Isaiah 14 (BOLCB)

1 MUKAMA Katonda alikwatirwa Yakobo ekisa,addemu alonde Isirayiriabazze ku ttaka lyabwe.Ne bannamawanga balibeegattakoera babeere wamu nga babeeyungiddeko ddala. 2 N’amawanga mangi galibayambaokudda mu nsi yaabwe,n’ennyumba ya Isirayiri ebeere n’abantuabamawanga amangi mu nsi ya MUKAMA Katonda, nga baweereza baabwe abasajja n’abakazi.Baliwamba abaali babawambye,bafuge abo abaabakijjanyanga. 3 Awo olunaku MUKAMA Katonda lw’alibawa okuwummula okuva mu kulumwa kwammwe n’okukijjanyizibwa kwe mubaddemu nga mukozesebwa, 4 oligera olugero luno ku kabaka w’e Babulooni n’oyogera nti:Omujoozi ng’agudde n’aggwaawo!Ekibuga ekya zaabu ekibadde kitutigomya nga tekikyaliwo! 5 MUKAMA Katonda amenye omuggo ogw’abakozi b’ebibi,omuggo gw’obwakabaka ogw’abo abafuga. 6 Ogwakubanga olutataamawanga n’obusungu,ogwafugisanga amawanga ekiruyi,ne gubayigganyanga nga tewali aguziyiza. 7 Ensi yonna ewummudde eri mu mirembe,era batandise okuyimba. 8 Si ekyo kyokka n’enfugo n’emivule gya Lebanooni,nagyo gikuyeeyeereza nti,“Kasookanga ogwatebangayo ajja kututema.” 9 Amagombe wansi gagugumuka ku lulwookukusisinkana ng’ojja,gagolokosa emyoyo gy’abafu ku lulwo,bonna abaali abakulembeze b’ensi;gayimusizza bakabaka ku ntebe zaabwe,bonna abaali bakabaka baamawanga. 10 Abo bonna balyogerane bakugamba nti,“Naawe oweddemu amaanyi nga ffe!Naawe ofuuse nga ffe!” 11 Ekitiibwa kyo kyonna kissibbwa emagombe,awamu n’amaloboozi g’ennanga zo;bakwalidde envunyu,n’ensiriŋŋanyi zikubisseeko. 12 Ng’ogudde okuva mu ggulu,ggwe emunyeenye ey’enkya, omwana w’emambya!Ng’otemeddwa n’ogwa ku ttaka,ggwe eyamegganga amawanga! 13 Wayogera mu mutima gwo nti,“Ndirinnya mu ggulu,ndigulumiza entebe yangeokusinga emunyeenye za Katonda;era nditeeka entebe yange waggulu ntuuleku lusozi olw’okukuŋŋaanirako ku njuyi ez’enkomerero ez’obukiikakkono; 14 ndyambuka okusinga ebire we bikoma,ndyoke nfuuke ng’oyo ali waggulu ennyo.” 15 Naye ossibbwa wansi emagombe,ku ntobo y’obunnya. 16 Abo abanaakulabanga banaakwekalirizangabakwewuunye nga bagamba nti,“Ono si ye musajja eyayugumyanga ensi,ng’anyeenyanyeenya obwakabaka! 17 Eyafuula ensi okuba eddungun’asuula ebibuga byayo,atakkirizanga bawambe kudda waabwe!” 18 Bakabaka bonna ab’ensi bagalamidde mu kitiibwa,buli omu mu ntaana ye, 19 naye osuulibbwa okukuggya mu malaalo gong’ettabi ery’omuzizo eryakyayibwa,ng’oteekeddwa wamu n’abattibwa, abaafumitibwa n’ekitala,abakka eri amayinja g’obunnya;ng’omulambo ogulinyiriddwa. 20 Toligattibwa n’abo mu kuziikibwakubanga wazikiriza ensi yo n’otta abantu bo;ezzadde ly’abo abaakola ebibiteriryongerwako n’akatono. 21 Mutegeke ekifo batabani be we banattirwaolw’obutali butuukirivu bwa bakitaabwe,baleme okugolokoka ne balya ensi,ne bajjuza ensi yonna ebibuga byabwe. 22 “Nange ndibagolokokerako,” bw’ayogera MUKAMA Katonda ow’Eggye,“ne mmalawo mu Babulooni erinnya lye, n’abalifikkawo,n’omwana n’omuzzukulu,”bw’ayogera MUKAMA Katonda. 23 “Era ndimufuula obutaka bw’ebiwuugulu,n’entobazziera mwere n’olweyo oluzikiriza,”bw’ayogera MUKAMA Katonda ow’Eggye. 24 MUKAMA Katonda ow’Eggye alayidde n’ayogera nti,“Ddala nga bwe nalowooza, bwe kirituukirira bwe kityoera nga bwe nateesa,bwe kirinywera bwe kityo. 25 Ndimenyera Omwasuli mu nsi yange,era ndimulinnyirira ku nsozi zange.Ekikoligo kye kiribavaako,n’omugugu gwe guliggyibwa ku kibegabega kye.” 26 Eno y’entegeka eyategekerwa ensi yonna:era guno gwe mukono ogwagololwa ku mawanga gonna. 27 Kubanga MUKAMA Katonda ow’Eggye ye yateesa, kale ani ayinza okukijjulula?Omukono gwe gugoloddwa, kale ani ayinza okuguzzaayo? 28 Mu mwaka kabaka Akazi mwe yafiira ne wabaawo obubaka buno. 29 Tosanyuka ggwe Bufirisuuti yonna,kubanga omuggo ogwakukuba gumenyese,ne ku kikolo ky’omusota kulivaako enswera,n’ezzadde lyalyo liriba musota ogw’obusagwa oguwalabuka. 30 Abasingirayo ddala okuba abaavu balifuna ekyokulya,n’abali mu kwetaaga balifuna ku tulonaye ekikolo kyo ndikittisa enjalaate abo abalisigalawo mbattise ekitala. 31 Leekaana ggwe wankaaki, kaaba ggwe ekibuga,osaanuuke olw’entiisa ggwe Bufirisuuti yonna!Kubanga mu bukiikakkono muvaamu omukka,eggye ery’abalwanyi omutali munafu. 32 Kale kiki kye banaddamuababaka b’eggwanga eryo?“MUKAMA yassaawo Sayuuni,ne mu kyo abantu be ababonyaabonyezebwa mwe balifuna obuddukiro.”

In Other Versions

Isaiah 14 in the ANGEFD

Isaiah 14 in the ANTPNG2D

Isaiah 14 in the AS21

Isaiah 14 in the BAGH

Isaiah 14 in the BBPNG

Isaiah 14 in the BBT1E

Isaiah 14 in the BDS

Isaiah 14 in the BEV

Isaiah 14 in the BHAD

Isaiah 14 in the BIB

Isaiah 14 in the BLPT

Isaiah 14 in the BNT

Isaiah 14 in the BNTABOOT

Isaiah 14 in the BNTLV

Isaiah 14 in the BOATCB

Isaiah 14 in the BOATCB2

Isaiah 14 in the BOBCV

Isaiah 14 in the BOCNT

Isaiah 14 in the BOECS

Isaiah 14 in the BOGWICC

Isaiah 14 in the BOHCB

Isaiah 14 in the BOHCV

Isaiah 14 in the BOHLNT

Isaiah 14 in the BOHNTLTAL

Isaiah 14 in the BOICB

Isaiah 14 in the BOILNTAP

Isaiah 14 in the BOITCV

Isaiah 14 in the BOKCV

Isaiah 14 in the BOKCV2

Isaiah 14 in the BOKHWOG

Isaiah 14 in the BOKSSV

Isaiah 14 in the BOLCB2

Isaiah 14 in the BOMCV

Isaiah 14 in the BONAV

Isaiah 14 in the BONCB

Isaiah 14 in the BONLT

Isaiah 14 in the BONUT2

Isaiah 14 in the BOPLNT

Isaiah 14 in the BOSCB

Isaiah 14 in the BOSNC

Isaiah 14 in the BOTLNT

Isaiah 14 in the BOVCB

Isaiah 14 in the BOYCB

Isaiah 14 in the BPBB

Isaiah 14 in the BPH

Isaiah 14 in the BSB

Isaiah 14 in the CCB

Isaiah 14 in the CUV

Isaiah 14 in the CUVS

Isaiah 14 in the DBT

Isaiah 14 in the DGDNT

Isaiah 14 in the DHNT

Isaiah 14 in the DNT

Isaiah 14 in the ELBE

Isaiah 14 in the EMTV

Isaiah 14 in the ESV

Isaiah 14 in the FBV

Isaiah 14 in the FEB

Isaiah 14 in the GGMNT

Isaiah 14 in the GNT

Isaiah 14 in the HARY

Isaiah 14 in the HNT

Isaiah 14 in the IRVA

Isaiah 14 in the IRVB

Isaiah 14 in the IRVG

Isaiah 14 in the IRVH

Isaiah 14 in the IRVK

Isaiah 14 in the IRVM

Isaiah 14 in the IRVM2

Isaiah 14 in the IRVO

Isaiah 14 in the IRVP

Isaiah 14 in the IRVT

Isaiah 14 in the IRVT2

Isaiah 14 in the IRVU

Isaiah 14 in the ISVN

Isaiah 14 in the JSNT

Isaiah 14 in the KAPI

Isaiah 14 in the KBT1ETNIK

Isaiah 14 in the KBV

Isaiah 14 in the KJV

Isaiah 14 in the KNFD

Isaiah 14 in the LBA

Isaiah 14 in the LBLA

Isaiah 14 in the LNT

Isaiah 14 in the LSV

Isaiah 14 in the MAAL

Isaiah 14 in the MBV

Isaiah 14 in the MBV2

Isaiah 14 in the MHNT

Isaiah 14 in the MKNFD

Isaiah 14 in the MNG

Isaiah 14 in the MNT

Isaiah 14 in the MNT2

Isaiah 14 in the MRS1T

Isaiah 14 in the NAA

Isaiah 14 in the NASB

Isaiah 14 in the NBLA

Isaiah 14 in the NBS

Isaiah 14 in the NBVTP

Isaiah 14 in the NET2

Isaiah 14 in the NIV11

Isaiah 14 in the NNT

Isaiah 14 in the NNT2

Isaiah 14 in the NNT3

Isaiah 14 in the PDDPT

Isaiah 14 in the PFNT

Isaiah 14 in the RMNT

Isaiah 14 in the SBIAS

Isaiah 14 in the SBIBS

Isaiah 14 in the SBIBS2

Isaiah 14 in the SBICS

Isaiah 14 in the SBIDS

Isaiah 14 in the SBIGS

Isaiah 14 in the SBIHS

Isaiah 14 in the SBIIS

Isaiah 14 in the SBIIS2

Isaiah 14 in the SBIIS3

Isaiah 14 in the SBIKS

Isaiah 14 in the SBIKS2

Isaiah 14 in the SBIMS

Isaiah 14 in the SBIOS

Isaiah 14 in the SBIPS

Isaiah 14 in the SBISS

Isaiah 14 in the SBITS

Isaiah 14 in the SBITS2

Isaiah 14 in the SBITS3

Isaiah 14 in the SBITS4

Isaiah 14 in the SBIUS

Isaiah 14 in the SBIVS

Isaiah 14 in the SBT

Isaiah 14 in the SBT1E

Isaiah 14 in the SCHL

Isaiah 14 in the SNT

Isaiah 14 in the SUSU

Isaiah 14 in the SUSU2

Isaiah 14 in the SYNO

Isaiah 14 in the TBIAOTANT

Isaiah 14 in the TBT1E

Isaiah 14 in the TBT1E2

Isaiah 14 in the TFTIP

Isaiah 14 in the TFTU

Isaiah 14 in the TGNTATF3T

Isaiah 14 in the THAI

Isaiah 14 in the TNFD

Isaiah 14 in the TNT

Isaiah 14 in the TNTIK

Isaiah 14 in the TNTIL

Isaiah 14 in the TNTIN

Isaiah 14 in the TNTIP

Isaiah 14 in the TNTIZ

Isaiah 14 in the TOMA

Isaiah 14 in the TTENT

Isaiah 14 in the UBG

Isaiah 14 in the UGV

Isaiah 14 in the UGV2

Isaiah 14 in the UGV3

Isaiah 14 in the VBL

Isaiah 14 in the VDCC

Isaiah 14 in the YALU

Isaiah 14 in the YAPE

Isaiah 14 in the YBVTP

Isaiah 14 in the ZBP