Genesis 34 (BOLCB)
1 Awo Dina muwala wa Leeya gwe yazaalira Yakobo, n’agenda okukyalira abakazi ab’omu nsi eyo. 2 Sekemu mutabani wa Kamoli Omukiiti omufuzi w’ensi eyo n’amulaba n’amukwata n’amusobyako. 3 Omwoyo gwa Sekemu ne gutwalibwa Dina muwala wa Yakobo, n’amwagala n’ayogera naye ebigambo ebiweweevu. 4 Sekemu n’alyoka agamba kitaawe Kamoli nti, “Mpasiza omuwala ono abeere mukazi wange.” 5 Yakobo bwe yawulira nga Sekemu asobezza ku muwala we Dina, n’aba mukkakkamu okutuusa batabani be abaali balabirira ebisibo ku ttale lwe badda. 6 Kamoli kitaawe wa Sekemu n’agenda eri Yakobo okwogera naye. 7 Batabani ba Yakobo ne bakomawo eka nga bamaze okukitegeera. Ne banakuwala era ne basunguwalira nnyo Sekemu olw’okukola eky’ekivve era ekitasaana mu Isirayiri. 8 Kyokka ye Kamoli n’ayogera nabo ng’agamba nti, “Omwoyo gwa mutabani wange gwegomba nnyo muwala wo, nkwegayirira mumuwe amuwase. 9 Kkiriza tufumbiriganwenga, otuwe bawala bo, nammwe muwasenga bawala baffe. 10 Munaabeeranga mu ffe, era mukolenga buli kye mwagala mu nsi yaffe. Mubeeremu era musuubuliremu, mugaggawale nnyo.” 11 Sekemu naye n’ayogera ne Yakobo ne bannyina ba Dina, nti, “Nsaba ndabe ekisa mu maaso gammwe, era kyonna kye munansalira nzija kukibawa. 12 Munsabe ebyobuko ebirabo n’ebigenderako, byonna nzija kubibawa nga bwe binaaba binsabiddwa; kye muba munkolera kwe kumpa omuwala abeere mukazi wange.” 13 Batabani ba Yakobo ne baddamu Sekemu ne kitaawe Kamoli nga babakwenyakwenya kuba Sekemu yali asobezza ku mwannyinaabwe Dina. 14 Ne babagamba nti, “Ekyo tetusobola kukikola okuwa mwannyinaffe omuntu atali mukomole, kubanga kya muzizo gye tuli. 15 Kye muteekwa okukola, tulyoke tukkirize, kwe kufuuka nga ffe nga buli musajja mu mmwe akomolebbwa. 16 Tulyoke tubawe bawala baffe, era naffe tuwase bawala bammwe, tubeere mu mmwe tufuuke eggwanga limu. 17 Naye bwe mutakkiriza kukomolebwa, kale tunaatwala muwala waffe ne tugenda.” 18 Ebigambo byabwe ne bisanyusa Kamoli ne mutabani we Sekemu. 19 Era omuvubuka teyalwa kukomolebwa, kubanga yayagala nnyo muwala wa Yakobo. Omuvubuka oyo ye yali asinga okussibwamu ekitiibwa mu baana ba Kamoli bonna. 20 Awo Kamoli ne mutabani we Sekemu ne batuuka ku wankaaki w’ekibuga kyabwe ne boogera n’abantu b’ekibuga kyabwe nga bagamba nti, 21 Abasajja abo mikwano gyaffe. Ka babeere mu nsi yaffe bakoleremu, kubanga, mulabe, ensi nnene ebamala. Ffe ka tuwase bawala baabwe era naffe tubawe bawala baffe. 22 Wabula buli musajja mu ffe ateekwa okukomolebwa, nga bo bwe bakola; tufuuke eggwanga limu, lwe banakkiriza okubeera mu ffe. 23 Olwo ente zaabwe, ebintu byabwe n’ensolo zaabwe zonna tebiibe byaffe? Kye tuba tukola kwe kukkiriziganya nabo, balyoke babeere mu ffe. 24 Abasajja bonna abaali ku mulyango ebweru w’ekibuga ne bakkiriziganya ne Kamoli ne mutabani we Sekemu; buli musajja eyafuluma ebweru w’omulyango gw’ekibuga n’akomolebwa. 25 Bwe waayitawo ennaku ssatu, nga bakyali mu bulumi, batabani ba Yakobo: Simyoni ne Leevi bannyina Dina ne baddira ebitala byabwe ne balumba ekibuga, abaamu nga tebategedde, ne batta buli musajja. 26 Battiramu Kamoli ne mutabani we Sekemu ne baggya Dina mu nnyumba ya Sekemu ne beetambulira. 27 Awo batabani ba Yakobo ne bagwa ku munyago ne banyaga ekibuga olwa mwannyinaabwe. 28 Ne batwala ebisibo by’endiga, amagana g’ente, n’endogoyi, na buli ekyali mu kibuga ne ku ttale. 29 N’obugagga bwonna, n’abaana bonna awamu n’abakazi, na buli ekyali mu mayumba, byonna ne babiwamba ne babinyaga. 30 Awo Yakobo n’agamba Simyoni ne Leevi nti, “Mundeetedde akacwano, nfuuse wa kukyayibwa abantu bonna ab’omu nsi, Abakanani n’Abaperezi. Ffe tuli batono, kale bwe baneekuŋŋaanya ne bannumba nzija kumalibwawo, nze n’ennyumba yange yonna.” 31 Bo ne bamuddamu nti, “Lwaki yayisa mwannyinaffe ng’omwenzi?”
In Other Versions
Genesis 34 in the ANGEFD
Genesis 34 in the ANTPNG2D
Genesis 34 in the AS21
Genesis 34 in the BAGH
Genesis 34 in the BBPNG
Genesis 34 in the BBT1E
Genesis 34 in the BDS
Genesis 34 in the BEV
Genesis 34 in the BHAD
Genesis 34 in the BIB
Genesis 34 in the BLPT
Genesis 34 in the BNT
Genesis 34 in the BNTABOOT
Genesis 34 in the BNTLV
Genesis 34 in the BOATCB
Genesis 34 in the BOATCB2
Genesis 34 in the BOBCV
Genesis 34 in the BOCNT
Genesis 34 in the BOECS
Genesis 34 in the BOGWICC
Genesis 34 in the BOHCB
Genesis 34 in the BOHCV
Genesis 34 in the BOHLNT
Genesis 34 in the BOHNTLTAL
Genesis 34 in the BOICB
Genesis 34 in the BOILNTAP
Genesis 34 in the BOITCV
Genesis 34 in the BOKCV
Genesis 34 in the BOKCV2
Genesis 34 in the BOKHWOG
Genesis 34 in the BOKSSV
Genesis 34 in the BOLCB2
Genesis 34 in the BOMCV
Genesis 34 in the BONAV
Genesis 34 in the BONCB
Genesis 34 in the BONLT
Genesis 34 in the BONUT2
Genesis 34 in the BOPLNT
Genesis 34 in the BOSCB
Genesis 34 in the BOSNC
Genesis 34 in the BOTLNT
Genesis 34 in the BOVCB
Genesis 34 in the BOYCB
Genesis 34 in the BPBB
Genesis 34 in the BPH
Genesis 34 in the BSB
Genesis 34 in the CCB
Genesis 34 in the CUV
Genesis 34 in the CUVS
Genesis 34 in the DBT
Genesis 34 in the DGDNT
Genesis 34 in the DHNT
Genesis 34 in the DNT
Genesis 34 in the ELBE
Genesis 34 in the EMTV
Genesis 34 in the ESV
Genesis 34 in the FBV
Genesis 34 in the FEB
Genesis 34 in the GGMNT
Genesis 34 in the GNT
Genesis 34 in the HARY
Genesis 34 in the HNT
Genesis 34 in the IRVA
Genesis 34 in the IRVB
Genesis 34 in the IRVG
Genesis 34 in the IRVH
Genesis 34 in the IRVK
Genesis 34 in the IRVM
Genesis 34 in the IRVM2
Genesis 34 in the IRVO
Genesis 34 in the IRVP
Genesis 34 in the IRVT
Genesis 34 in the IRVT2
Genesis 34 in the IRVU
Genesis 34 in the ISVN
Genesis 34 in the JSNT
Genesis 34 in the KAPI
Genesis 34 in the KBT1ETNIK
Genesis 34 in the KBV
Genesis 34 in the KJV
Genesis 34 in the KNFD
Genesis 34 in the LBA
Genesis 34 in the LBLA
Genesis 34 in the LNT
Genesis 34 in the LSV
Genesis 34 in the MAAL
Genesis 34 in the MBV
Genesis 34 in the MBV2
Genesis 34 in the MHNT
Genesis 34 in the MKNFD
Genesis 34 in the MNG
Genesis 34 in the MNT
Genesis 34 in the MNT2
Genesis 34 in the MRS1T
Genesis 34 in the NAA
Genesis 34 in the NASB
Genesis 34 in the NBLA
Genesis 34 in the NBS
Genesis 34 in the NBVTP
Genesis 34 in the NET2
Genesis 34 in the NIV11
Genesis 34 in the NNT
Genesis 34 in the NNT2
Genesis 34 in the NNT3
Genesis 34 in the PDDPT
Genesis 34 in the PFNT
Genesis 34 in the RMNT
Genesis 34 in the SBIAS
Genesis 34 in the SBIBS
Genesis 34 in the SBIBS2
Genesis 34 in the SBICS
Genesis 34 in the SBIDS
Genesis 34 in the SBIGS
Genesis 34 in the SBIHS
Genesis 34 in the SBIIS
Genesis 34 in the SBIIS2
Genesis 34 in the SBIIS3
Genesis 34 in the SBIKS
Genesis 34 in the SBIKS2
Genesis 34 in the SBIMS
Genesis 34 in the SBIOS
Genesis 34 in the SBIPS
Genesis 34 in the SBISS
Genesis 34 in the SBITS
Genesis 34 in the SBITS2
Genesis 34 in the SBITS3
Genesis 34 in the SBITS4
Genesis 34 in the SBIUS
Genesis 34 in the SBIVS
Genesis 34 in the SBT
Genesis 34 in the SBT1E
Genesis 34 in the SCHL
Genesis 34 in the SNT
Genesis 34 in the SUSU
Genesis 34 in the SUSU2
Genesis 34 in the SYNO
Genesis 34 in the TBIAOTANT
Genesis 34 in the TBT1E
Genesis 34 in the TBT1E2
Genesis 34 in the TFTIP
Genesis 34 in the TFTU
Genesis 34 in the TGNTATF3T
Genesis 34 in the THAI
Genesis 34 in the TNFD
Genesis 34 in the TNT
Genesis 34 in the TNTIK
Genesis 34 in the TNTIL
Genesis 34 in the TNTIN
Genesis 34 in the TNTIP
Genesis 34 in the TNTIZ
Genesis 34 in the TOMA
Genesis 34 in the TTENT
Genesis 34 in the UBG
Genesis 34 in the UGV
Genesis 34 in the UGV2
Genesis 34 in the UGV3
Genesis 34 in the VBL
Genesis 34 in the VDCC
Genesis 34 in the YALU
Genesis 34 in the YAPE
Genesis 34 in the YBVTP
Genesis 34 in the ZBP