John 7 (BOLCB)

1 Oluvannyuma lw’ebyo, Yesu n’alaga e Ggaliraaya, kubanga teyayagala kubeera mu Buyudaaya, kubanga Abayudaaya baali bamunoonya okumutta. 2 Naye embaga y’Abayudaaya eyitibwa ey’Ensiisira yali eneetera okutuuka. 3 Baganda ba Yesu ne bamugamba nti, “Vva wano, olage mu Buyudaaya, abayigirizwa bo balabe ebyamagero by’okola. 4 Tosobola kwatiikirira nga weekwese. Kale obanga, okola ebintu ebyo, weerage eri ensi.” 5 Baganda be nabo tebaamukkiriza. 6 Yesu n’abaddamu nti, “Ekiseera kyange eky’okugenda tekinnatuuka. Naye mmwe muyinza okugenda mu kiseera kyonna we mwagalira. 7 Mmwe ensi teyinza kubakyawa, naye Nze enkyawa kubanga ngitegeeza ebikolwa byayo ebibi. 8 Mmwe mwambuke ku mbaga. Nze sijja kwambuka ku mbaga eno, kubanga ekiseera kyange tekinnatuuka.” 9 Bwe yamala okubagamba ebyo n’asigala mu Ggaliraaya. 10 Baganda be bwe bamala okwambuka ku mbaga naye n’ayambuka, mu kyama so si mu lwatu. 11 Awo Abayudaaya ne bamunoonya ku mbaga nga beebuuza nti, “Omusajja oli, ali ludda wa?” 12 Ne wabaawo oluvuuvuumo lungi mu bantu. Abamu ne bagamba nti, “Mulungi.” Naye abalala nga bagamba nti, “Nedda, alimba abantu.” 13 Kyokka olw’okutya Abayudaaya, tewaaliwo amwogerako mu lwatu. 14 Awo mu makkati g’embaga Yesu n’ayambuka mu Yeekaalu n’ayigiriza. 15 Abakulembeze b’Abayudaaya ne beewuunya nga bagamba nti, “Omuntu ono ayinza atya okumanya okusoma so nga tasomangako?” 16 Awo Yesu kwe kubaddamu nti, “Nze sibayigiriza byange ku bwange, wabula eby’oyo eyantuma. 17 Buli ayagala okukola Katonda by’ayagala, ategeera obanga bye njigiriza byange ku bwange oba bya Katonda. 18 Ayogera ku bubwe anoonya kitiibwa kye, naye oyo anoonya ekitiibwa ky’oyo eyantuma wa mazima so n’obutali butuukirivu tebuba mu ye. Musa teyabawa amateeka? 19 Ku mmwe tekuliiko n’omu akwata mateeka. Kale lwaki musala amagezi okunzita?” 20 Ekibiina ky’abantu ne baddamu nti, “Oliko dayimooni! Ani asala amagezi okukutta?” 21 Yesu n’addamu nti, “Nakola ekikolwa kimu ku Ssabbiiti buli muntu ne yeewuunya. 22 Musa kyeyava abalagira okukomolebwa, okukomolebwa tekwatandikira ku Musa wabula kwatandikira ku bajjajjammwe; ne ku Ssabbiiti mukomola omuntu. 23 Obanga mukomola ku Ssabbiiti etteeka lya Musa lireme okumenyebwa, kale lwaki Nze munsunguwalira olw’okuwonya omuntu ku Ssabbiiti, n’aba mulamu ddala? 24 Temusalanga musango okusinziira ku ndabika, naye musalenga omusango ogw’ensonga.” 25 Awo abantu abamu ab’omu Yerusaalemi ne beebuuzaganya nga bagamba nti, “Ono si ye muntu gwe banoonya okutta? 26 Kale wuuno ayigiriza lwatu, ate tebaliiko kye bamugambako. Osanga abakulembeze bategedde nti omuntu ono ye Kristo! 27 Naye tumanyi omuntu ono gy’ava; so nga Kristo bw’alijja tewaliba n’omu amanya gy’ava.” 28 Awo Yesu bwe yali ng’akyayigiriza mu Yeekaalu n’akangula ku ddoboozi n’agamba nti, “Ddala mummanyi ne gye nva mumanyiiyo. Sajja ku bwange wabula ekituufu nti oyo eyantuma gwe mutamanyi. 29 Nze mmumanyi, kubanga nava gy’ali, era ye yantuma.” 30 Awo ne basala amagezi okumukwata, kyokka tewaali amukwatako, kubanga ekiseera kye kyali tekinnaba kutuuka. 31 Naye bangi mu bibiina by’abantu ne bamukkiriza, ne bagamba nti, “Kale Kristo bw’alijja, alikola eby’amagero ebisinga eby’ono byakoze?” 32 Awo Abafalisaayo ne bawulira abantu nga boogera ku Yesu mu bwama. Awo bakabona abakulu n’Abafalisaayo ne batuma abaweereza baabwe okumukwata. 33 Awo Yesu n’agamba nti, “Nzija kumala nammwe ebbanga ttono, ndyoke nzireyo eri oyo eyantuma. 34 Mulinnoonya, naye temugenda kundaba, nga gye ndi, mmwe temuyinza kutuukayo.” 35 Awo Abayudaaya ne beebuuzaganya nti, “Omuntu ono alaga wa gye tutalimulabira? Ayagala kugenda eri abo abaasaasaanira mu Buyonaani, ayigirize Abayonaani? 36 Ategeeza ki bw’agamba nti, ‘Mulinnoonya, naye temulindaba?’ Era nti, ‘Gye ndaga temuyinza kutuukayo?’ ” 37 Awo ku lunaku olw’embaga olusembayo, olusingira ddala obukulu, Yesu n’ayimirira n’ayogera n’eddoboozi ery’omwanguka n’agamba nti, “Buli alina ennyonta, ajje gye ndi anywe! 38 Ng’Ekyawandiikibwa bwe kigamba nti buli akkiriza Nze emigga egy’amazzi amalamu girikulukuta nga gifuluma mu mutima gwe!” 39 Yesu yali ayogera ku Mwoyo Mutukuvu, abamukkiriza gwe baali bagenda okufuna, kubanga Mwoyo oyo yali tannagabibwa, kubanga Yesu yali tannaba kugulumizibwa. 40 Abantu abamu mu kibiina bwe baawulira ng’ayogera bw’atyo, ne bagamba nti, “Ddala omuntu ono ye Nnabbi.” 41 Abalala ne bagamba nti, “Omuntu ono ye Kristo.” Naye abalala ne bagamba nti, “Nedda, Kristo tayinza kuba ng’ava mu Ggaliraaya.” 42 Kubanga Ekyawandiikibwa kigamba nti: Kristo wa kuva mu zzadde lya Dawudi, era nga wa kuzaalibwa mu Besirekemu, ekibuga kya Dawudi mwe yali. 43 Awo ekibiina ne kyesalamu olwa Yesu. 44 Abamu ne baagala okumukwata, kyokka ne wabulawo amukwatako. 45 Awo abaweereza b’abakabona abakulu n’Abafalisaayo ne baddayo eri bakabona abakulu n’Abafalisaayo. Abakulembeze Ne bababuuza nti, “Lwaki temumuleese?” 46 Abaweereza ne baddamu nti, “Ebigambo by’ayogera bya kitalo, tetubiwulirangako.” 47 Abafalisaayo ne babagamba nti, “Era nammwe abakyamizza? 48 Waliwo n’omu ku bakulembeze wadde ku Bafalisaayo eyali akkiririzza mu muntu oyo? 49 Naye ekibiina ky’abantu bano abatamanyi mateeka, bakolimiddwa!” 50 Awo Nikodemo, omu ku bo eddako eyagenda eri Yesu, n’abuuza nti, 51 “Amateeka gaffe gakkiriza okusalira omuntu omusango nga tannaba kuwozesebwa okutegeera ky’akoze?” 52 Ne bamuddamu nti, “Naawe wava Ggaliraaya? Nnoonyereza, ojja kulaba nti e Ggaliraaya teva nnabbi.” 53 Awo ne baabuka, buli omu n’addayo eka.

In Other Versions

John 7 in the ANGEFD

John 7 in the ANTPNG2D

John 7 in the AS21

John 7 in the BAGH

John 7 in the BBPNG

John 7 in the BBT1E

John 7 in the BDS

John 7 in the BEV

John 7 in the BHAD

John 7 in the BIB

John 7 in the BLPT

John 7 in the BNT

John 7 in the BNTABOOT

John 7 in the BNTLV

John 7 in the BOATCB

John 7 in the BOATCB2

John 7 in the BOBCV

John 7 in the BOCNT

John 7 in the BOECS

John 7 in the BOGWICC

John 7 in the BOHCB

John 7 in the BOHCV

John 7 in the BOHLNT

John 7 in the BOHNTLTAL

John 7 in the BOICB

John 7 in the BOILNTAP

John 7 in the BOITCV

John 7 in the BOKCV

John 7 in the BOKCV2

John 7 in the BOKHWOG

John 7 in the BOKSSV

John 7 in the BOLCB2

John 7 in the BOMCV

John 7 in the BONAV

John 7 in the BONCB

John 7 in the BONLT

John 7 in the BONUT2

John 7 in the BOPLNT

John 7 in the BOSCB

John 7 in the BOSNC

John 7 in the BOTLNT

John 7 in the BOVCB

John 7 in the BOYCB

John 7 in the BPBB

John 7 in the BPH

John 7 in the BSB

John 7 in the CCB

John 7 in the CUV

John 7 in the CUVS

John 7 in the DBT

John 7 in the DGDNT

John 7 in the DHNT

John 7 in the DNT

John 7 in the ELBE

John 7 in the EMTV

John 7 in the ESV

John 7 in the FBV

John 7 in the FEB

John 7 in the GGMNT

John 7 in the GNT

John 7 in the HARY

John 7 in the HNT

John 7 in the IRVA

John 7 in the IRVB

John 7 in the IRVG

John 7 in the IRVH

John 7 in the IRVK

John 7 in the IRVM

John 7 in the IRVM2

John 7 in the IRVO

John 7 in the IRVP

John 7 in the IRVT

John 7 in the IRVT2

John 7 in the IRVU

John 7 in the ISVN

John 7 in the JSNT

John 7 in the KAPI

John 7 in the KBT1ETNIK

John 7 in the KBV

John 7 in the KJV

John 7 in the KNFD

John 7 in the LBA

John 7 in the LBLA

John 7 in the LNT

John 7 in the LSV

John 7 in the MAAL

John 7 in the MBV

John 7 in the MBV2

John 7 in the MHNT

John 7 in the MKNFD

John 7 in the MNG

John 7 in the MNT

John 7 in the MNT2

John 7 in the MRS1T

John 7 in the NAA

John 7 in the NASB

John 7 in the NBLA

John 7 in the NBS

John 7 in the NBVTP

John 7 in the NET2

John 7 in the NIV11

John 7 in the NNT

John 7 in the NNT2

John 7 in the NNT3

John 7 in the PDDPT

John 7 in the PFNT

John 7 in the RMNT

John 7 in the SBIAS

John 7 in the SBIBS

John 7 in the SBIBS2

John 7 in the SBICS

John 7 in the SBIDS

John 7 in the SBIGS

John 7 in the SBIHS

John 7 in the SBIIS

John 7 in the SBIIS2

John 7 in the SBIIS3

John 7 in the SBIKS

John 7 in the SBIKS2

John 7 in the SBIMS

John 7 in the SBIOS

John 7 in the SBIPS

John 7 in the SBISS

John 7 in the SBITS

John 7 in the SBITS2

John 7 in the SBITS3

John 7 in the SBITS4

John 7 in the SBIUS

John 7 in the SBIVS

John 7 in the SBT

John 7 in the SBT1E

John 7 in the SCHL

John 7 in the SNT

John 7 in the SUSU

John 7 in the SUSU2

John 7 in the SYNO

John 7 in the TBIAOTANT

John 7 in the TBT1E

John 7 in the TBT1E2

John 7 in the TFTIP

John 7 in the TFTU

John 7 in the TGNTATF3T

John 7 in the THAI

John 7 in the TNFD

John 7 in the TNT

John 7 in the TNTIK

John 7 in the TNTIL

John 7 in the TNTIN

John 7 in the TNTIP

John 7 in the TNTIZ

John 7 in the TOMA

John 7 in the TTENT

John 7 in the UBG

John 7 in the UGV

John 7 in the UGV2

John 7 in the UGV3

John 7 in the VBL

John 7 in the VDCC

John 7 in the YALU

John 7 in the YAPE

John 7 in the YBVTP

John 7 in the ZBP