Isaiah 42 (BOLCB)

1 Laba omuweereza wange gwe mpanirira,omulonde wange gwe nsanyukira ennyo.Ndimuwa Omwoyo wangeera alireeta obwenkanya eri amawanga. 2 Talireekaanawadde okuyimusa eddoboozi lye mu luguudo. 3 Talimenya lumuli lubetentefuoba okuzikiza olutambi olwaka empola ennyo;mu bwesigwa alireeta obwenkanya. 4 Taliremererwa oba okuggwaamu essuubi okutuusa ng’aleesewo obutebenkevu ku nsi.N’ebizinga eby’ewalabiririndirira amateeka ge. 5 Bw’atyo bw’ayogera MUKAMA Katonda,eyatonda eggulu n’alibamba.Eyayanjuluza ensi ne byonna ebigivaamu;awa omukka abantu baakwoera n’obulamu eri bonna abagitambulirako. 6 “Nze MUKAMA,nakuyita mu butuukirivu.Ndikukwata ku mukono era ndikukuuma.Ndikufuula okuba endagaano eri abantu,era omusana eri bannamawanga. 7 Okuzibula amaaso g’abazibe,okuta abasibe okuva mu makomeran’okuggya abo abali mu bunnya, abo abali mu kizikiza. 8 “Nze MUKAMA,eryo lye linnya lyange, n’ekitiibwa kyange sirikiwa mulala,newaakubadde ettendo lyange okukiwa bakatonda abalala. 9 Laba, ebyo bye nagamba ntibiribaawo bituuse,kaakano mbabuulira ku bigenda okujja;mbibategeeza nga tebinnabaawo.” 10 Muyimbire MUKAMA oluyimba oluggya,ettendo lye okuva ku nkomerero y’ensi!Mmwe abasaabala ku nnyanja ne byonna ebigirimu,mmwe ebizinga ne bonna ababibeeramu. 11 Leka eddungu n’ebibuga byamu biyimuse amaloboozi gaabyo,ebyalo Kedali mw’atuula.Leka abantu b’e Seera bayimbe n’essanyu.Leka baleekaanire waggulu ku ntikko z’ensozi. 12 Leka MUKAMA bamuwe ekitiibwaera balangirire ettendo lye mu bizinga. 13 MUKAMA, anafuluma okulwana ng’omutabaazi ow’amaanyi,era ng’omutabaazi ow’amaanyi alijja yeeswanta,n’okuleekaana ng’alangirira olutalo.Era aliwangula abalabe be. 14 “Ebbanga ggwanvu nga siriiko kye ŋŋamba,nga nsirise neekuumye.Naye okufaanana ng’omukazi alumwa okuzaala,nkaaba, mpejjawejja era nzisa ebikkowe. 15 Ndizikiriza ensozi n’obusozi,egyo emiddo gyakwo gyonna ndi wakugiwotosa.Era ndikaza ebinywa byabwe byonnan’emigga ndigifuula ebizinga. 16 Era ndikulembera abantu bange abazibe ba maaso mu kkubo lye batamanyin’abayise mbaluŋŋamize mu makubo ge batamanyidde.Ndifuula ekizikiza okuba omusana mu maaso gaabwen’ebifo ebizibu okuyitamu ndibirongoosa.Ebyo by’ebintu bye ndikola,sirireka bantu bange. 17 Naye abo abeesiga bakatonda abalala, ababagamba nti,‘Mwe bakatonda baffe,’ balikwasibwa ensonyi,era baligobebwa, mu buswavu obungi.” 18 “Muwulire mmwe bakiggala,mutunule mmwe bamuzibe, mulabe. 19 Ani muzibe okuggyako omuweereza wange,oba kiggala okuggyako omubaka wange gwe ntuma?Eriyo eyaziba amaaso asinga oyo eyeewaayo gye ndi,oba omuzibe ng’omuweereza wa MUKAMA? 20 Olabye ebintu bingi naye tobifuddeko,amatu go maggule naye tolina ky’owulira.” 21 Kyasanyusa MUKAMA olw’obulungi obw’obutuukirivu bweokukuza amateeka gen’okugassaamu ekitiibwa. 22 Naye bano, bantu be,ababbibwa ne banyagibwa bonnane basibibwa mu binnya oba abasibibwa mu makomera.Bafuuka munyagonga tewali n’omu abanunula,bafuuliddwa abanyagenga tewali n’omu agamba nti, “Bateebwe baddeyo.” 23 Ani ku mmwe anaawuliriza kino,oba anaafaayo ennyo n’awuliriza mu biro ebigenda okujja? 24 Ani eyawaayo Yakobo okuba omunyagone Isirayiri eri abanyazi?Teyali MUKAMA gwe twayonoona?Ekyo yakikolakubanga tebaagoberera makubo ge.Tebaagondera mateeka ge. 25 Kyeyava abafukako obusungu bwe obubuubuukan’obulumi bw’entalo.Beebungululwa ennimi z’omuliro naye tebaategeera.Gwabookya naye ne batakissaako mwoyo.

In Other Versions

Isaiah 42 in the ANGEFD

Isaiah 42 in the ANTPNG2D

Isaiah 42 in the AS21

Isaiah 42 in the BAGH

Isaiah 42 in the BBPNG

Isaiah 42 in the BBT1E

Isaiah 42 in the BDS

Isaiah 42 in the BEV

Isaiah 42 in the BHAD

Isaiah 42 in the BIB

Isaiah 42 in the BLPT

Isaiah 42 in the BNT

Isaiah 42 in the BNTABOOT

Isaiah 42 in the BNTLV

Isaiah 42 in the BOATCB

Isaiah 42 in the BOATCB2

Isaiah 42 in the BOBCV

Isaiah 42 in the BOCNT

Isaiah 42 in the BOECS

Isaiah 42 in the BOGWICC

Isaiah 42 in the BOHCB

Isaiah 42 in the BOHCV

Isaiah 42 in the BOHLNT

Isaiah 42 in the BOHNTLTAL

Isaiah 42 in the BOICB

Isaiah 42 in the BOILNTAP

Isaiah 42 in the BOITCV

Isaiah 42 in the BOKCV

Isaiah 42 in the BOKCV2

Isaiah 42 in the BOKHWOG

Isaiah 42 in the BOKSSV

Isaiah 42 in the BOLCB2

Isaiah 42 in the BOMCV

Isaiah 42 in the BONAV

Isaiah 42 in the BONCB

Isaiah 42 in the BONLT

Isaiah 42 in the BONUT2

Isaiah 42 in the BOPLNT

Isaiah 42 in the BOSCB

Isaiah 42 in the BOSNC

Isaiah 42 in the BOTLNT

Isaiah 42 in the BOVCB

Isaiah 42 in the BOYCB

Isaiah 42 in the BPBB

Isaiah 42 in the BPH

Isaiah 42 in the BSB

Isaiah 42 in the CCB

Isaiah 42 in the CUV

Isaiah 42 in the CUVS

Isaiah 42 in the DBT

Isaiah 42 in the DGDNT

Isaiah 42 in the DHNT

Isaiah 42 in the DNT

Isaiah 42 in the ELBE

Isaiah 42 in the EMTV

Isaiah 42 in the ESV

Isaiah 42 in the FBV

Isaiah 42 in the FEB

Isaiah 42 in the GGMNT

Isaiah 42 in the GNT

Isaiah 42 in the HARY

Isaiah 42 in the HNT

Isaiah 42 in the IRVA

Isaiah 42 in the IRVB

Isaiah 42 in the IRVG

Isaiah 42 in the IRVH

Isaiah 42 in the IRVK

Isaiah 42 in the IRVM

Isaiah 42 in the IRVM2

Isaiah 42 in the IRVO

Isaiah 42 in the IRVP

Isaiah 42 in the IRVT

Isaiah 42 in the IRVT2

Isaiah 42 in the IRVU

Isaiah 42 in the ISVN

Isaiah 42 in the JSNT

Isaiah 42 in the KAPI

Isaiah 42 in the KBT1ETNIK

Isaiah 42 in the KBV

Isaiah 42 in the KJV

Isaiah 42 in the KNFD

Isaiah 42 in the LBA

Isaiah 42 in the LBLA

Isaiah 42 in the LNT

Isaiah 42 in the LSV

Isaiah 42 in the MAAL

Isaiah 42 in the MBV

Isaiah 42 in the MBV2

Isaiah 42 in the MHNT

Isaiah 42 in the MKNFD

Isaiah 42 in the MNG

Isaiah 42 in the MNT

Isaiah 42 in the MNT2

Isaiah 42 in the MRS1T

Isaiah 42 in the NAA

Isaiah 42 in the NASB

Isaiah 42 in the NBLA

Isaiah 42 in the NBS

Isaiah 42 in the NBVTP

Isaiah 42 in the NET2

Isaiah 42 in the NIV11

Isaiah 42 in the NNT

Isaiah 42 in the NNT2

Isaiah 42 in the NNT3

Isaiah 42 in the PDDPT

Isaiah 42 in the PFNT

Isaiah 42 in the RMNT

Isaiah 42 in the SBIAS

Isaiah 42 in the SBIBS

Isaiah 42 in the SBIBS2

Isaiah 42 in the SBICS

Isaiah 42 in the SBIDS

Isaiah 42 in the SBIGS

Isaiah 42 in the SBIHS

Isaiah 42 in the SBIIS

Isaiah 42 in the SBIIS2

Isaiah 42 in the SBIIS3

Isaiah 42 in the SBIKS

Isaiah 42 in the SBIKS2

Isaiah 42 in the SBIMS

Isaiah 42 in the SBIOS

Isaiah 42 in the SBIPS

Isaiah 42 in the SBISS

Isaiah 42 in the SBITS

Isaiah 42 in the SBITS2

Isaiah 42 in the SBITS3

Isaiah 42 in the SBITS4

Isaiah 42 in the SBIUS

Isaiah 42 in the SBIVS

Isaiah 42 in the SBT

Isaiah 42 in the SBT1E

Isaiah 42 in the SCHL

Isaiah 42 in the SNT

Isaiah 42 in the SUSU

Isaiah 42 in the SUSU2

Isaiah 42 in the SYNO

Isaiah 42 in the TBIAOTANT

Isaiah 42 in the TBT1E

Isaiah 42 in the TBT1E2

Isaiah 42 in the TFTIP

Isaiah 42 in the TFTU

Isaiah 42 in the TGNTATF3T

Isaiah 42 in the THAI

Isaiah 42 in the TNFD

Isaiah 42 in the TNT

Isaiah 42 in the TNTIK

Isaiah 42 in the TNTIL

Isaiah 42 in the TNTIN

Isaiah 42 in the TNTIP

Isaiah 42 in the TNTIZ

Isaiah 42 in the TOMA

Isaiah 42 in the TTENT

Isaiah 42 in the UBG

Isaiah 42 in the UGV

Isaiah 42 in the UGV2

Isaiah 42 in the UGV3

Isaiah 42 in the VBL

Isaiah 42 in the VDCC

Isaiah 42 in the YALU

Isaiah 42 in the YAPE

Isaiah 42 in the YBVTP

Isaiah 42 in the ZBP