Job 25 (BOLCB)
1 Awo Birudaadi Omusuki n’addamu n’ayogera nti, 2 “Okufuga kwa Katonda n’entiisa ya Katonda;ateekawo enkola entuufu mu bifo ebya waggulu mu ggulu. 3 Amaggye ge gasobola okubalibwa?Ani atayakirwa musana gwe? 4 Olwo omuntu ayinza atya okwelowooza nti mutuukirivu awali Katonda?Omuntu eyazaalibwa omukazi ayinza atya okuba omulongoofu? 5 Laba n’omwezi tegulina bye gwaka,n’emmunyeenye si nnongoofu mu maaso ge. 6 Ate omuntu obuntu oyo envunyu obuvunyu,omwana w’omuntu, oyo olusiriŋŋanyi, ayinza atya okwelowooza nti mulongoofu!”