in the SBIIS3

Ezekiel 26 in the SBIKS

Ezekiel 26 in the SBIKS2

Ezekiel 26 in the SBIMS

Ezekiel 26 in the SBIOS

Ezekiel 26 in the SBIPS

Ezekiel 26 in the SBISS

Ezekiel 26 in the SBITS

Ezekiel 26 in the SBITS2

Ezekiel 26 in the SBITS3

Ezekiel 26 in the SBITS4

Ezekiel 26 in the SBIUS

Ezekiel 26 in the SBIVS

Ezekiel 26 in the SBT

Ezekiel 26 in the SBT1E

Ezekiel 26 in the SCHL

Ezekiel 26 in the SNT

Ezekiel 26 in the SUSU

Ezekiel 26 in the SUSU2

Ezekiel 26 in the SYNO

Ezekiel 26 in the TBIAOTANT

Ezekiel 26 in the TBT1E

Ezekiel 26 in the TBT1E2

Ezekiel 26 in the TFTIP

Ezekiel 26 in the TFTU

Ezekiel 26 in the TGNTATF3T

Ezekiel 26 in the THAI

Ezekiel 26 in the TNFD

Ezekiel 26 in the TNT

Ezekiel 26 in the TNTIK

Ezekiel 26 in the TNTIL

Ezekiel 26 in the TNTIN

Ezekiel 26 in the TNTIP

Ezekiel 26 in the TNTIZ

Ezekiel 26 in the TOMA

Ezekiel 26 in the TTENT

Ezekiel 26 in the UBG

Ezekiel 26 in the UGV

Ezekiel 26 in the UGV2

Ezekiel 26 in the UGV3

Ezekiel 26 in the VBL

Ezekiel 26 in the VDCC

Ezekiel 26 in the YALU

Ezekiel 26 in the YAPE

Ezekiel 26 in the YBVTP

Ezekiel 26 in the ZBP