Genesis 46 (BOLCB)
1 Awo Isirayiri n’addira byonna bye yalina, n’atandika olugendo; bwe yatuuka e Beriseba n’awaayo ssaddaaka eri Katonda wa kitaawe Isaaka. 2 Katonda n’ayogera ne Isirayiri mu kwolesebwa ekiro, n’amuyita nti, “Yakobo, Yakobo?”N’amuddamu nti, “Nze nzuuno.” 3 Katonda n’amugamba nti, “Nze Katonda, Katonda wa kitaawo; totya kuserengeta Misiri, kubanga ndi kufuulirayo eyo eggwanga eddene. 4 Nzija kuserengeta naawe e Misiri, era ndi kuggyayo; era olifiira mu mikono gya Yusufu.” 5 Awo Yakobo n’ava e Beriseba, batabani be ne bamutwalira wamu n’abaana baabwe abato, ne bakazi baabwe ne babassa mu magaali Falaawo ge yaweereza okumutwala. 6 Era ne batwala ebisibo n’ebintu byabwe bye baafunira mu nsi ya Kanani ne batuuka e Misiri, Yakobo wamu n’ezzadde lye. 7 Batabani be ne bazzukulu be, bawala be n’abaana ba bawala be; ezzadde lye lyonna n’alireeta mu Misiri wamu naye. 8 Gano ge mannya g’abazzukulu ba Isirayiri abaagenda e Misiri ne Yakobo: Lewubeeni mutabani wa Yakobo omubereberye, 9 ne batabani ba Lewubeeni:Kanoki, ne Palu, ne Kezulooni ne Kalumi. 10 Ne batabani ba Simyoni:Yamweri, ne Yamini, ne Okadi, ne Yakini, ne Zokali ne Sawuli omwana w’omukazi Omukanani. 11 Ne batabani ba Leevi:Gerusoni, ne Kokasi ne Merali. 12 N’aba Yuda:Eri, ne Onani, ne Seera, ne Pereezi ne Zeera; naye bo Eri ne Onani baafiira mu nsi ya Kanani.Batabani ba Pereezi baali:Kezulooni ne Kamuli. 13 Bo aba Isakaali baali:Tola, ne Puva, ne Yobu ne Simuloni. 14 Batabani ba Zebbulooni baaliSeredi, ne Eroni ne Yaleeri. 15 Abo be batabani ba Leeya be yazaalira Yakobo nga bali mu Padanalaamu, omuwala ye yali Dina. Abaana bonna aboobulenzi n’aboobuwala baali amakumi asatu mu basatu. 16 Batabani ba Gaadi baaliZifiyooni, ne Kagi, ne Suni, ne Ezuboni, ne Eri, ne Alodi ne Aleri. 17 Bo batabani ba Aseri be bano:Imuna, ne Isuva, ne Isuvi, ne Beriyaawamu ne Seera mwannyinaabwe.Bo Batabani ba Beriya baaliKeba ne Malukiyeeri. 18 Bano be batabani ba Zirupa, Labbaani gwe yawa Leeya muwala we, be yazaalira Yakobo; abantu kkumi na mukaaga. 19 Batabani ba Laakeeri, mukazi wa Yakobo be banoYusufu ne Benyamini. 20 Aba Yusufu ng’ali e Misiri baali Manase ne Efulayimu, Asenaasi muwala wa Potiferi kabona wa Oni be yamuzaalira. 21 Ne batabani ba Benyamini be ba:Bera, ne Bekeri, ne Asuberi, ne Gera, ne Naamani, ne Eki, ne Losi, ne Mupimu, ne Kupimu ne Aludi. 22 Abantu abasibuka mu Laakeeri mukazi wa Yakobo baali kkumi na bana. 23 Mutabani wa Ddaani yeKusimu. 24 Bo aba Nafutaali be ba:Yazeeri, ne Guni, ne Yezeri, ne Siremu. 25 Bano be baava mu Biira mukazi wa Yakobo, Labbaani gwe yawa Laakeeri muwala we; bonna be bantu musanvu. 26 Abantu bonna aba Yakobo abajja mu Misiri, ab’enda ye nga totaddeeko baka baana be, baali abantu nkaaga mu mukaaga. 27 Batabani ba Yusufu abaamuzaalirwa ng’ali mu Misiri baali babiri. Abantu bonna ab’ennyumba ya Yakobo abajja e Misiri baali nsanvu. 28 Yakobo n’atuma Yuda eri Yusufu ajje amusisinkane mu Goseni, ne batuuka e Goseni. 29 Awo Yusufu n’ateekateeka eggaali lye n’agenda okusisinkana Isirayiri kitaawe e Goseni, n’amweraga, n’amugwa mu kifuba n’akaabira mu kifuba kye okumala akabanga. 30 Isirayiri n’agamba Yusufu nti, “Kale kaakano ka nfe, kubanga ndabye amaaso go ne ntegeera nti okyali mulamu.” 31 Yusufu n’agamba baganda be n’ab’ennyumba ya kitaawe nti, “Nzija kugenda eri Falaawo mugambe nti, ‘Baganda bange n’ennyumba ya kitange abaali mu nsi ya Kanani bazze gye ndi. 32 Kyokka balunzi; balunda ente era baleese amagana gaabwe n’ebisibo byabwe ne byonna bye balina.’ 33 Kale Falaawo bw’abayita n’ababuuza nti, ‘Mukola mulimu ki?’ 34 Mumuddemu nti, ‘Abaweereza bo kasookedde tuzaalibwa tuli balunzi, ffe ne bajjajjaffe.’ Mulyoke mubeere mu nsi ya Goseni, kubanga abalunzi baamuzizo eri Abamisiri.”
In Other Versions
Genesis 46 in the ANGEFD
Genesis 46 in the ANTPNG2D
Genesis 46 in the AS21
Genesis 46 in the BAGH
Genesis 46 in the BBPNG
Genesis 46 in the BBT1E
Genesis 46 in the BDS
Genesis 46 in the BEV
Genesis 46 in the BHAD
Genesis 46 in the BIB
Genesis 46 in the BLPT
Genesis 46 in the BNT
Genesis 46 in the BNTABOOT
Genesis 46 in the BNTLV
Genesis 46 in the BOATCB
Genesis 46 in the BOATCB2
Genesis 46 in the BOBCV
Genesis 46 in the BOCNT
Genesis 46 in the BOECS
Genesis 46 in the BOGWICC
Genesis 46 in the BOHCB
Genesis 46 in the BOHCV
Genesis 46 in the BOHLNT
Genesis 46 in the BOHNTLTAL
Genesis 46 in the BOICB
Genesis 46 in the BOILNTAP
Genesis 46 in the BOITCV
Genesis 46 in the BOKCV
Genesis 46 in the BOKCV2
Genesis 46 in the BOKHWOG
Genesis 46 in the BOKSSV
Genesis 46 in the BOLCB2
Genesis 46 in the BOMCV
Genesis 46 in the BONAV
Genesis 46 in the BONCB
Genesis 46 in the BONLT
Genesis 46 in the BONUT2
Genesis 46 in the BOPLNT
Genesis 46 in the BOSCB
Genesis 46 in the BOSNC
Genesis 46 in the BOTLNT
Genesis 46 in the BOVCB
Genesis 46 in the BOYCB
Genesis 46 in the BPBB
Genesis 46 in the BPH
Genesis 46 in the BSB
Genesis 46 in the CCB
Genesis 46 in the CUV
Genesis 46 in the CUVS
Genesis 46 in the DBT
Genesis 46 in the DGDNT
Genesis 46 in the DHNT
Genesis 46 in the DNT
Genesis 46 in the ELBE
Genesis 46 in the EMTV
Genesis 46 in the ESV
Genesis 46 in the FBV
Genesis 46 in the FEB
Genesis 46 in the GGMNT
Genesis 46 in the GNT
Genesis 46 in the HARY
Genesis 46 in the HNT
Genesis 46 in the IRVA
Genesis 46 in the IRVB
Genesis 46 in the IRVG
Genesis 46 in the IRVH
Genesis 46 in the IRVK
Genesis 46 in the IRVM
Genesis 46 in the IRVM2
Genesis 46 in the IRVO
Genesis 46 in the IRVP
Genesis 46 in the IRVT
Genesis 46 in the IRVT2
Genesis 46 in the IRVU
Genesis 46 in the ISVN
Genesis 46 in the JSNT
Genesis 46 in the KAPI
Genesis 46 in the KBT1ETNIK
Genesis 46 in the KBV
Genesis 46 in the KJV
Genesis 46 in the KNFD
Genesis 46 in the LBA
Genesis 46 in the LBLA
Genesis 46 in the LNT
Genesis 46 in the LSV
Genesis 46 in the MAAL
Genesis 46 in the MBV
Genesis 46 in the MBV2
Genesis 46 in the MHNT
Genesis 46 in the MKNFD
Genesis 46 in the MNG
Genesis 46 in the MNT
Genesis 46 in the MNT2
Genesis 46 in the MRS1T
Genesis 46 in the NAA
Genesis 46 in the NASB
Genesis 46 in the NBLA
Genesis 46 in the NBS
Genesis 46 in the NBVTP
Genesis 46 in the NET2
Genesis 46 in the NIV11
Genesis 46 in the NNT
Genesis 46 in the NNT2
Genesis 46 in the NNT3
Genesis 46 in the PDDPT
Genesis 46 in the PFNT
Genesis 46 in the RMNT
Genesis 46 in the SBIAS
Genesis 46 in the SBIBS
Genesis 46 in the SBIBS2
Genesis 46 in the SBICS
Genesis 46 in the SBIDS
Genesis 46 in the SBIGS
Genesis 46 in the SBIHS
Genesis 46 in the SBIIS
Genesis 46 in the SBIIS2
Genesis 46 in the SBIIS3
Genesis 46 in the SBIKS
Genesis 46 in the SBIKS2
Genesis 46 in the SBIMS
Genesis 46 in the SBIOS
Genesis 46 in the SBIPS
Genesis 46 in the SBISS
Genesis 46 in the SBITS
Genesis 46 in the SBITS2
Genesis 46 in the SBITS3
Genesis 46 in the SBITS4
Genesis 46 in the SBIUS
Genesis 46 in the SBIVS
Genesis 46 in the SBT
Genesis 46 in the SBT1E
Genesis 46 in the SCHL
Genesis 46 in the SNT
Genesis 46 in the SUSU
Genesis 46 in the SUSU2
Genesis 46 in the SYNO
Genesis 46 in the TBIAOTANT
Genesis 46 in the TBT1E
Genesis 46 in the TBT1E2
Genesis 46 in the TFTIP
Genesis 46 in the TFTU
Genesis 46 in the TGNTATF3T
Genesis 46 in the THAI
Genesis 46 in the TNFD
Genesis 46 in the TNT
Genesis 46 in the TNTIK
Genesis 46 in the TNTIL
Genesis 46 in the TNTIN
Genesis 46 in the TNTIP
Genesis 46 in the TNTIZ
Genesis 46 in the TOMA
Genesis 46 in the TTENT
Genesis 46 in the UBG
Genesis 46 in the UGV
Genesis 46 in the UGV2
Genesis 46 in the UGV3
Genesis 46 in the VBL
Genesis 46 in the VDCC
Genesis 46 in the YALU
Genesis 46 in the YAPE
Genesis 46 in the YBVTP
Genesis 46 in the ZBP